OBUNKENKE bweyongedde mu bitongole bya securite nga balina okutya nti pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayagala kukozesa akalulu ka 2026 okutabangula eggwanga ng’ayita mu nkola y’okwekalakaasa mu kalulu (Protest vote) gye yalangirira ku ntandikwa y’omwaka guno n’akunga abawagizi be bonna naddala abavubuka okwenyigira mu nteekateeka z’akalulu kano, wabula n’abalabula nti tekagenda kubeera ng’obwa bulijjo.
Bobi Wine bweyabadde e Bungereza, yategeezezza bannamawulire nga bwalina okukkiriza nti abavubuka bagenda kukozesa akalulu ka 2026 okununula eggwanga lyabwe okuva ku pulezidenti Museveni alifugidde emyaka egikunukkiriza mu 40 mu ngeri yonna.
Ono yategeezezza nti ku mulundi guno beetegese bulungi okutuukiriza ekigendererwa kyabwe obutafaananako nga bwegwali mu 2021 nga buli kimu bali bagwamu kigwe kubanga gwe gwali omulundi gwabwe ogusoose okuvuganya okutwala obuyinza bw’eggwanga nga yeegayirira amawanga g’Abazungu okumukwatirako ng’ekiseera ekituufu kituuse.
KU LUNO TWETEGESE OKUZOGANYA OBULUNGI
Bobi Wine yanyonyodde Abazungu nti ataddewo enteekateeka eziwerako okulaba nga pulaani yaabwe etuukirira omuli n’okutondawo EGGAALI nga muno mwe mugenda okubeera ebibinja by’abavubuka abagenda okunonyeza ekibiina kyabwe obuwagizi, okukuuma abantu baabwe abagenda okwesimbawo n’okunyweza obuwanguzi bwabwe n’okubulwanirira singa akakiiko k’ebyokulonda akakulemberwa omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama kagezaako okubunyanga.
Bobi Wine yategeezezza nti kino kisoboka kubanga baakigezako mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North mu palamenti nekikola wadde nga Museveni yagezaako okukozesa eryanyi omuntu we Farida Nambi awangule akalulu wabula kyagaana Erias Nalukoola Luyimbazi owa NUP n’akawangula.
BOBI TUMWETEGEKEDDE
Col. Chris Magezi akola ng’omwogezi wa UPDF akakasa nti tebagenda kukkiriza nteekateeka ya Bobi Wine kuteekesebwa mu nkola ng’alumiriza nti ekigendererwa kye kyakukozesa bavubuka kutabangula kalulu ka 2026 n’akakasa nti abavubuka bonna abagenda okuwandiisibwa Bobi Wine mu GGAALI bagenda kukwatibwa baggulweko emisango mu kkooti.
Ensonda mu securite zitubuulidde nti ebikwekweto okuyigga abavubuka abayingiziddwa mu ggaali za Bobi Wine byatandise era abavubuka abawera baakwatiddwa okuli n’abakulira mu matendekero David Musiri eyakwatiddwa wiiki ewedde nga bakuggulwako emisango mu kkooti.
EBYUMA EBIBALONDOOLA BITUUSE
Minisita w’amawulire ne tekinologiya Chris Baryomunsi atukakasizza nti gavumenti etandise okutuusa ebyuma ebyat ekinologiya ebikambwe ebigenda okubayambako okugoberera abavubuka bonna abawandiisiddwa Bobi Wune mu nkola y’eggaali okutabangula akalulu.
Ensonda zongeddeko nti ebyuma eby’okukola omulimu ogwo ebisinga byaggyiddwa mu ggwanga lya Russia nga byaweereddwayo pulezidenti Vladimir Putin era enteeseganya zonna zakaulembeddwamu Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF, nga kitawe pulezidenti Museveni gweyakwasa obuvunanyizibwa bw’okugula ebyokulwanyisa n’okulondoola securite y’eggwanga.
Ebyuma bino ebibalirirwamu obukadde bwa ddoola z’America 3, Maj Gen Sergey Marchuk omuwabuzi wa Putin ku by’amagye era omukugu mu byokulwanyisa wiiki ewedde ye yabikwasizza Brig. Gen General Paul Namawa akulira emirimu mu ggye lya Special Forces Command (SFC) erikuuma pulezidenti, famire ye, ebifo by’eggwanga n’abantu ab’enkizo nga omukolo ogwabadde ogwekyama enyo gwetabiddwako n’abanene mu bitongole bya securite ebikessi.
