Obulippo Okukomyawo Kkooti Y’amagye: Balumirizza Ba MP Okusaba M7 Ebisawo Bya Ssente Okumukolera Etteeka Okusiba Aba Opozisoni…

OMUBAKA BRANDON KINTU [Kagoma] ayogerera ba MP ba NRM mu palamenti, nga tannalinnya bbaasi ne banne okugenda mu State House okusisinkana ssentebe w’ekibiina kyabwe era pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni okukubaganya ebirowoozo ku nnongosereza mu tteeka ly’eggye lya UPDF, ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka zaateeseteese okutwala mu palamenti okuyisibwa, yatukakasizza nga bwebagenda okuteekawo embeera enzibu okulemesa mukama waabwe okukomyawo etteeka ezirozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye.

Sengooba Alirabaki
9 Min Read
OMUBAKA BRANDON KINTU [Kagoma] ayogerera ba MP ba NRM mu palamenti, nga tannalinnya bbaasi ne banne okugenda mu State House okusisinkana ssentebe w’ekibiina kyabwe era pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni okukubaganya ebirowoozo ku nnongosereza mu tteeka ly’eggye lya UPDF, ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka zaateeseteese okutwala mu palamenti okuyisibwa, yatukakasizza nga bwebagenda okuteekawo embeera enzibu okulemesa mukama waabwe okukomyawo etteeka ezirozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye.
Kintu eyabadde ayogeza obumalirivu, yatubuulidde nti ababaka ba NRM nabo bannayuganda nga bamanyi essanyu abantu be bakiikirira mu palamenti lye baafuna nga ssaabalamuzi Owiny Dollo ne banne ku kkooti ensukkulumu nga basazizzaamu eky’okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye ng’ate tebasobola kwekobaana na pulezidenti Museveni kuzza bantu baabwe mu kkooti eyo n’akakasa nti ye ne banne bagenda kumutunula mu maaso bamugambe nti by’oleeta tetubyagala mu ggwanga lyaffe.
Ono anyonyodde nti okusibwa kwa bannaabwe okuli Paul Akamba, Micheal Mawanda ne Cissy Namujju ku misango gy’obuli bwenguzi gavumenti n’eteekawo n’embeera okubalemesa okweyimirirwa, kyabayigiriza nti buli etteeka ebbi lyebakola nabo lisobola okubasiba ng’eno y’ensonga lwaki balina okwegendereza enyo ku tteeka ly’okuzza abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye.

MBABAZI YEEKOLERA ETTEEKA ERYAMUSIBA

Kintu yawadde n’ekyokulabirako ky’eyali ssaabaminisita John Patrick Amama Mbabazi eyakulemberamu okukola etteeka erikugira okukuba enkung’aana, wabula bweryali liteekesebwa mu nkola ye gweryasooka okukwata ng’eyaduumira ekikwekweto ekimukwata omugenzi Andrew Felix Kaweesi yalimusomera nga bw’amujjukiza oba talimanyi era lye yeesigamako okumulemesa okugenda e Mbale okwebuuza ku bannayuganda oba bamusemba okwesimba ku bwapulezidenti n’annyonyola nti bo ng’ababaka ba NRM si beetegefu kukola nsobi bwetyo.
Kintu yasabye ababaka ku ludda oluvuganya okubayambako okulemesa etteeka ly’okuzza abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye, wabula omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mityana Joyce Bagala Ntwatwa yategeezezza nti Kintu alimba tewali mubaka wa NRM asobola kuyimirira mu maaso ga Museveni n’awakanya kyabeera ayagala.
Bagala yanyonyodde nti ababaka ba NRM bwe batuuka mu maaso ga Museveni bamusaba ssente n’okumuloopera ebizibu byebalina n’abantu baabwe.
ONO BWINO bweyazzeemu okusisinkana omubaka Kintu nga baakava mu State House okusisinkana Museveni yategeezezza nga bwe bakkanyizza ng’ababaka ba NRM okukola etteeka erizza abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye ng’alumiriza nti kino baakikoze ku lwa bulungi bwa securite y’eggwanga n’okuteekesa mu nkola ebyasalwawo kkooti ensukkulumu.

