PULEZIDENTI Museveni olwalinnyisizza akulira obukessi mu poliisi, Brig Gen Christopher Ddamulira Sserunjogi ranka ya Maj. Gen, n’amuweerawo ebiragiro okunonyereza okuzuula lwaki abatujju abaagala okwetulisizaako bbomu babattira mu makubo naye mwatambulira okuva mu State House e Nakasero gy’asula wuuyo okugenda mu State House Entebbe gy’akolera.
Pulezidenti ekimulumya omutwe kwekubeera nti bano abagambibwa okubeera abatujju, battibwa mu ssaawa za kumakya mwatambulira ng’ayagala okukitegeera oba pulaani y’abantu bano empanvu yakumutuusaako bulabe nga ye omuntu.
Museveni okuwa ebiragiro bino, ng’ebitongole bya securite nga bikulembeddwamu amagye ga UPDF baakatta omukazi gwebalumiriza nti yabadde agezaako okuyingira akatale k’oku Kaleerwe yeetulisizeeko bbomu.
UPDF KY’EGAMBA KU MUKAZI EYATTIDDWA
Maj. Gen Felix Kulayigye ayogerera UPDF yategeezezza nti bakyakung’aanya ebikwata ku mukazi eyattiddwa ku Kaleerwe, okusinga bateebereza nti nzaalwa y’e Congo era y’omu kwabo abawandiisibwa akabinja k’abatujju aka Allied Democratic Forces(ADF) okukola obulumbaganyi ku Uganda nga baamulondoledde ennaku 5 okutuusa bwe baamusse ku Ssande.
Ono okumutta, nga pulezidenti Museveni yaakaddamu okukozesa oluguudo lwa Kaleerwe okugenda Entebbe era wiiki bbiri emabega abadde takyayita Bwaise ng’ensonda mu State House zitubuulidde nti kino yakikola obutayingirira nteekateeka za kibiina kya NUP okuwandiisa abantu baakyo abagenda okuvuganya ku bifo by’obukulembeze kubanga bwabeera ayitawo securite ebeera y’amaanyi nga n’abantu balina okugobwa ku makubo.
Okumanya ebeera y’amaanyi, n’abatambuza ebigere bagalagira bayimirire awatali kwenyenya wadde okwetakula, emmotoka ne bazisiba zonna ne zikwata jjaamu ng’abo abeesisiggiriza abajaasi babawewenyula kibooko!
SECULITE ERINA EBIBUUZO BINGI ANSA NTONO
Pulezidenti okutandika okuyita ku Kalerwe nga wiiki ntono nga UPDF esse omukazibe eyasiba omutima Aisha Katushabe gwebateebereza nti yalina olukwe okwebwatulirako bbomu munda mu Eklezia y’Abakatuliki e Munyonyo ku lunaku lw’abajulizi e Namugongo ng’ono naye baamutta kumakya.
Ono we baamuttira nga pulezidenti akozesa nyo oluguudo lw’e Munyonyo okugenda Entebbe ng’ate n’abantu bafamire ye bangi abalukozesa nga kino kitabudde aba securite omutwe– baagala okutegeera ddala ekigendererwa ky’abatujju bano kye ki?
Museveni yasaba Bannayuganda okumusaasira olw’okutawanyizibwa kwebayitamu nga securite ye esibye amakubo bwabeera atambula. Ono yanyonyola nti atambulira mu kutya kubanga obubinja bw’abatujju bwagala kumutta ng’eno y’ensonga lwaki bwakola n’obulumbaganyi ku Gen Edward Katumba Wamala mu 2021 ne batta muwalawe Brenda Nantongo ne derevawe Sgt Harunah Kayondo nga kino bakikola okulaga bakama baabwe nti b’amaanyi no era balina obusobozi obukola ekisingawo singa babeera babawadde ebikola ng’okwegeza mu kutta minisita ow’amaanyi bwatyo eyaliiko omuduumizi wa UPDF era ssabaduumizi wa poliisi okumutta bwali buwanguzi bwamanyi ddala.
ABAMERICA, ABANGEREZA, N’ABAYISIRAYIRI BAKOZE LIPOOTI ENKAMBWE
Omumyuka w’ambasada wa Yisirayiri atwala Uganda, Kenya ne Tanzania, Ariel Arviv atubuulidde nti mu 2020, bambega abakulemberwamu America wansi we’kitongole kya United States Intelligence nga bakolagana ne bambega abakambwe okuva mu bitongole bya Yisirayiri ne Bungereza, baakola lipooti eyakakasa nti obubinja bw’abatujju okwetoloola ensi yonna kati bakozesa Uganda okuwandiisa abavubuka okubeegattako.
