- • Ziizino ddiiru, enkwe ne pulaani famire zaabwe ze zikutula okuwangula
- • Abakugu balabudde lwaki M7 alwana Besigye okuva mu kkomera ng’ekibalo ky’okumuzza e Rwakitura kiwedde
MUNNAMAWULIRE omugundiivu Charles Onyango Obbo ategeezezza nti bingi ebiri mu kufumbibwa munda mu bisenge by’amakolero g’obuyinza n’asaba Bannayuganda okukanula amaaso gaabwe bagateeke ku bikolwa ebitayogera ebiraga nti essaawa yonna obuyinza bugenda kukyuka mu Uganda mu kifo ky’okumalira obudde bwabwe ku bannabyabufuzi abeefuula nti babitegeera nnyo olwokubyogerako enyo nga kino bwe batakikola bayinza obutafuna mu nkyukakyuka ezijja nga Museveni awummudde.
Onyango y’omu ku bannamawulire abaweebwa ekitiibwa mu nsi yonna era mu kiseera kino ali ku ttiimu esunsula Olupapula lw’amawulire olwa ‘The East African’ olutundibwa mu mawanga okuli Kenya, Uganda, Tanzania, Burundi, Ethiopia, Sudan, Rwanda, South Sudan. Eritrea n’amalala mangi.
Onyango yali omu ku bannamawulire abaatandika olupapula lwa Daily Monitor, olw’okuwandiika amawulire agabuusa Bannayuganda n’okukwekula ebyama nga ONO BWINO bwakola kati, Museveni yayisa ekiragiro nti gavumenti gy’akulembera teddamu kulangira mu Monitor era n’alulangirira ng’olupapula olulwanyisa gavumenti ye nga kino kyasannyalaze ebyenfuna ya Monitor abakulu ne basalawo olupapula okuluguza omugagga Aga Khan.
Aga Khan okukolera obulungi mu Uganda, Museveni yamuteekako akazito ng’alina okubaako bannamawulire baagoba nga Onyango y’omu ku bo wabula olwokuba yali musajja mugezi nyo ate ng’alina ebyama by’amanyi mu Uganda, omugagga yasalawo okumutwala mu Kenya akolere empapula ze endala mu Kenya nga mu Monitor olupapula lweyatandika yasigaza kuwandiikamu miko omuli endowooza ze.
M7 AZANNYA BUZANNYO BWA KUKWASA MUHOOZI NTEBE
Al-hajji Sadam Gayira pulezidenti w’ekibiina ky’ebyobufuzi ki People’s Progressive Party (PPP), akakasizza okunonyereza okwakoleddwa Onyango n’ategeeza nti enfunda nyingi asisinkanye abakulu ku ludda oluvuganya n’abasaba obutamalira biseera ku bintu pulezidenti Museveni by’akola okukyamusa abalonzi ng’alumiriza nti bino abikola okusobola okubaggya ku mulamwa okusobola okuggusa pulaani gy’azimbidde ebbanga okukwasa mutabani we Gen Muhoozi Kainerugaba obuyinza ng’awummudde wabula ekyennaku abasinga okuwabula kwe si kwebaliko.
Gayira anyonyodde nti banne bwe bali mu Opozisoni abasinga balowooza ku ngeri gye bagenda okunywezaamu ebifo by’obukulembeze ebibasasula kati n’okulwanyisa bannaabwe abavuddeko nga baagala okubavuganya mu kalulu mu kifo ky’okuteeka amaanyi gaabwe ku lutalo olunene olutwala obuyinza bw’eggwanga.
PULAANI YA M7 OKUFUGA EMYAKA 50 ETIISA!
Gayira ayongeddeko nti bannabyabufuzi balina okutwala ebigambo by’omugenzi Francis Nabwesi eyaliko omubaka wa palamenti Onyango bye yayogerera mu palamenti nti Museveni ne banne balina pulaani okufuga Uganda emyaka 50 olwo batandike ku pulaani endala ey’okwongerayo obukulembeze bwabwe nga batabani baabwe n’abazzukulu babusikira era kati kye bataddeko amaanyi wabula ababavuganya bali mu kulwanira bukunkumuka.
