Essimu Byanyima Gy’akubidde Gen Saleh Okutaasa Besigye: Ebyabadde Mu Nkiiko Ssaabalamuzi Dollo Z’atuuzizza Okumatiza Banne Okukomya Amagye Okusiba Abantu…

Byanyima abuulidde Olupapula lw’amawulire The Guardian olufulumira e Bungereza nti omu ku balamu be - banyina ba Besigye ye yamuweereza obubaka ku ssimu ng’amubuuza oba amanyi omwamiwe waali kubanga bo bagezezzaako okumufuna ng’amasimu ge gonna tegaliiko.

Doreen Menezer
6 Min Read
Winnie Byanyima with husband Dr. Kizza Besigye

WINNIE BYANYIMA akakasizza nga bweyakuba amasimu ag’okumukumu oluvanyuma lw’okukitegeera nti omwami we Dr. Kizza Besigye yali akwatiddwa bakkomando mu bitongole by’ebyokwerinda mu gavumenti yapulezidenti Museveni ne bamukuumira mu emu ku nkambi z’amagye mu Kampala.

Byanyima abuulidde Olupapula lw’amawulire The Guardian olufulumira e Bungereza nti omu ku balamu be – banyina ba Besigye ye yamuweereza obubaka ku ssimu ng’amubuuza oba amanyi omwamiwe waali kubanga bo bagezezzaako okumufuna ng’amasimu ge gonna tegaliiko.
Ono ategeezezza nti wadde yali mukoowu olw’essaawa enyingi zeyamala ku nyonyi ng’atambula okuva e Malawi okugenda e Switzerland ku mirimu emitongole. Yakubira abantu b’amanyi nti babeera ku lusegere ne Dr Besigye okubabuuza gyali, bano be baamutegeeza nga bweyali agenze e Nairobi mu Kenya ne mukwano gwe Al-Hajji Obed Kamulegeya Lutale okwetaba ku mukolo gw’okutongoza ekitabo kya mukwano gwe Martha Karua.

BYANYIMA ATANDIKA OKUKUBA AMASIMU AG’OKUMUKUMU
Byanyima anyumya nti wano yatandika okukubira abanene mu gavumenti ab’ensonga amasimu ag’okumukumu okumanya omwami we waali okutuusa omu ku bannamawulire ab’amaanyi abali ku lusegere ne famire ya Museveni weyamutegeereza nti Besigye yali mu emu ku nkambi y’amagye.

Byanyima ategeezezza nti wano yakubira omu ku baganda ba Museveni alina amaanyi mu gavumenti nga yakulirako n’amagye n’amubuuza ekibuuzo kimu nti; omwami wange mumutadde wa?
Wadde Byanyima tayogedde linnya lya muganda wa Museveni gweyakubira ssimu, wabula ensonda ez’omunda zitukakasizza nti yali Gen Salim Saleh ate munnamawulire eyamukakasa nti Besigye ali mu nkambi y’amagye yali Andrew Mwenda.
Mwenda yabuulira ONO BWINO nti y’omu ku bantu abaasembayo okwogera ne Besigye nga tanakwatibwa e Kenya nga mu mboozi yaabwe eyatwala essaawa ezisoba mu 8 e Kasangati mu maka ga Besigye, gye yakizuulira nti alina obusungu bungi ku Museveni era mwetegefu okukozesa kyonna ky’asobola okumugoba ku bwapulezidenti.

Byanyima ayongeddeko nti nga wayise essawa 2 muganda wa pulezidenti Museveni n’amukubira essimu n’amutegeeza ng’enkeera ku Mmande nga 20 November 2024, Besigye yali agenda kutwalibwa mu kkooti y’amagye e Makindye bamusomere emisango gy’okusekeeterera gavumenti ya Museveni gye yeegaana ne munne Kamulegeya.

Byanyima yategeeza nga bwayagala okusisinkana Museveni amutegeeze nga Besigye bwatalina kabi konna kaamwagaliza, okwawukana mu ndowooza z’ebyobufuzi tekibafuula balabe.

Besigye ne Byanyima be bamu ku balwanyi abaaleeta gavumenti ya Museveni mu buyinza nga bawangudde olutalo lw’ekiyeekera mu 1986. Wabula mu 1999 Besigye yalangirira nga bwagenda okuvuganya Museveni mu kalulu ka 2001 ng’amulumiriza nti yali avudde ku byabatwala mu nsiko.

