Ebintu bingi ebibaddewo bukya Omwaka 2025 ogwa Gregory gutandika.
Omuliro gwakutte amayumba mu ssaaza lya Los Angeles mu Amerika awabeera baseerebu abawera era bangi bafiriddwa amayumba gaabwe.
Donald Trump olunaku lwa Mmande yalayidde nga pulezidenti wa Amerika owa 47 (47th President of the United States).
Era yalayidde nga January 20, 2025 (1.02.2025). Olunaku olw’obw’olugatta obulungi n’ennamba 47 bivaamu obulogo naye tetugenda kugendayo eyo.
OKULAYIRA KWA TRUMP: Trump yalayidde ku Monday, wabula yayogedde ebintu bingi ebirungi by’agenda okukola. Wabula by’atayogeddeko, nga yabilaze mu bikolwa bye bikulu.
Kino mukifune okuva ku ffe olwaleero, Trump agenda kuyingiza ensi mu kye batuuma “Technology Dictatorship”.
‘Technology Dictatorship’ kitegeeza mu Luganda ‘Obwanakyemalirira bwa Technology’, nga technology y’afuga ensi mu buli kimu omuli; Ebyobusuubuzi, eby’obulimi n’obulunzi, eby’obujanjabi, ebyenfuna, eby’enjigiriza, eby’obufuzi, buli ekikwatagana n’obulamu bwo, technology y’agenda okubeera nga y’akufuga.
Kati Trump gwe baalonda okuleeta omulembe guno mu butongole. Omulimu gwe kuleeta mulembe gwa Technology, wadde ssi y’agenda okumaliriza olugendo lwonna.
PROJECT “ICE NINE”? Wali owulidde ku “Project Ice Nine”?
Okusinziira ku muwandiisi we’bitabo Jim Rickards, eyawandiika akatabo ‘The Road to Ruin’, era ng’ono yali muwi w’amagezi mu maka ga bapulezidenti wa Amerika (White House), mu kitongole kya Anerika ekikessi ekya Central Inteligence Agency (CIA) ne ‘The Pentagon’ nga kino kye kitebe ky’amagye g’eggwanga lya Amerika, waliwo pulaani gye bali mu kuluka nga baagikazaako ‘Project Ice Nine’.

“PROJECT ICE NINE” EGENDA KUKOLA ETYA OBA ETEGEEZA KI? Ice Nine kigambo ekyayiyizibwa omwami Kurt Vonnegut mu katabo ke ‘Cat’s Cradle’. Engombo ya ‘Ice Nine’ yagiggya ku balaafu (Ice).
Mu katabo ke, Kurt Vonnegut agamba nti Waliwo ekika kya balaafu (Ice) ekyamaanyi nga singa okwata empeke emu eya balaafu ono, n’ogisuula mu kidiba ekinene ekirimu amazzi, empeke eno emu efuula ekidiba ky’amazzi kyonna balaafu.
Empeke eyo gye bayita ‘Ice Nine’.
Kati abasajja ba Brotherhood bano wano we baggya ekigambo kya pulaani yaabwe. Jim Rickards agamba nti bayiiya dda enkola emu, egenda okumira buli nkola y’ebyenfuna eriwo.
“Project Ice Nine” egenda kumira buli nkola y’ebyenfuna eriwo mu nsi ez’enjawulo ensi bagiwe enkola emu ey’ebyenfuna buli muntu gy’alina okugoberera, wansi wa ssente emu (One World Currency).
ENSI YONNA BAGENDA KUGIKYUUSA: Jim Rickards yagambye nti, “Obwanvu nga bukyeyongera okuluma abantu ba bulijjo, abasajja abafuga ensi eno bali mu kukungaanya ssente zonna baziggye mu mikono gy’abantu. Bambega bange mu White House, International Monetary Fund (IMF) bangambye nti waliwo abasajja n’abakazi 189 mu nsi yonna, nga bano batudde ku ntikko y’ebitongole ebyamanyi ebifuga ebyenfuna by’ensi yonna. Abasajja bano n’abakazi bonna balina ekigendererwa kimu: bateekateeka; One World Order, One World Tax, One World Money (Currency).”