EBIRI MU TTEEKA LYE BALEETA OKUSIBIRA ABANTU MU KKOOTI Y’AMAGYE

Ono ategeezezza nti bakkanyizza nti singa omuntu wa bulijjo bamusango n’emmundu oba ebikozesebwa ebirala ebirina okubeera n’abajaasi, alina okutwalibwa mu kkooti y’amagye avunanibwe. Wabula nga waliwo omukisa nti emisango bwegimusinga asobola okujulira mu kkooti za bulijjo.
Omuntu wa bulijjo singa akwatibwa ng’azzizza omusango n’omujaasi, Hamson Obua Nnampala wa gavumenti mu palamenti, ategeezezza nti alina okuvunanibwa mu kkooti y’amagye wabula ng’asobola okujulira mu kkooti ya bulijjo.
Ensonda mu State House zitubuulidde nti Museveni yategeezezza ababaka nti eno y’engeri yokka gyebasobola okutaasaamu eggwanga lyabwe n’ababuuza nti kati bwe bagaana okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye, enkumi n’enkumi z’Abakaramoja abakwatibwa nga bakozesa emmundu okubba ente za bannaabwe babatwale wa?
Ensonda zitubuulidde nti Kiwanuka etteeka erizza abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye yamaze dda okulibaga ng’ababaka ba NRM olwamaze okuliwagira, ligenda kutwalibwa mu lukiiko lwa baminisita balikubaganyeko ebirowoozo, lyakuleetebwa mu palamenti obutasukka mwezi guno.

SFC EKUUMA M7 BAGITONGOZZA

Mu tteeka lino, Kiwanuka era yataddemu akawayiro akakakasa eggye lya bakomando ba Special Forces Command (SFC) -erikuuma Pulezidenti Museveni ng’ekibinja ekyetongodde mu ggye lya UPDF nga kikolera wansi w’omuduumizi w’eggye lino.

BABIYINGIZZAAMU ABABAKA OKUSABA M7 EBISAWO BYA SSENTE

Robert Mayanja omu ku bayambi ba Dr Kizza Besigye ategeezezza ONO BWINO nti baakitegeddeko nga Museveni bweyatandise edda okunonya ssente z’okuwa ababaka ba palamenti okubasikiriza okuwagira etteeka ly’okuzza abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye nga buli omu asuubirwa okuweebwa ssente ezitakka wansi wa bukadde 50.
Ono ategeezezza nti Museveni ayagala okulekawo kkooti y’amagye okutiisa abamuvuganya n’abajaasi munda mu UPDF ng’eno y’ensonga lwaki yatabukira nyo abalamuzi ba kkooti ensukkulumu okugisazaamu n’abalumiriza okugezaako okutabangula pulaani n’obuduumizi bw’eggye.

MUHOOZI AVUMA ABALAMUZI N’AKOONERAMU KITAAWE M7

Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF yawagira nyo kitaawe Museveni n’ategeeza ng’olukiiko lw’amagye olw’okuntikko bwerulina okuyitibwa mu bwangu okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eyo nga kuno yagattako obubaka bweyateeka ku mitimbagano gye ng’alagira mu bwangu Ssabalamuzi Dollo ne banne bwe baasala omusango gwa kkooti y’amagye okumwetondera nga bwebatakikola agenda kubakolako bubi nyo n’agamba nti balowooza bwe bambala bi wiigi ku kitwe nti babeera ba kitalo nnyo.
Mayanja awagiddwa Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago ategeezezza nti engeri gyamanyimu ababaka ba NRM n’addala mu kaseera kano nga bagenda mu kalulu, etteeka n’okuzza abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye lyerisobola okubayamba okukamula akasente mu Museveni kabayambeko mu kalulu ka 2026.

M7 BW’ABA ALINA KY’AYAGALA OKUYISAAWO SSENTE AZITA

Lukwago alumiriza nti Museveni bwabeera alina kyayagala sente ezisumulula, awadde ekyokulabirako ky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti mu 2017 n’okuggyawo ebisanja nga wonna Museveni ababaka ba NRM yabawa ssente okubagulirira.

N’ABA OPOZISONI BALINZE SSENTE ZA MUZEEYI!