Byanyima yategeeza nti okuva olwo Museveni atulugunyizza famire yaabwe era yatuuka n’okusiba ku poliisi mutabani waabwe Anslem Besigye eyali akyali omuwere.

ENKIIKO EZAATUUZIDDWA NGA DOLLO AMATIZA BALAMUZI BANNE KU KKOOTI Y’AMAGYE

Ensonda mu kkooti zitubuulidde nti ensala ya kkooti ensukkulumu abalamuzi mwe baayimiririzza okuwozesa abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye teyagudde bugwi, wabula waabaddewo enkiiko ez’ekyama ssaabalamuzi Owiny Dollo zaabadde atuuza.

Ensonda zitubuulidde nti ku ntandikwa y’omwaka guno, Dollo yatuuza olukiiko olw’ekyama mu bitundu by’e Mbarara nga lwetabwamu abalamuzi ba; kkooti ensukkulumu, etaputa ssemateeka– mu ngeri y’emu kkooti eno yeejulirwamu ne bassaabalamuzi abaawummula okwali Bart Magunda Katurebe ne Benjamin Odoki. Esonga enkulu yali ya kukubaganya birowoozo ku ngeri gyebasobola okutaasa ekifaananyi kya kkooti ekyali kyonoonese enyo mu bantu nga babatwala ng’abakolera ku biragiro bya pulezidenti Museveni.

ABALAMUZI BYE BAATEESAAKO
Abalamuzi okusinga baakubaganya ebirowoozo ku ngeri gye baali bagenda okukwatamu okujulira kwa ssabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ng’awakanya obuwanguzi bwa Micheal Kabaziguruka eyaliko MP wa Nakawa bweyatuukako mu kkooti etaputa ssemateeka abalamuzi mwe baawerera okuwozeseza abantu ba bulijjo mu kkooti z’amagye.

Ensonda zongerako nti e Mbarara abalamuzi gye bakkanyiza nti okutaasa ekifaananyi kya kkooti, baalina okugoba abantu ba bulijjo okutwalibwa mu kkooti z’amagye nga kino okukisalawo baamala kukakasa nti amateeka gabawagira.

Ku balamuzi 7, Monica Mugenyi ng’omwamiwe y’omu ku boofiisa mu UPDF ye yekka eyayawukanye ku banne okuli Dollo eyaliko minisita wa Museveni, looya we nga Dr Kizza Besigye awakanya obuwanguzi bwe mu bukulu bwa 2001 ne 2006. Abalala kwabaddeko Catherine Bamugemereire, Mike Chibita, Percy Night Tuhaise nga bano bakwano ba Museveni ng’abantu era ensonda mu State House zitubuulidde nti omukulu yeewunyizza ensala yaabwe kubanga yabadde takisuubira nti basobola okumuvaamu.
Faith Mwondha yawummula obulamuzi oluvanyuma lw’okuweza emyaka 70 era ensala ye Ssaabalamuzi Dollo ye yagisomye ne Dr Elizabeth Musoke nga naye mukwano gwa Museveni bakkanyizza wamu nti abantu ba bulijjo balina okukomya okutwalibwa mu kkooti z’amagye. Bweyabadde atandika, Dollo yabuulidde bannayuganda nti byonna babikoze naye ekiseera kituuse badde ku ludda lwa Bannayuganda kubanga Uganda bonna yaabwe.
Ensonda zitubuulidde nti olwava e Mbarara yalagira banne nti balina okusoma ensala yaabwe obutasukka January nga kino yakikola oluvanyuma lw’abantu okutandika okumuweereza obubaka nti singa Dr Besigye afunira obuzibu bwonna mu kkomera e Luzira gye baamusibira, ye ne balamuzi banne ku kkooti ensukkulumu omusaayi gwe gugenda kubeera mu ngalo zaabwe nga kino Dollo yabadde takyagala.

Ensonda zimalirizza zigamba nti abalamuzi baagenze okusoma ensala zaabwe nga ssabawolereza wa gavumenti yategedde dda nga ab’omunda mu ofiisi ye batubuulidde nti kati agezaako okumatiza Museveni n’abanene mu magye naddala Gen Muhoozi Kainerugaba okugondera ebyasaliddwawo kkooti nga kino bwebatakikola aba Besigye bagenda kwongera okubaswaza mu mawanga g’ebweru.

TAGGED:
Share This Article