MUHOOZI BYONNA BY’AKOLA M7 Y’ABIMUTUMA, KAGOLOGOOSI
Robert Mayanja omu ku bayambi ba Dr.Kizza Besigye, ategeezezza nti yeewunyizza nnyo pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) okuteeka amaanyi amangi ku bigambo Gen Muhoozi by’awandiika ku mikutu gye egya yintanenti n’ategeeza nti kyeyakoze Museveni n’ababalira Muhoozi okutwala obuyinza kye baabadde baagala akole.
Ono ategeezezza nti Besigye olwalangirira nga bwagenda okuvuganya Museveni, Museveni yamwogerako ebigambo bingi n’okumusindikira abantu be ng’omugenzi Joseph Tamale Mirundi eyali omwogezi we ne Ofwono Opondo omwogezi wa gavumenti ye okumuswaza mu mawulire, wabula nga ye tabaanukula ng’alemedde ku mulamwa gwakukakasa Bannayuganda nti ekiseera kituuse okugoba Museveni mu buyinza ng’akimanyi nti Museveni ayagala kumuggya ku mulamwa.
BOBI: MUHOOZI MMWEWULIRA, AJJE TWEKUBE
Bobi Wine mu kukungubagira omugenzi Muhammad Ssegirinya abadde omubaka wa Kawempe North mu palamenti ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule mu Kampala, yacamudde abawagizi be bweyategeezezza nti Gen Muhoozi bwabeera nga musajja nnyo asuule wansi emmundu zaateeka mu kiwato kye ne bakkomando abamukuuma, agende basisinkane mu makaage e Magere mu Wakiso bakubagane kikonde ku kikonde, migere ku migere n’okukozesa ebitundu by’omubiri ebirala nga bw’amatiza nti olutalo gyerunaggwera nga Muhoozi ayoya busera n’okuweekeera ng’embwa eva okuyigga.
Bobi Wine okwogera bino nga Muhoozi yaakalangirira nti singa kitaawe pulezidenti Museveni tamukomako, singa yasalako dda Bobi Wine omutwe.
Bobi Wine yayanukula na kusaba bonna bekikwatako okumutaasa ku Muhoozi gweyayogerako ng’omutemu nti ayagala kumutta ate ye musajjawe Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) alina ekitwe ekinene.
Abawagizi ba Patriotic League of Uganda -PLU, baasekerera nnyo Mutwe ne beewunya lwaki Bobi Wine amusasula ssente z’okumukuma nga tasobola kumutaasa mu mbeera w’amwetaagira ate n’ayita Bazungu okumutaasa nga bongedde okumuyiira olunyata nti tebeewunya nti poliisi bweyakasukira Bobi Wine akakebe ka tiyaggaasi, Mutwe eyalina okumutaasa yadduka buddusi ng’akabwa akabbi.
Muhoozi yategeeza nga bwatasobola kukwasa Mutwe buvunanyizibwa bwakumukwatira nsawo ye mwateeka ebyama bya UPDF nga omulimu gwasobola okumukwasa kukuba ngato ze ddagala namulabula nti ate nazikuba nezitanyirira yali agenda kumukuba ekitwe ekyo ekinene.
Mutwe obusungu bwamukwata n’alangira Muhoozi obutabeera na magezi agasobola n’okumusaza oluguudo nga Mayanja atubuuldide nti bino byonna biri bwebityo mu ttiimu ya Bobi Wine lwakuba yeggyako abantu abagezi nga Mathius Mpuuga Nsamba ne bannabyabufuzi abalala abalina okumuwabula ku ngeri gyalina okweyisaamu n’adda ku bamuwaana obuwanyi olwokuba bamwagalako kkaadi ya NUP.
