Okuzza Abasuubuzi Mu Kyalo: Abagagga Bosco Muwonge, Yanga, Drake Lubega Omusolo Ogwabwe Bagutisse Bapangisa…

Harunah Kitamireke musuubuzi wa by’amasanyalaze ku kizimbe kya Bosco Muwonge ekya Discount Mall ekisangibwa mu Kisenyi, anyonyodde nti Muwonge yabalagidde basasule VAT era awulira nga tasobole edduuka alifulume ekyongedde okubateeka mu kkattu kubanga renti gwebasasula mungi ate nga tebalina kusussa nakku satu ng’omwezi guweddeko nga tebanasasula, ebiragiro bino bimaliridde okubazza mu kyalo kubanga akazito kabasusseeko.

Timothy Nyanzi
4 Min Read
Abagagga Yanga ne Drake Lubega

ABAGAGGA okuli John Bosco Muwonge, Drake Lubega ne Mansor Matovu Yanga bayisizza ebiragiro ebikambwe ku basuubuzi abakolera ku bizimbe byabwe nti ku ssente za renti ze basasula, bongereko omusolo gwa VAT abagagaga gwe babadde balina okwesasulira.

Ebiragiro bino abagagga baabiyisirizza mu ba maneja b’ebizimbe byabwe, ne bategeeza abapangisa nti okutandika n’omwezi gwa February gwetulimu, buli mupangisa ku ssente za lenti zaasasula ayongereko ebitundu 18 ku buli kikumi, ekitegeezza nti buli mupangisa renti agenda kumwongerako 180,000 ekirese abapangisa nga bayomba nga bagamba nti balina emisolo mingi gyebasasula omuli Income tax n’emisolo emirala nga omusolo gwa VAT gulina kusasulwa bagagga nga guva ku renti gwebawa abagagga buli mwezi.

ABASUUBUZI BAYOMBA
Harunah Kitamireke musuubuzi wa by’amasanyalaze ku kizimbe kya Bosco Muwonge ekya Discount Mall ekisangibwa mu Kisenyi, anyonyodde nti Muwonge yabalagidde basasule VAT era awulira nga tasobole edduuka alifulume ekyongedde okubateeka mu kkattu kubanga renti gwebasasula mungi ate nga tebalina kusussa nakku satu ng’omwezi guweddeko nga tebanasasula, ebiragiro bino bimaliridde okubazza mu kyalo kubanga akazito kabasusseeko.

Ate John Kakembo akolera mu kizimbe kya Qualicel Bus Terminal ekya Drake, ategeezezza nti landiroodi ono yabalaalise nti anaalwawo okusasula VAT nga tamuleetedde ku renti edduuka waakulivaamu aliwe omulala asobola okumusasula ssente zonna omulundi gumu, n’omupangisa anaagezaako okwekalakaasa naye tadda ku bizimbe bye; embeera eno yabakubye wala era abasuubuzi abamu batandise okusenguka banoonye ebifo ebirala webayinza okukolera awatali biragiro bikakali.

TUGENDAW KWEKALAKAASA OLW’A BAGAGGA ABATAWULIRA

Edward Ntale, ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya UATEA, ategeezezza ONO BWINO nti abasuubuzi bali mu kiseera kizibu olw’emisolo egibasusseeko ate ng’abagagga bamenya etteeka erirung’amya omupangisa ne landiroodi kubanga etteeka ligamba landiroodi talina kwongeza renti kusussa bitundu 10 ku buli kimu ate alina okulabula omupangisa nga wabula emyezi 3 ayongeze renti kyokka Drake, Yanga ne Muwonge etteeka lino tebaligoberera bamala gongeza era kati ng’abasubuzi tusazeewo twerwaneko nga twekalakaasa era pulogulaamu egenda kufuluma tuwakanye abagagga ab’emitwe eminene abatagoberera mateeka.

Ntale ayongeddeko nti abapangisa balina ebirala bye basasula omuli kasasiro gwebasasula buli mwezi nnusu 20,000, amasanyalaze 110,000 buli mwezi, ttooyi bagisasula nnusu 300 kyokka ate n’emisolo egirina okusasulwa abagagga URA gye yabagerekera akazito bakatisse bapangisa kati bakyusizza pulaani bagenda kwegugunga gavumenti ekitegeere nti bakooye okunyigirizibwa.
Ebiragiro bya Drake ne banne webijjidde ng’omugagga David Mutebi owa Freedom Centre yakozesezza abapangisa endagaano n’abongeza renti nga buli mwaliro edduuka yalyongeddemu 800,000 omupangisa eyagaanye okukola endagaano Mutebi yamulagidde ave ku bizimbe bye anoonye ewalala.

LWAKI ABAGAGGA BEEPENA EMISOLO?
Ntale ategeezezza nti abagagga abasinga baasalawo okweggyako emisolo akazito ne bakateeka ku basuubuzi ababakolera olw’amabanja amanji gebalina mu bbanka nga eby’emisolo tebabyagala baagala kusasula mabanja gokka gebalina bataase emmaali yaabwe eyinza okulugenda. Y’ensonga lwaki abagagga bonna mu Kampala tebagabira mupangisa lisiiti eriko ssente za renti ntuufu, omupangisa asasula 1000,000 bamukolera lisiiti ya 500,000 okulaga URA nti bafuna kitono baleme kubagerekera misolo mingi.

ATAYAGALA KUGONDERA BIRAGIRO ANOONYE EKIBNJA AWALALA
Juma Bosa omu ku ba Maneja b’omugagga JohnBosco Muwonge ategeezezza nti omugagga waddembe okwongeza ssente z’ekizimbe nga waayagala kubanga abeera n’ensonga kubanga abapangisa abamu boonoona ebizimbe nga birina okuddaabirizibwa, omupangisa atayagala kugondera kiragiro kino wadddembe okuva ku kizimbe anoonye ekibanja awalala kubanga waliwo abafere abeeyita abakulembeze b’abasuubuzi ababawaganyaza okuteekesa ebiragiro by’okusasula mu nkola.

Share This Article