WINNIE BYANYIMA ategeezezza ng’ebimu ku bintu by’atalyerabira, lwe lunaku lwe yasanga omwamiwe Dr Kizza Besigye ng’atudde ku buliri bwabwe, wabula ng’alabika ali mu birowoozo ebingi, kino olwakitegeera teyayagala kumusumbuwa kwekumuyitako mpola n’agenda mu kisenge gye yalina okusula ne yeebikka.
Ono anyumya nti ku lunaku olwo, yali awulira akooye kubanga baasiiba ku palamenti nga basanyuka ku kabaga palamenti keyali ebategekedde ng’ababaka ba palamenti akamalako omwaka, wabula otulo tubeera tetunnamutwala, Dr Besigye n’amukwatako ng’alinga amuzuukusa nga bw’amutegeeza nti nga tanneebaka aliina ensonga enkulu gyebalina okwogerako ekiro ekyo.
BESIGYE: ‘NSAZEEWO OKWESIMBA KU M7 EKIJJAKIJJE’
Wano weyamutegeereza nga bweyali asazeewo okwesimba ku pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2001, Byanyima ategeezezza ONO BWINO nti yatunula Besigye mu maaso nga bw’amubuuza oba ky’asazeewo akitegeeza kubanga kyali kigenda kukyusa obulamu bwabwe bwonna bwe basigazzaayo ku nsi.
Byanyima ategeezezza nti kye yabuulira Besigye kituukiridde kubanga emyaka 25 gy’amaze ng’avuganya Museveni babadde mu kutulugunyizibwa okutagambika ng’enfunda nnyingi basimattuse okufa n’alabula pulezidenti Museveni nti bwanaagenda mu maaso ng’akozesa abantu nga munnamawulire Andrew Mwenda nga balumiriza nti Besigye okukwatibwa yalina pulaani y’okutta Museveni n’abantu ba famire ye, naye agenda kuleeta obujulizi obulaga enfunda Besigye zaasimattuse okuttibwa Museveni n’abantu be.
ABASAJJA BAATUFUNZA N’EWAKA BAATUUKAYO
Byanyima ategeezezza nti okuva Besigye bweyatandika okuvuganya Museveni, tebakyalina bulamu bwakyama era enkiko ez’enkizo tebazituuza mu maka gaabwe e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso. Annyonnyodde nti nga baakagula ettaka lyabwe e Kasangati, omuntu omulala yagula ettaka okubaliraana n’atandika n’okuzimba wabula beewunya nyo mu kaseera katono nga mulirwana waabwe anaatera okumaliriza enyumba ye okubategeeza nga bweyali agitunze, wano we baakimanyira nti Museveni ye yali agigulidde bambega be okulondoola entambula z’omwamiwe ekyali ekituufu kubanga abantu abasula mu nyumba eyo ebaliraanye bakyukakyuka buli kiseera nga nabo tebabamanyi.
Byanyima anyonyodde nti mulirwana waabwe omulala yawanika waggulu ku nyumba ye kamera n’agitunuza butereevu mu maka gaabwe ng’ono tebaamunyega kubanga bamanya nti Museveni y’agitaddewo okusobola okulondoola buli kimu ekigenda mu maaso ewa Besigye.
DDALA BESIGYE NE MUSEVENI BALWANIRA MUKAZI?
Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo atubuulidde nti mu bantu bonna abalyogeredde Museveni n’okutuuka okumuyita omutemu, teyandibadde Byanyima gw’alumiriza nti Museveni amuyambye nyo okutuuka waatuuse nga y’akulira ekitongole kya UNAIDS ekirwanyisa okusaasaana kw’akawuka ka ssiriimu mu nsi yonna.
Ono awagiddwa Mwenda ategeezezza nti Byanyima okwogerera Museveni ebikikinike, omukwano gweyalimu ne Museveni edda ennyo gwe gumutawaanya ekintu ekyatabudde Byanyima n’amulumiriza nti alina obukyayi ku Besigye nga ne bwamusanga mu kkubo asobola okumufumita ekiso n’amutta kubanga byonna byayogera asiiga bukyayi ku Besigye.
BYANYIMA AWANDIIKA KITABO KU ‘LAAVU’ YAABWE NE M7
Byanyima akkirizza nti ddala yaliko mu mukwano ne Museveni wabula ebyo byayita nga kibeera kyabwewussa Mwenda okubikomyawo wabula n’amusuubiza nti bwabeera ayagala okumanya ebisingawo ku mukwano gwabwe ne Museveni na lwaki gwagaana okunywera alinde ekitabo ky’ali mu kuwandiika ku bulamu bwe.
