OMUMYUKA w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire, akakasizza ONO BWINO nti bakkomando abeegattira mu kitongole ky’eggwanga ekya JATT ekyateekebwawo okukwata n’okulwanyisa abatujju ab’omutawaana abali ku mutendera gw’ensi yonna, abaalabiddwako mu bitundu by’e Kawempe nga balwanagana n’abawagizi ba munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola eyeesimbyewo okuvuganya mu kalulu k’okujjuza ekifo ekyalimu Muhammad Ssegirinya ng’omubaka wa Kawempe North tebagenda kudda mu bbaalakisi okutuusa ng’akalulu kawedde okukubwa.
LWAKI BAALEESE BAKKOMANDO B’OBUKOOKOLO E KAWEMPE
Akalulu kano, kasuubirwa okubaawo nga 13 March 2025. Owoyesigyire ategeezezza nga bakkomando okutwalibwa mu Kawempe, ebitongole bya securite byabadde bikolera ku lipooti ezaakoleddwa ebitongole by’eggwanga ebikessi nga ziraga nti waliwo obubinja bwa bannabyabufuzi n’abavubuka abategese okulemesa kampeyini mu Kawempe North n’okukola effujjo ekintu kyebatasobola kukkiriza bo ng’abavunanyizibwa ku byokwerinda by’eggwanga lyonna.
Wabula Ibrahim Ssemujju Nganda omubaka wa Kira Municipality alumiriza nti okutwala bakkomando mu kalulu k’e Kawempe North, yeenteekateeka empanvu gavumenti ya pulezidenti Museveni okukozesa ebitongole bya securite okusalawo akalulu ka 2026 n’alumiriza nti embeera eyabadde e Kawempe nga Nalukoola ne bannamawulire nga bakubwa emiggo tegenda kudda mabega.
AKALULU KA 2026 KAGENDA KUBEERA KA MUSAAYI
Ono ategeezezza nti embeera y’akalulu ka 2026 egenda kubeera nzibu nyo nga y’ensonga lwaki bakkomando be baaleese okukwasisa empisa, bonna bambala obukookoolo okukweka ffeesi zaabwe abantu be bakolako effujjo baleme kubeetegereza nga tebaagala ebyaliwo mu 2021 biddemu nga ab’oludda oluvuganya balaga amannya n’obwenyi bwa aba securite abakola ebikolobero nga babakuba n’ebifaananyi ne babisaasaanya ekyaleetera amawanga g’Abazungu nga America, Bungereza n’ageegattira mu mukago gwa Bulaaya okubateekako nnatti n’okuwamba eby’obugagga byabwe nga babalumiriza okutyoboola eddembe lya Bannayuganda.
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ye yasooka okwemulugunya ku bassecurite abayiibwa ku kitebe ky’ekibiina kye e Makerere- Kavule ne ku ttendekero lyabwe e Kamwokya nga bonna bambadde obukookolo n’alumiriza nti kino aba securite bakikola obutamanyibwa nga bamaze okukola ku bannayuganda ebikolobero.
Bino we bijjidde ng’akulira ekitongole kya Uganda Communication Commission (UCC) ekivunanyizibwa ku biweerezebwa ku mikutu gy’amawulire Nyombi Thembo yaakasisinkana bannannyini mikuttu gy’amawulire okwetolola eggwanga lyonna ku ofiisi ye e Bugoloobi mu Kampala, n’abalabula okubeera abeegendereza ku bifulumira ku mikutu gyabwe egy’amawulire beewale okusiga obukyayi n’okusosola mu mawanga ng’alumiriza nti kino kiyinza okutabangula emirembe gy’eggwanga naddala mu kaseera kano ng’eggwanga lyolekedde akalulu ka 2026.
Mu lukung’aana luno, minisita omubeezi ow’abavubuka n’abaana Balaam Bagaruhare yasomedde abakulu bannanyini mikutu ekiwandiiko ekyamuweereddwa Gen Muhoozi Kainerugaba ng’abalabula okubeera abeegendereza n’okukakasa nti ebifulumira mu mawulire gaabwe tebitabangula mirembe gya ggwanga nga kino okukinyweza abakulira ebitongole by’amawulire n’abakung’aanya baakutwalibwa e Kyankwanzi ku ttendekero ly’ebyobufuzi erya gavumenti okusomesebwa mwoyo gwa ggwanga.
M7 ATIISATIISA BANNAMAWULIRE?
