New World Order: Weetegese okufuna endagamuntu ekufuula ‘Global Citizen’?

Ekiwaandiiko kino kigamba nti, "eno ye pulaani egenda okugobererwa okufuga ensi ng'egoberera enkola ya Digital. Buli muntu alina okubeera n'endagamuntu eri Digital (Biometric Digital ID). Biometric Digital ID (BD ID) eno y'egenda okumufuula omutuuze w'ensi yonna."

Editor Ono Bwino
11 Min Read
      • Yiino endagaano ‘Pact for the Future’ egenda okuteeka gwe n’abaana bo mu mikono gya Artificial Intelligence!
      • Lwaki buli agaana Biometric Digital ID tagenda kugula oba kutunda…

Emboozi eno nga tonagisoma, sooka osome emboozi eya okutemamu ensi ebitundu 10 kubanga eno kitundu kjyyakubiri (Part 2) ey’emboozi eyo.

Mu mwaka gwa 2022, twabaleetera emboozi ya Pandemic Treaty.

BIKI EBYALI MU ‘PANDEMIC TREATY’: “The Pandemic Treaty” yali ndagaano eyali egen da okuwa World Health Organisation (WHO) obuyinza obwenkomeredde, obusinga n’obwa gavumenti yonna ey’ensi, singa ekirwadde kyonna kibalukawo mu nsi yonna nga bwe mwalaba Covid-19.

Mu kiwandiiko kino, WHO yasaba bagiwe obuyinza obw’enkomeredde ku ndwadde nga singa wabeerawo ekirwadde ekirumbye ensi, amateeka g’amawanga ag’enjawulo gabeera tegakyakola, ng’amateeka ga WHO gokka ge gakola era nga buli muntu alina kugoberera biragiro byaabwe.

Bano era baali baagala baweebwe obuyinza obuwa zi gavumenti ebiragiro ku nsonga z’ebyobulamu.

Eky’okulabirako, singa ekirwadde kirimba ensi (nga Covid19), WHO n’eyisa ekiragiro nti buli muntu bamukube eddagala oba nga bataddewo enkola egobererwa, buli muntu alina kugoberera nkola ya WHO.

Mu ndagaano eno, WHO yali teyeetaaga kusaba gavumenti yonna lukusa okuteeka mu nkola ebigendererwa byaabwe.

BAALI BAAGALA BYONNA OKUBIKOLA WAKATI WA 2022 NE 2030: Ensi yonna erimu amawanga 195, wabula ku mawanga gano, amawanga 193 bamemba ba WHO (Ate era bammemba ba United Nations – UN).

Okuteesa ku ‘pandemic Treaty’ kwatandika Omwezi oguwedde nga March 3, 2022. Wabula olw’okutya okuzibula abantu amaaso, bagaana amawulire agamaanyi okukyogerako ennyo ne babagamba basigale nga babuzabuza abantu n’olutalo lwa Russia ne Ukraine (Wabula ffe twabibagamba byonna).

Mu World Health Assembly eyatuula mu 2023, bakuba akalulu okuyisa “Pandemic Treaty”. Ku mawanga 193 agali mu WHO baali baagalako amawanga bibiri bya kusatu (2/3). Gano ge mawanga nga 129 ekiwandiiko kya “Pandemic Treaty” okuyita.

Okusinzira ku kibalo kyaabwe, baali baagala omwaka bwe gunaatuukira 2024 nga buli ggwanga litandise okuteeka mu nkola ebigendererwa bya “Pandemic Treaty” eno ewa WHO obuyinza obw’enkomeredde ku buli muntu mu nsi yonna na buli gavumenti.

ABANTU BATABUKA ERA BEEKUBIRA ENDUULU: Olwokuba abantu abawerako oluvannyuma bafuna ekiwandiko ky’ekiteeso kino, batandika okukikubamu ebituli, nga bagamba nti aba Brotherhood (Abasajja n’abakazi abafuga ensi ku biragiro by’amaanyi g’ekizikiza) baagala kutta bantu na kubatwala mu buwambe nga beekwese mu Pandemic Treaty ya WHO.

Mujjukire bagenda okupanga okuleeta Pandemic Treaty nga twakava mu Covid 19. Kati ate eddagala lya Covid19 lyayisa bubi nnyo abantu mu nsi yonna. Abantu ne bafa ekibwatukira (Sudden Death). Kati buli eyali asoma Pandemic Treaty ng’ajjukira Covid19 ne bye baleeta mu kulwanyisa Covid19.

Abantu balabula nti olaba abantu baafa nga WHO terina buyinza, kati ate bwe banagiwa obuyinza obwenkomeredde (kubanga Pandemic Treaty kye yali esaba).

Amangu ddala, aba WHO ekiwandiiko kya Pandemic Treaty bakiggya mu bantu (Public Domain). Batuula wansi ne bateesa okukikyuusaamu nga tekibalabisa nnyo.