Ono alumiriza nti gavumenti ya Iran yeeteeka ssente mu kuwandiisa abavubuka okubayingiza obutujju. Nti kino bakikola beekwese mu yunivasite ya Al-Mustafa International University erina ekitebe kyayo mu bitundu by’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ono ategeezezza nti Iran ekozesa University eno okutambuza ebisawo bya ssente okubiyingiza mu Uganda okukola omulimu gwe baagala era kuno bagattako n’okuyingiza ebyuma bya tekinologiya nga beefudde nti babireeta kusomesezaako bayizi baabwe tekinologiya ate nga babayigiriza bikolwa bya butujju.
Ariel ategeezezza nti abaana abasinga mu University eno be bawandiisa okwetoloola amawanga ga Africa nga n’abamu babaggya mu America, Bungereza, Bufalansa n’amawanga agakola omukago gwa Bulaaya nga okubaleeta mu Uganda babaleetera ku biwandiiko ebiraga nti mu Uganda bazze kulambula, wabula olubayingiza ne batandika okubasomesa ebikolwa by’obutujju olumala okutendekebwa nebatwalibwa mu mawanga amalala okwongera okusomesa ebikolwa by’obutujju.
University eno, Ariel agirumiriza nti erina enkolagana n’amasomero amalala mu Uganda ne mu nsi yonna era abaana olumala okutendekebwa mu Uganda nga babongerayo mu mawanga amalala okuli Yemen, Syria nga banokoddeyo omukambwe Yusuf Ali Muraj okubeera nga yaakulira okutambuza n’okwanaganya obutujju mu University eno.
Abaana bano abafunye obukugu obumala obulungi, Ariel alumiriza nti bayingizibwa mu ggye lya Islamic Revolutionary Guard Corps Forces (IRGC) erimu ku gasinga amaanyi mu Iran okwongera okutendekebwa.
Abavubuka bano be bamu ku babadde bayamba enyo gavumenti ya pulezidenti Bashar Al-Assad owa Syria okugikuumira mu buyinza okutuusa abayeekera bwe baabafunza mu 2024 nebasuula gavumenti ye nga kati yaddukira mu Russia gyeyafuna obubudamu.
Abavubuka abatendekebwa mu Uganda, Arial alumiriza nti abamu bakwatiddwa nga balwanira mu bubinja bw’abatujju okuli Al-Shabab akalina ekitebe kyako e Somalia, Houthis abagumba mu Yemen ne mu Afghanistan nga bano be batigomya ensi yonna.
AMBASADDA WA IRAN AZZIZZA OMULIRO
Majid Saffar ambasada wa Iran mu Uganda atubuulidde nti ebyo byonna Ariel by’asaasanya bulimba ng’ekigendererwa kyakugezaako kukyaya Iran ekintu kyagambye nti tekigenda kusoboka kubanga Yisirayiri, America ne banywanyi baabwe bamanyiddwa ng’abatujju abazze batta abantu abatalina musango naddala abakazi n’abaana ng’awadde ekyokulabirako ky’obutemu obugenda maaso mu luwananda lw’e Gaza mu Palestine.
Ono anyonyodde nti University eyogerwako terina kakwate konna ku gavumenti ya Iran nga ya bwananyinni nga n’okuwandiisibwa mu Uganda ye yeegobera ku biwandiiko byayo nga ekwataganye n’akakiiko ka National Council for Higher Education akavunanyizibwa ku kulung’amya n’okuwa olukusa amatendekero ga waggulu.
Saul Waigolo ayogerera akakiiko akavunanyizibwa ku matendekero ga waggulu atukakasizza nti University eyogerwako yatuukiriza ebisaanyizo byonna ebyetaagisa okusomesa abaana ba Uganda ng’esomesa amasomo omuli ebyenfuna, tekinologiya, Obusiraamu nebirala nga ebyokwenyigira mu bikolwo by’obutujju bo tebabimanyiko n’atujuliza abakulu mu securite.
UGANDA EWANDA MULIRO
Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru Henry Okello Oryem asekeredde nyo Yisirayiri okulumiriza Al-Mustafa University okwenyigira mu bikolwa by’okutendeka abatujju n’ategeeza nti kino singa yali ekikola ebitongole bya securite mu Uganda baalibadde baategeera dda.
Ono atubuulidde nti alowooza nti Arial azanyna pulopaganda wa lutalo lwebalwana ne Iran n’amusaba olutaluyingizaamu Bannayuganda kubanga balina abantu baabwe mu mawanga gombi ng’ambasada wa Iran asabye bannayuganda okulwana okuggya abantu baabwe mu Yisirayiri ng’alumiriza nti abaayo si bantu nsolo ezisobola okubattirayo ne banywa omusaayi gwabwe.
