OMULANGIRA David Kintu Wassajja muto wa Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi, alagidde abantu mu Buganda okwewala bannabyabufuzi abasaasaanya obulimba ku Obwakabaka nga bwe butaagaliza abamu ku bo okutuuka ku buwanguzi mu byobufuzi bw’eggwanga lyonna.
Bino Wasajja yabyogeredde ku mukolo gw’okwabya olumbe lw’omugenzi Dr. Paul Kawanga Ssemogerere eyaliko pulezidenti wa DP, n’ateg eeza nti ebbanga lyonna omugenzi lye yabeerera mu byobufuzi takwatangako kazindaalo n’ategeeza nga Buganda bweyalemesa omugenzi Ben Kiwanuka eyaliko pulezidenti wa DP okulya Obwapulezidenti nga bannabyabufuzi abaliwo kati bwe basaasaanya.
Ono yawaanye nyo Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago gweyayogeddeko ng’omusajja azannya ebyobufuzi ebyakisajja kikulu omutali kukola buvuyo, abaabadde ku lumbe wano baatandise okwekuba obwama nga balumiriza nti obubaka Omulangira yabadde abusindikira Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) pulezidenti wa NUP.
KITUUFU MENGO TEYAGALIZA BOBI?
Bobi Wine enfunda nyingi azze alumiriza nti obukulembeze obuli e Mengo tebumwagaliza kutwala Ntebe ya ggwanga nga nti musajja Muganda ng’eno y’ensonga lwaki tebaagala kumukyaza ku mikutu gy’amawulire egy’Obwakabaka okuli CBS leediyo ne BBS kyokka ng’abamwogerera amafuukuule nga Owek. Mathias Mpuuga ne Abed Bwanika basiiba ku CBS! Abawagize ba Bobi Wine bwe baafunza Meddie Nsereko Ssebulimba omu ku bakubiriza pulogulaamu z’ebyobufuzi ku CBS, yeekwasa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nti y’alina okubuuzibwa ensonga ezo.
MP wa Mukono Municipality Betty Nambooze Bakireke yakakasa dda nti ddala Bobi Wine byakola byonna bifaananira ddala eby’omugenzi Kiwanuka eyattibwa gavumenti ya Idi Amin n’omulambo gwe ne gubuzibwawo nga tewali amanyi gye yaziikibwa ekintu kamisona wa palamenti Mpuuga Nsamba kyeyawakanya n’anyonyola nti Kiwanuka eby’obufuzi bye tebyali bya bakapere ng’abamwegeraageranyako bye bazanya.
Guno si gwe mulundi ogusoose nga Wasajja atabuka ku ky’okulumiriza abakulu e Mengo okubeera n’obukyayi ku Kiwanuka, mu kakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akaali kanonyereza ku mivuyo gy’ettaka, omugenzi Muhammad Kasasa Buwule yalumiriza nti Wasajja amulwanyisa ku ttaka ly’e Mutungo kitaabwe Ssekabaka Edward Walugembe Mutesa lyeyatunda ng’ali mu buwang’anguse e Bungereza mu 1967 okusobola okufuna ssente ez’okumubeezaawo olw’okuba Kiwanuka ye yali looya eyakola endagaano y’obutunzi n’obuguzi ku ttaka ly’e Mutungo nga bakakasa nti kino kyali tekisoboka.
WASAJJA ATABUKIRA OMUGAGGA KASASA
Wasajja obujulizi bwa Kasasa yabuyita bwakwekwasa okuggusa obufere bwe n’ategeeza nga Mengo bwetalina mbiranye yonna ku mugenzi Kiwanuka, wabula minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr Sam Mayanja akakasa nti Mengo ye yalemesa Kiwanuka okulya obwapulezidenti mu 1962 bweyakola omukago n’omugenzi Dr Milton Obote eyali akulira UPC okulemesa DP ya Kiwanuka.
DDALA BOBI WINE ANAASIMATTUKA EKIKONO KYA WASAJJA?
Bobi Wine obumu ku buvunanyizibwa bweyatisse omumyuka we omupya atwala Buganda era MP wa Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi kwekulaba ng’atereeza ekifaananyi kya NUP ewa Kabaka ne mu bakulu e Mengo.
Bobi yategeezezza nti ayagala okumalawo ekifaananyi ekyamuteekebwako ng’omuntu ne NUP nti balwanyisa Obwakabaka n’alumiriza nti abakikola ate be batayagala Bwakabaka nga y’ensonga lwaki mukwano gwabwe omuyimbi Patrick Mulwana (Alien Skin) yatwala abayaaye ku mukolo gw’enkuuka nga bamanyi bulungi nti Kabaka kwali ne bakolerako effujjo ne baleeta bakifeesi ne bakuba abantu ba Ssaabasajja.
Bobi Wine akkiriza nti omulimu ogwo Kivumbi alina obusobozi okuguggusa ekintu Robert Mayanja omutunuulizi w’ebyobufuzi era omuyambi wa Dr Kizza Besigye naye ky’akkiriza.
Mayanja ategeezezza ONO BWINO nti Kivumbi okubeera nga yayita mu kibiina kya Nkobazambogo, okutendekebwa abakulembeze ng’omugenzi Ssemogerere, asobola okumatiza Mayiga n’Obwakabaka ku nsonga za Bobi Wine.
BOBI ALINA OKUKKIRIZA NTI MAYIGA YAMUYIIRAWO OMUBIRI
Ono anyonyodde nti Bobi Wine alina okukkiriza nti Mayiga yalina ettoffaali ku buwanguzi bwa NUP mu Buganda olw’ebigambo byeyakozesanga mu kiseera ky’akalulu; gamba ng’okukubiriza abantu okunoga Emmwanyi Emmyufu zokka nti ze zirimu omulamwa ng’eza kyenvu bibeera birerya, abasinga kino baakitaputa ng’eyali ategeeza nti langi emmyufu eya NUP y’erimu omulamwa ng’eyakyenvu eya NRM kirerya etalina makulu.
