OKUSINZIIRA ku tteeka eppya erya Sports Act, erifuga eby’emizannyo era eryateekebwa omukono pulezidenti Yoweri Museveni nga 17,August 2023 ,ekibiina eky’emizannyo okuyitibwa ‘Association’ kirina okuba n’ebitundu 50 ku 100 okuzanyibwa mu district za Uganda ate okuyitibwa Federesoni (Federation) kirina okuba n’ebitundu 75 ku 100 okuzanyibwa mu district za Uganda.
Mu tteeka lino, buli muzannyo gulina okubeera n’ekibiina kimu ekifuga omuzanyo ogwo era kino kigenda ku muzanyo gw’ebikonde ekibadde kirina ebibiina bibiri okuli ekya Uganda Boxing Federation eky’ebikonde bya bakyakayiga (amateur) ne kya Uganda Professional Boxing Commission ekitwala ebikonde by’ensimbi nga kati bano balina okwegatta okufuuka kibina kimu wabula olutalo luli ku ani agenda okukulembera omuzannyo guno okusinziira ku tteeka eppya.
OLUTALO LWA MUHANGI NE UHURU KU NTEBE
Olutalo lubaluseewo ku ani ayagala okutwala entebe y’ebikonde wakati wa Moses Muhangi akulembera UBF ne Salim Uhuru akulembera UPBC, era mmeeya wa Kampala Central ng’ono kafulu mu kufumba omuceere mu Restaurant ze, nga buli omu tayagala kubeera wansi wa mune.
LWAKI MUHANGI BAMUZIRIDDE OLUKIIKO LWE
Wiiki ewedde, Moses Muhangi yategese olukiiko ku Copper Chimney e Lugogo okuteesa ku ngeri gyebagenda okukola okusobola okuba awamu, wabula abakungu okuva mu UPBC okuli pulezidenti Salim Uhuru, omumyukawe Simon Katongole, bapuloomota, bamaneja baamuziriridde olukiiko lwe era Abbey Mugyai, Mulangira Mauren be batono abaabaddeyo mu lukiiko.
EZA TORORO SQUASH ZENGEDDE
Empaka eza Uganda Open Squash Tournament 2025 zigenda kubeera ku Rock Classic Hotel e Tororo okuva nga 16 -22 February, 2025 ng’abawanguzi baakugabana ddoola 6,300(eza Uganda 23,310,000) era abazanyi okuva mu East Africa buli omu waakusasula 50,000 ate okuva mu wabweru bwa East Africa, buli omu waakusasula ddola 30(eza Uganda 111,000) .


