Kabaka Bamufunzizza Mu Kkooti: Abalamuzi Ab’amaanyi Badduse Mu Musango Gw’ettaka Gwe Baamuwawabira…

ABALAMUZI 3 aba kkooti ejulirwamu nga bakulemberwamu omumyuka wa ssaabalamuzi Richard Butera bavudde mu musango munnamateeka w’omu Kampala Kassim Male Mabirizi gweyawawaabira Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ng’ayagala kkooti erangirire nti yeefuula ky’atali ne yeeyita nnanyini ttaka lya Buganda ate nga mu mateeka alina kulikuuma bukuumi ku lw’Abaganda.

Kisekka Ronald
4 Min Read
Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi
ABALAMUZI 3 aba kkooti ejulirwamu nga bakulemberwamu omumyuka wa ssaabalamuzi Richard Butera bavudde mu musango munnamateeka w’omu Kampala Kassim Male Mabirizi gweyawawaabira Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ng’ayagala kkooti erangirire nti yeefuula ky’atali ne yeeyita nnanyini ttaka lya Buganda ate nga mu mateeka alina kulikuuma bukuumi ku lw’Abaganda.
Abalamuzi abalala okuli Oscar Kihika ne Hallen Obura okuva mu musango guno, kyaddiridde okusika omuguwa ne Mabirizi ng’abalumiriza nga bwe bamulinako enge n’obutaagaliza ng’okutuula mu musango gwe tebagenda kumuwa bwenkanya n’abantu ba Buganda abalala balumiriza nti batulugunyizibwa ku ttaka ly’Obwakabaka nga babakaka okusasula obusuulu n’emisoso emirala ate nga be bannanyini ttaka.
Mabiriizi yanyonyodde omulamuzi Butera nti tasobola kumuwa bwenkanya olwomusango gweyatwala mu kkooti y’omukago gw’amawanga ga East Africa ng’awakanya engeri gyeyalondebwamu ku kifo ky’obumyuka bwa ssaabalamuzi ng’alumiriza nti pulezidenti Museveni yamuyisa mu kamooli ng’amateeka tegagobereddwa.
Mabirizi yabuulidde omulamuzi Obura nti yali ku balamuzi 3 abaasooka okugoba okujulira kwe mu musango gweyawaaba ng’awakanya Kabaka okweyita kyatali nga beekwasa nti omusango yaguwaaba bub inga tasobola kukomawo ate naddamu okuguwulira kubanga obujulizi bwonna obuli ku fayiro abumanyi ng’alina ne kyekubiira ku ky’agenda okusalawo.
‘SSEBO OMULAMUZI OLINA KYEKUBIIRA’
Mabirizi yatabukidde omulamuzi Kihika n’amutegeeza nga bwatamusuubiramu bwenkanya olw’emisango gye yamuggulako mu kkooti y’amawanga ga East Africa ng’awakanya engeri gyeyalondebwa ku bulamuzi ate nga ye yali akulira eby’amateeka mu NRM ng’ayinza okukozesa obusungu obwo okumumma obwenkanya.
Balooya ba Kabaka abaabadde bakulembeddwamu ssaabawolereza w’Obwakabaka Christopher Bwanika baagezezzaako okunyonyola abalamuzi ng’omusango gwa Mabirizi oguli mu maaso gaabwe bwegwasalwa edda ng’akomyawo mukadde wabula ne bamutegeeza nga bwe batasobola kugenda mu maaso n’okuwulira omusango guno ng’olumu ku ludda terubalinaamu bwesigwa bwebatyo ne bakkiriza okuguvaamu ne balagira omuwandiisi wa kkooti okulonda abalamuzi abalala 3 okuguwulira.
ETTAKA SSI LYA KABAKA
Mabirizi ayagala kkooti erangirire nti Kabaka ettaka ly’Obwakabaka akuuma kkuume emulagire okusasula ssente zonna z’azze asolooza ku b’ebibanja abali ku ttaka ly’Obwakabaka ng’ayita mu kitongole kya Buganda Land Board -BLB.
Mu kusooka waabaddewo enkalu mu kkooti nga Mabirizi attunka n’abalamuzi abaamusindise mu kaguli akabeeramu abasibe gy’abeera awoleza olwokuba talina bbaluwa ya balooya emukkiriza kuwolereza bantu asobole okutuula mu bifo bannamateeka we batuula, kino Mabirizi yakiyise kumusosola n’okumuteekako olunkulu ng’omuntu kubanga waliwo abantu abaasooseewo nga be beewoolereza abalamuzi ne babakiriza okutuula mu bifo ewatuula balooya. Mabiriizi yatabuse n’abuuza abalamuzi nti buli lwebamulaba mu kkooti bamulaba ng’ekyekinyalwa olw’okuba abawakanya nnyo ne yeebuuza nti baagala amateeka agawoleze Kenya?
OMUTAKA MUTESASIRA KABAKA AMWOGEDDE AMAANYI
Omutaka Mutesasira Shaun Kkeeya Namuyimba omukulu w’ekika ky’engo kati atambula agaziwa olw’obuvunaanyizibwa obupya Kabaka bw’amukwasizza mu lukiiko lw’abataka abakulu b’ebika mu Buganda.
Mutesasira, Kabaka gweyakwasizza obuyinza bw’enteekateeka z’okutegeka olukung’aana ttabamiruka olw’abataka ba Buganda olugenda okubeera e Bungereza okutandika nga 07-06-2025.
Ono yaweerezza dda bataka banne obubaka obubasaba mu bwangu okumutwalira ebiwandiiko byabwe ebiboogerako, obufaananyi n’ebigenderako atandike okubateekerateekera olugendo luno lwebagendako ne bakatikkiro b’ebika byabwe.
Ensonda mu lukiiko lw’abataka zitukakasizza nti essaawa yonna Kabaka alangirira Mutesasira ng’omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka ng’adda mu kifo ekirimu omutaka Augustine Kizito Mutumba omukulu w’ekika ky’ekkobe eyalumbibwa ebirwadde ebitakyamusobozesa kutuukiriza buvunanyizibwa bwakuddukanya mirimu gy’Obwakabaka.
TAGGED:
Share This Article