Mayanja awagiddwa Gayira alumiriza nti Museveni ye yapangira Muhoozi okuwandiika byawandiika ku mikutu gye egya yintanenti ng’ekigendererwa kyakumufaananya Bobi Wine olwo abantu ba wansi bamutegeere ng’ekiseera ekituufu kinaagenda okutuuka ng’abantu bamumanyi bulungi nga kino akikoze bulungi ddala.
LWAKI BOBI BWEKABEERA KALULU MUHOOZI AMUKUBA KYABUGAZI
Alex Waiswa Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP yanyonyola nti emu ku nsonga eyawanguza John Patrick Amama Mbabazi obubi ennyo mu kalulu ka 2016, kwekubeera nga teyalina kakwate konna ku bantu ba bulijjo nga tasobola na kwogera Luganda n’awaga nti kino ky’ekigenda okuwanguza Muhoozi singa yeesimba ku Bobi Wine ng’akakasa nti kizibu omuntu atamanyi Luganda okuwangula akalulu k’Obwapulezidenti nti Oluganda lwe lulimi olusinga okwogerwa mu Uganda.
Gayira anyonyodde nti Besigye bweyalangirira okuvuganya Museveni n’aleeta ttiimu y’abasajja n’abakazi abaasoma ennyo nga John Kazoora, Gen Mugisha Muntu, pulofesa Ogenga Latigo, Winnie Byanyima, Museveni naye yaleeta baasoma nga Moses Byaruhanga, pulofesa Gilbert Bukenya, Amama Mbabazi n’amwongera obuyinza ng’akakasa nti balina okumuyamba okusaabulula ebyayogerwanga ttiimu ya Besigye.
Ono anyonyode nti Bobi Wine akulidde mu bulamu bwa Ghetto bweyavaayo okuvuganya Museveni, olwokuba abala nyo, abagezi bonna yabeegobako n’aleeta abantu abafaananira ddala Bobi Wine okuli Mark Bugembe (Buchaman) ne Jenipher Nakanguubi bamuwabule ku nsonga za Ghetto.
EKIBALO KY’OKUKYUSA OBUYINZA WEKIYIMIRIDDE, MUHOOZI ABALA KAKI?
Ggayira atubuulidde nti Muhoozi okulangirira nga bw’awumuzzaamu emikutu gye gyonna egya yintanenti ng’alumiriza nti Katonda ye yamulagidde okukikola olwo amaanyi agateeke ku kuzimba UPDF n’obukulembeze bwa Uganda Museveni ye yakikoze oluvanyuma lw’okulaba nti omulimu gweyamuwa okufaanana Bobi Wine n’aba Gheto ate ayiseewo nyo nga kati atwaliramu n’obukulembeze bw’amawanga g’omulirwano nga Kenya, South Sudan, Sudan n’amalala ageewala.
Ono ategeezezza nti Museveni ayagala Muhoozi ebiseera bye ebisinga abimalire mu kubala n’okulaba nti tewabeerawo mbeera yonna ya bunkenke mu kalulu ka 2026 nga kino waakukikola ng’akwanaganya ebitongole bya securite byonna mu ggwanga.
Mayanja atubuulidde nti Muhoozi y’agenda okutambulirwako ebyobufuzi mu kisanja kya 2026-2031 wadde ng’agenda kufuna okuvuganya okw’amaanyi okuva mu bantu abalala abaagala obuyinza munda mu famire ye, okugeza mukoddomi we Odrek Rwobwongo ne mu UPDF nga tasuubira bali ku ludda oluvuganya okuteekawo mbeera.
Muhoozi nga tanalangirira nga bwavudde ku mikutu gya yintanenti, yategeezezza nga bwateebaka nti abasiru be balina okwebaka ng’ayinza okwebaka n’agenda okuzuukuka nga Lt. Gen Peter Elwelu ng’amuwambyeko gavumenti.