Jim Rickards yayongeddeko nti, “Pulaani yaabwe buli muntu gy’agenda okulaba essaawa yonna bagipangidde emyaka mingi nnyo ng’abantu ba bulijjo tebamanyi. Okumanya abasajja bano n’abakazi beetegese, amateeka gonna agafuga amawanga (International Laws) bagakyuusa dda ng’abantu tebamanyi, kati bagenda kukozesa amateeka gano, batukirize buli kye baagala nga bakikolera mu teeka.”
“Ekiseera kigenda kutuuka basanyalaze (Freeze) eby’enfuna by’ensi yonna. Kino bagenda kukikola batya? Okusinziira ku pulaani yaabwe, baayiiya dda Financial Crisis eyamaanyi nga balinda kaseera akatuufu obeere nga tokyasobola kugula wadde okutunda. (Nga bwe bafukamiza ensi n’ekirwadde kya Covid19). Amawanga gagenda kufukamira ku maviivi gaweeyo ebyenfuna byaago eri abasajja bano okusobola okusimattuka akavuyo (Crisis) kano ke baleeta. Tewali ggwanga ligenda kusobola kuyimirira ku lwaayo akavuyo kano ak’ebyenfuna bwe kanaggya.”
TECHNOLOGY OBA DIGITAL CURRENCY Y’AGENDA OKUFUGA ENSI: Jim Rickards agamba nti mu ‘Project Ice Nine’, baagala okusuula ebyenfuna by’ensi yonna (Financial Collapse) nga batandika n’eby’eggwanga lya Amerika nga ‘Super Power’.
Bwe banamala okusuula ebyenfuna by’ensi yonna, bagenda kuddamu okubizimba wabula nga okubizimba, bagenda kuleeta amateeka amapya amakakali ng’ensi yonna etambulira ku nkola za technology ne Artificial Intelligence.
Jim Rickards agamba nti bayiiya dda “Financial Collapse” (okusuula ebyenfuna), era ‘financial collapse’ eno yatandika dda, bwe banamala okusuula ebyenfuna, bagenda kukola kye baayise “Financial Reset” oba okuddamu okusitula ebyenfuna buto n’amateeka amapya nga ganjawulo nnyo ku mateeka amakadde.
‘Financial Reset’, egenda kuleeta ‘Digital Finance’ omugenda okubeera ‘Digital Currency’ okuyita mu Central Bank Digital Curency (CBDC) mu buli nsi.
Ebyenfuna mu nsi yonna bigenda kudda ku Digital.

MUTUNUULIRE ABASAJJA ABEETOLODDE TRUMP: Okumanya ekintu kino bakipanze nga kirina okutukira. Abasajja abeetolodde Trump, basajja bamaanyi nnyo mu tTechnology afuga abantu. Era bano bwe yabadde alayira, bamutudde mabega.
Njogera ku basajja nga Elon Musk (akulira X abasinga kwe mukolera olugambo; Musk era ye nanyini, Tesla abali mu kukola emmotoka ezigenda okusikira emmotoka z’amafuta; ye nanyini Space X ne NeuroLink kampuni eyagala abantu batekebweemu technology mu bwongo babafuge nga bakozesa technology gwe batadde mu mitwe gyaabwe).
Abalala kwabaddeko; Sundar Pichai (akulira Google), Jeff Bezos (akulira Amazon), Mark Zuckerberg (owa Meta ekola Facebook ne WhatsApp), Shou Zi Chew (akulira TikTok), Tim Cook (akulira Apple).
Abatabaddewo wabula nga bbo yabasisinkana mu makage kwabaddeko: Bill Gate naye yabegaseeko (Microsoft), Sam Altman eyatandikawo Open AI).
NJAGALA TUTUNUULIRE OMUMYUUKA WE! Abalala kuliko omumyuka we (Vice President) JD Vance ng’ono aludde ng’akola nga omuwi w’amagezi eri kampuni za Technology ez’enjawulo mu kibuga awasibuka technology asinga ensi yonna (Naawe aoma Amazima Agakaawa) gw’ekozesa ekiyitibwa Silicon Valley mu ggwanga lya Amerika.