Mayanja asabye Kivumbi okulwana enyo okulaba nga Buganda eyingira mu kalulu ng’eri wamu nga kino okukikola alina okwogerezeganya n’abantu nga Mpuuga bwe baafuna obutakanya n’obukulembeze bwa NUP n’anyonyola nti obusonga obwabaawula bwali butono nyo basobola okubugonjoola.
KIVUMBI AGENDA KUVUYA-OWA NRM
Wabula munnamawulire Ahmed Kateregga Musaazi era RDC w’e Butambala akakasizza ONO BWINO nti obuvunanyizibwa obwaweereddwa Kivumbi tagenda kubusobola n’anyonyola nti abakulu e Mengo abasinga bamulaba ng’omuli w’enkwe eyavaako okulwanagana wakati wa Mpuuga ne Bobi Wine bweyatwala olugambo nti bamuwadde ssente obukadde 500 ng’akasiimo olw’okukolagana obulungi ne gavumenti ya Museveni ng’akyakulira oludda oluvuganya.
Ono atubuulidde nti Mengo yalina essuubi ddene nyo mu Mpuuga ng’erowooza nti agenda kukulemberamu bannabyabufuzi banne bwe baali mu mukago gwa Ssuubi okwali Nambooze, Lukwago, Kivumbi, Medard Lubega Sseggona, Moses Kasibante n’abalala nga bakwanaganyizibwa eyaliko Katikkiro wa Buganda Owek. Joseph Mulwanyamuli okuggusa ensonga za Buganda ekitasoboka olwa Bobi Wine okujja mu byobufuzi n’aguyuzaamu nga bakakasa nti okutuukiriza kino Kivumbi y’amuyambako.
Ono awagiddwa Mubiru Njuki omutunuulizi w’ebyobufuzi atubuulidde nti Mengo tesobola kukkiriza Bobi Wine kufuna ttutumu ly’amaanyi ng’etya nti ayinza okutwala ekifo kya Kabaka nga y’alagira Abaganda eky’okukola ng’eno y’ensonga yenyini lwaki Ssekabaka Mutesa yalwanyisa Kiwanuka.
Njuki ayongeddeko nti Mengo emaze ekiseera ng’enyweza emiranda gyayo okuviira ddala ku byalo ng’eteekayo abaami ba Kabaka nga bano be bagenda okukozesa okuggusa ddiiru zaabwe ez’ebyobufuzi.
MENGO EFUNIRAMU WA
Mayanja asabye Mayiga okuwuliriza Kivumbi bw’abeera agenzeeyo n’ategeeza nti akazito Bobi Wine kaagenda okuteeka ku Museveni mu byobufuzi n’Obwakabaka kabuyamba, basobola okukakozesa okuteeka Museveni ku kisenge ne bamusesemya ebintu bya Buganda by’ebanja ebikyasigadde mu gavumenti ya wakati.
Ensonda e Mengo zitubuulidde nti Mayiga talina buzibu kusisinkana Kivumbi wabula agenda kumwatulira nti mukamawe Bobi Wine yatomera Museveni bweyamusindikamu abantu be ne bamutomeza n’Obwakabaka okusobola okubunafuya nga ye takimanyi ng’alowooza nti afuna buganzi mu byobufuzi.
BABIYINGIZZAAMU OMULANGIRA NAKIBINGE OW’E KIBULI
Bobi yalagidde Kivumbi agende amatize jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr Kassim Nakibinge Kakungulu abawagire n’okumalawo obutakkaanya bwe balina mu kiseera kino.
Ensonda zitubuulidde nti Omulangira yanyigira nyo Bobi bweyagaana okukwata essimu ze mu kiseera weyagobera Mpuuga ku kifo ky’okukulira oludda oluvuganya mu palamenti.
Bobi teyagaana kukwata masimu g’Omulangira, wabula n’agabakulu mu Ekereziya Mpuuga gyeyali addukidde okumutaasa obutamugoba mu kafo akasava wabula ensonga y’okutabagana ne Ekereziya Bobi Wine ategeezezza nti yo agenda kugyekolerako.
Abatunuulira ebyobufuzi mu Buganda batubuulidde nti famire y’Omulangira Nakibinge ya nkizo nyo kw’awangula akalulu mu Buganda ng’eno y’ensonga lwaki Museveni bweyali agenda mu nsiko yalwana nyo okusisinkana omugenzi Badru Kakungulu taata wa Nakibinge amuwagire.
Musevensi bweyava mu nsiko era yalwana nyo okunyweza omukwano ne famire y’Omulangira, ku ntandikwa y’omwaka guno bweyafiiriddwa maamawe, Museveni yenyini ye yeewandiikidde obubaka bw’okusaasira bweyaweerezza Nakibinge.
Ensonda zongeddeko nti Museveni akimanyi nti mu kalulu ka 2021, Nakibinge n’abe Mengo baawagira Bobi Wine nga mu kiseera kino alwana nyo obutabaawo mu 2026.
BOBI WINE BY’AFIIRWA MU DDIIRU ENO
Mayanja ayongeddeko nti Bobi Wine mu kutabagana kuno, alina okukkiriza nti alina byagenda okufunamu n’okufiirwa ng’ebimu ku byo kwekumulagira obutasimba bantu kwabo abawagirwa Mengo ne Kibuli.
Ono atukakasizza nti wano Omuloodi Lukwago, Mpuuga, Sseggona, Shamim Malende omubaka omukyala owa Kampala webayinza okusimattukira.