Ensonda mu securite zitubuulidde nti Lt Gen Elwelu y’akulembeddemu bannamagye abatakkiriza nti Muhoozi asobola okufuga Uganda ng’ekisinga okusattiza Muhoozi kwekubeera nti Lt Gen Elwelu alina obuwagizi bungi mu bannamagye abalwanyi mu ggye ly’okuttaka lyeyaduumirako nga bamulaba ng’omulwanyi amagye ataasoma masome nga Muhoozi.
Ensonda zongeddeko nti Muhoozi, Museveni yamwongera obuyinza mu UPDF ng’asobola n’okulinnyisa abajaasi amadaala nga teyeebuuzizza ku pulezidenti nga n’ebitongole byonna mu UPDF biri wansi w’obuduumizi bwa Muhoozi.
Paalamenti yatandise ku nteekateeka z’okukola etteeka erigenda mu butongole okufula eggye lya Special Forces Command (SFC) erya bakkomando abakuuma pulezidenti, famire ye, abantu ab’enkizo okufuulibwa eggye ly’ekibinja wansi wa UPDF.
Brig. Gen Felix Kulayigye omwogezi wa UPDF ategeezezza nti SFC egenda kufaananira ddala ng’eggye ly’okuttaka, eryomu bbanga, eryoku mazzi nga lyo ligenda kubeeramu bakkomando bokka abatendeke enyo abatumibwa ku misoni enzibu enyo.
Ensonda zitubuulidde nti Muhoozi okusobola okwetegekera obulungi gavumenti ejja, yalagidde basajja be bonna mu PLU okwesimba ku bifo eby’enkizo mu NRM nga balina n’okulwana enyo okulaba nga babiwangula.
Minisita w’abavubuka n’abaana Balaam Bagaruhare yalangiridde dda nga bwaddayo ewaabwe okwesimba ku kifo ky’obubaka bwa palamenti nga enteeseganya zikyagenda mu maaso oba yeesimbawo ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala ekintu kya Western Uganda okusobola okutuula ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko olwa CEC n’omumyuka wa sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa.
Bano balina okwerondako omu avuganye minisita Dr Chris Baryomunsi ku kifo kino, abalala kuliko Sodo Aine Kaguta eyalangiridde edda nga bwagenda okuvuganya Godfrey Kiwanda Suubi ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala ekitundu kya Buganda, Cedric Babu mutabani w’eyaliko MP wa Kampala Central, Edward Frances Babu yalangiridde nga bwagenda okuvuganya ku bwassentebe bwa NRM mu Kampala asiguukulule Katongole Singh.
BOBI WINE BAMULABUDDE KU MULULU N’OKWEYAGALIZA MU FAMIRE YE
Mayanja ategeezezza nti bannayuganda abamu batya bwe bawulira nti okusalawo okusinga mu NUP Bobi Wine kwalangirira kukolebwa mukyalawe Barbra Itungo, bakulu be okuli Fred Nyanzi Ssentamu ne mikwano gye nga balowooza nti bwe banaamukwasa obuyinza bw’eggwanga agenda kukolera ddala ebyo Museveni byabadde akola nga mugandawe Gen Salim Saleh y’omu ku basalawo ekikolebwa mu gavumenti.
Ono agasseeko nti Bobi alina ekizibu kya baganda be nga buli omu ayagala kwesimba mu byabufuzi ng’alowooza nti okubeera muganda wa Bobi Wine alina amasannyalaze kigenda kumuwanguza. Kino baakikola mu kalulu ka 2021 nga Nyanzi yawangulwa Muhammad Nsereko kukifo ky’omubaka wa Kampala Central, Eddy Yawe n’awangulwa Ibragim Ssemujju Nganda ku kifo kya Kira Municipality ate Betty Ssentamu n’awangulwa Sylivia Nayebale ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Gomba, wadde agamba nti baamubba.