KAMBALAGE AMAANYI GA JD VANCE OMUMYUUKA WA TRUMP: Bwe njogera ku Silicon Valley, ekifo omumyuuka wa Trump gy’abadde kafulu mu kuwa Amagezi eri kampuni za technology, njogera ku kifo awasibuka kampuni 71 ezifuga technology w’ensi.
Abasajja ba Brotherhood abaagala okuleeta New World Order bagezi mu buli kye bakola era basooka kubala.
Mujjukire twabagamba nti buli Pulezidenti wa Amerika gwe balonda bamuwa eby’okukola (Agenda), era ne bamuwa abantu abagenda okumuyamba okutuukiriza ebigenderwa bye bamuwadde.
Trump okusembeza abasajja ba Silicon Valley abamaanyi abafuga ebintundu 90% ebya Technology akozesebwa ensi yonna, ne bamutuula emabega ng’alayira kabadde kabonero kanene.
Kati mu silicon Valley we wasibuka kkampuni zino:
1. ALPHABET; Bano be bannanyini google, gmail ne youtube. Google be bakola ne ‘Software’ akozesebwa essimu zonna eziri ku nkola ya Android;
2. META nga bano be bananyini Facebook, WhatsApp ne Instagram;
3. MICROSOFT nga bano be bakola Software wa kompyuta zonna eza Windows era be bakola Microsoft Word, excel n’endala;
4. APPLE nga bano be bakola essimu za IPhone ne kompyuta za Mac ne software wa Apple iOS yenna;
5. Hawlett Pakard (HP) nga bano be bakola kompyuta za HP zonna;
6. AMAZON nga bano be bakulembera mu kutunda n’okugula ebintu ku mutimbagano; (ekibuga awasibuka technology mu Amerika
7. ADOBE nga bano be bakola Software gwe musinga okukozesa okulongoosa ebifaananyi, okukola obutabo, okukola ekifaananyi kya TV, amaloboozi ga TV ne Leediyo.
Kampuni endala kuliko; Oracle, Intel, Cisco Meraki, Broadcom, eBay
Kati bwe weetegereza kampuni ze tukuwadde, olaba nti kumpi buli kye tukozesa mu technology, kiva mu Silicon Valley, era waliwo ensonga lwaki aba Brotherhood bawadde Trump abasajja ba Silicon Valley abamaanyi okumuyambako okutwala ensi mu ‘Tech Era’ (Ekyasa kya Technology).

TUNUULIRA TECHNOLOGY OMUTONO GW’OLINA: Nsaba tutandike n’essimu eyo gy’okutte mu ngalo; Software aliko wa Android akolebwa Google, ku ssimu yo, olinako youtube, olina Facebook, olina Whatsapp nga byonna bya Meta; ate bw’oba olina I Phone, gwe ebibyo ate byangu kubanga I Phone zikozesa bintu bya Apple byokka, naye era naawe olinako youtube, Facebook, WhatApp n’ebirala.
Ate gwe alina kompyuta, buli kompyuta zikozesa Software enkulu bbiri;
1. Windows ng’eno ekolebwa aba Microsoft OBA
2. Bw’oba olina computer ya Mac ekozesa MacOS
Ndowooza kati okiraba nti n’essaawa ya leero, bwe twogera ku Technology fenna mu Uganda gwe tukozesa, Silicon Valley yatandika dda okukufuga wadde oli wano mu Uganda.
Kitegeeza kigenda kubabeerera kyangu okuleeta ekyasa nga technology yafuga abantu.
Y’ensonga lwaki bakutte omusajja JD Vance abasinga mu Silicon Valley, awava technology asinga gwe mukozesa mwenna, ne bamufuula omumyuuka wa Trump.
Era Omukutu gwa Washington Post bwe gwabadde gwogera ku JD Vance gwagambye nti, “JD Vance musajja kampuni za Silicon Valley gwe zeesiga ennyo. Era okubeera omumyuuka wa Trump, aba Silicon Valley bakiraba ng’abataddeyo omuntu waabwe agenda okubayamba okuteeka ensi yonna mu mikono gya Technology.”