Ssemujju ayongeddeko nti Museveni okutwala bannamawulire e Kyankwanzi, agezaako okubatiiisatisa obutawandiika ku bikolobero basajjabe mu securite bye bakola ku Bannayuganda nga bwe biwandiikibwako eggwanga wabweru liswala wabula ono anyonyodde nti Museveni ne bwanaatwala bannamawulire e Kyankwanzi bannayuganda bagenda kugenda nga bawa endowooza zaabwe n’okulaga ebikolobero ebikolebwa nga bayitira ku mikutu gya yintanenti gavumenti gy’etalinaako nnyo buyinza.
EBYEWUNYISA KU BAKKOMANDO BA JATT ABALEESE ENSASAGGE
Palamenti bweyali ekola etteeka erirwanyisa obutujju mu ggwanga erya Anti- Counter Terrorism Act mu 2002, yateekawo ekitongole kya Joint Anti-Terrorism Task Force (JATT) ng’omulimu gwakyo gwakulwanyisa bikolwa bya butujju okwetoloola eggwanga lyonna.
JATT mwe bateeka bakkomando abasinga obukugu mu kulwanyisa obutujju nga baggyibwa mu bitongole okuli ekirwanyisa obutujju mu poliisi ekya Anti-Terrorism Police, eky’amagye ekikessi ekya Defense Intelligence and Security (DIS) edda ekyali kimanyiddwa nga CMI, ekya Special Forces Command (SFC), ekya Internal Security Organisation (ISO), ekya Crime Interagency (CI) -nga ky’ekiketta obuzzi bw’emisango mu poliisi n’ekya External Security Organisation (ESO) n’ebirala.
JATT ekitebe kyabwe ekikulu kisangibwa Naguru mu Kampala, mu kiseera kino kiduumirwa Brig DB Twesigomwe eyadda mu kifo kya Brig Jeff Mukasa eyagobwa ku biteeberezebwa nti mwalimu okuduumira ebikwekweto by’okuwamba abantu mu biseera by’akalulu ka 2021 nga bakama be tebategeezeddwako.
JATT yakola nyo okulwanyisa obutujju bw’okutega bbomu mu bifo by’olukale nga ppaaka za taxi, bbaasi n’ebifo omukung’aanira enyo abantu abangi wakati wa 2000 okutuuka kati, nga securite erumiriza nti ebikolwa bino abatujju ba Allied Democratic Forces(ADF) be babiri emabega.
JATT YATAASA NNYO MUZEEYI
Ensonda zitubuulidde nti mu 2021, JATT yayamba nyo okutaasa emirembe obutatabanguka nga yakwata n’okusiba abo bonna pulezidenti Museveni beyalumiriza nti baali baagala okukozesa akalulu ka 2021 okutabangula emirembe nga n’abamu baali bavudde wabweru wa ggwanga.
LWAKI OBUNKENKE BUTANDISE KATI
Ensonda mu securite zitubuulidde nti ebikwekweto okutandika okukolebwa kati omuli n’okulumba ebitebe by’ebibiina by’ebyobufuzi nga NUP, tebadde nsobi wabula bakolera ku mawulire g’ekikessi agabaweereddwa ebitongole by’eggwanga ebikeesi ku bantu abaagala okutabangula eggwanga.
Bano balumiriza NUP n’obukulembeze bwayo okubeera n’ekigendererwa ky’okutabangula eggwanga nga bakozesa akalulu ka 2026 ng’emmanduso nga y’ensonga lwaki pulezidenti waabwe Bobi Wine akalulu kano yakalangirira nga ak’okwekalakaasa mu Luzungu ke yayita ‘Protest Vote’.
Bambega balumiriza nti Bobi Wine okulangirira ‘protest Vote’ nga mukulu we Fred Nyanzi Ssentamu akulira okukunga obuwagizi mu NUP gweyakwasa obuvunaanyizibwa bw’okuwandiisa abavubuka abapya ab’okutuukiriza pulaani ye mu kalulu ng’amaze okumukakasa nti omuwendo gwe baagala baali baguwezezza.
Bano bategeezezza nti Nyanzi abavubuka yabawandiisa ng’akozesa nkola ya Kkunga ng’abagikulira mu bitundu ebyenjawulo beyakwasa obuvunaanyizibwa obwo nga bakozesa emmotoka Bobi Wine zeyabawa okutalaaga ebyalo nga bakola emirimu gy’ekibiina.
LWAKI BOBI AWANDIISA BA ‘FOOT SOLDIERS’ ABAPYA
Ensonda zitubuulidde nti Bobi Wine okuwandiisa abavubuka abato kyaddirira okutegeera nti ba ‘Foot Soldiers’ -amagye ag’okuttaka beyakola nabo mu kalulu ka 2021 abamu baasibwa mu makomera, abalala battibwa, abamu badduka mu ggwanga ne baddukira ku Mawanga, abalala baafuna ebisago ku mibiri gyabwe egitakyabasobozesa kukola mirimu gye bulungi ate abalala beegatta ku pulezidenti Museveni nga ebifo byabwe alina okubijjuza.