Ensonda mu palamenti zitubuulidde nti n’ababaka ku ludda oluvuganya nabo balinze akasente ka Museveni okumuwagira n’addala bwekiri nti akalulu tekagenda kubeera kaakukubwa mu lujjudde wabula okuleekaana obuleekanyi ng’abanaasinga okuleekaana be bagenda okubeera nga bawangudde.
Omubaka Yusuf Nsibambi owa Mawokota South, akkiriza nti ababaka ku ludda oluvuganya abasinga mu palamenti bakolera Museveni era alina okutya nti bagenda kubalyamu olukwe beebuzeebuze nga bwe baakola ku bbago ly’okuggyawo etteeka ku kitongole ky’emmwanyi ki UCDA ne beekweka neriyita nga tebaliiwo.
Ensonda zitubuulidde nti Museveni akimanyi nti ababaka abasinga mu palamenti balina amabanja mangi nga beetaaga ssente mu bulungi ne mu bubi okukola ku bizibu byabwe ate nga bagenda mu kalulu nga tebasobola butazitwala.
Nsibambi ategeezezza nti abamu ku babaka batandise okubatiisatiisa nti bwebatawagira Museveni ku kkooti y’amagye bagenda kubalwanyisa mu bitundu byabwe bye bakiikirira baleme kubakomyawo.

OBULIPPO OBUTUUYANYA KIWANUKA MU LUTALO LW’OKUZZA ABANTU MU KKOOTI Y’AMAGYE

Munnamateeka ow’amaanyi Nasser Kibazo, ategeezezza ONO BWINO nti Kiwanuka ali mu kaseera kazibu nyo kubanga etteeka ly’apanga okukola okuzza abantu ba bulijjyo mu kkooti y’amagye limenya ssemateeka w’eggwanga eyagaana palamenti okukola etteeka lyonna okulemesa ensala ya kkooti okuteekebwa mu nkola.
Kkooti ensukkulumu yagaana okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye nga Kiwanuka kyalina okukola kwekutwala amagezi ga ssaabalamuzi Dollo okukwata mu ssemateeka batondewo kkooti enkulu eyeetongodde okukola ku misango gy’amagye nga bweguli ku kkooti ekola ku kuwozesa abali b’enguzi, ebyobusuubuzi n’endala.
Kkooti eno erina okubeera ng’etuulako abalamuzi ba bulijjo oba abajaasi wabula nga basunsuddwa akakiiko ka Judicial Service Commission akavunanyizibwa okuwandiika n’okubonereza abalamuzi abasiiwuuse empisa.
Ensonda zitubuulidde nti Museveni wiiki ewedde bweyasisinkanya ssaabalamuzi Dollo n’abalamuzi abapya abakalondebwa bwe baabadde mu State House nga balayizibwa, yabakakasizza ng’abalamuzi abagenda okuteekebwa ku kkooti y’amagye balina okuba bannamateeka abasunsuddwa akakiiko ka Judicial Service Commission.
Kibazo ayongedde nti Kiwanuka alina era okukwata mu ssemateeka aggyemu akawaayiro 92 akakugira palamenti okukola eteeka okulemesa ekisaliddwawo kkooti okuteekebwa mu nkola era ewatali ekyo enongosereza zaayagala palamenti ekole era bagenda kuziwakanya mu kkooti etaputa ssemateeka.
Looya Male Mabirizi atubuulidde nti Museveni tasobola kukkiriza nnongosereza mu ssemateeka ng’ayagala kulongoosa mu mateeka ng’eryamagye kubanga akimanyi ennongosereza mu ssemateeka alina okwebuuza ku bannayuganda bonna ne bawa ekirowoozo ku ky’ayagala okukola ate ababaka bayinza okukozesa omukisa guno okuyisaamu amateeka gaatayagala nga kino kye kikyamulemesezza okuwera okukkiriza abateeberezebwa okuzza emisango okweyimirirwa ku misango gya nnaggomola ng’alumiriza nti kino okukikola alina kukola nnongosereza mu ssemateeka.
Mabirizi ategeezezza nti Museveni kati kyakola kutiisatiisa balamuzi ng’eno y’ensonga lwaki ssaabalamuzi Dollo yakola okulung’amya eri abalamuzi ku misango ng’okulya mu nsi olukwe, obutemu, okugezaako okutta omuntu, obutujju, obuli bw’enguzi ng’akalubya omuntu oyo okukkirizibwa okweyimirirwa ng’ennaku zino abalamuzi bonna batunuulira nyo okuwabula kwa Dollo okusinga etteeka kyeryogera, eno y’ensonga lwaki omugagga Molly Katanga akyavundira mu kkomera e Luzira ku misango gy’okutta omwamiwe omugagga Henry Katanga.
Share This Article