OMUSOMESA w’ebyobufuzi ku yunivaasite y’Obusiraamu eya Islamic University of Uganda (IUIU), Abdulnoor Kyamundu, akakasizza ONO BWINO nti obunkenke bw’amaanyi mu baagala okusikira Yoweri Kaguta Museveni ku bwapulezidenti bwa Uganda nga batya nti aliina ddiiru enkambwe zaatandise okuluka n’okukutula ne minisita w’ebyentambula n’emirimu Gen Edward Katumba Wamala eziyinza okubayiira ekibalo kyabwe.
M7 ALI MU KATTU!
Ono ategeezezza nti Museveni ali mu kaseera kazibu nyo, aba famire bamutaddeko akazito ababuulire omuntu omutuufu gweyandyagadde okumusikira ku bwapulezidenti nga kino kyakubayamba okumwetegereza bakakase nti bwanaatwala obuyinza tagenda kubeesasulizaako ng’abakolako effujjo omuli okubaggulako emisango mu kkooti z’amateeka olw’ensobi zebakoledde mu ntebe esingayo obunene mu ggwanga gye baakamalamu emyaka egikunukkiriza mu 40 ekintu ekiyinza n’okubaleeteera okudduka mu ggwanga okutaasa obulamu ne bawang’angukira mu mawanga amalala.
Kyamundu ategeezzeza nti enfunda nyingi bannabyabufuzi abasikira bapulezidenti abaludde enyo mu ntebe, bwe batwala obuyinza, okusobola okubunyweza n’okusanyusa bannansi batulugunya famire ebeera evudde mu buyinza ng’aba famire ya Museveni kino tebakyagalirako ddala. Okugeza Mugabe we yava mu buyinza, eyabukwata Munnamagye Constantine Kiwenga ne Emmerson Mnangagwa e Zimbabwe, baatandika okutulugunya eyali muka Mugabe, Grace Mugabe. N’e Kenya, Ruto yali atandise okuliisa akakanja gwe yaddira mu bigere -Uhuru Kenyatta.
KITUUFU M7 ALEETA GEN KATUMBA WAMALA?
Kyamundu asabye Bannayuganda okwetegereza enyo enneeyisa ya pulezidenti Museveni bwabeera aliko ensonga gyayogera ku Gen Katumba Wamala bamugeraageranye ne ku ngeri gye yeeyisaamu bwabeera ayogera ne bagenero abalala naddala abo beyalwana nabo nga Gen David Sejusa, Gen Edward Kale Kayihura.
Ono atunyonyodde nti Museveni alagira ddala nti Gen Katumba amwesiga nga y’ensonga lwaki yamukwasa minisitule y’ebyentambula gy’amanyi obulungi nti erimu ssente nnyingi, ate yamukulembeza nyo mu nteekateeka z’okuggyawo ekitongole kya UNRA ekyali kivunanyizibwa ku nguudo wadde nga yali akimanyi nti mulimu abanene abaali batayagala kiveewo naye nga batya okwang’anga Gen Katumba.
Kyamundu atubuulidde nti Museveni okukwasa Gen Katumba obuyinza, kibeera kigenda kutaasa famire ye obutatulugunyizibwa ng’obwesige buno yabumulagako dda bweyayamba muto we Gen Salim Saleh okudduka okuyita mu Kampala okwegatta ku bayeekera ba NRA abaali baduumirwa Museveni.
AB’OMU ANKOLE BASEMBA KATUMBA OKUKWATA EKINTU
Ensonda zitubuulidde nti abagagga bangi n’abakulembeze abeebuuzibwako mu Ankole basemba Gen Katumba okukwata mu kintu, eno y’ensonga lwaki buli lwagendako mu Ankole balwana okumubuuzaako. Eky’okulabirako kye batuwadde kye kyali ku mukolo gw’okuziika Gen Elly Tumwine mu disitulikiti y’e Kazo nga Abanyankole baanuuka ensingo okumulabako nga bwebamukubira emizira nga bamwanjudde ng’omu ku bakungubazi.
Kyamundu ategeezezza nti basajja bakulu mu Ankole baagala omuntu agenda okunyweza emirembe mu Uganda okusobozesa abaana baabwe okukuuma obugagga obutootogana ng’obukolwa bwe bafunye ku mulembe Omuseveni, wabula si kuleeta bavubuka abaakola obunyama nga balangirira entalo n’okwesasuza ku mikwano gya Museveni.
GEN KATUMBA ASATTIZA TTIIMU YA MUHOOZI
Kyamundu atubuulidde nti Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi wa kitaawe pulezidenti Museveni ne mukoddomiwe Odrek Rwabwogo, olwategeera nti Museveni alina ky’abalira Gen Katumba nabo kwekwesowolayo okumulaga nti nabo ekintu bakyagala.