Ensonda zitegeezezza nti abavubuka abawandiisibwa, baasooka kwanjulirwa Nyanzi mu bitundu byabwe n’ategeera byonna ebibakwatako oluvanyuma n’akkiriza batwalibwe ku ttendekero ly’ekibiina e Kamwokya okubangulwa mu by’omwoyo gw’ekibiina n’okufiiririra pulezidenti waabwe Bobi Wine.
Bambega mu lipooti yaabwe, balumiriza nti abavubuka abawandiisibwa Nyanzi batendekebwa ebbanga lya myezi 3-6 era olumala okutendekebwa ng’abamu basindikibwa okubeera mu securite ya Bobi Wine mu Kampala abalala nga basindikibwa mu bitundu NUP gy’eyagala okugaziya obuwagizi ne mwebyo gye bawandisibwa ng’omulimu omukulu gwakwongera kuwandiisa bavubuka bannaabwe abalala okwegatta ku NUP wabula nga bakolera wansi w’obukulembeze bwa Kkunga.
Bano bagenda kuyamba nnyo okuwa securite bannabyabufuzi abagenda okuweebwa kkaadi ya NUP mu kalulu ka 2026 era kino kyekigenda okubaawula ku balala ng’abamu abaatandise edda okufuna ku bukuumi buno ye Ali Kasirye Nganda Mulyannyama mmeeya w’e Makindye nga yeegwanyiza kifo ky’omubaka wa Makindye West ekirimu Allan Ssewanyana.
Bambega bategeezezza nti ba foot soldiers abasigadde mu Kampala bakolera wansi w’omuduumizi bwa GENERO GAZA era bo bakyagenda mu maaso n’okutendekebwa nga be bagenda okunyweza securite ya Bobi Wine mu kalulu. Ba Foot Soldiers bano, beewa n’ennamba nti ono nnamba 10, 5, 3, nga ye Bobi Wine baamuwa Nnamba 1, waliwo Gen. Zoganya n’abalala nga bwekibeera mu magye ga UPDF agaduumirwa Pulezidenti M7.

EMMOTOKA YA BOBI BAGYONGEDDE OBUKUUMI
Pulaani eriwo nti emmotoka Bobi Wine mwagenda okutambulira bagenda kugyongerako obukuumi nga bakuteekako bakanyama mukaaga [6] okuva ku 4 abaaliko mu kampeyini eziwedde.
Ensonda zongeddeko nti tebasuubira nti Bobi Wine anaatwala emmotoka ye etayitamu masasi mu kampeyinni za 2026 ng’asuubira okukozesa endala ku nyingi zaalina.
Ensonda zitubuulidde nti mu kiseera kino aba NUP emmotoka ya Bobi Wine egenda okukola kampeyini bagenda kugitwala mu ggalagi bayokereko ebyuma ebirala aba securite ye kwebagenda okulinnya nga bamukuuma n’okunyweza endabirwamu n’enzigi zaayo nga kibeera kizibu okumala gamutuukako.
Bambega batubuulidde nti Bobi Wine okugenda ku kitebe kya NUP e Kavule Makerere ku mazaalibwa ge ne mukyalawe Barbra Itungo Kyagulanyi yali agenze kukakasa ba foot soldiers abapya abaali baakawandiisibwa n’okukakasa ranka zaabwe ezali zibaweereddwa.
Bambega bategeezezza nti bano Bobi Wine bweyali ayogera nabo, yabategeeza nti bajaasi abatendekeddwa nga balina okufiiririra ekibiina kyabwe ekintu Maj Gen Felix Kulayigye omwogezi wa UPDF kyagambye nti tebasobola kukkiriza nga yeemu ku nsonga lwaki Nyanzi yakwatibwa nga baagala abeeko kyanyonyola ku nsonga eyo.
Nyanzi naye akkiriza nti kituufu ensonga y’aba foot soldiers y’emu ku yamukwasa era baamukunya nyo nga baagala okumanya ebibakwatako ng’abo abasinga beyajjukirako yabawaayo nga ensonda musecurite zitubulidde nti ekikwekweto kwabo Nyanzi beyababuulira kyatandise era abamu baatandise okukwatibwa nga be bagenda okubayambako okutuuka ku balala.