Mu kalulu ka 2021, Nyanzi n’aboluganda lwa Bobi Wine bakibateekako nga bwe baalya ssente mu banabyabufuzi abaaweebwa kkaadi ya NUP nga waliwo n’abalumiriza nti waliwo akabinja mu NUP akaalinganga engeri gye kaasookanga okuyisanga mu bakazi eggaali okusobola okubawa kkaadi.
Baganda ba Bobi Wine abaavuganya mu kalulu ka 2021 baalangiridde dda nga bwebakomawo wabula Bobi Wine abataddeko akazito ng’olutalo lw’amaanyi mu kiseera kino lwalina ne Nyanzi alemedde ku ky’okuvuganya Omuloodi Ssaalongo Erias Lukwago ku bwa Loodi Meeya wa Kampala, Bobi ayagala Nyanzi agende yeesimbe e Kawempe South ew’omubaka Bashir Kazibwe Mbazira.
Ensonda mu NUP zitubuulidde nti Bobi Wine mukambwe nyo ku ba famire ye okweyingiza mu kalulu nga mu 2021 yalemesa mukyalawe Itungo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso.
Mayanja ategeezezza nti Bobi Wine alina okukimanya nti famire ze zizimba n’okutta bannabyabufuzi mu nsi yonna era kino alina okukyegendereze enyo kubanga kati bannankyukakyuka gwebalinamu essuubi okuva Dr Besigye bwali mu kkomera ate nga Museveni si mwetefutefu kumuyimbula kati.
LWAKI M7 MUKAMBWE KU BESIGYE
Gayira atubuulidde nti ekintu ekisinga okulumya Museveni omutwe bye bigendererwa bya Dr Besigye ebikambwe ku ngeri gyalina okuva mu buyinza nga ye eby’okuteesa si byaliko wabula ayagala kukozesa ngeri yonna esoboka Museveni bamuggye mu buyinza olwo Uganda baddemu bagizimbe buto.
LWAKI BESIGYE AKYALEMEDDEKO
Ensonda zitegeezezza nti Besigye okuttukiza pulaani y’okugoba Museveni ne batuuka n’okumukwatira e Nairobi mu Kenya ne bamuggulako emisango mu kkooti y’amagye nti baamusanga alamuza byakulwanyisa okubikozesa okutta Museveni, yamala kukitegeera nti enteekatekea y’okukyusa obuyinza mu Uganda yatandika dda okukolebwako ab’omunda mu famire ya Museveni ne mikwano gyabwe.
Mayanja ategeezezza nti enkyukakyuka Museveni gy’ayagala obuyinza bukyukemu, Besigye tagikkiririzaamu nga ye ayagala Museveni obuyinza abukwase omuntu awangudde akalulu nga bannayuganda bonna bamukkiririzaamu wabula si kukola bwakabaka obubwe.
Ono alemeddeko nti Museveni kyayagala kwekulaba nti Besigye agenda okuva mu kkomera ng’ekibalo ky’okukyusa obuyinza e Uganda nga kiwedde nga y’ensonga lwaki yamutwala mu kkooti y’amagye.
Loodi Meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago omu ku balooya ba Besigye alumiriza Museveni nga bwalina pulaani okuwanika Besigye ku kalaba nga bakozesa emisango egyamugguddwako mu kkooti y’amagye nga kino bakikola olwokuba bamutya nti agenda kutabula ekibalo kyabwe mu kukyusa obuyinza mu Uganda.
Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi [Butambala-NUP] alumiriza nti Museveni ayagala kukyusa buyinza okuva ku ye okubuwa Muhoozi ng’ekigendererwa kyakukola Bwakabaka ng’abutandikira ddala mu ngeri ng’obw’e Saudi Arabia gye bwatandikamu nga mu kusooka abantu baali beerondera abakulembeze baabwe nga bayita mu kalulu okutuusa omu bweyawamba obuyinza n’alagira nti ab’olulyo lwe be balina okukulembera Saudi Arabia.