Mu 2024, Gen Muhoozi Kainrugaba omuduumizi wa UPDF yawandiika obubaka ku mitimbagano gye ng’ayanukula Byanyima eyali atadde obubaka ku mitimbagano gye ng’avumirira Muhoozi by’awandiika ku mitimbaganno gye n’amutegeeza nga bwabadde tamanyi nti akyaliyo nga yasemba kumulabako emyaka mingi emabega mu State House e Nakasero.
Byanyima naye akkiriza nti ddala Museveni amumanyi ng’omuntu nga yakula amulaba mu maka ga kitaawe omugenzi Boniface Byanyima e Ruti Mbarara, bweyagenda mu nsiko kitaawe yataasa Esteri Kokundeka maama wa pulezidenti Museveni obutattibwa magye ga gavumenti y’omugenzi Dr Milton Obote nga bamwesasulizaako olwa batabani be Gen Museveni ne Gen Salim Saleh okugenda mu nsiko okumulwanyisa.
Ono anyumya nti omugenzi Kokundeka embeera yamutabukirako mu kibuga Mbarara n’atandika okwevulungula mu luguudo, nga Mzee Byanyima olwakitegeera n’alagira bamutwale mu maka ge mweyamukuumira okutuusa batabanibe bwe baawamba obuyinza mu 1986 n’akakasa nti Muhoozi ye tamutegeera era tabeerangako naye.
Mu kitabo Betrayed by my Leader, Maj Gen John Kazoora anyumya engeri Byanyima bw’atavanga ku lusegere lwa Museveni nga banaatera okuwangula olutalo lw’ekiyeekera, era lumu yabasangako mu kafo akamu nga Museveni ne Byanyima beetala nga abanaabaaga.
KU BESIGYE NE M7 ANI ALINA UGANDA KU MUTIMA GWE?
Ibrahim Ssemujju Nganda -MP Kira Municipality, ategeezezza ONO BWINO nti mu Uganda amanyimu bannabyabufuzi babiri bokka abamanyi Obwapulezidenti kyebutegeza era nga beetegefu okubufiiririra nga bano ye pulezidenti Museveni ne Dr Besigye nga abasigadde beenonyeza bugagga na kukyusa bulamu bwabwe ng’abantu.
Ono ategeezezza nti Besigye okugenda mu nsiko e Luwero, yalekawo omulimu ogwali gumusasula obuwanana bwa ssente mu Nairobi Hospital mu Kenya, yagenda okudda nga mukyalawe gweyasooka okuwasa ng’omusajja omulala yamuwasa dda nga yaakamuzaalamu abaana basatu.
Ssemujju ategeezezza nti wadde Uganda agirina ku mutima, wabula tasobola kulekawo mukyalawe Hajjati Faridah Ssemujju gwayagala enyo nti agende mu nsiko kulwana kufuna buyinza ate ne mukyalawe kino akimanyi nga buli bwe bamufunza n’okumusiba mu bumotoka bwa Poliisi, ng’omukazi amulabula okwegendereza obutabifiiramu amulekere obwannamunddu n’abaana baabwe nga bamulekwa.
OMWANA WA BESIGYE OMULALA ATTOTTODDE BY’AYITAMU
Ssemujju awagiddwa Adam Ampa Besigye omu ku batabani ba Besigye abakulu ategeezezza nti okuva bweyazaalibwa okutuuka okukula, tafunanga ku mukwano gwa kitaawe Besigye, nti si kubeera nti tamwagala wabula obudde bwe bonna obusinga abumalira mu kulwanirira Uganda ennungi erimu enfuga y’amateeka nga buli munnayuganda agyenyumirizaamu.
Ampa alabudde Museveni nti bwazannyira mu nsonga z’obulamu bwa kitaawe n’afiira mu kkomera, ye ne mutabaniwe Gen Muhoozi be bagenda okukisasulira nga ne bwerunaabeera ddi balikisasulira ng’ategeezezza nti munda mu ye awulira ennaku nnyingi olw’engeri gy’alabamu kitaawe nga bamutulugunya nga y’ensonga lwaki avuddeyo gyabadde yeekukumye ng’abasinga tebamumanyi agatte eddoboozi kwabo abalwana okulaba nga kitaawe afuna obwenkanya.