BOBI AZIMBA JJE NG’ERYA M7
Bambega balumiriza nti Bobi Wine abadde azimba jje nga ky’ekireetera ne ba Foot Soldiers okweyisiza ddala nga bakkomando abakuuma pulezidenti Museveni aba SFC nga Bobi Wine bwabeerako ekifo gy’agenda basooka kuyiwayo ba foot soldiers okunyweza securite ye nga bano babeera ku bwerinde era kino kikakasiddwa Alex Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP atutegeezezza nti abavubuka abali ku securite ya Bobi Wine balina okukakasa nti atuuka n’okudda gyavudde nga tafunye buzibu bwonna.
Col Edith Nakalema eyakolako mu securite ya Museveni anyonyola nti omulimu omukulu ogwa SFC kwekukakasa nti Museveni asimbula n’okudda nga talina buzibu bwonna bumutuuseeko nga wano aba securite webalumiririza nti Bobi Wine ayagala kukozesa ba foot soldiers okuzimba ejje erirye mu ggwanga.
Ku kitebe kya NUP, Bobi Wine bwabeera anaatera okutuuka, ttiimu emutambulirako ebuulira abali ku kitebe ne banyweza ebyokwerinda era bwayingira bwati, abalala okuyingira kubeera kuzibu ng’olina okusooka okwenyonyolako ennyo eri Foot Soldier akuuma ku ggeeti.
Mu kiseera kino okukuba ebifaananyi mu kifo Bobi Wine mwali olina okubeera n’olukusa oba ng’oli w’amawulire era abaamawulire babateekako obukwakkulizo bw’okwambala kkaadi eziraga gyebakolera mu bifuba nga bali okumpi ne Bobi Wine, kuk itebe balina ekifo ekyabwe webatuula ng’atali omu ku bo n’olabwa ng’okuba ebifananyi ng’okozesa essimu ba foot soldiers badduka ne bakuyoola.
Obunkenke bubeera bw’amaanyi nga Pulinsipo Bobi Wine amalirizza okwogera, ku kitebe olumala okwogera n’okuyimba oluyimba lw’ekibiina tebakkiriza muntu yenna mulala kwogera nga bwegubeera ku pulezidenti Museveni.
Bobi Wine yakakasa nti ye ye kkomanda nnamba emu ow’aba foot soldiers nga eno y’ensonga lwaki bwabeera atuuka ku kitebe ky’ekibiina n’okufuluma bamusimbira layini n’abayitamu wakati nga pulezidenti Museveni naye bwebamukolera. Maj Gen Kulayigye ategeezezza nti amawanga agatabanguse nga Sudan y’omumambuka, Somalia n’amalala embeera yataandika bwetyo.
BANNABYABUFUZI B’E KENYA BAKUUMIBWA BATYA
Wabula bannabyabufuzi mu Kenya balina securite yaabwe ebakuuma nga kino looya Male Mabirizi eyaakava e Kenya ategeezezza nti bannabyabufuzi b’e Kenya securite ebakuuma bagifuna okuva mu bitongole bya securite eby’obwannanyini era embeera eno yennyini Capt Mike Mukula omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala ekitundu kya Eastern Uganda gy’akozesa naye si kuzimba kabinja k’abavubuka nga Bobi Wine bwakola.
Richard Ssebamala omubaka wa Bukoto Central atabukidde Bobi Wine n’ategeeza nti okwambaza abavubuka ba foot soldiers ng’abajaasi n’okubatendeka mu kkamera kiteeka obulamu bwabwe mu matigga ng’alumiriza nti tewali gavumenti ekyo esobola kukikkiriza ate ng’asobola okukikola mu nkukutu n’atuuka ku buwanguzi ng’abaana ba bendi tebayooleddwa nga bwebakola kati. Wabula MP Paulson Luttamaguzi Ssemakula [Nakaseke South] ategeezezza nti Museveni yeeyita Ssaabalwanyi naye lwaki atuuka n’okutya abavubuka abambala obwambazi wovulo zi Muzungu teyeeyamba n’ennyota ez’ekicupuli.
Ensonda zitubuulidde nti okusobola okukkakkanya ba foot soldiers abapya n’okunafuya ttiimu ya Bobi Wine eya securite, abakumi be ab’okulusegere nga bakulemberwamu Achilleo Kivumbi, Gadafi Mugumya ne Grace Wakabi baabadde balina okukwatibwa nga kati bali mu kkomera e Masaka ku misango gy’okukuba n’okubbisa eryanyi gye bagambibwa mbu baagikola ku bannamawulire abakolera e Masaka.
