Emboozi Vvaawompitewo: Gen. Rwashande Aboggodde: Nwanye ne Kony, Lakwena, Ssekikubo Tasobola Kunnema: Ssekikubo Amuddizza Omuliro

OLUTALO wakati w'omubaka we Rwemiyaga mu palamenti Thodore Ssekikubo ne munnamagye eyawummula era eyeegwanyiza ekifo kino Brig.Gen. Emmanuel Rwashande lwongedde okuwanvuwa, Ssekikubo bwamututte mu kkooti ng'amulumiriza okukozesa ebiwandiiko by'obuyigirize ebigingirire, era n'asaba akakiiko k'ebyokulonda mu NRM okumuggya mu lwokaano.

Joseph Luboyera
8 Min Read
Omubaka Ssekikubo ne Gen Rwashande

OLUTALO wakati w’omubaka we Rwemiyaga mu palamenti Thodore Ssekikubo ne munnamagye eyawummula era eyeegwanyiza ekifo kino Brig.Gen. Emmanuel Rwashande lwongedde okuwanvuwa, Ssekikubo bwamututte mu kkooti ng’amulumiriza okukozesa ebiwandiiko by’obuyigirize ebigingirire, era n’asaba akakiiko k’ebyokulonda mu NRM okumuggya mu lwokaano.

Wabula ye Rwasande ategeezezza ONO BWINO mu mboozi n’omusasi waffe Joseph Luboyera nti, alwanye entalo nnyingi omuli olwa Kony, Alice Lakwena ne Congo, kale Ssekikubo tasobola kumulema kuwangula n’okumusiguukulula e Ssembabule mu mbeera yonna esoboka. Ono era alumiriza Ssekikubo okukolagana n’omubaka wa pulezidenti e Ssembabule Jane Francis Kagayi ne poliisi okusobola okubba n’okugoba abantu ku ttaka.

Mu kulwanagana kuno, Ssekikubo alumiriza Gen. Rwasande okuduumira amagye okukuba amasasi mu bawagizi be ekyaviirako Fred Ssembuusi okufa, bwe baali mu lukung’aana e Ssembabule. Abakulembeze e Ssembabule basaba sentebe w’ekibiina era pulezidenti w’eggwanga Museveni okubatuuza nga tebannetta. Twayogeddeko ne Rwashande…

ONO BWINO: Abantu bakulumiriza nti okozesa amagye okubatiisatiisa, ekintu ekiviiriddeko entalo e Sembabule ezaviirako n’okufa kw’abantu, nga ati baagala gave mu bantu, kituufu?

RWASANDE: Kintu kikyamu nnyo omuntu okwogera ku nsonga zaatategeera naddala nga zikwata ku magye ate nga ssi w’amagye. Nze ndi musirikale ali ku ddaala eryawaggulu mu magye, era alina okukuumibwa ne bwendiba nfudde, simanyi oba ekyo omubaka Ssekikubo akimanyi. Abasirikale abankuuma bali 12 era mbaleka waka, ate aboogera nti amagye tegalina kubeera mu bantu tebalina magezi ku by’okwerinda n’enkola yamagye, ffe tutambulira ku biragiro bya kkomanda sso ssi ku biragiro by’abantu ba bulijjo nga bbo bwe balowooza.

NAYE OFA KI NE SSEKIKUBO?

ONO BWINO: Abakulembeze naddala e Ssembabule bagamba nti gwe n’omubaka Ssekikubo mwe mwaviirako okufa kwa Ssembusi eyakubibwa amasasi, ddala mufa ki era entalo ziva ku ki?

