HO! Ssente Z’akalulu Bazisumuludde: Baabano Abagagga Abatandise Okugabira Abalonzi Amaja G’okulonda Kwa 2026…

MOSES KARIISA KARANGWA avuganya okukiikirira ekitundu kya Buganda ku lukiiko lw’ekibiina kya NRM olw’oku ntikko olwa Central Executive Committee (CEC), atabuse munne bwe bavuganya minisita omubeezi owa Microfinance Haruna Kyeyune Kasolo bw’atandise okugenda ng’amuswaza mu balonzi nga bwatamanyi Luzungu ate nga n’Oluganda talutegeera bulungi nga kigenda kumubeerera kizibu nyo okutuusaayo eddoboozi ly’abantu ba Kabaka Ronald Muwenda Mutebi.

Sengooba Alirabaki
10 Min Read
Speaker Anita Among, Minisita Haruna Kasolo, Minisita Rebecca Kadaga ne Cpt. Mike Mukula

MOSES KARIISA KARANGWA avuganya okukiikirira ekitundu kya Buganda ku lukiiko lw’ekibiina kya NRM olw’oku ntikko olwa Central Executive Committee (CEC), atabuse munne bwe bavuganya minisita omubeezi owa Microfinance Haruna Kyeyune Kasolo bw’atandise okugenda ng’amuswaza mu balonzi nga bwatamanyi Luzungu ate nga n’Oluganda talutegeera bulungi nga kigenda kumubeerera kizibu nyo okutuusaayo eddoboozi ly’abantu ba Kabaka Ronald Muwenda Mutebi.

Karangwa asabye abalonzi obutawuliriza bigambo bya Kasolo n’alumiriza nga bwamulinako obujulizi obumala ku ngeri gyakozesezzaamu ssente za gavumenti okukola obugagga obungi bwatasobola kwogerera.

KARANGWA MUBBI WA TTAKA?

Ssalongo Godfrey Kiwanda Ssuubi gwebalwana okuggya mu CEC bonna abasekeredde n’ategeeza nti mu lwokaano ye yekka ataliiko nziro ya bufere oba obubbi nga bwalumiriza nti abantu b’e Kayunga bwe bawulira ku linnya Karangwa, ekibajjira mu bwongo kubeera kubatwalako ttaka lyabwe ate Kasolo ensonga z’emyooga ssente tazikutte bulungi, okuggyako omuwasa abakazi enkya n’eggulo.

Kiwanda akalulu kano akayingiddemu n’okusomozebwa kw’amaanyi kubanga n’emotoka ennene pulezidenti Museveni gyeyamuwa nga mmemba wa CEC yafuna akabenja omwezi oguwedde, kuno kw’ogatta ssente enyingi ze yeetaaga okuwangula Kibedi Nsegumire ku kifo ky’omubaka wa Mityana North.

Ensonda zitubuulidde nti Karangwa alina enkizo ku banne ku kubeera ne ssente z’agenda okuyiwa mu kalulu, ate ne bw’abeera tazirina, mikwano gye okuli Gen Salim Saleh ne pulezidenti Museveni bazimuwa kubanga abamanyi ng’abantu nga n’oluusi bamukubira amasimu ne banyuma nga bamubuuza ebiri e Kayunga.

ABA NRM BATABUKIRA KIWANDA OLW’OKUBAWA OBUSWAZI

Gye buvuddeko, Kiwanda yayita badelegeti ba NRM abava mu bitundu by’e Mityana, Mubende, Kasanda, Kiboga n’ebitundu ebiriranyewo okubasaba akalulu, olukiiko bwerwaggwa buli omu n’amuwa 50,000/- egyentambula ekyabanyiiza enyo ne bakubira Karangwa essimu nga bamubuulira ng’;musajja bw’abasudde mu hoteli mwabayise okubasaba akalulu.

Karangwa guno yagulaba ng’omukisa nadduka n’agenda e Mityana, buli omu n’amuwa 300,000 ate n’abasuubiza ezisingawo bwanaategeka okubasisinkana. Bano bonna baafuluma Mityana ng’erinnya lye lye bayimba.

KASOLO SSENTE AGENDA KUZIGGYA WA MUKAZI WE

Kasolo okusinga akawuzi ka ssente za kampeyini akasibidde kweyali omumyuka wa pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi ne mukyalawe Ruth Biyinzika Kasolo akulira okugaba ssente za GROW gavumenti zeewola abakyala okwekulaakulanya.

