Emivuyo Ku Ttiimu Y’okubaka Egenda E Bungereza; Lwaki Bayise Abakadde

KIRABIKA lyafuuka tteeka omuzanyo gw'okubaka okubaamu emivuyo kubanga okuva mu kisanja kya pulezidenti Suzan Annek, wabadde wabaawo emivuyo mu kulonda omutendesi wamu n'abazanyi abalina okukiikirira eggwanga mu mpaka ez’enjawulo.

Juma Ali
3 Min Read

KIRABIKA lyafuuka tteeka omuzanyo gw’okubaka okubaamu emivuyo kubanga okuva mu kisanja kya pulezidenti Suzan Annek, wabadde wabaawo emivuyo mu kulonda omutendesi wamu n’abazanyi abalina okukiikirira eggwanga mu mpaka ez’enjawulo.

Okuva ku Suzan Annek, waddawo pulezidenti Sarah Babirye Kityo agamba nti tatya ‘danger’ era emivuyo gyeyongera mu kulonda omutendesi okukkakkana nga Vincent Kiwanuka bamusuude ebbali nga Fred Mugerwa aleeteddwa era mu maaso obutakkaanya bwalabikawo wakati wa Sarah Babirye n’omumyukawe Brig Flavia Byekwaso ku lutalo lw’entebe. Gye byaggwera nga bano entebe bagifiiridfwa era nga n’ekibiina ky’omuzanyo gw’okubaka nga kiggyiddwako satifikeeti .

Ekibina ekitwala omuzanyo guno mu nsi yona kyasalawo akakiiko k’ekiseera okutwala omuzanyo guno era akakiiko kaalonda omutendesi Nelson Bogere okutendeka She Cranes era yabatwala mu mpaka za Fast Five ne African Netball Championship.

Mu nkomeroro y’omwaka oguwedde, pulezidenti Jocelyn Ucanda yalondebwa nga pulezidenti omupya n’akakiiko ke ne bagoba omutendesi Nelson Bogere okuleeta omutendesi Rashid Mubiru eyatwala She Cranes mu World Cup wa 2015 ne Common Wealth wa 2018.

EMIVUYO MU KULONDA TTIIMU EGENDA E BUNGEREZA
Oluvanyuma lw’okulonda Rashid Mubiru ng’omutendesi, ttiimu ey’abazanyi yayitiddwa okutandika okwetegekera empaka za Vitality Nations ezigenda okubeera mu ggwanga lya Bungereza wabula ekyewunyisa ku ttiimu eno mulimu banamukadde basatu ababadde bamaze ebbanga ddene okuva bwe baava ku ttiimu y’eggwanga okuli nnamukadde Barbra Namukaya ezannyira mu kiraabu ya Police, Florence Sylvia Nanyonga azanyira mu kiraabu ya Prison ne Rachael Nanyonga azanyira mu NIC.

LWAKI BANAMUKADDE BAYITIDDWA?
Kigambibwa nti waliwo pulaani y’okutwala banamukadde e Bungereza basobole okusigalayo bakubireyo ekyeyo.

OLUTALO KU VIZA YA BUNGEREZA
Kigambibwa nti waliwo bantu bangi abaagala okuyita mu ttiimu eno okusobola okufuna VISA ezibabeeza mu Bungereza baleme kukomawo kuno.

LWAKI KADONDI YASUULIDDWA
Kigambibwa nti oluvanyuma lw’empaka za African Netball Championship ezaali e Namibia, omuzannyi Faridah Kandondi azannyira mu kiraabu ya Nottingham e Bungereza y’omu ku bazannyi abaateeka abakungu ku nninga okusasula abazanyi akasiimo kaabwe era y’ensonga lwaki yasuuliddwa ku ttiimu egenda e Bungereza.

EZA TORORO SQUASH ZENGEDDE
Empaka eza Uganda Open Squash Tournament 2025 zigenda kubeera ku Rock Classic Hotel e Tororo okuva nga 16 -22 February, 2025 ng’abawanguzi baakugabana ddoola 6,300(eza Uganda 23,310,000) era abazanyi okuva mu East Africa buli omu waakusasula 50,000 ate okuva mu wabweru bwa East Africa, buli omu waakusasula ddola 30(eza Uganda 111,000).

Share This Article