RWASANDE: Entalo zonna zemulaba e Ssembabule tezitandise leero oba mu kiseera ky’okulonda ng’abantu abamu bwe balowooza kuba kati zisussa ne mu myaka 25, omubaka Ssekikubo gyamaze ng’omubaka. Omusajja oyo alina ekibinja ky’aba kifeesi bapangisa okuva e Kawempe ne mu Kisenyi ne batulugunya abantu baffe omuli n’okubamenyera amayumba ate n’abamu okugobebwa ku bibanja byabwe, kyokka ng’omubaka wa pulezidenti mu kitundu ne poliisi abavunanyizibwa okukuuma abantu n’ebitundu byabwe bamutunuulidde butunuulizi ate olumu n’okumuwerekerako nga balinga abakozi be. Omubaka Ssekikubo yaaviiriddeko entalo zonna zemulaba e Ssembabule era teri kalulu konna kabeera Ssembabule nga kalimu Ssekikubo ne katagweera mu kuyiwa musaayi era alina n’emisango mingi mu kooti, era yavunanyizibwa ne ku kufa kwa Ssembuusi.

ONO BWINO: Ddala olutalo lwo ne Ssekikubo luva ku ki era kiki ekirina okukolebwa okulaba nga luggwa?

RWASANDE: Nze sirwanagana ne Ssekikubo wabula Ssekikubo yalwana na buli muntu, nze nnalwana entalo omwali n’olwanunula eggwanga lino, olwa Joseph Konny, Alice Lakwena n’entalo endala omuli n’olwe Congo, era ne mpummula amagye, kati Ssekikubo mutono nnyo ku ntalo zempangudde era tasobola kunnemerera mu mbeera yonna, bwe kibeera kitegeeza kulwana. Omusaayi gw’abantu bazze atta e Ssembabule gwe gutandise okululuma.

NAYE RWASHANDE WASOMERA WA?

ONO BWINO: Omubaka Ssekikubo agamba nti tolina buyigirize bumala okusobola okwesimba ku kifo ky’obubaka bwa palamenti, kituufu?

RWASANDE: Oyo omusajja alinga eyagwa eddalu, kati azunga n’ebipapula ng’agamba nti sirina buyigirize, naye nga bw’okimanyi, Ssekikubo ayogera nnyo ebintu ebitatuyamba, alemereddwa okuteesezza abantu be Rwemiyaga kati agenda azunga agamba nti sirina biwandiiko. Abantu baffe balina okumanya nti ebiwandiiko tubirina era tulina n’obuyigirize obusinga n’obwo akakiiko k’ebyokulonda ke bwetaaga. Ebiwandiiko byaffe ssi byaku Nasser nga bwagenda abategeeza, tugenda kumutwala mu kooti olw’okutwononera erinnya.

ONO BWINO: Biki ebiremye Ssekikubo okukola, gwe kwogenda okutandikira?

RWASANDE: Emyaka 25 gyamaze ng’omubaka nga talina kintu kyonna kyatukoledde ng’abantu be Rwemiyaga okuggyako okuwakula entalo ng’alwanagana ne babaka banne, embeera y’ebyobulamu, ebyenjigiriza, enguudo byonna biri mu mbeera mbi, mu kitundu ky’akikirira ekye Rwemiyaga, naye bimulemye okulowoozako kati azungira ku Rwasande mbu sirina buyigirize, kino kye kiseera asibe obuziina bwe abuggye e Rwemiyaga tusobole okukolerera abantu baffe.

ONO BWINO: Bubaka ki bwolina eri Ssekikubo naddala nga mwetegekera akamyufu k’ekibiina?

RWASANDE: Buli kyonna kyakola tumusaba naye akimanye nti tulina okumuwangula mu kamyufu ke tugendamu, yadde ababeera awanguddwa, alina okusooka okusasula emisango gyonna gyakoze abantu be Rwemiyaga omuli okubba ettaka ku bantu, ate n’obutemu, kirungi egimu giri kooti, abantu baffe balina okufuna obwenkanya.

ONO BWINO: Singa olondebwa, abantu be Ssembabule bakusubiremu ki?

RWASANDE: Ebyobulamu, ebyenjigiriza, amasomero n’enguudo biri mu mbeera mbi, singa mpitamu byengenda okutandikirako, kuba emyaka 25 Ssekikubo gyamazeeyo ebintu ebyo tebifiiriddwako.

SSEKIKUBO AWANDA MULIRO

ONO BWINO: Rwasande agamba nti yasoma era alina obuyigirize obumala okwesimba ku kifo kyonna ekyobukulembeze, era agenda kukutwala mu kkooti olw’okumwonoonera erinnya nti teyasoma?