KADAGA ALI MU KATTU

Omumyuka wa ssaabaminisita asooka era minisita w’ensonga za East Africa Rebecca Alitwala Kadaga asabye abalonzi obutalonda bakulembeze mu kalulu ka 2026 olwa ssente ng’alumiriza nti bwe bakikola bagenda kwejjusa kubanga be balonze bagenda kukozesa ebifo byabwe okwenyigira mu kulya enguzi n’okukola amateeka agagenda okubanyigiriza.
Kadaga ensonda zitubuulidde nti y’omu ku beesimbyewo abali mu kaseera akazibu ddala kubanga sipiika Annet Anita Among ayagala okumuggya ku kifo ky’omumyuka wa ssentebbe wa NRM akiikirira abakyala ku lukiiko lwa CEC alina ssente nyingi zaamaliridde okuyiwa mu kalulu okuwangula ekifo ekyo.

Among yalayidde nti alina okuwangula Kadaga n’anyonyola nti ekifo kyebalwanira kirina kubeeramu sipiika wa palamenti okusobola okukola ng’olujegere olugatta CEC ku palamenti nga kino kiyamba okukolagana obulungi okutuusa obuweereza ku Bannayuganda.

MBU AMONG TALINA KASAJJA KU MUTIMA KU KADAGA

Ono ategeezezza nga bwatalina busungu bwonna ku Kadaga ng’abantu bwe bakimuteekako nti ye nsonga lwaki amuvuganya amugobe mu byobufuzi wabula ensonda zitubuulidde nti Among awaga nti ekirabo kyokka ky’asobola okuwa mukwano gwe omugenzi Jacob Oulanyah eyaliko sipiika kwekugoba Kadaga mu byobufuzi, addeyo ewaabwe e Busoga awummule nti kubanga alaga akooye.

Kadaga bweyalya obwasipiika bwa palamenti mu 2011, yafuna obutakkanya n’omumyukawe kati omugenzi Jacob Oulanyah, mu 2021 Oulanyah yamwesimbako era n’amuwangula nga Among yalondebwa ng’omumyuka we mu kalulu akoogerwako ng’akakyasinze okubeera ak’obunkenke n’okuteekebwamu ssente enyingi.

Ensonda zitubuulidde nti Museveni yennyini ye yakulemberamu okuteeka ssente mu Oulanyah ne Among ate Kadaga ssente abagagga abakulemberwamu Sudhir Ruparelia ne bazimuteekamu wabula bweyawangulu ate abagagga ne bamukyusiza omudumu ne bawagira Among.

Oulanyah ne Among olwawangula akalulu k’obwasipiika, baagenderawo e Busoga ne bakubayo olukung’aana gaggadde okusomooza Kadaga eyali wabweru w’eggwanga, wabula mu 2022, Oulanyah eyali anyumirwa ennyo okuvuga ga ddigi ga kkunama, yafa obulwadde bwa kkansa ekintu ekyannyogoza enyo Among eyamusikira ku bwasipiika ng’okuva olwo okulwanagana kubadde kugenda maaso.

Ensonda zongeddeko nti Among ayingidde akalulu kano nga Museveni yekka y’amusinga ssente z’okukanonya ng’eno ye nsonga lwaki ababaka bapalamenti, bassentebe ba zidisitulikiti n’abanene wonna waabaagalira waabasisinkanira.

Abanene mu NRM nga bakulemberwamu omumyuka wa ssentebe wa NRM, Al-Hajji Moses Kigongo, nnaggagga eyali minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kutesa, eyaliko ssaabaminisita John Amama Mbabazi bonna baalangiridde dda nti bawagira Among.

LWAKI KUTESA NE MUKULA BAYIIRAWO AMONG OMUBIRI

Mike Mukula ayagala okukiikirira ekitundu kya Eastern ku CEC, ensonda zitubuulidde nti okutambula ne Among amunonyako ssente za kampeyinni n’okumuyambako okumuwanguza abamwesimbyeko okuli n’omukyala Mariam Naigagga omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Namutumba.

Wabula ensonda zongeddeko nti Kutesa ne Mbabazi bawagira Among okusobola okwesasuza ku Kadaga gwebalumiriza okulwanyisa ddiiru zaabwe ze yayitanga ez’ekifere ekiseera bweyabeerera sipiika wa palamenti nga baagala naye awummule ebyobufuzi nga bo.

Mbabazi bamulumiriza nti ayagala ayambeko mukyalawe Jacqline Mbabazi okumuwanguzi ekifo ky’okukiikirira abakadde b’omu Western Uganda mu palamenti.

