Omusaayi Ku KCCA: Bakkansala Beewera Kwambula Lukwago; Oweddembe ne Town Clerk Baagala Kwekuba…

ABAKULIRA eby'okwerinda ku City Hall batuuyana ku ngeri gyebagenda okukuuma seculite ku Lwokuna omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago bwanaaba ayogerako eri bannaKampala ku mbeera y’ekibuga. (State of Mayor’s address).

Timothy Nyanzi
4 Min Read
ABAKULIRA eby’okwerinda ku City Hall batuuyana ku ngeri gyebagenda okukuuma seculite ku Lwokuna omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago bwanaaba ayogerako eri bannaKampala ku mbeera y’ekibuga. (State of Mayor’s address).
Ensonda ku City Hall zitubbiddeko nti bakkansala ku City Hall beeweredde okwambula omu loodi Lukwago  bwanaaba ayogerako eri banna Kampala ng’ababulira ebikoleddwa mu mwaka gw’ebyensimbi oguggwako nebyo ebisuubirwa okukolebwa.
Bano beeweredde Lukwago nti singa  anaakomyawo ebiteeso bye baagoba mu kanso bagenda kukolawo akatiisa. Embeera eno abakulira securite ku City Hall we bagitegedde  batandise okukola pulaani okuziyiza akanyolagano kano akayinza okuvaamu n’okuyiwa omusaayi.
Kigambibwa nti ku lunaku luno buli anaayingira ku City Hall waakwazibwa bya nsusso  okuziyiza bakkansala na’bemitima emibi  abayinza okuyingira n’ebissi omuli obubazzi nga wegwali mu kanso emu, omu ku bbakansala weyayingira n’embbazzi atemule abaali bakulira KCCA Dorothy Kisaka n’eyali omumyuka we David Luyimbaazi Ssali  olw’okugaana okwanjulira kanso ebyali bikwatagana ku ndagaano z’AbaChina KCCA beyawa kontulakiti z’okuzimba enguudo Kampala.
Akulira KCCA Hajjati Sharifah Buzeki n’omumyuka we Benon Higenyi basuubirwa okulwetabamu bongere okutegeera ebizibu ebiruma banna Kampala basalire wamu amagezi engeri y’okubigonjoola.

ENTALO LUKWAGO Z’AZZE ALWANA NE BA KKANSALA KU CITY HALL

Omwaka guno bakkansala bazze balwana ne Lukwago nga baagala abawe lipooti ekwatagana ne kasasiro eyabumbulukuka n’atta abantu abasoba mu 35 e Kiteezi. Kyokka omwaka gugenda kuwera gumu naye Lukwago n’olukiiko lwe bakyagaanye okuleeta lipooti eno mu kkanso.
Mu March omwaka guno, Lukwago bakkansala baamugobesa lipooti gye yaleeta mu kkanso ng’ayagala kanso eyise ekiteeso ekimenya ekizimbe ky’omugagga Hamis Kigundu kyeyazimba ku mwala ogusala mu katale ka Owino, kyokka kanso eyali ekubirizibwa Zaharah Marah Luyirika baagaana okuyisa ekiteeso, kyokka n’ekolokota Lukwago okuba n’omutima ogutaagaliza kubanga ekizimbe kyayagala kimenyebwe kuliko abakikoleko abaali bayinza okufiirwa emmaali yaabwe, wabula kigambibwa nti amaanyi bakkansala ge baalaga gaali gavujjiriddwa omugagga okulemesa lipooti ya
Lukwago n’okutuusa kati Lukwago akyakukkuluma olwa bakkansala okugoba lipooti gyeyamalirako obudde n’amagezi.

LUKWAGO YEEBULANKANYA MU NKIIKO

Olutalo olulala Lukwago lwalina ne bbakansala lwakwebulankanaya mu kkanso n’olukiiko lwe omuli John Mary Ssebuufu minisita w’ebyensimbi,  Naalongo Olive Namazzi n’omumyuka we Doreen Nyanjula bakkansala kyebagamba nti Lukwago abayisaamu amaaso ekireetedde emirimu okuzing’ama mu kibuga.

BA KKANSALA BA NUP BAGENDA KUWANIKA EBIPANDE BYA MP BALIMWEZO MU MAASO GA LUKWAGO

Ensonda mu KCCA zitubuulidde nti bakkansala abamu naddala aba NUP  baagala kukozesa lutuula luno bakube Lukwago ebipande  bya Ronald Blimwezo ekibiina kya NUP gwekyasindise avuganye ku bwa loodi meeya wa Kampala mu kalulu akaddako. Bano bagenda kuvvoola Lukwago nga bamulumiriza nga watalina kyakoledde banna Kampala mu myaka 15, nga kati entebe bagyagalamu Yinginiya Balimwezo akyuse Kampala.

LUKWAGO NAYE ALEESE BAKANYAMA BAMUTAASE

Agali mu nkambi ya Lukwago gatubuulidde nti naye tatudde aleese bakanyama be okuva mu Kisenyi n’e Mmengo baakozesa okulwana eby’obufuzi baagenda okuyiwa ku City Hall bamuyiirewo omubiri nga bano agenda kubagatta ku bakanyama 5 baatambula nabo, bakubagane ne ba kkansala abeesomye okumwambula.

SSERUJONJI OWEDDEMBE NE TOWN CLERK BAAGALA KWEKUBA BIKONDE

Meeya wa Kawempe  Division Emmanuel Sserunjoji Oweddembe ne Town clerk wa division eno Goeffrey Rwakabaale baagala kwekuba. Kigambibwa nti Sserunjoji yabadde naye ategese omukolo gwa state Mayors address okulaga Kawempe nga weeyimiridde nebyo byasuubira okukola mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja,  omukolo gwabadde gulina kubaawo omwezi oguwedde (April) , kyokka  ku ssaawa esambeyo Rwakabaale  n’aguyimiriza ng’alumirizza  Sserunjoji okwagala okukozesa omukolo guno okuzannya eby’obufuzi bye mu Kawempe.
Kino kyanyizizza Sserunjoji n’akolimira Rwakabaale okumulemesa okulaga banna Kawempe ebirungi byakozze, kyokka bakkansala abakiika ku division eno batuubulidde nti ekyagaanye omukolo guno okubaawo ssente kubanga ku mukolo guno division ebeera erina okutegekera abantu ba Meeya eby’okunywa n’okulya nga ensimbi ezitegeka bino teziriiwo.
Share This Article