BULI lwekituuka ku mbeera z’abaagalana ez’okwesanyusaamu mu kisenge, osanga basajja nga be beepika nti oyo omukazi mmulya n’obugumba ne mmeketa.
Oli omuwulira agamba munne nti ne mmala nkufuna oyo omukazi mu ttaano kyennyinza okumukola, enkoko baana! Kyokka era bwebatuuka mu kwepiica ne bitagenda bulungi, omusajja atandikirawo okwewozaako nti “oba leero kiki? Bulijjo si bwentyo bwendi” ate bwe bafuna obutakkaanya ng’omukyala atandika kumulangira nga bwatamalaako, bwatamutuuka, yeepika naye waaka wa mbwa n’ebintu ebirala ebiringa ebyo.
BULI OMU YEEKWASA MUSAJJA
Newankubadde ng’obunafu buteekebwa nnyo ku basajja kubanga be bamanyikiddwa ng’abafuga era abakulembera ensonga z’okwesandabula mu kisenge oba mu ddiiro, n’abakazi nabo balina ebizibu byabwe bwekituuka ku nsonga eyo era abasinga babyeyabiza eri bannaabwe.
Okunoonyereza kulaga nti abakyala okufaananako n’abasajja, basobola okweraliikirira omulimu gwe bakola oba gwe babeera bagenda okukola n’obukodyo bwe boolesa nga bali mu kisenge ne basajja baabwe lwakuba olwekikula kyabwe ssaako n’engeri gye baatondebwamu mu kikula kyabwe, bisobola okubakugira okubiyisaawo oba omuntu omulala okubalaalasa anti omusajja bwasangibwa ng’alaalaasa obunafu bw’omukazi obw’omukisenge ng’abakazi bwe batera okukola, ate ye y’aswala.
EBYERALIIKIRIZA ABAKAZI NGA BABALI BBIZE
Bino bye bimu ku byeraliikiriza abaana ab’obuwala n’abakazi nga batuuse mu kisenge…
Olwokuba nga buli musajja alina ekikula ky’omukazi gwayagala, omukyala afuna okweraliikirira olwendabika ye. Abamu n’omukwano baagala gwa nzikiza nga batya okubalaba bwe baakula.
Omukazi bwaba omunenemu, asobola okutya okugezaako okugezeseza obukodyo obumu mu kisenge kuba aba atya okunyiiza munne oba ng’alaba nti bw’anaakozesa obukodyo obumu, ajja kubeera amumenya olw’akazito kaabeera amutaddeko ate omutono ennyo asobola okutya okulaga omubiri gwe olwekyo.
ANI ALINA OKUTEEKA MUNNE MU MMUUDU?
Newankubadde ng’abasajja balowooza be balina okuteeka abakazi mu mmuudu, abakazi bangi ekisooka okuberaliikiriza nga batuuse mu kisenge kye kki ekyokukola ekyenjawulo okuteeka abasajja baabwe mu mmuudu kubanga abamu engeri gyeba tebaagala byakupapa, banyumirwa nnyo romansi era baba baagala bakole ebyenjawulo era ebireka laama ku musajja nga ne bwaba anyumya agamba ndabye abakazi naye gundi yali mukazi nnyo olwokuba nga yamussa obuswandi nga tebannaba yadde okwegatta. Ate nno mwana wattu bwekibeera nga batandise eby’okwegatta n’amulaga ebirungo ebyalema abalala okumulaga, omukazi oyo kibeera kizibu nnyo kyakumwerabira era buli w’obeera obeera okuba obufaananyi ng’oli naye mu buliri.
OBUTABEERA MUKUUMUUFU
Abakazi beralikirira nnyo okugenda mu kikolwa, omusajja n’avaayo n’agamba nti teyabadde mukuumuufu oba yabadde tawooma. Kino kituukira nnyo ku bakazi naddala abataakyalira nsiko anti buli omu agamba mbu bwoba tewasika oba towooma. Kati bw’osanga atekkiririzaamu, agenda mu kazannyo ng’ekyo kyawandiise mu bwongo bwe kyekimulimu era akomekkera takoze ebyo byonna byayagadde kukola.
OKUBEERA ABAGAZI KYERALIIKIRIZA ABAKYALA
Omukazi naddala eyazaalako aba yeeraliikirira okuba omugazi oba obutaba mufunda kimala kunyumisa kazannyo mu kisenge -kwekugamba nga tamiima bulungi musajja ng’amuyingidde.
Kyokka era n’omukyala aganzizza abasajja abenjawulo afuna okweraliikirira buli lwabeera n’omupya anti olwebikula byabwe ebyenjawulo okugeza ayinza okuba amanyidde okubeera n’omusajja ow’omusekuzo ate n’afuna ow’akasumuluzo.
Eky’okuyitibwa nabukalu nayo nsonga nkulu era erumya abakazi bangi emitwe kuba bangi tebamanyi nti obukalu bwabwe ebiseera ebisinga buva ku nkwatibwa gye bakwatibwamu abaami baabwe mu kisenge anti buli muntu asumululwa busumululwa kasita omukwata awatuufu; okugeza ku kakukufa, okumunyonyogera n’otegeera obwagazi we buva ng’awo omutuuse.
OBUTATUUKA KU NTIKKO KIRUMA!
Abakyala beeraliikirira nnyo ensonga y’obutatuuka ku ntikko ky’ova olaba abamu baayiga okulimba bwekituuka ku nsonga eyo. Kibalumya omutwe buli bw’abuuzibwa lwaki ye tamala ate nga banne bamala oba lwaki takiteeka mu mutwe gwe n’asimbukira kumu n’omwami we ne batuuka lumu. Abamu kati bakitwala nga bunafu bwabwe era balimba mbu baba batuuse naye nga oluusi baba batandika butandisi kunyumirwa, oluusi kibeera ku bakazi bano obutateekayo mwoyo n’okukwasa omusajja ku bufo w’asinga okufunira obwagazi.
Batya n’okutya okwatula ebyetaago byabwe eby’omukisenge anti baba bamanyi bagenda kunafuya ba bba bwe oba bajja kulabibwa ng’abakaba oba abatasiima.
Abamu batya n’okwogera nti tebali mu mmuudu anti waliwo eng’ombo egamba nti omusajja tebamumma era bw’omumma ng’anoonya waalya ewalala ate nga ekyokuba nti aba tayagala kwegatta mu kaseera ako kimuleetera obutanyumisa wamu n’obutanyumirwa kazannyo.