AMONG MUGAGGA NNYO

Among ayogerwako ng’omu ku bannabyabufuzi abasinga obugagga mu Uganda, alina amaka agalinga wooteeri ewaabwe e Bukedea, ffaamu, amasomero, hotel n’obugagga obulala mu Kampala n’ebitundu by’eggwanga ebirala nga ne pulezidenti Museveni yeewunya obugagga buno bwonna gy’abuggya wadde nga yategeeza nti yabuggya mu nte 100 zeyamuwa bweyagenda ku ffaamu ye e Kisozi okulambula.

America, Dubai, Bungereza n’amawanga g’omukago gwa Bulaaya Among baamuteekako dda nnatti nga takkirizibwa kulinnya mu mawanga gaabwe n’omwamiwe Ssalongo Moses Magogo pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ki FUFA nga n’obugagga bwonna bwebalina mu mawanga gaabwe baabuwamba.

Brandon Kintu omubaka wa Kagoma atubuulidde nti wadde Among alina ssente nyingi naye bagenda kukozesa obuwagizi omuntu we Kadaga bwazimbye n’ebirungi by’akoledde NRM okusobola okumuwangula.

Ono alabudde Among okukomya okusaasanya obulimba nti ekifo kya Kadaga okukibeeramu mu CEC olina kubeera sipiika n’ategeeza nti ate omusajja bwanaabeera sipiika oba owa opozisoni bwanaakitwala?

MINISITA BARYOMUNSI ATUUYANA

Minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi naye yasabye abalonzi obutalonda bantu balina bbala lya bufere n’okubba ssente za gavumenti. Ono yabadde olugalo alusonga mu Micheal Mawanda omubaka wa Igara county mu palamenti ali ku misango gy’okunba obuwumbi 160 ez’ebitongole by’obwegassi.

Gen Muhoozi ye yalwana okulaba nga mukwano gwe Mawanda akulira okukunga obuwagizi mu Patriotic League of Uganda -PLU ng’ayimbulwa ku kakalu ka kkooti. Ensonda zitubuulidde nti ono Gen Muhoozi amwagala nyo kubanga y’omu ku basinga okuteeka sente mu mirimu gya PLU.

MAWANDA TASAAGA

Mawanda nga tannayingira palamenti, yasooka kubeera wannyondo wa kkooti nga yatunda ebizimbe by’abagagga bangi mu Kampala era baamutwalako ne mu kakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire ku nsonga z’obufere ku ttaka.

Mawanda ayogerwako ng’omu ku bamanelenda ab’amaanyi mu Kampala ne Western Uganda, ddiiru zaakola n’omugagga Hassan Basajjabalaba ensonda zitegeezezza nti zimuyambye okwongera ku bugaga bwalina.

Ono yalangirira dda nga bwagenda okuvuganya Baryomunsi -alina obuwagizi bungi obwa PLU wadde ng’avuganya ne Sedrick Nzeire Kaguta muto wa pulezidenti Museveni eyasabye abalonzi okumulonda mu kifo ekyo okusobola okufuna omulimu gwakola nga mu kiseera kino talina mulimu gwonna.

Ono okusinga atunuulidde mukulu we Gen Salim Saleh n’abagagga mu Kampala baakola nabo ddiiru z’obusuubuzi okumufunira ssente z’akalulu.

MUSEVENI BAMUSABYE OKUYAMBA KADAGA NE KIWANDA

Ahmed Kateregga Musaazi RDC w’e Butambala asabye Museveni okukozesa obuyinza bwe nga ssentebe wa NRM okutaasa abantu nga Kadaga ne Kiwanda abakoleredde enyo ekibiina.

Ono ategeezezza nti ekiseera kituuse NRM eteekewo obukwakkulizo okukkiriza omuntu okwesimba ku kifo kya CEC ng’abantu abaakayingira ekibiina balina okusooka okubakugira okutuusa lwe bafuna obumanyirivu.

Ensonda zitubuulidde nti Museveni ateekateeka okusisinkana bonna abeesimbyewo ku bifo bya CEC mu August webagenda okubeerera ne ttabamiruka w’ekibiina kyabwe nga tanatuuka okusobola okubasaba boogerezeganya ng’abo abasobola okulekera bannaabwe bakkirize ku lwobulungi bw’ekibiina.

Salim Kisekka avuganya ku kifo ky’omubaka wa palamenti e Bukomansimbi North ategeezezza nti Museveni alina obusobozi okumatiza abantu abamu okuva mu lwokaano nga kino kyekigenda okuyamba okunywereza ewamu ekibiina, wabula akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Dr Tanga Odoi yategeeza nti eby’okuviira omuntu mu kalulu nti bamuwe omulimu mu gavumenti ku mulundi guno tebigenda kukola nga bwe bizze bikola mu bululu obuwedde.

Share This Article