Gen Muhoozi yalangirira dda nga bwayagala okukulembera ku Uganda nga kitaawe avudde mu ntebe mu bulungi oba mu bubi, eno y’ensonga lwaki abawagizi be mu kisinde kya Patriotic Legue of Uganda -PLU baamukazaako lya ‘STAND BY GENERATOR’ nti Museveni waasirikira nga bakumirawo Genereeta ya Muhoozi ng’alaga eggwanga ekitangaala.
Kyamundu asekeredde nyo Muhoozi n’omuko Rwabwogo nti wadde baludde nyo ne Museveni, naye tebategeera bibalo bye nga kigenda kubeera kizibu okubakwasa obuyinza nga byakola okubalaga nti essaawa yonna abubakwasa byeyakola ku Bidandi Ssali, John Patrick Amama Mbabazi, pulofesa Gilbert Bukenya n’abalala wabula n’atabubakwasa okuggyako okubagoba mu gavumenti ye nga babumusaba.
GEN SALEH EKINTU Y’AKISOBOLA
Mubiru Njuki omutunuulizi w’ebyobufuzi atubuulidde nti bwatunulatunula mu baagala obwapulezidenti, alabira ddala nti Gen Saleh y’asobola okutuukiriza ebigendererwa bya Museveni ebyamulwanya kubanga y’ategeera n’enzirukanya ya gavumenti okusinga abalala.
Ono atubuulidde nti enfunda nyingi Museveni embeera bwemutabukako Gen Saleh y’amutaasa. Awadde ekyokulabirako ky’obutakkaanya Museveni bweyalina n’Obwakabaka bwa Buganda nti Gen Saleh yali mpagi Luwagga mu kubugonjoola nga kati gwe mukwano gwebalina.
Olutalo lwa Ssaabayekera Joseph Kony bwerwatabuka mu Acholi, Lango n’ebitundu ebiriranyeewo, Njuki atubuulidde nti Museveni yatumayo Gen Saleh okulumaliriza nga kuno kw’otadde n’okunafuya abayimbi ne bannakatemba abaali bawaga pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) nga bakunga abantu okusuulawo Museveni.
SALE YE VP OMUTUUFU?
Njuki akkiriza nti Gen Saleh ye mumyuka wa pulezidenti omutuufu nga abalala Museveni baalonda ba mikolo tebalina maanyi n’anyonyola nti amulinamu obwesige singa bamukwasa eggwanga nga Museveni awummudde.
Wabula Kyamundu ategeezezza nti wadde abantu bangi balowooza nti Gen Saleh ali mu kibalo ky’obusika bw’entebe ya Museveni, ye amulaba ng’omusajja atalina mululu gwa buyinza ali mu kwekolera obugagga nga tamusuubira kulwanira ntebe.
BOBI ALINA KWEKWATA KU BESIGYE OKUSAMBA AKAGGI
John Ken Lukyamuzi pulezidenti w’ekibiina ky’ebyobufuzi ki CP era eyaliko omubaka wa Lubaga South, ategeezezza ONO BWINO nti Bobi Wine okusobola okuvuganya obulungi ku ntebe y’Obwapulezidenti alina kwekwata ku Dr Kizza Besigye.
Ono anyonyodde nti Dr Besigye alina emirandira gy’amaanyi munda mu gavumenti ne mu bitongole bya securite naddala amagye yenna avuganya Museveni bye yeetaaga okusobola okunywerera mu ntebe y’Obwapulezidenti ng’agitutte.
Lukyamuzi agambye nti Besigye okubeera ng’ava mu bitundu by’e Kabale asobola bulungi okuyamba Bobi Wine okufuna obuwagizi bw’ebitundu nga Kisoro, Kabale, Toro, Ankole, Bunyoro olwo bw’agattako Buganda mwazaalwa ne Busoga gyebamwagala ekintu abeera akitutte.
Ono atubuulidde nti Besigye asobola bulungi okugatta Bobi Wine ku bannabyabufuzi ab’amaanyi mu East Africa okusobola okumuyambako okuggusa ekirooto kye n’atukakasa nti bannabyabufuzi nga Martha Karua, Raila Odinga ab’e Kenya bakkiririza nyo mu Besigye ng’eno y’ensonga lwaki baataddewo embeera nga Museveni amutadde mu kkomera ku misango ye gyeyayise egy’ekifere.
Wabula Kyamundu atubuulidde nti mu bannabyabufuzi abatunuulide entebe ya Museveni, Bobi Wine taliimu nga ye kazanynirizi gwe baateekawo okwekolera obugagga n’okubuzaabuza abavubuka nga bwe bwe bategeka okukyusa obuyinza. [Wabula ono tatuwadde bujulizi nti Bobi kazannyirizi]
Ono ategeezezza nti okukuba enkung’aana ezeefananyirizaako ebivuulu by’enyimba, tekisobola kukuwanguza buyinza n’anyonyola nti singa yali siriyaasi singa bamulaba asisinkana byannabyabufuzi ab’amaanyi mu Africa nga Dr Besigye bw’atera okukola.