KATI BALEETA ‘PACT FOR THE FUTURE’: Baddamu okutuula ne bateesa nti mukifo ky’okukiteeka wansi wa World Health Organisation (WHO), bakiteeke wansi wa United Nations (UN).

Bateesa nti mu UN, bakiteeke wansi wa enteekateeka ya United Nations eya Sustainable Development Goals (SDGs) eza agenda 2030 eya New World Order.

Bano bateesa nti amawanga agasinga gatandika dda okuteeka mu nkola SDGs, kati singa Pandemic Treaty bagikyuusa ne bagiteeka wansi wa UN SDGs, kigenda kubanguyira.

Era woosomera bino nga bakikyuusizza ne bakituuma “The Pact For the Future”.

‘PACT FOR THE FUTURE’ KYE KI? Okusinziira ku musawo Dr. Sherri Tenpenny ow’omuggwanga lya Amerika, ‘Pact for the Future’, y’enkola egenda okugobererwa amawanga gonna agali wansi wa United Nations okulaba nga ebiseera by’ensi eby’omumaaso bibeera birungi (bwe bagamba).

Dr. Sherri Tenpenny agamba nti baagala okulaba nga buli ekyonoonye ensi, era ekibonyaabonya abantu b’ensi nga: Obulwadde, embeera y’obudde, entalo, enjala, obwavu, obutabanguko babinogera eddagala.

Naye eddagala lye balabye erisinga, ligenda kubeera Artificial Intelligence (AI)

BIKI EBIRI MU ‘PACT FOR THE FUTURE’: Ekiwandiiko kino ekya “Pact for the Future” document bagitemyeemu ebitundu bibiri ebikulu.

Ekitundu ekisooka bagamba nti bwe babeera ba kuteekateeka biseera bya mu maaso eby’ensi ebirungi;

1. Balina okukozesa Science ne Technology
2. Balina okuteeka ennyo esiira ku bavubuka n’omulembe oguddako.

Dr. Sherri Tenpenny ayogerako nti, “Kati bwe babadde bayisa ekiwandiiko kino mu United Nations (Omwaka oguwedde), bakozesezza enkola gye bakazaako erya “The Silent Procedure”. Mu nkola eno, baleeta ekiwandiiko okutesebwaako amawanga ga UN mu lukiiko. Wabula singa tewabeerawo awakanya biri mu kiwandiiko ekyo, oba babikkiriza, ekiwandiiko kiyita. (Kitegeeza nti buli muntu akkiriza kubanga tewali akigaanye, ate tewali akikiriza). Era kitegeeza nti buli ggwanga eriri wansi wa UN lirina okuteeka mu nkola ebiragiro n’amateeka agali mu kiwandiiko ekyo.”

Ekiwandiko kino kirimu omukono gwa World Health Organisation kubanga tebaasobola kuyisa kiwandiiko kyaabwe ekyasooka (Pandemic Treaty). Wabula abantu kye balina okumanya nti ebiri mu kiwandiiko kino ate bibi nnyo okusinga ebyali mu kiwandiiko kya World Health Organisation. Njagala okulaga ebimu ku biteeso n’ebiragiro ebiri munda mu kiwandiiko kino ‘Pact fot the Future’ ekyakkiriziddwa amawanga 193 ag’ensi.

Kigamba nti, “eno ye pulaani egenda okugobererwa okufuga ensi ng’egoberera enkola ya Digital. Buli muntu alina okubeera n’endagamuntu eri Digital (Biometric Digital ID). Biometric Digital ID (BD ID) eno y’egenda okumufuula omutuuze w’ensi yonna.”

OMUWANDIISI: Gwe munnayuganda kino ky’ategeeza, Biometric Digital ID tegenda kukufuula mutuuze wa Uganda, egenda kukufuula mutuuze wa nsi yonna (A Global Citizen).

Kye bagezaako okukola kye kino, baagala kuggyawo bino nti ndi Munnayuganda, buli muntu afuuke wa nsi yonna (Global Citizen). Muddeyo ku Mboozi esooka eya maapu y’ensi yonna.

Y’ensonga lwaki mulaba nti baagala kugatta mawanga gonna 195, gabeere wansi w’ebintundu 10 byokka. Nga tewakyali; Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, Nigeria, Ghana; wabula ng’omuntu yenna ali mu mawanga ago, obeera Global Citizen, wansi wa African Union, era nga endagamuntu olina ya African Union.