MUMANYI LWAKI? Kubanga technology agenda kubanguyiza okuleeta ‘Beast System’ oba ‘Technology Dictatorship’
Ndowooza mulaba byonna abasajja bano babiteekateeka dda. Era bwe tubagamba nti sitaani yeetegese nnyo tumanyi kye tutegeezaa.
LWAKI ENGUUDO ZA KAMPALA BATANDISE OKUZITEEKAKO KAMERA N’EBITAALA EBIPYA? Ne mu Uganda twatandise okwetegeka. Omanyi ffe twabagamba nti Omutonzi yatuleeta kubanyonyola bintu bye mulaba n’amaaso gammwe naye nga temusobola kubinyonyola.
Ennaku zino bw’oyitako mu nguudo ez’amaanyi mu kampala, n’ezifuluna n’okuyingira Kampala, batandise okuzikyuusa.
Bw’otunuulira ebitundu ebisinga mu Kampala, babitaddeko ebitaala ebipya ne kamera empya. Bino byonna biri mu pulaani ya kwetekeratekera Tech Era (Ekyasa kya Technology) mu New World Order n’enkola ya ‘Smart City’. Mu buli ggwanga, baagala okuzimba ebibuga ekika kino nga birimu kkamera, ebitaala era nga basobola okumanya buli muntu atambulira ku nguudo z’ebibuga ebyo.
Ye mumanyi lwaki nnamba puleeti z’emmotoka eza digitato nazo zisonze? Kubanga Nnamba Puleeti z’emmotoka eza digital zigenda kubeera nga zisobola okuwaayo buli ekikukwatako gwe avuga emmotoka oba Piki Piki n’abagirimu mwenna.
Nnamba Puleeti z’emmotoka zino zigenda kubeera nga zitambulira ku Camera eziri ku nguudo.
Kino kye tubagamba kyatandika dda okukola mu mawanga ag’enjawulo nga; China, Korea, Japan, ebibuga ebimu ebya USA, UK n’awalala. (Naye Omutonzi bw’anaaba asiimye tulibaleetera emboozi enzijuvu ku nsonga eno).
ENO YE PULAANI Y’ABASAJJA BA NEW WORLD ORDER: Bannyabo ne bassebo, eno ye pulaani y’abasajja ba New World Order, olwokuba sitaani talin a maanyi na busobozi kubeera buli wamu, ERA olwokuba sitaani ne banne bakimanyi nti abantu balina ‘Free Will’ (Okwesalirawo) okutabasobozesa kubafuga bonna nga bwe baagala, bapanga kukozesa Technology okutuukiriza bino byonna.
Nga bakozesa Technology, sitaani agenda kubeera n’obusobozi okufuga BULI MUNTU (Everyone), BULI KISEERA (Everywhere).
Kitegeeza Sitaani agezaako okupanga engeri gy’asobola okubeera ‘Omnipresent’ (Okubeera buli wamu mu kiseera kye kimu nga Omutonzi Kitaffe alio mu Ggulu bw’ali.
Era Sitaani n’amaanyi g’ekizikiza bagezaako kulaba ngeri gye bafuga ‘Free Will’ y’abantu nga basalawo kye babagambye. Ayagala kufuga bwongo bwa buli muntu abaggyeko ‘Free Will’ (Okwesalirawo). Ng’akozesa technology, kino kigenda kusoboka kubanga kyatandika dda nga bakozesa emikutu gy’abasajja ba Silicon Valley.
OMANYI EKISINGA OKWEWUUNYISA? Ekisinga okwewuunyisa kye kino, abantu bayingira pulaani ze n’essanyu. Ekitimba abantu bakiyingira mu ssanyu eringi.
Kyokka bagaanyi okuwuliririza omutonzi ky’abagamba. Abagamba banange mukomeewo gyendi. Mukuze embaga zange, mukwate amateeka gange n’ebiragiro, mukuze sabiiti zange, naye abantu bagaanyi. Baslina bakabona ababalimba buli kiseera NGA BWE KYALI MU BISEERA BYA NOAH.

