NUP Ezimbye Ekkomera Ekkambwe: Abatunda Kkaadi, Ensolima Ezibongotera Mu Situlago Gye Babasibira….

PULEZIDENTI wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu [Bobi Wine], yatabukidde abagezaako okuwamba obuyinza bw’akakiiko k'ebyokulonda mu kibiina kino n’alaalika okubagoba mu lwokaano.

Timothy Nyanzi
7 Min Read
Akulira NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu [Bobi Wine]
PULEZIDENTI wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu [Bobi Wine], yatabukidde abagezaako okuwamba obuyinza bw’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino n’alaalika okubagoba mu lwokaano.
Bino Bobi Wine yabyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule n’ategeeza nti alina obujulizi bweyafuna obulumiriza abamu ku bakulembeze mu kibiina abakubira abeesimbyewo amasimu bave mu lwokaano ne bateekawo abaabwe.
Kyagulanyi yalagidde abalina okwemulugunya ku babasaba ssente za kkaadi okugenda mu kakiiko ke yataddewo akakulirwa amyuka ssentebe w’ekibiina atwala ekitundu ky’obugwanjuba Jolly   Jackline Kemugisha ng’amyukibwa  Aisha Kabanda omubaka omukyala ow’e Butambala.

BALUMIRIZZA OW’EDDEMBE NE CHAIRMAN NYANZI

Ensonda zaffe mu NUP, zitubbiddeko nti waliwo abaatuukiridde akakiiko ne bawaayo obujulizi obuluma Meeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjonji Oweddembe ne Fred Nyanzi amanyiddwa ennyo nga Chairman Nyanzi ne kkansala w’e Kawempe Ssemugooma nti bano be bakulembeddemu okuleeta emivuyo ku kkaadi nga baggyawo ba kandidenti nga bassaawo abo be baagala olw’ebigendererwa byabwe.
Omu ku batuula ku kakiiko kano atubuulidde nti baakafuna bannabyabufuzi abasoba mu 9 abaagala okuvuganyiza ku kkaadi ya NUP nga beemulugunya ku Fred  Nyanzi mukulu wa Bobi ne Emmanuel Sserunjoji Oweddembe  nti babadde bakozesa ebifo byabwe okutiisatiisa abantu nti be basalawo ani anaafuna kkaadi n’atagenda kugifuna  abagaana okukolagana nabo babatisatisa okubabuzaawo era byonna obujulizi babufunye kati balinze lipooti kugisindika wa Bobi asalewo.
Kyokka abamu bagamba nti Bobi talina kyayinza kukola ku mukulu we  Nyanzi kubanga ye yamuyigiriza eby’obufuzi n’okumusindikirizanga okugenda ku ssomero nga kijja kulabika bubi nga amugobye mu kifo kye yeegwanyiza.

LATIF YE YASOOSE OKULABISA NYANZI

Eyaliko omubaka wa Kawempe North Latif Ssebbagala  ye yasoose okulumiriza Nyanzi ng’ayita ku mukutu gwe ogwa TikTok  n’ayatulira Nyanzi nti ave mu nteekateeka y’okusunsulamu abagenda okwesimbawo ku bifo eby’enjawulo kubanga si yaavunanyizibwa. Ssebaggala yalumirizza Nyanzi okutuuza enkiiko mu maka ge n’asalawo abalina okukwatira NUP kkaadi ku bifo omuli ababaka ba palamenti  ba meeya ne bakkansala.

OBA SSEBAGGALA AYOGEZA NNUGU?

Wabula abamamyi eby’omunda bagamba nti ennugu Ssebbagala y’emwogeza bino kubanga Sserunjoji kkaadi y’obwa meeya wa Kawempe Division yagimututteko dda ng’akozesa amaanyi ga Nyanzi mu kibiina.

CHARIMAN NYANZI AWANDA MULIRO

Wabula Nyanzi ONO BWINO bw’amutuukiridde, abyegaanye n’ategeeza nti talina gwatya ng’akola emirimu gy’ekibiina abamulumiriza yabategeera dda baagala kumuvunza mu bantu b’e Kawempe South naye tagenda kuva ku mulamwa.

BALEESE BWINO KU KKOMERA LYA NUP, BALIROJJA!

Ensonda ezeesigika ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule zitubuulidde nti  abakulira securite ku kitebe kino balina akayumba ke baataddewo nga kano abaakalabyeko bagamba kkomera lyennyini mwebasibira abamenya amateeka ku kitebe, okubabuuza abatumye nga n’abamu ku bajeemera amateeka g’ekibiina gye bazooka okubasibira.
Kigambibwa nti ekkomera lino, ekimu ku byaliteesezzaawo, kwe kubonereza abamala gakwata bifaananyi nga tebalina lukusa okuva  mu bakulira eby’amawulire mu kibiina kya NUP, abamanyi eby’omunda batubulidde nti ebiragiro byavudde mu ofiisi ya Bobi  kubanga yafunye amawulire nti waliwo bambega abasindikibwa okuva mu bibiina ebirala omuli NRM, DF ekya Mathias Mpuuga n’ebirala ne bakwata ebifaananyi n’amaloboozi omuli obutambi bwa maloboozi ga Bobi.