Ssemujju agasseeko nti Besigye bwe baawamba gavumenti, Museveni yamwesiga n’amuwa obwaminisita omubeezi ow’nesonga z’omunda mu ggwanga nga wa myaka 29 n’akola ne mu bifo ebisava ebyali bimusasula obulungi wabula mu 2001 yasalawo okumwesimbako ng’ategedde nti omusajja Uganda talina kalungi kaagyagaliza, okuggyako okulimba n’okwegaggawaza ye, famire ye ne mikwano gye.
M7 AMANYI BESIGYE ENDYA N’ENSULA
Ssemujju agassseko nti amanyi lwaki Museveni akozesa obukambwe bungi ku Besigye kubanga amumanyi nti musajja mugumu era bw’abaako ekintu ky’ayagala, kibeera kizibu okukimulemesa ng’eno y’ensonga lwaki abasirikale ne bwe bamukuba tiyagraasi nga yeekalakasa asigala atambula butambuzi ate nga bo badduka okutuusa bwe bamukozesako eryanyi okumusiba.
Ssemujju anyonyodde nti Besigye bwe yafiirwa mugandawe Joseph Musasizi Kifefe, abasinga baalowooza nti agenda kunafuwa mutima eby’obufuzi abiveeko wabula yalemerako, n’okutuusa kati akyalwanira buyinza.
EBYA KB OKUGAANA OKULYA EMMERE
Ono atubuulidde nti teyeewunyizza okulaba nga Dr Besigye agaanye okulya emmere okumala ennaku ezisoba mu 9 ng’awakanya okumusibira wabweru w’amateeka ate ng’akimanyi nti ky’akola kiyinza okumuviirako okufa ekintu ye kyagamba nti takyakitya kubanga yasalawo oba afa afe naye ng’anunudde Uganda.
Robert Mayanja omu ku bayambi ba Dr Besigye ategeezezza ONO BWINO nti okumanya Dr Besigye musajja mugumu, mu kwekalakasa kw’okutambula okugenda okukola okwa ‘Walk to Work’ mu 2011, yafuna amawulire g’ekikessi nti ekiragiro kyali kiyise bamuttire ku bbiri e Mulago, yasalawo okulumba ng’omu ku boofiisa ba poliisi ab’amaanyi okuva ewaabwe e Rukungiri ye yamutaasa obutattibwa.
BESIGYE YEEYAGALIZA?
Wabula Mwenda atubuulidde nti Besigye musajja mubi nyo eyeeyagaliza yekka nga Museveni bwamulemye okumuwangula mu kalulu yasazeewo amutte bussi nga tafudde ku kiyinza kuddirira nti eggwanga ligenda kutabanguka ng’asse pulezidenti.
Mwenda akkiriza nti Besigye musajja mumalirivu nyo ng’asobola n’okuwayo obulamu bwe afe naye ng’afunye kye yeetaaga ng’ono ABDUL KYAMUNDU omusomesa w’amateeka ku yunivasite y’Obusiraamu IUIU amusekeredde n’ategeeza nti Besigye ekimulwanya kuzza nfuga y’amateeka mu Uganda buli muntu abeere nga yenkanankana munne mu byamateeka nga Mwenda bwebamusanga mu byambalo by’amagye avunanibwa mu kkooti y’amagye mu kifo ky’okusiba abavubuka ba NUP abambala obwambazi engoye ezeefaananyiriza ebyambalo by’amagye.
ATE MUSEVENI
Munnamateeka Edward Ssansa ategeezezza nti Museveni ne Besigye bafaanaganira ddala nga buli omu bwabeerako kyagoba kibeera kizibu okumulemesa. Eno y’ensonga lwaki Museveni mu 1980 ng’akalulu ka bonna kawedde, yagaana okuwuliriza basajja bakulu ng’omugenzi Paul Kawanga Ssemogerere okulwanira mu palamenti n’asalawo okugenda mu nsiko akube emmundu awambe gavumenti nga kino kyakakasa obuyinza bweyali ayagala.
Mwenda atubuulidde nti okumanya Museveni musajja ayagaliza Uganda emirembe, bambega bwe baamuwa obutambi nga Besigye apanga okumutta, yalagira bakomando abaamukwatira e Kenya gyeyali agenze n’omuyambi we Hajji Obed Kamulegeya Lutale obutabatuusaako bulabe bwonna wabula babatambuze bulungi babakomyewo mu Uganda baggulweko emisango mu kkooti zaamateeka ekintu ekizibu okukolebwa omuntu atayagala ggwanga lye.