Justine Nameere omuyambi wa Museveni yali alumiriza nti okusiba kwa basajja ba Bobi Wine kulimu omukono gw’eyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti Mathius Mpuuga Nsamba alina obutakwatagana ne Bobi Wine nga bannamawulire bakozesa bakozese.
EBYAMA LWAKI SECURITE EREMEDDE KU MACHETE KANYAMA WA BOBI EYAZIZE EMMERE MU KKOMERA
Wiiki ewedde abasawo mu kkomera e Luzira baddusizza Yasin Ssekitoleko mu ddwaliro ly’ekkomera oluvanyuma lw’embeera y’obulamu bwe okutabuka nga balumiriza nti yaleeteddwa okwekalakasa kwalimu nga yagaana obutaddayo kulya ku kantu konna ng’awakanya obutali bwenkanya obumukolebwako ye ng’omuntu.
Ssekitoleko abasinga gwebamanyi nga MACHETE yatandika okwekalakaasa kati wiiki 2 ng’ayagala bwenkanya oluvanyuma lwa gavumenti okumulemeza mu kkomera ate nga kkooti ensukkulumu yalangirira dda nti kkooti y’amagye gye baali baamuggulirako emisango gy’okulya mu nsi olukwe ekolera mu bumenyi bw’amateeka okuwozesa abantu ba bulijjo.
Ono ayagala bamutwale mu kkooti y’abantu ba bulijjo ekitanakolebwa nga wiiki ewedde maamawe Aisha Kabanda yatutte Bobi Wine mu kkomera amuperereze addemu okulya emmere nga bwebakola ku nsonga za fayiro ye n’agaana okuva mu kwekalakaasa.
Ensonda mu securite zitubuulidde nti Machate y’omu ku basibe be batasobola kumala gayimbula nga balumiriza nti alina obumalirivu bw’amaanyi nyo bwekituuka ku Bobi Wine nga y’ensonga lwaki yagaana okukkiriza emisango bamuyimbule nga bwe baakola ku banne okwali n’omukazi atasaaga Olivier Lutaaya.
Bobi Wine yakkiriza nti ddala yali ku lusegere nyo ne Machete nga y’ensonga lwaki maamawe yamututte amuperereze ave mu kwekalakaasa, ensonda zirumiriza nti omusibe y’omu ku baateeka pulezidenti Museveni ku bunkenke nga batiisatiisa nga bwe bagenda okulemesa akakiiko k’ebyokulonda akakulirwa omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama okumulangirira ne ssaabalamuzi Owiny Dollo okumulayiza ku bwapulezidenti nga bayita mu kwekalakaasa mu nkola gye baatuuma ‘TAJJA KULAYIRA’.
Ensonda zongeddeko nti Lt. Gen Henry Tumukunde bwe yeesimbawo ku bwapulezidenti mu 2021 yagezaako nyo okusembeza Machete ng’ekigendererwa kye kyali kyakumukozesa n’abavubuka abakambwe okuteeka obunkenke ku Museveni beekalakaase olwo ye ekintu akirondewo afuuke pulezidenti wabula Machete naagaana ddiiru n’addayo ewa Bobi Wine.
Omu ku bavubuka mu NUP atubuulidde nti Machete musajja mulungi nga Bobi Wine bweyabawanga ssente ng’azituusa nga bw’azibawadde awatali kutoolako ate ne bazigabana mu kyenkanyi obutafaananako bannaabwe abalala okuli n’abakulu mu kibiina abaaziryanga.
Machete bamwogerako nga komanda eyalwananga enyo okulaba ng’abaana bonna abakuuma Bobi Wine nga batambula ng’afuga nti bakomawo balamu, abo ababeera bakwatiddwa ng’ateeka ku nninga abakulu mu kibiina okulaba nga bateebwa ekitali ku bakulembeze abamu mu kibiina naddala abambala amasuuti.

MACHETE SSI WA NKWE
Machete banne bamwogerako ng’omusajja atalina nkwe ng’abamu bwe bazze baziryamu Bobi, atatambuza ng’ambo ku banne nga kino kye kyamwagaza Bobi Wine nga ne bweyagendangako ewa munnabyabufuzi yenna ng’abuulira mukamawe nga ye takukuta ng’abamu ku bali ku lusegere lwa Bobi Wine abalya mu lulime ne mu luzise.
Ekiseera Machete kyagenda okutwalibwa mu kkooti za bulijjo tekinategeerekeka, abakulu mu ofiisi ya ssaabawaabi w’emisango gya gavumenti bategeezezza nti fayiro nyingi ezitanabaweebwa kkooti y’amagye era ku zino kwekuli n’eya Machete.