SSEKIKUBO: Omusajja oyo aleke kwekangabiriza nti yasoma, ffe twatutte okuwaaba kwaffe eri akakiiko akakulira eby’okulonda mu NRM nga tubategeeza nti omuntu eyawandisibwa okwesimba ku kifo ky’omubaka wa palamenti e Lwemiyaga ku kaadi ya NRM, Brg.Gen. Emmanuel Rwasande nti yawandisibwa mu bukyamu kubanga etteeka ligamba nti omuntu okwesimba ku bubaka alina okubeera n’obuyigirize bwa S6 oba obwenkanankana. Bwe twatunuulidde ebiwandiiko bye yayanjudde biraga nti mukulu Rwasande talina bbaluwa ya P7, S4, ne S6, wabula alina satifiketi gye yafuna mu kutendekebwa mu magye ga UPDF gye yafuna mu 1982, kyokka nga nayo eraga nti njingirire kuba mu 1982 UPDF teyaliiwo, kino ne pulezidenti Museveni omuduumizi w’amagye asobole okukikakasa, kale ebiwandiiko byonna byabulimba era akakiiko ka Dr.Tanga Odoi kaamusunsula mu bukyamu.

Ffe kati twagala azingeko obuziinaabwe ave e Ssembabule kubanga ebiwandiiko byonna byalina temuli byenkanankana S6 era akakiiko ka Tanga Odoi kyalina wiiki emu okutuula okusalawo okumuggya mu lwokaano.

ONO BWINO:Gen.Rwasande akulimiriza nti gwe wavaako okufa kwa Fred Ssembuusi eyakubwa amasasi mu lukung’aana lwo, nti era osaana kusibwa…

SSEKIKUBO: Olunaku Ssembuusi kwe lwe yafa, yali ajja kundabula ng’amaze okuwulira Abasirikale abaali basindikiddwa Gen.Rwasande nga bakulemberwa Lt.Zziwa ng’amuwa ebiragiro okunkuba amasasi, era yali yakantegeeza, essasi eryampita ku lugalo ne limukuba era n’afa. Abaserikale abaamutta baali batambulira mu mmotoka nnamba H4DF-3329, kale twewunya okulaba ng’omusikikake eyatta Ssembuusi takwatibwanga ate n’eyamuwa ebiragiro okutta akyatisatisa okutuusa obulabe ku bantu kyokka ng’akakiiko ka NRM ne pulezidenti Museveni omuduumizi w’amagye ow’okuntikko tebalina kye baakozeewo.

SSEMBUUSI AWEEBWE OBWENKANYA

Wandibaddewo ekikolebwa famire ya Ssembusi okusobola okufuna obwenkanya. Lwaki omuntu eyawummula amagye ate aduumira amagye agaawerezeddwa e Rwemiyaga, lwaki tosigala n’abaserikale bo nga bakuuma gwe, oliko omusaayi gw’omuntu ogwayiika era gulina okukulondoola paka.

ONO BWINO: Kiki ekirina okukolebwa okumalawo entalo z’akalulu zino naddala nga tugenda mu kulonda okwa bonna.

SSEKIKUBO: Oluvannyuma lw’okufa kwa Ssembuusi, akakiiko k’eby’okulobda mu NRM baatuyita ffenna abeesimbyewo e Ssembabule era ffenna abeesimbyewo ne tukkaanya nti amagye gaggyibwe mu by’okulonda bye Ssembabule, Gen. Rwasande n’abasirikale abalala abakuumibwa basigaze abakuumi byabwe naye eby’okulagira amagye okuyingira mu byokwerinda byo bikome. Twasazeewo era obutagatta kampeyini ng’akakiiko bwe kaali kategese, okusobola okwewala ebiyinza okuddirira. Mu lukiiko era twasabye nti singa wabeerawo embeera nga eremereddwa poliisi, be balina okweyitira amagye okubayamba sso ssi Rwashande nga bwabadde akola ate nga naye ali mu lwokaano.

Share This Article