Ensonda mu State House zitubuulidde nti Museveni musajja alumirirwa nga bweyawulira nti Besigye agaanye okulya yatya nyo kubanga amanyi ebikwata ku bulamu bwe bingi era yayita minisita Dr Chris Baryomunsi gw’amanyi obulungi nti mukwano gwe nga bonna bava mu ttundutundu ly’e Kabale, baasalawo okwogerezeganya naye amwegayirire esazeemu okwekalakaasa kwe.
Dr Baryomunsi akkiriza nti nga tanagenda kulaba Besigye, yasooka kwogerezeganya ne Museveni n’akakasa nti byonna bye bakkanyako yabibuulira Besigye era byonna ebyali bigenda mu maaso okuli n’okukkiriza abasawo be okumulaba munda mu kkomera n’okumutwala mu kalwaliro e Bugolobi okwongera okukeberebwa byonna Museveni yali abigoberera bulungi.
M7 UGANDA ALOWOOZA YIYE
Wabula Ssemujju alumiriza nti Museveni Uganda agitwala nga bizinensi ya famire ye ng’anyonyola nti obugagga bwonna bwebalina babufunye mu bannayuganda ng’abaana be okutuuka ku bazzukulu baalina tewali yali yeekolereddeko nga ssente ezibeeyagaza bafuna za bwereere ez’omuwi w’omusolo.
KY’EKISEERA OKUKYUSA OBUKULEMBEZE M7 AVEEKO MU MIREMBE
Byanyima asabye Museveni yeekube mu kifuba alowooze ku mbeera gye bayiseemu ng’eggwanga n’ebiseera by’eggwanga eby’omumaaso asisinkane abamuvuganya bateese ku ngeri y’okukyusa obuyinza mu mirembe -ono awadde n’amagezi nti bannaddiini oba ensi z’Abazungu ezitalina kyekuubira zisobola okukulemberamu enteekateeka y’okupoloota Museveni aweeyo obuyinza mu mirembe, ewatali ekyo obusungu bwalaba mu bannayuganda naddala abavubuka bulaga nti gavumenti ye egenda kugwa omusaayi guyiike.
Munnamawulire Raymond Mujuni agambye nti obukulembeze bwa Uganda okutereera obulungi abalwanyi bonna abali mu bukulembeze balina kusooka kubuvaamu kubanga bo balina endowooza nti olutalo lwonna bwe balutandika balina kuluwangula ng’ebyokuteesa tebabyagala ng’eno y’ensonga lwaki Museveni ne Besigye buli omu munne amwagala mufu ng’ali mu ssanduuke.
Eno embeera ye yaliwo ku Gen Edward Kale Kayihura eyali ssaabaduumizi wa poliisi ne Henry Tumukunde eyali minisita wa securite ng’okulwanagana okufiirawo kwonna kuva ku bukuku bwe baafunira mu nsiko nga balwana okuleeta gavumenti nga n’okutuusa kati tebabwerabira nga buli omu bwalaba ku munne ayagala kumwesasulirazaako.
OBULIPPO OBULINZE LOOYA OMUKAMBWE GWE BALEESE OKUSIBA BESIGYE
Ffayiro y’emisango gy’okulya mu nsi olukwe n’okusirikira olukwe lw’okuwamba gavumenti egyagguddwa ku Besigye, Hajji Kamulegeya n’omujaasi Denis Olaa, baagikwasizza looya omukambwe Lino Anguzo ng’ono ye mumyuka w’omuwaabi wa gavumenti akulira balooya ba gavumenti.
Omwogezi wa ofiisi y’omuwaabi wa gavumenti Jacquelyn Okui, akakasizza ONO BWINO nti ofiisi yaabwe yazzeemu n’etunuulira obujulizi obwaleeteddwa ku fayiro ya Besigye ne banne okuva mu kkooti y’amagye gye baasooka okubavunaanibwa ne bakakasa nti babasibe kwekugissaako omukono emisango gitandikwe okuwulirwa.
Anguzo waakuyambwako bannamateeka abalala okuli Richard Birivumbuka ng’ono yeyali mumusango gy’omubaka Allan Ssewanyana owa Makindye West n’omugenzi Muhammad Ssegirinya eyali owa Kawempe North.
