Mu 2022, pulezidenti Museveni yasemba omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe okulondebwa ng’omu ku balamuzi abatuula ku kkooti z’ekitongole ky’ensi yonna ki United Nations (UN).
Ensonda mu State House zitubuulidde nti omulamuzi Mugambe okubeera muwala w’omugenzi pulofesa Mugambe eyali omusomesa e Makerere ku yunivasite nga yali mukwano gwa Museveni, kyayongera okunyweza enkolagana yaabwe.
Museveni, yasooka kwagala kulonda Mugambe ku kifo kya kaliisoliiso wa gavumenti, wabula bambega ne bamukolako lipooti enkambwe nga bawabula pulezidenti obutamuwa kifo ekyo n’asalawo okukironderamu Beti Namisango Kamya.
Mu kiseera kino, obunkenke bwali bw’amaanyi ku mulamuzi Mugambe ng’alumiriza nti waliwo bamafiya abaali baagala okumutta nga bwe baakola omugenzi Joan Namazzi Kagezi eyali omuwaabi wa gavumenti mu 2015, ensonga zino olwazitegeeza ku pulezidenti Museveni n’amuwabula okusooka okwetegula eggwanga nga bwe yeetegereza bye yali amugambye.
OMULAMUZI MUGAMBE AGENDA EBWERU
Mugambe yasooka kugenda mu America, oluvanyuma yafuna sikaala okusoma diguli ey’okusatu mu mateeka e Bugereza mu Oxford University, eno gyeyafunira n’amawulire g’okulondebwa kwe okubeera omulamuzi mu UN okuwozesa bakalintalo ab’omutawaana enyo abatyoboola eddembe ly’obuntu.
Abaawa Mugambe sikaala bamukkiriza okugenda ne famire ye yonna e Bungereza, yatwala abaana be n’omwami we munnamawulire w’ebyemizanyo Mark Ssali.
Olwokuba yali asoma, Mugambe yakolagana n’eyali omumyuka w’omubaka wa Uganda e Bungereza Leonard Mugerwa okumuyambako okutambuza omukozi w’awaka eyali alabirira abaana be okumutwala e Bungereza okwongera okubalabirira.
Wabula olwokuba Mugambe okugenda e Bugereza yali afunyemu obutakkaanya n’omukozi we, yatya okumugamba nti ye gweyali agenda okukolera nga Mugerwa yamulimba nti ssi gweyali agenda okukolera wadde nga Mugambe ye yasasula ssente z’entambula zonna.
EMBEERA YAKYUKA NGA ATUUSE E BUNGEREZA
Omukozi yeewunya okusanga Mugambe nga y’amulindiridde ku kisaawe ky’ennyonyi e Bungereza, olwamulaba n’amwaniriza n’amutegeeza nga bwagenda okubeera naye ng’alabirira abaana be era okuva olwo teyaddamu kuwuliza Mugerwa.
MUGAMBE BAMUKWATA OLWOKUTULUGUNYA OMUKOZI WE
Mugambe e Bungereza yali asula Oxfordshire ng’eno yeewasula abagagga abalinamu ku kasente. Wabula abantu beewuunya nyo embeera y’okweraliikirira n’okulabika obubi omukozi w’omulamuzi Mugambe gyeyabeerangamu nga bamutumye okugula ebintu ku dduuka ne bweyatwalanga abaana ba mukama we okuzannyamu n’abaana b’abagagga.
Mu kusooka baalowooza nti onukozi ye nanyini baana wabula baakitegeera luvanyuma nti mukozi bukozi era atulugunyizibwa nga ku mirimu gyakola okuli okulabirira abaana, okulongoosa ewaka, okugula ebintu, okulabirira mukamawe yali asasulwa emitwalo 50 eza Uganda.
BAWA YAAYA AMAGEZI OKULOOPA OMULAMUZI MUGAMBE KU POLIISI E BUNGEREZA
Bano baamuwa amagezi okuloopa omusango gy’okutulugunyizibwa n’okukozesebwa ng’omuddu ku poliisi ekintu kyeyasooka okugaana ng’ayagala bamuyambeko afune bufunyi mulimu mulala. Mugambe olwakitegeera nti omukozi we anoonya mulimu mulala, n’amuggyako ebiwandiiko byonna ebimukwatako ku lyanyi, kuno yagattako okumugaana obutaddayo kufuluma nyumba yaabwe.