ENKOLAGANA N’ABAKULEMBEZE AB’AMAANYI NAKYO KIKULU
Ono ategeezezza nti ate ku nsonga y’okwetunda mu bakulembeze ab’obuvunanyizibwa, Muhoozi asinzeeko Bobi Wine ng’asisinkana abagagga, abaduumizi b’amagye, bapulezidenti n’ebikonge ebirala ebisalawo ensonga mu nsi yonna nga ye Bobi Wine bamulaba mu myoleso gya misono.
MUHOOZI ATANDISE OKUWUNYIRIZA KU BUYINZA
Njuki atubuulidde nti obukambwe Gen Muhoozi bweyayogezza ku mikolo gy’okujjukira olunaku lw’eggye lya UPDF bweryatandikibwawo egyabadde e Kyotera, bwalaze nti atandise okuwunyiza ku buyinza wabula n’amuwabula okubeera omwegendereza nga kitaawe bwakoze abantu ne balowooza nti munafu mu kifo ky’okuwuliriza abawuzzi b’obunyama abamuwaga okusobola okubako kebamulyako.
E Kyotera, Muhoozi yakambuwalidde abalamuzi ba kkooti ensukkulumu olw’okulangirira nti kimenya mateeka kkooti y’amagye okuwozesa abantu ba bulijjo n’ategeeza nti ekyakoleddwa kiteeka securite y’eggwanga mu matigga n’asaba kitaawe Museveni okubaako kyakolawo, n’akakasa nti ensala eyo yakukubaganyizibwako ebirowoozo mu lukiiko lw’amagye olw’oku ntikko olwa High Command.
LWAKI MUHOOZI AGENDA KU LUTIKKO E NAMIREMBE
Njuki asabye Bobi Wine ne banne okwetegereza entambula z’ebyobufuzi bya Muhoozi nti okulangirira ng’amazaalibwa ge ag’omulundi ogwa 51 bwagenda okugakuliza ku lutikko e Namirembe alina ky’abala.
Ono ategeezezza nti Omungereza eyakuba pulaani ya bapulezidenti ba Uganda bonna gyebalina okuva, yagitandikira Namirembe ku Lutikko nga y’ensonga lwaki Abakulisitayo be bafuga Uganda wadde ng’Abakatuliki be basinga obungi ng’egyo emikisa Muhoozi gyayagala e Namirembe.
Muhoozi okubeera ng’amagye yagasomera Bungereza ate ng’alina enkolagana ey’amaanyi ne Kabaka wa Bungereza Charles nakyo kimwongera enkizo n’asaba Bobi Wine naye okufunayo eggwanga likirimaanyi lye yeekwatako mu kifo ky’okwesiba ku Bamerica abamulaba nga kazanyirizi w’ebyobufuzi gwebakozesa okunyigiriza Museveni bwe babaako ensonga gye baagala okuyisaawo.
TTIIMU KABIRIITI EBALIRA BOBI WINE
Munnamateeka Alex Waiswa Mufumbiro ategeezezza nti emu ku nsonga esinga okutagaza Museveni mu kunafuya Bobi Wine kwekubeera nga tamutegeera nga buli kyakola akimusuulako busuuzi n’atomera.
Wabula ensonda mu NUP zitubuulidde nti bakabiriiti abasinga ababalira Bobi Wine bali munda mu gavumenti ya Museveni ate abalala bakolera mu gavumenti z’Abazungu.
Mu NUP abantu Bobi Wine baasinga okwesiga kuliko ssaabawandiisi NUP David Lewis Rubongoya, omuwanika wa NUP Benjamin Katana, akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joe Ssenyonyi, omumyuka w’omwogezi wa NUP Mufumbiro, mukyalawe Barbra Itungo, munnamateeka Marvin Ssaasi.
ABASAJJA ABABALIRA GEN SALEH
Ono basajjabe kuliko Ramathan Ggoobi omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyensimbi, William Byaruhanga eyaliko ssaabawolereza wa gavumenti, Norbert Mao minisita wa ssemateeka n’essiga eddamuzi, Gen David Muhoozi minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga, Kiryowa Kiwanuka ssaabawolereza wa gavumenti n’abalala.
ABATEGEERERA GEN MUHOOZI
Munnamawulire Andrew Mwenda y’omu ku basula nga tebeebase okulaba nga Muhoozi alya Obwapulezidenti. Abalala kuliko Maj Gen James Birungi, Micheal Katungi, Balaam Bagaruhare minisita w’abaana n’abavubuka, Cedri Babu n’abalala.