TRUMP BAMULONZE KULEETA MULEMBE GWA ARTIFICIAL INTELLIGENCE (AI): Bwe nabadde ndaba okulayira kwa Trump ku mukutu gwa CNN, omukyala Abby Phillip gwe baabadde bakyazizza ku CNN yagambye bw’ati Trump bwe yabadde alinnya emmotoka ye ng’ava okusaba ku St. John’s Church mu ssaza lya Washington DC gye yavudde n’agenda mu Capital Hill okulayira.
Abby Phillip yagambye nti, “Ensi egenda kuyingira omulembe gwa Artificial Intelligence (AI) era ensonga lwaki Donald Trump akunganyiiza buli munenene mu ‘Technology Industry’ eri nti bakimanyi, balina okukolera awamu naye okuleeta omulembe gwa Artificial Intelligence (AI) mu Amerika ne mu nsi yonna.”
OKUKKIRIZA TECHNOLOGY OKUFUGA ENSI BWE BUMU KU BUYINZA SITAANI BWE BAGENDA OKUMUWA: Bassebo ne bannyabo, Omutonzi agenda kukkiriza Sitaani akozese Technology, Digital ID ne Artificial Intelligence (AI).
Era bwe bumu ku buyinza sitaani bwe bagenda okumuwa okufuga ensi AKASEERA AKATONO nga ebyawandikibwa bwe bigamba.
OMWANA WA OMUTONZI OLINA KUKOLA KI? Sitaani bagenda kumuwa obuyinza obujjuvu obusembayo ku nsi yonna, WABULA bagenda kumuwa amateeka nti talina kukwata ku buli muntu yenna aliko akabonero ka Omutonzi.
Mujjukira ekyaliwo e Misiri? Kigenda kuddamu kibeerewo mu New World Order (NWO). Byonna sitaani n’akabinja ka Brotherhood bye bali mu kupanga Omutonzi YABIMANYA DDA era agenda kubawaayo akaseera katono bituukirire nga bwe bipanze.
Tusome ebyawandikibwa ebiraga nti Omutonzi byonna yabimanya.
Tutandike ne Okubikkulirwa/Revelations 7:2-3, ” 2 Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Omutonzi omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti, 3 “Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka YaHUaH Omutonzi akakulu ku byenyi by’abaweereza ba YaHUaH Omutonzi waffe.”
Tubagamba bulijjo nti abali mu kupanga okuleeta New World Order bamalayika abaagwa wabula bakozesa bantu. Era kino n’ebyawandikibwa kye bitugamba. Era ebyawandikibwa bitugamba nti
BAGENDA KUWEEBWA OBUYINZA OBWO BONOONE ENSI.
WABULA, tebagenda kukwata ku bateredwaako kabonero k’envumbo ya YaHUaH.
Tusome ne Okubikkulirwa/Revelations 9:2-4, “2 Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ng’oguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olw’omukka ogw’omu bunnya. 3 Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ng’enjaba ez’obusagwa. 4 Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.”
Enzige ezigenda okuva mu bunnya ssi balala okuggyako dayimooni n’emyoyo gy’ekizikiza. Bagenda kuggya n’obusungu bungi (obusagwa) era tebagenda kusonyiwa muntu yenna ATALIIKO
KABONERO KA NVUMBO YA KITAFFE ALI MU GGULU YAHUAH. Bagenda kukola effujjo ku buli kitonde kye bayita omuntu era bangi bagenda kufa.
Akabonero k’envumbo ya Omutonzi kagenda kuva mu, era kagenda kuteekebwa ku bantu abatambulira mu kigambo kya Omutonzi, nga bakola ebyo bye yatulagiura okukola omuli: okugondera amateeka ge, ebiragiro bye, okukuza embaga ze, sabiiti ze. Era bw’oba tokola bintu ebyo, ogenda kuzikirira.
Nziramu okubajjukiza, buli muntu akole buli ekisoboka, okulaba nga tuddayo eri kitaffe ali mu ggulu, era nga tubezaawo Ono Bwino ne Amazima Agakaawa kubanga lye doboozi lyokka lye tukyalina mu mulembe guno.