BOBI AWADDE EBIRAGIRO MU NKIIKO

Ensonda zitubuulidde nti Bobi yawadde ba foot Soldiers abakwatisa amateeka ebiragiro ebipya eri obutaddamu kukkiriza bantu kumala gakwata bifaananyi anaakwatibwa avunanibwe era nti ebiragiro bino bye baviiriddeko okukola akaduukulu ku kitebe kino.

ABALOZEZZA KU BUKAMBWE BW’AKADUUKULU BALOJJA

Ismail Kalanzi atubuulidde yakwatibwa ng’akuba ebifaananyi mu lukiiko  n’atwalibwa mu kasenge gye baamala essaawa ezisoba mu 6 gye yasanga ba foot Soldiers abamukuba empi nga bamubuuza gy’atwala ebifaananyi, Kalanzi alumiriza nti baamuggyako essimu ze zonna ne bamugamba talina gyayinza kubaloopa kubanga bali ku biragiro kyokka essimu ze tanazifuna.

NUP ETANGAAZIZZA

 Amyuka omwogezi wa NUP Alex Waiswa Mufumbiro ategeezezza nti eby’ekkomera tabimanyi wabula waliwo ebiragiro ebyayisiddwa eri abakulira eby’okwerinda obutakkirizza atali w’amawulire kukuba bifaananyi kubanga waliwo abakozesa obutambi obwo mu bakyamu.

EBYABADDE MU KASENGE NGA BOBI AGOBA SIPIIKA W’E NAKAWA KU BY’OKUVUGANYA KU BWAMMEEYA

Sipiika wa Nakawa division Godfrey Luyombya ate nga ye kkansala akiikirira ekitundu kya Nakawa Institution  yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa X n’alangirira nti avudde mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo kya meeya wa Nakawa. Kyokka abamanyi eby’omunda batububulidde nti yakakiddwa Bobi ave mu kkubo lya Ali Bukeni amanyiddwa nga Nubian Li ccali wa Bobi.
Kigambibwa nti Bobi yayise Luyombya mu ofiisi ye n’amukunya olw’okweremezza mu kifo ate nga yakitegeera dda nti ekibiina kyasalawo dda nti kaadi ku kifo kino kya Nubiana Li,  kigambibwa nti Bobi yalangidde Luyombya okukomya okulaga nti ye meeya wa Nakawa addako, amaanyi agamalire mu kunoonya akalulu k’obwa loodi kkansala akiikirira Nakawa division ku City Hall, bw’anawangula avuganye ku kifo  ky’obwa sipiika wa City Hall kubanga Zaharah Luyirika ekibiina kyamusindise kuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kampala. Kyokka Luyombya ajja kusanga akaseera akazibu okuwangula Nasoor Masaba amyuka sipiika Luyirika eyeesowola edda nti mu kisanja ekijja singa akomawo ajja kuvuganya ku kifo kya sipiika omujjuvu.
ABA LUYOMBYA BAYOMBA: Okuvaamu kwa Luyombya kwalese abawagizi be nga bayomba ne bakolimira Bobi okusuula omuntu waabwe abadde akoleredde ennyo ekibiina n’abantu b’e Nakawa n’abasibako musajja we atamanyi byabufuzi okuggyako okuyimba.

LWAKI BOBI ALEMEDDE KU NUBIAN LI OKUBEERA MEEYA WA NAKAWA

Kigambibwa nti Bobi akooye Nubian okumusabirizza ssente okubeezaawo famire ye kubanga tebakyayimba olwa gavumenti okubawera obutaddamu ekyateeka Nubian mu matigga nga talina mulimu nga omukisa oguliwo gwa  kwesoga byabufuzi. Kyokka Paul Mugambe meeya aliko owa Nakawa division, abanene mu NUP gwe baagoba edda olw’okuba n’omutwe omunene mu kibiina ,  yagaanye eby’okuva mu lwakaano , agali mu nkambi ye gagamba nti agenda kwesimbawo nga talina kibiina attunke ne Nubian.

EBYA LUYOMBYA OKULEKERA NUBiAN BABIYINGIZAAMU MUKA BOBI

Abalala bategeezezza nti mukyala wa Nubian Li, Gloria Shiko Mutoni  amyuka meeya wa Nakawa, naye  yakoze kyamanyi  okuggya Luyombya mu lwokaano. Kigambibwa nti Mutoni aludde nga yeegayirira mukyala wa  Bobi, Barbie Itungo amugambire ku bbaawe afunire Nubian ekifo ky’obwa meeya w’e Nakawa afune  omulimu gwakola mwasobola okuggya ssente ezirabirira ffamire kubanga ebyetaago by’amaka bimusukiriddeko olwa bbaawe obutaba na mulimu ekintu Bobi kyeyawuliza.  Bobi yalagidde Mutoni obutadda mu byabufuzi asigale ewaka alabirire abaana.

LUYOMBYA AGAMBA KI?

Luyombya waatukiriddwa okunyonyola ONO BWINO ategezezza nti byeyayogedde ng’ayita ku mutimbagano bimala ekiseera ekituufu wekinaatuuka ajja kwongera okubyogerako.
Share This Article