NWO UPDATE: Ebiri Emabega Wa ‘Beast System’: Kituufu Trump Atandise Okuzimba Entebe Sitaani Kw’agenda Okutuula Okufuga Ensi?

Trump yalangiridde pulaani Stargate era nga mu pulaani eno, yalangiridde nti ataddewo obuwumbi bwa doola 500 okulaba nga batandika okuzimba enkola egenda okuyamba Articicial Intelligence (AI infrastructure) okusaasana mu nsi yonna nga batandika n'eggwanga lya Amerika.

Editor Ono Bwino
8 Min Read

Nga bwe yafuuka enkola yaffe, buli bwe tubagamba Amazima ne gatuukirira tulina okukomawo ne tubategeeza nti TWABAGAMBA.

Tumaze ebbanga nga tubagamba nti Trump yajja kuleeta mulembe gwa Artificial Intelligence (AI).

Tubawadde ensonga eziwera ne bwino nti ku nsonga eno.

Wiiki wedde, Pulezidenti wa Amerika yateeka omukono ku Kiragiro (Executive Order -EO).

Ku lunaku lwenyini Trump lwe yalayira, yayisa ebiragiro ebiwerako (Executive Orders – EO).

Wabula Executive Orders ku Aritificial Intelligence zaali ssatu (3). Era nga zaatuumibwa Artificial Intelligence Executive Orders (AI EO).

Trump yalangiridde pulaani Stargate era nga mu pulaani eno, yalangiridde nti ataddewo obuwumbi bwa doola 500 okulaba nga batandika okuzimba enkola egenda okuyamba Articicial Intelligence (AI infrastructure) okusaasana mu nsi yonna nga batandika n’eggwanga lya Amerika.

Bwe yabadde aziteekako emikono, Trump yagambye nti, “Tugenda kuzimba enkola ya Artificial Intelligence ekyasinze okubeera enenne mu byafaayo by’ensi.”

TRUMP AYAGALA KUGGULAWO MAGOMBE? Trump pulaani yonna yagituumye ‘Stargate AI Infrastracture’, Kati sooka weebuuze, stargate kitegeza ki?

Nsaba tugende mu nkuluze ya Oluzungu eya Oxford Dictionary etubuulire ekigambo kino kitegeeza ki:

Stargate: A device that transports something passing through it to another point in the universe (usually another stargate) in a way that bypasses the intervening space.

Mu Luganda: Stargate: Eno ye nkola ekitambuliramu ekintu okuva mu nsi emu okutuuka mu nsi endala nga bayita mu kusala obwengula ekikuubo.

Nsaba mukwate ebigambo bino ebikulu ‘Enkola etambuza ekintu okuva mu nsi omu okutuuka mu nsi endala nga tebakozezeza bwengula’

Kati weebuuze, kiki ekyo kye bagezaako okuggya mu bwengula?

Okuddamu kuli kumu, bagezaako kuzimba mukutu oba mikutu, egigenda okutambuza amaanyi g’ekizikiza oba Dayimooni okuva mu nsi gye giri, giyingire mu nsi eno gitandike okukolera mu bantu n’okutambulira mu bantu.

Bagezaako kuzimbira sitaani n’amaanyi g’ekizikiza, n’abaana baabwe mukutu gwe bagenda okukozesa okufuga ensi.

Omukutu guno gwe bagezaako okuzimba ye Artificial Intelligence (AI). Y’ensonga lwaki Trump operation yonna oba ekikwekweto yakituumye ‘Operation Stargate’.

Era ekikwekwketo kino yakitaddemu obuwumbi bwa Doola 500 eza Uganda obutabalika 1,875 zino ssente ziriisa Uganda emyaka 32).

Baganda bange ezo ssente nyingi nnyo. Naye Trump alina omulimu ogwamuweebwa. Y’ensonga lwaki buli musajja afuga omutimbagano, Artificila Inte;lligence gy’engenda okukozesa, yabaddewo ku kulayira kwe era bonna twababalaga wiiki ewedde.

Ndowooza bino babilaze enfunda eziwera mu firimu. Stargate gubeera mukutu omutwala n’okufulumnya abantu okuva mu nsi emu okutuuka mu nsi endala.

Ekyokulabirako, okuyita mu mukutu gwa Stargate, dayimooni n’emyoyo gy’ekizikiza bisobola okuyitamu okuyingira mu nsi n’okufuluma nga bwe zaagala.

OWA OPEN AI ALABUDDE: Sam Altman omusajja akulira Open Atificial Intelligence (Open AI) egenda okukulembera pulaani eno eya Stargate yagambye nti: “Abantu bonna baalina olukimanya nti bwe tunamala okuzimba AI, egenda kukyuusa obulamu bw’abantu bonna. Engeri embeera z’abantu gye zirimu tugenda kugikyuusa, n’abantu tubakyuuse.”

Kati mwenna abaludde nga musoma Amazima Agakawa mukimanyi nti Sam Altman ssi y’asoose okwogera ebigambo bino.