Anguzo yali w’amaanyi nyo mu kuwoza emisango egy’obutujju, obutemu n’okugezaako okutta abadigize mu bbomu ezaabwatukira e Lugogo ne Kabalagala mu 2010 nga balaba World Cup ogw’akamalirizo.
Mu kuwoza emisango gino, Anguzo yafuna obuzibu bwe baatemula Joan Kagezi Namazzi abatemu bwe baamuteega ne bamukubira e Kiwatule amasasi agaamuttirawo ng’adda ewaka we. Kagezi okumutta, ye yali akulembeddemu balooya ba gavumenti era bweyafa balaeeta kati omulamuzi Suzan Okalany naye nga Anguzo y’alina bwino w’omusango.
Mu kuwozesa Abasiraamu Abatabbuliiki b’e Nakasero nga bakulemberwamu Amir Umar Sheikh Yunus Muhammad Kamoga, Anguzo ye yakulemberamu balooya ba gavumenti emisango ne bagiwangula wadde nga mu kkooti ejulirwamu Abasiraamu baawangula nga Anguzo si ye yali aguwoza.
Anguzo yali mu misango egivunaanwa ssaabayeekera Jamil Mukulu Kyagulanyi eyali aduumira abatujju ba ADF, nga ssaabawaabi wa gavumenti omulamuzi Jane Frances Abodo amutwala ng’emmundu emmenye nga yamwanjula dda n’ewa pulezidenti Museveni, ensonda zitubuulidde nti omukulu bw’abaako omusango gwalinamu obwetaavu amukubira okutegeera bwegutambula.
GUNO GWANDIMUZITOOWERERA
Wabula balooya beetwogedde nabo batubuulidde nti wadde Anguzo yeewulira okuwoza emisango ogwa Besigye, guyinza okumuzitoowerera naddala obujulizi obwaleeteddwa mu kkooti ng’obutambi bw’amaloboozi nga Besigye ateesa n’Abazungu okutta Museveni nga bapanga okubwatula enyonyi mwatambulira afiiremu.
Anguzo alina okuleeta omujulizi eyakwata akatambi ako Mwenda kaalumiriza nti katuufu nyo, okuleeta bakomando abaakwatira Besigye ne Lutale mu Kenya nga bano Museveni ayinza okutya okubalaga ensi nti bawa bujulizi nga kino kiyamba balooya baabawawaabirwa.
Looya Male Mabirizin ga tannasimbula kugenda Rwanda gye yagenze okuwoza n’okuloopa emisango, atubuulidde nti balooya ba Besigye amanyi bulungi nti bagenda kusooka kuwakanya engeri etagoberera mateeka nga Besigye ne Lutale babaggya e Kenya okubakomyawo mu Uganda nga kino kyokka kisobozesa bulungi okugobesa emisango gya gavumenti omulamuzi kasita abeera nga yeetengeredde.
ENKALU KU KWEYIMIRIRA BESIGYE NE LUTALE
Bannamateeka batubuulidde nti Besigye ne munne kigenda kubabeerera kizibu okukkirizibwa okweyimirirwa nga bano okusinga beesigamye ku musango gw’omugagga Molly Katanga gwebalumiriza okutta omwamiwe Henry Katanga.
Besigye wadde agenda kuweza emyaka 70, wabula abalamuzi babiri bamummye okweyimirirwa awoze ng’ava wabweru mu kkomera e Luzira.
Mabirizi ayongeddeko nti omusibe okubeera ng’aweza emyaka 50 n’okudda waggulu, ng’alina obulwadde n’amaka mwasuula kibeera kyabeeranga kyangu okweyimirirwa wabula kati abalamuzi abaliwo tebakyabifaako.
EMMERE BESIGYE GYE YASOOSE OKULYA NGA YAAKAVA MU KWEKALAKAASA
Byanyima ategeezezza nti bwe baamugambye nti Besigye asazizzaamu okwekalakaasa, yagendeddewo mu kkomera e Luzira okukakasa ng’eno yamutegeezezza nti okwekalakaasa akusazizzaamu kubanga bamututte mu kkooti ya bulijjo nga mu kkomera e Luzira kati aliyo mu mateeka.
Ono ategeezezza nti yamusanze akyali mugonvu nyo ng’okumulaba yagenze butereevu mu kaduukulu mwe baamusibira.
Yamusabye okumuleetera ebibala, amenvu, obuugi n’emmere egonda era by’asinga okulya. Besigye yabadde akozze n’okuggwamu amaanyi olw’obutalya.