DIIRU KAGAME, TSHISEKEDI, NE TRUMP GYE BAKUTUDDE MU CONGO ESATTIZA MUSEVENI
Pulezidenti Donald Trump owa America akakasizza nti ku Lwokutaano lwa wiiki eno nga June 27, baminisita b’ensonga z’ebweru mu Rwanda ne Congo bagenda kuteeka omukono ku ndagaano eyokukomya okulwanagana wakati w’amawanga gombi.
Endagaano eno Trump ategeezezza nti lwerugendo oluwanvu lweyakwasa musajjawe Massad Boulos avunanyizibwa ku nsonga z’amawanga ga Africa ne America okulaba nga emirembe gikomawo mu Congo. Endagaano eno bwenaamala okuteekebwako baminisita emikono, olwo bapulezidenti Felix Tshisekedi owa Congo ne Paul Kagame bamalirize omulimu gwonna nga bateekako nabo emikono, omukolo guno gusuubirwa okubeera mu kibuga Washington mu America.
Wabula Trump okuyingira mu nsonga z’e Congo, Tshisekedi ye yamutwalira ddiiru emukwasa ebirombe byonna ebisimwamu ebyobugagga mu Congo ebikozese nga bwayagala kasita awa eggwanga lye obukuumi nga okuyingira ddiiru eno nga abayeekera ba M23 nga bamufunzizza nga baagala kuggyako gavumenti ye.
Tshisekedi ne America balumiriza nti Rwanda yeewagira abayeekera ba M23 wadde nga bino byonna Kagame ebiwakanya ng’alumiriza nti abayeekera balwana kufuna bwenkanya mu ggwanga lyabwe Tshisekedi mwayagala okubagoba ng’abayita Abanyarwanda abalina okuva mu ggwanga lyakulembera.
Kagame, Tshisekedi okukola ddiiru ne Trump, kyakanze nyo Uganda ng’ensonda zitubuulidde nti y’ensonga lwaki Museveni yalagidde mutabaniwe, omuwabuziwe ku bikwekweto ebyenkizo era omuduumizi wa UPDF Gen Muhoozi Kainerugaba okukulemberamu abanene mu UPDF okugenda e Congo okwogerezeganya ne Tshisekedi.
Ensonda zitubuulidde nti obunkenke bwabadde bwamanyi nyo nga Gen Muhoozi ali e Congo kubanga palamenti yaayo yamuyisaako ekiteeso ekimuvumirira olwokuwagira Rwanda gyebalumiriza okuwakula olutalo kug gwanga lyabwe ng’awaga nti omuntu yenna alangirira olutalo ku kojjawe Kagame abeera alulangiridde ku ye ne Uganda.
Ensonda zongeddeko nti Museveni yabadde agoberera byonna ebigenda maaso okutuusa Tshisekedi bweyayongezzaayo endagaano ya UPDF okusigala mu Congo ng’erwanyisa obubinja bw’abatujju naddala aka Wazelendo ne ADF bwe balumiriza nti abalabe ba Uganda bwe baagala okukozesa okusuula gavumenti ya Museveni.
Ensonda zitegeezezza nti Museveni ne banne bali mu kutya nti ssente enyingi ze batutte e Congo okuli n’ezizimba enguudo zaayo ziyinza okufiirayo singa ddiiru ya Trump ne Tshisekedi eteekebwako omukono wabula nti abakulu mu Congo banno baabagumizza nti Uganda yaakusigala ng’ekola byekola wadde nga America eneebeera eyingide eggwanga lyabwe.
Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda alumiriza nti Uganda mu nsi yonna yeesinga okutunda golodi ku katale k’ensi yonna ng’obujulizi tebuliiwo nti emusima mu birombe by’e Mubende oba e Karamoja wabula nti bamuggya mu Congo nga America okuyingirayo kigenda kunafuya ddiiru zaabanene abamulyamu.
Omutunuulizi w’ebyokwerinda Charles Rwomushana ategeezezza nti Uganda erina okwegendereza enyo obumenyi bwamateeka obugenda mu maaso mu Congo ne South Sudan ng’alumiriza nti buyinza okweyambisibwa okusuula gavumenti ya Museveni.
James Kakooza omubaka wa Uganda mu palamenti ya East Africa, ategeezezza nti Museveni yakola dda endagaano n’abakulembeze ba Congo ne South Sudan ng’ebyokwerinda by’amawanga ago gombi abirondola butereevu era kigenda kubeera kizibu omulabe okuvaayo okusuula gavumenti mu Uganda.