Omwami Yuval Noah Harari yabyogera bwe bagamba nti, “Ekiseera ky’okugamba nti omuntu alina omwoyo (Soul) n’emmeeme (Spirit) oba nti asobola okwesalirawo (Free will) kubanga ye yekka amanyi kiki ky’alowooza era ekiri mu mubiri gwe bigenda kuggwaawo.”

Kyokka n’akulira World Economic Forum (WEF) Klaus Schwab naye n’ayogera ekintu kye kimu bwe yagamba nti, ““ ‘4th Industrial Revolution’ tegenda kukyusa ky’okola wabula EGENDA KUKYUSA GGWE. Ekyokulabirako, singa tunaakyusa obutonde bwo (Genetic Editing) tujja kubeera nga tukyusizza gwe (ng’omuntu). Oyo yenna gwe tunaaba tukikoze (okukyusa obutonde bwe) agenda kubeera ng’akyukidde ddala mu nkula ne mu mbala ye (Identity).”

Teyakoma awo, n’abiteeka ne mu katabo ke “The 4th Industrial Revolution”.

TRUMP AGEZAAKO KUZIMBA “BEAST SYSTEM”: Omusawo Omumerika Dr. Jane Ruby yagambye nti, “Munzikirize mbabuulire Amazima, naddala mwe abalwaawo okukwata n’okulowooza, Donald Trump ali mu kuzimba ‘Beast System’.”

Nze sikiririza mu bye bali mu kuzimba okulondoola abantu n’okubakyuusa. Wabula tulina okumanya nti bali mu kuzimba mpazi (Pillars) za Beast System era ze zino; MRNA Vaccines, Central Bank Digital Currency (CBDC), Digital Identy Cards (Digital ID), Smart Cities (Ebibuga bye balondoola ne camera n’emmotoka eziriko nnamba puleeti za digito) ne Biometric Boarders.”

Ate omuwandiisi omulala eyeeyise Sir Esconor bwe yabadde ayongereza ku bigam bo bya Dr. Jane Ruby yagambye nti, “Gano ge mazima abantu ge balina okumanya, Beast System egenda klubeeramu ebintu bino wamanga; MRNA Vaccines, CBDC, Digital ID, Smart Cities ne Biometric Boarders. Kati abantu abalowooza nti Trump mulungi mulina okukimanya nti ali mu kusima musingi gwa Beast System. Kino kitegeeza nti akolera Sitaani. Lwaki ngamba nti akolera sitaani, kubanga ali mu kumuzimbira Namulondo (Throne). Era Omusingi Trump gw’ali mu kuzimba abala kwe bagenda okwongereza.”

OMWANA WA OMUTONZI OLINA KUKOLA KI? Kye tubagamba bulojjo kye tugenda okuddamu okubagamba, Omutonzi ayagala tuddeyo ku kigambo kye.

Eyagala tuddeyo ku mateeka ge, ebiragiro bye n’okulamula kwe era tuddeyo ku mbaga ze ne sabiiti ze zonna tuzikwate nga bwe yalagira.

Bwe tunaddayo gy’ali, yateekateeka dda engeri gy’agenda okutasaamu abaana be mu kiseera nga Artificial Intelligence (AI) ewambye ensi.

Nkimanyi oli ayinza okubuuza, ‘Naye agenda kututaasa atya?’, okuddamu kuli kumu, ekyo tukimulekere. Tukola by’ayagala.

Kubanga yagamba mu 2 Ebyomumirembe/2 Chronicles 7:14, ” 14 abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.”

Ebigambo bino bitegeeza ki; ‘okwetowaza, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu’?

Okukola ebintu ebyo kwe kuddayo ku mateeka ge, ebiragiro bye n’okulamula kwe era tuddeyo ku mbaga ze ne sabiiti ze zonna tuzikwate nga bwe yalagira.

Ekyo kye bayita okulondawo obulamu.

LWAKI OBUYAMBI ERI AMAWANGA AMALALA BAABUSAZEEKO: Ekisinga okwewuunyisa abantu abamu kye batetegereza kye kiragiro ekirala (Executive Order) Trump kye yataddeko omukono ekiyimiriza okugabira ensi endala obuyambi okumala emyeezi 3 (ennaku 90).

Waliwo ensonga lwaki Amerika egenda kusumulula ssente nyingi okuziteeka mu Articial Intelligence, ate ne bayimiriza obuyambi eri amawanga kumpi gonna.

Kati oyinza okubuuza lwaki? Okuddamu kuli kumu, kubanga obuyambi obwo eri amawanga baagala kubukomyaawo naye nga buliko akakwakkulizo k’okutumbula Artificial Intelligence (AI).

Amawanga agabadde gafuna obuyambi okuyita mu United States Agency for International Development (USAID), agasinga bagenda kuddamu okugawa obuyambi, wabula obuyambi buno bagenda kubagamba nti balina okukkiriza okuteeka mu nkola pulaani za Artificial Intelligence zonna ng’akakwakkulizo okubawa obuyambi.

Share This Article