‘Birthday’ gye baakoledde Gen. Saleh: Kituufu bapanga kumuzza mu kifo kya Muhoozi attunke ne Bobi Wine?

MINISITA wa ssemateeka n’essiga eddamuzi era pulezidenti wa DP Norbert Mao akakasizza nti enteekateeka zeyabaddemu nga ssentebe w’olukiiko olwategese akabaga k’amazaalibwa ga Gen Salim Saleh ag’emyaka 65, yabadde alina obubaka bw’asindika eri Bannayuganda.

Sengooba Alirabaki
4 Min Read
Gen Salim Saleh ku kabaga ke ak'amazaalibwa

MINISITA wa ssemateeka n’essiga eddamuzi era pulezidenti wa DP Norbert Mao akakasizza nti enteekateeka zeyabaddemu nga ssentebe w’olukiiko olwategese akabaga k’amazaalibwa ga Gen Salim Saleh ag’emyaka 65, yabadde alina obubaka bw’asindika eri Bannayuganda.

Ono yanyonyodde nti Gen Saleh Munnayuganda wa byafaayo nyo ng’alina okutwalibwa ng’ekyomuwendo n’okwebazibwa olw’ebyo by’awaddeyo okutuusa Uganda weeri kati ate nga eggwanga likyamwetaaga nyo mu kiseera kyeryolekedde.

Mao ategeezezza nti Gen Saleh teyakoma kwewaayo ng’omulenzi omuto okwenyigira mu lutalo olwaleeta gavumenti ya Pulezidenti Museveni mu buyinza, wabula era yalwana nyo okulaba ng’akomya olutalo lw’ekiyeekera mu bitundu bya Acholi, Lango, Teso, Karamoja, West Nile n’okulwanyisa obwavu.

Omukolo gwetabiddwako ebikonge ebyamanyi okwabadde bagenero mu magye, bannabyabufuzi nga Lt Gen Henry Tumukunde eyalangiridde nga bwagenda okuvuganya ku kifo ky’obubaka bwa palamenti ewaabwe e Rukungiri, bannaddiini, abakulembeze b’ennono n’abanene mu gavumenti.

BAAGALA KUMUZZA MU KIFO KYA MUHOOZI MU LUTALO LW’OBUSIKA KU NTEBE YA M7?
Omu ku baabadde emabega w’okutegeka akabaga kano atubuulidde nti okunonyereza kwakolebwa bambega mu bitongole ebikessi ne bakizuula nti Gen Saleh muganzi nyo mu Bannayuganda ab’emyaka gyonna okusinga Gen Muhoozi Kainerugaba abasinga gwebatunuulidde okudda mu kifo kya kitaawe Museveni singa abeera akkirizza n’awummula.

Ono atunyonyodde nti Bannayuganda abasinga bakkiriza nti Gen Saleh atuukikako mangu okusinga Muhoozi ate n’abantu abasinga abamwetolodde tebaliiko nziro nga Muhoozi nga kino kibawa okukkiriza nti asobola bulungi okutambuza eggwanga singa balimukwasa.

MP wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda yategeeza ONO BWINO nti Gen Saleh ye mumyuka wa Museveni omutuufu era alina omukono gwamanyi mu kusalawo abakola mu gavumennti yaabwe, eno y’ensonga lwaki buli afuna omulimu mu gavumenti asooka kugenda wuwe kwebaza nga kino omumyuka wa pulezidenti aliko Jessica Alupo ne ssaabaminisita Robinnah Nabanja, sipiika wa palamenti Annet Anita Among n’omumyukawe Thomas Tayebwa baakikola.
Mu 2023, Museveni yategeeza nti Gen Muhoozi yeetoloddwa abantu beyageregeranya ku misege abeenonyeza ebyabwe.

Gen Muhoozi yalangirira dda nga bwalina ekirowoozo ky’okuvuganya ku bwapulezidenti singa kitaawe Museveni awummula, yatondawo n’ekisinde ky’ebyobufuzi ki Patriotic League of Uganda(PLU) okumunonyeza obuwagizi.

MUHOOZI BANNAYUGANDA TEBAMUMATIRA- NUP
Alex Waiswa Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP alumiriza nti Muhoozi si muntu w’abantu nga y’ensonga lwaki tawulirwangako ng’ayogera Olulimi Oluganda ate nga kimanyiddwa nti lw’erulimi olusinga okwogerwa mu Uganda ng’atalwogera kizibu okuwangula akalulu ng’akakasa nti kye kyaleetera ne Dr Olara Otunu okusemba mu kalulu ka 2011 bweyali avuganya ku bwapulezidenti.

Obubaka Muhoozi bwateeka ku mitimbagano gye abamu balowooza nti bumulabisa, wabula Frank Gashumba omumyuka wa Muhoozi mu PLU atwala ekitundu kya Buganda akakasa nti mukamaawe kyakola kiri ku mulamwa era bannayuganda ebyo bye baagala okuwulira n’okulaba nga kino kyongera okumuganza mu bannayuganda.

Minisita omubeezi ow’abaana n’abavubuka era omumyuka wa Muhoozi mu PLU atwala ekitundu kya Western Uganda, Balaam Barugahara yategeezezza nti obubaka obumu obuteekebwa ku mitimbagano gya mukamawe si y’abuwandiika nti emitimbagano gye abafere baagiwamba nga ye takyasobola kugikozesa.

ABALALA ABAAGALA ENTEBE YA MUZEEYI
Muhoozi ne Gen Saleh si be bokka abali mu lwokaano lw’okusikira entebe ya Museveni gye yaakamalamu emyaka 39 ate ng’akyakalakata okuva ekibiina kye ekya NRM bwekyalangirira nga bwekigenda okumusimbawo mu kalulu ka 2026, wabula mu famire mulimu abalala be balumiriza nti bagyagala.

Bano kuliko omuko Odrek Rwabwogo, maama Janet Kataha Museveni minisita w’ebyenijiriza n’emizanyo, omuwala Natasha Karugire Museveni wabula bano bonna pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) akakasa nti yenna gwebaleeta amwesobolera.

Wabula abalala batubuulidde nti Gen Saleh okumukolera akabaga banne baabadde bamukulisa bulwadde obubadde bumutawanya emyaka egiyise naye nga kati alabikira ddala nti ateredde nga n’emirimu agikola bulungi naddala mu kiseera kino webasinga okumwetaagira okuyambako mukuluwe Museveni okuddamu okuwangula akalulu k’Obwapulezidenti mu 2026.

BYA HADIJJAH NAMAGEMBE

Share This Article