ABAGYEEMU BAGENDA KUBABAONEREZA: Dr. Sherri Tenpenny ayongerako nti, “Buli bw’owulira ebigambo bino ‘Global Citizen’ oba Sistanable Development’ gwe manya ebitongole ebiri emabega w’enteekateeka eyo ye WHO ne UN. Mu kiwandiiko kino bagenda mu maaso ne balabula nti omuntu yenna mu nsi anawakanya ebiri mu kiwandiiko kino bagenda kumuteekako omusango gw’okusasanya obulimba (Misinformation). Era omuntu yenna anayogerera obubi enteekateeka eno oba n’agezaako okugiremesa bagenda kumubonerza. Era ng’agenda okumubonereza ssi mulala wabula “SYSTEM” y’egenda okumubonereza. (Ndowooza fenna tumanyi kati nti ekigambo System kitambula n’ekigambo ‘Beast’. Kitegeeza bali mu kukugamba nti bw’onogezaako okuwakanya ekiteeso kyonna ekiri mu Pact for the Future, Beast System y’egenda okukubonereza).

ARTIFICIAL INTELLIGENCE Y’ENGENDA OKUBONEREZA ABAZZA EMISANGO MU ‘BEAST SYSTEM’:
Dr. Sherri Tenpenny agamba nti, “Bagamba nti System egenda okubonereza abantu emanyiddwa nga Artificial Intelligence (AI) era singa okola omusango gwonna, jukira ogenda kubeera Global Citizen’, AI egenda kusiba ssente zo zonna n’enyenfuna nga tosobola kutunda wadde okugula ekintu kyonna.”

ENSONGA LWAKI BULI KINTU BAAGALA KIGENDE DIGITAL: Ensonga enkulu lwaki buli kintu baagala kifuuke kya ‘Digital’ eri nti baagala ‘Artificial Intelligence’ (AI) y’ebeera efuga obulamu bwa buli muntu.

Eno y’ensonga lwaki twabagamba dda nti ssente z’empapula bagenda kuziggyawo. Buli muntu bagenda kumuwa ennamba ‘Biometric Digital ID’ (BD ID), era ennamba y’agenda okubeera gwe.

Nga buli kimu ky’oli era ky’olina kiri ku nnamba eyo. Ssente zo zonna, by’ogula ne by’otunda byonna, abaana b’olina n’abakyala, ettaka n’amayumba by’olina n’ebikukwatako byonna bagenda kubiteeka ku ‘Biometric Digital’ ID (BD ID).

Nga singa ojeemera ‘System’ mu ngeri yonna, ennamba yo bagisiba, kitegeeza obulamu bwo bwonna babeera babusibye nga togula, totunda, tosobola kusomesa baana, tosobola kuva waka, tosobola kufuna bujanjabi mu dwaaliro lyonna kubanga ‘System’ eri mu kukubonereza.

Ndowooza mulaba Okubikkulirwa/Revelation 13:16-17 bw’egenda okutuukirira nga tulaba.

MUZUUKUKE ENSI EGENDA MU MAASO: Kyannaku nnyo nti, ng’abaana b’ekizikiza (Sons of Darkeness) bali mu kweteekateka okutwala ensi yonna mu busibe.

Abantu ba bulijjo babateerawo ebibatwala ebirowoozo. Abavubuka abandibadde batuula wansi ne balowooza ku biseera by’omumaaso, bali mu: Nkuuka, ebinyumo nga zi loonki z’abayimbi, bali mu kuzina na kuyimba na kuzina Kinawolovu, bali mu Man Utd yakubye Arsenal, bali mu by’obufuzi eby’enjawukana.

Ediini ezandibuulidde abantu amazima, ziri mu byamagero, ziri mu ogenda kubeera bulungi mu nsi eno. Bali mu kulimba ndiga, mukifo ky’okuziteekateeka.

Kyokka bino byonna biri wansi wa “Bread and Circus” omulabe bye yateekawo okulemesa abantu okuyingira Obwakabaka bwa Omutonzi.

Ekyewuunyisa, Omulabe ye ali mu kweteekateeka, era agenda mu maaso okulaba nga obudde Omutonzi bw’amuwadde abukozesa bulungi, NAYE MWE ABANTU MUGAANYI.

Agenda kutta abaana bammwe n’abazukkulu nga tewali ataasa kubanga mwagaana okudda eri Omutonzi. Bwe yabawa ekiseera eky’okwetekateka, mwagaana okukikozesa.

Mwe abaana ba Kitaffe ali mu Ggulu, mbasaba ekintu kimu, bino byonna tebibatiisa, nga bwe twabagamba wiiki ewedde, Omutonzi agenda kutaasa abaana be. Kati gwe fuba okulaba nga ogondera Kitaffe ali mu ggulu by’atulagira.

Tuddeyo ku mateeka ge, ebiragiro bye, sabiiti ze, embaga ze n’okulamula kwe.

Abo bokka abazeeyo ku biragiro bye b’agenda okutaasa ng’abateekako envumbo (Seal) y’akabonero ke.

Sitaani ayonoonye omulembe oguddako ne ‘Bread and Circus’ (Emmere n’ebinyumo). Tebakyafaayo ku bintu ebikola amakulu, obwongo babumalidde ku bintu ebitalina makulu ebibakyamula. Kibi nnyo.

Tweteeketeeke era tuteeketeeke abaana baffe bulungi.

Share This Article