Banne bwe baalaba nga tebakyamulaba baamanya nti omulamuzi yamutaddeko amateeka ne baloopa ku poliisi okumutaasa, poliisi e Bungereza bweyalumba ewa Mugambe yasooka kubalemesa kumukwata ng’alumiriza nti ye mulamuzi wa kitiibwa okuva mu Uganda ng’amateeka tegabakkiriza kumuggulako misango gyonna mu ggwanga lyabwe.
Mugambe yali akaayana n’abapoliisi, ng’omukozi bwamulumiriza nga wano bamutwala ku poliisi okumuggulako emisango mu butongole nga bwalumiriza omukozi nga bwalina omululu nti olwalabye ku ssente enzungu ayagala kukola maddu, obujulizi bwe abamuleeseeko mu kkooti baategeezezza nti yagezaako n’okugulirira omukozi obutamuwaako bujulizi mu kkooti. Nti Mugambe yasooka na kusaba kwogerako n’omulamuzi eyali agenda okuwulira omusango gwe ne bamutegeeza nti ewaabwe amateeka gakola nga kyasabye kyali tekisoboka.
BAFUNIRA OMUKOZI LOOYA
Omukozi amangu ago baamufunira looya okumuwolereza nga ye Mugerwa teyaggulwako misango olwokuba yali wa kitiibwa mu gavumenti ya Uganda (Diplomat) ng’amateeka tegakkiriza kumuggulako misango era gavumenti ya Uganda okumutaasa yamukomyawo mu Uganda.
UN eyalina okutaasa Mugambe olwokubeera omulamuzi waabwe nayo yamuggyako ebitiibwa byonna kasita yategeera nti emisango egimuvunanwa mulimu okutulugunya n’okukozesa omuntu obuddu. Obumu ku bujulizi obwaleeteddwa mu kkooti bulaga nti mu kifo kya Mugambe okusasula omukozi we obukadde 8 n’emitwala 60 eza Uganda, abadde amusasula 500,000/-.
Mu kifo ky’omukozi okubeera nti abadde akolera essaawa 8 olunaku, Mugambe abadde amukozesa essaawa 12 ate ng’amusasula bubi nga teyamusasulira na ssente za yinsuwa y’obulamu bwe okujjanjabibwa obwereere singa abeera afunye obulwadde, mukazi wattu yalinanga kukwata ku ssente ye ate ng’amukozesa nyo.
Kyazuuliddwa mu kkooti nti omulamuzi omukozi we ssente abadde azimusasulira mu ngalo/mu mpeke ate nga e Bugereza abadde alina kuzisasula mu banka nga kino abadde akikola okwewala okusasula omusolo gwa gavumenti ate nga guno musango gw’amaanyi e Bungereza.
Omulamuzi Mugambe yaaabidde mu kkooti amaziga nga bwe yeegaana emisango n’okusaba kkooti emubeerere ya kisa nga bwalaajana nti ekifo kyeyali atuuseemu okubeera omulamuzi wa kkooti y’ensi yonna yakikolerera ng’alumiriza nti omukozi we waliwo ababi abamuwalana abamukozesa okumusanyawo ekintu kkooti kyetaawulirizza n’emusingisa emisango nga kati alindiridde kibonerezo kye.
MUGAMBE BAMAFIA BAMULWANA?
Wabula ensonda zitubuulidde nti waliwo bamafiya abalwana Mugambe abaakozesezza omukozi we okumusanyawo wadde nga kino kkooti yakigaanye n’etegeeza nti Mugambe okubeera looya omutendeke ali ku ddaala ly’omulamuzi kikakasa nti buli kyeyali akola ku mukozi we yakimanya nti kimenya mateeka ng’alina okubonerezebwa.
Vincent Bagiire omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ensonga z’ebweru ategeezezza nga gavumenti bwegenda okulwana enyo okulaba ng’etaasa omulamuzi Mugambe ng’eteekayo okujulira mu kkooti eya waggula n’anyonyola nti ne mu kkooti eyamusingisizza emisango gavumenti ebadde emusasulira looya.
Mugambe ajjukirwa nyo bweyataasa Omuloodi Ssaalongo Erias Lukwago bwe baali bamugoba mu ofiisi mu kisanja kye ekyasooka era yalagira Makerere University okusasula Dr Stella Nyanzi olwokumugoba mu bumenyi bw’amateeka ku mulimu gw’okusomesa ku yunivasite.


