Nantambi ‘The Iron Lady’: Wuuno Omukazi Atadde Ebyemizannyo Ku Bunkenke; Lwaki buli ‘Federation’ emutokota…

MU myaka esatu gye yaakamala mu nsiike y'ebyemizanyo, mwanamuwala Shiffah Nantambi atadde obunkenke ku ‘Federation’ endala nga buli emu eyagala kumupasula okumuggya mu muzannyo gwa Squash.

Juma Ali
2 Min Read
Shiffah Nantambi

MU myaka esatu gye yaakamala mu nsiike y’ebyemizanyo, mwanamuwala Shiffah Nantambi atadde obunkenke ku ‘Federation’ endala nga buli emu eyagala kumupasula okumuggya mu muzannyo gwa Squash.

Shiffah, gwe baakazaako erya ‘Iron Lady’, akola nga ssaabawandiisi w’ekibiina kya Uganda Squash and Rackets Association. Shiffah eyasooka okuba nga kiyambi wa Squash nga kati afuuse ensonga mu bukulembeze bw’emizannyo mu Uganda.

Shiffah yabadde anyonyola omusasi waffe ku mpaka za Africa ezigenda okutandika mu November wano e Uganda era emboozi ye yagenze bweti;

ONO BWINO: Empaka ez’Afrika eza Squash Federation of Africa Seniors Championship zitandika ddi?
SHIFFAH: Nga 17 okutuuka nga 22, November,2025.

ONO BWINO: Zigenda kuzanyibwa wa?
SHIFFAH: Wano e Uganda okuli Kabira, Kampala Club ne Lugogo.

ONO BWINO: Nsi mmeka ezigenda okwetaba mu mpaka zino?
SHIFFAH: Ensi 25.

ONO BWINO: Ssente mmeka ez’abazannyi okwewandiisa?
SHIFFAH: Abagwira (foreigners) buli omu waakusasula ddoola 30 (eza Uganda 108,000).

ONO BWINO: Lwaki baakukazaako erya ‘Iron Lady’?
SHIFFAH: Nze omukyala ateetiirira ng’ekituufu nkyogerako n’ekikyamu nkyogerako.

ONO BWINO: Lwaki federation endala zaagala kukupasula okukuggya mu Squash?
SHIFFAH: Ekyo mbadde sikimanyi naye kirabika olw’enkola yange gyenkolamu emirimu.

ONO BWINO: Mu bukulembeze bw’emizanyo waakamalamu bbanga ki?
SHIFFAH: Ng’enda kuweza emyaka 3.

ONO BWINO: Bizibu ki by’ofunye mu bukulembeze?
SHIFFAH: Okukyusa ekifaananyi kya Squash.

ONO BWINO: Ate ebirungi…
SHIFFAH: Omuzannyo gunkoledde erinnya era nga kati ndi ku kakiiko ka ‘gender’ ku U.O.C.

ONO BWINO: Mu myaka ena, Squash tumulaba wa?
SHIFFAH: Okuba ku egimu ku mizanyo government gwesinga okuteekamu ensimbi.

OWA TABLE TENNIS AKWASIDDWA WOOFIISI
Pulezidenti w’omuzanyo gwa ttenisi ow’okummeeza- Table tennis omupya, Sailas Muwanga akwasiddwa woofiisi okuva ku Robert Jjagwe abadde Pulezidenti. Omukolo gwabadde ku Copper Chimney e Lugogo era ekisanja kya myaka 4.

Omukolo gwetabiddwako ebikonge okuva mu mizanyo egyenjawulo okuli Edgar Watson(FUFA, Don Rukare (UOC), William Blick (UOC).

Share This Article