Liigi Ebookezza: Tusunsudde Abatendesi Abalina Notisi Eziriko N’abavuyizza…

LIIGI YA UGANDA eya Uganda Premier League sizoni 2024/2025 tebaddeemu bbugumu lingi era okuvuganya okw'amaanyi ku ani anaatwala ekikopo kubadde wakati wa ttiimu bbiri okuli Vipers ne NEC.

Juma Ali
4 Min Read

LIIGI YA UGANDA eya Uganda Premier League sizoni 2024/2025 tebaddeemu bbugumu lingi era okuvuganya okw’amaanyi ku ani anaatwala ekikopo kubadde wakati wa ttiimu bbiri okuli Vipers ne NEC.

Wabula wadde okuvuganya kubadde kutono wabula waliwo abatendesi ababadde ku mutindo nga bakoze ekisoboka ttiimu zaabwe okukwata ebifo ebirungi era abakugu baffe bakoze okunoonyereza nebakuletera abatendesi bano.

1-STEVEN BOGERE; Nga tannaba kujja, Lugazi FC yali wansi ku ttebo wansi w’omutendesi Saddick Sempijji wabula okuva bweyajja ng’adda mu bigere bya Sempijji, atereezezza Lugazi FC nga bawangula emipiira gyabwe era emikisa mingi ttiimu okusigala ‘Super League’ sizoni ejja.

2-JOHN LUYINDA ‘AYALA’; Bangi baali bamubuusabusa okuteekawo omutindo omulungi olwa puleesa okuva ew’omugagga Lawrence Mulindwa naddala nga yaakagoba Omuzungu wabula olw’omutindo omulungi gwayolesezza kireetedde Vipers okukulembera ekimezea n’enjawulo ya bubonero 5 nga balina omukisa okuwangula Liigi ya sizoni eno.

3-WASWA BBOSA; Yasanga Kitara eri mu kuvuya wansi w’omutendesi Brian Ssenyondo era nga bali ku ttiimu ezigenda okusalwako wabula wadde yasooka n’afunamu puleesa olw’okukubwa emipiira egyasooka naye wetutuukidde mu leero nga ali ku ttiimu omukaaga ezisooka waggulu.

4-BADRU KADDU ‘KB’; Mu mbeera embi kiraabu ya Express gyebaddemu sizoni eno okuli n’abazanyi nga beediima okutendekebwa olw’emisaala, wabula omutendesi KB asobodde okukwasaganya ttiimu ne basuuza abanene obubonero okuli KCCA, Villa, NEC ne Vipers.

5-HUSSEIN MBALANGU; Sizoni eno ye yekka asobodde okuteeka puleesa ku Vipers ku lutalo lw’ekikopo era wetutuukidde wano ng’ali mu kifo kyakubiri ne ttiimu ye eya NEC wansi wa Vipers.
WABULA mu ngeri y’emu wabaddewo abatendesi ababadde bakiboggwe sizoni eno…

1-SADDICK SEMPIJJI; Ono baagenda okumugoba mu Lugazi FC nga talinaayo wade mupiira gwona gyeyali awangudde.

2-BRIAN SSENYOND ; Ono kiraabu ya Kitara yagenda okumukwata ku nkoona nga Kitara eri wansi wa ttebo ng’awangudde omupiira gumu ogwa Lugazi FC.

3-ABDULLAH MUBIRU; Sizoni ewedde yeegatta ku KCCA FC nga sizoni etambuddeko naasobola okukola obulungi wadde teyawangula kikopo era abawagizi baali bamusuubiramu bingi sizoni eno wabula ebintu ne bikyuka ng’avuya okutuuka n’okumukwata ku nkoona.

4-STEVEN BBENGO; Singa tawangula mipiira gye egisigaddeyo, omutendesi Bengo agenda kuzzaayo ttiimu ya Wakiso Giants mu ‘Big League ‘ sizoni ejja.

5-IAN MUTENDA; Okuva bweyadda mu bigere by’omutendesi Joseph Mutyaba ku Bright Stars, tewali njawulo ku eyafa n’eyasika nga basuubira okuddayo mu ‘Big League’.

6-JACKSON MAGERA; Musika wa Abdullah Mubiru wabula emipiira 2 gye yaakatendeka, akubiddwa gyonna.

7-MORLEY BYEKWASO; Alaze omutindo omubi nga tasobodde kweddiza ekikopo kya Liigi ttiimu ya Villa kye baawangula sizoni ewedde.

8-ALEX ISABIRYE; Kiraabu ya URA yateekamu ensimbi mpitirivu okusobola okuwangula ekikopo kya sizoni eno wabula birabika bimuleme.

EZA EASTER ZAAKOMEKKEREZEDDWA

Empaka eza Easter Open Chess Tournament ez’omulundi ogw’okubiri zaakomekkerezeddwa ku Mmande ku Som Chess Academy, Katwe ng’abawanguzi baawereddwa kavu wa ssente.
Obukadde 10 bweb wagavanyiziddwa eri abawanguzi mu mitendera egy’enjawulo era nga zeetabiddwamu abakungu okuva mu America okuli Kavyashree Mallanna, Scott Low ne Jason Shuster.
Empaka zino ezaatekeddwa aba Som Chess academy baabadde bazanya lawundi 8 nga bakozesa eddakiika 3 ne sekonda 2.

Share This Article