OBUNKENKE bw’amaanyi ku kitebe kya bambega ba poliisi abanoonyereza kumisango ki Criminal Investigation Department (CID) e Kibuli, oluvanyuma lw’omuduumizi wa UPDF Gen Muhoozi Kainerugaba okulaalika nga bwagenda okukwata n’okusiba abaduumira Dr Maj Tom Magambo.
Okutiiisatisa kuno Gen Muhoozi yakutadde ku mukuttu gwe ogwa X n’ategeeza nti Magambo amaze ekiseera ng’akwata abantu n’abasiba mu makomera nga yeekwese mu linnya lya pulezidenti Museveni nga ky’ekiseera naye amukwate amusibe nga bwakakasa nti obuyinza obusiba Magambo abulina engeri gyali omuduumizi wa UPDF atwala ne poliisi wadde nga ssemateeka ayogera kirala nga buli kitongole akiraga ng’ekyetongodde.
Muhoozi, teyanyonyola nsonga lwaki ayagala kusiba Magambo wabula omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda atubuulidde nti Muhoozi buli ky’ateeka ku mitimbagano abeera akitegeeza wadde ng’abantu abamu balowooza nti abeera mu kusaaga n’akakasa nti Magambo bagenda kumusiba.
Ensonda ku CID zitukakasizza nti okulabula kuno mukama waabwe yakututte nga kukulu era ne basajja be baakola nabo basattira nga beebuuza lwaki Muhoozi ayagala kubasiba.
KIKI EKYATABUDDE MUHOOZI?
Ensonda ku lusegere lwa Muhoozi zitubuulidde nti omukulu amaze ekiseera ng’afuna okwemulugunya ku bantu abalumiriza nti boofiisa mu CID batomeza Magambo n’akwata n’okusiba abantu abatalina misango ate n’abanene mu gavumenti nabo kati bakozesa Magambo okulwana entalo zaabwe.
Ensonda zongeddeko nti waliwo bannamawulire abaawandiikidde Muhoozi ebbaluwa nga beemulugunya ku mugagga eyeefuula mukwano gwa Museveni asasula abaserikale mu CID naddala ku kitebe e Kibuli okubasiba mu makomera olwokuba bamuwandiiseeko olw’okwenyigira mu bikolwa by’obuli bw’enguzi.
Bannamawulire balumiriza nti omu ku bannaabwe avundira mu kkomera e Luzira nga yaakamalayo ebbanga erikunukkiriza mu myezi 4, omugagga yamuggulako emisango gy’okugezaako okumuggyako ssente mu lukujjukujju nga buli lwagezaako okusaba okumweyimirira nga bateekawo kiremya.
Bannamawulire baabuulidde Muhoozi nti akajegere kano kazimbibwa okuva ku CID, okugenda mu ofiisi ya ssaabawaabi w’emisango gya gavumenti —ono yaakakasa fayiro ezitwalibwa mu kkooti nga n’abalamuzi babaliisa.
Abalala batubuulidde nti Muhoozi alina obusungu ku Magambo olw’okusiba musajjawe omubaka Micheal Mawanda akulira okukunga obuwagizi mu kisinde kya Patriotic League of Uganda (PLU) ky’akulira ku misango gy’okwenyigira mu buli bw’enguzi.
Muhoozi yasooka kulabula nga Mawanda bamusibye nti Museveni asibye mukwano gwe ensonda gwezitubuulidde nti y’omu ku basinga okuteeka ssente mu PLU ate nga yeetolodwda agabbi enyo gaatakwatako. Waayita ennaku ntono Mawanda ne yeeyimirirwa era olwavaayo n’atendereza nyo Muhoozi olw’okumuyiirawo omubiri n’atamwerabira nga mukwano gwe ng’ali mu kkomera.