Omukolo gwabadde Entebbe ku kitebe kya SFC, ensonda zitubuulidde nti SFC ye yakwasiddwa omulimu gw’okukulemberamu ebikwekweto byonna mu kalulu nga poliisi yakubayambako buyambi.
EMIRIMU EGIREESEZZA EBYUMA EBIKAMBWE
Ebyuma bino ebisinga byakulondoola n’okukuba ebifaananyi ebifo bakomando ba SFC mwebagenda okukola ebikwekweto byabwe nga kino kyakubayamba okugenda nga beetegese bulungi obutaddamu kukola nsobi nga ezaakolebwa mu kalulu k’e Kawempe. Ebirala byakukyankalanya byampuliziganya wakati w’abavubuka ba NUP ku byalo ne bakama baabwe ku kitebe.
Alex Waiswa Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP ategeezezza nti guno si gwe mulundi ogusoose securite okuleeta ebyuma ebikyankalanya empuliziganya yaabwe n’anyonyola nti mu kalulu ka 2021, amakampuni g’essimu gaasalako empuliziganya zaabwe nga y’ensonga lwaki ogumu ku mukutu yaguvaako ng’atya nti bagukozesa okulumika amasimu ge nga ayogera ne Bobi Wine.
Ensonda zitubuulidde nti ku kitebe kya poliisi ekya bambega ki CID e Kibuli we wateekeddwa ttiimu y’abakugu egenda okulondoola emikutu gya sosolo midiya, egyo eginaagezaako okukuma omuliro n’okukunga abantu okwekalakaasa mu kalulu gyakuggyibwako, ate bwekinaayitirira enyo yintanenti yonna yakuggyibwako. N’emikutu gya VPN egikozesebwa abantu okugenda ku mikutu nga Facebook gavumenti eteekateeka kugiggyako.
PULAANI YA BOBI WINE OKUBUUKA OBULIPPO BWA SECURITE
Ensonda mu NUP zitutegeezezza nti Bobi Wine alina Abazungu baakolagana nabo mu German ne Netherlands okumuzimbira tekinologiya agenda okumuyamba okulondoola obululu bwe okwetoloola eggwanga lyonna nga baagala nti yintanenti Museveni ne bw’agiggyako ebyuma byabwe bisigala bikola.
Ono atubuulidde nti tekinologiya oyo baamulina mu kalulu ka 2021 wabula Museveni bweyaggyako yintanenti naye naavaako kubanga yali azimbiddwa kukolera ku yintanenti.
Ensonda zitegeezezza nti tekinologiya oyo Bobi Wine yamugezesezza mu kalulu k’e Kawempe wabula n’agaana okukola ng’omu ku baamuzimba yakola lipooti n’ategeeza nti ekizubu ekyaliwo kwekubeera nti abaali bamukozesa tebalina bukugu bumukozesa bulungi nga kati bagenda kubatwala e German okufuna okutendekebwa okusingako.
MU NRM MULIRO GWENNYINI
Securite ng’ekyetegekera abavubuka ba Bobi, ate ne mu NRM kitokota nga wiiki ewedde Museveni yagaanye okusisinkana abamu ku ba MP ba NRM n’ebikonge by’ekibiina okwetoloola eggwanga lyonna abaabadde bamusaliddeko e Mubende gyeyagenze okwetegereza engeri enkola za gavumenti ezaateekebwawo okulwanyisa obwavu mu bantu bwezikola.
Ensonda zitegeezezza nti bano baabadde baagala kumatiza Museveni ayimirize enteekateka eyalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina naddala enkola y’okunonyeza akalulu ka kkaadi ya NRM ku kadaala ke kamu.
Bano batya nti enkola eno egenda kuyamba bavubuka n’abaakayingira ekibiina okuwangula akalulu nga bano baatandise dda okugenda nga bamatiza abalonzi nti mu palamenti abaliyo balya buli ssente nga kigenda kubabeerera kizibu okuwakanya obulimba buno ku kadaala ke kamu.
Bano bawadde eky’okulabirako kya Lydia Wanyoto ayagala ekifo ky’omubaka akiikirira ekibuga Mbale era atula ku lukiiko lwa NRM olwoku ntikko lu Central Executive Committee (CEC) atambula kyalo ku kyalo nga akakasa abalonzi nga bweyali mu lukiiko nga Museveni alagira ababaka okubawa buli omu obukadde 100 obutakwata mu bbajeti gy’agenda okubasindikira n’okuyisaawo etteeka ly’amagye.
Wanyoto akakasizza ONO BWINO nti olukiiko olwo yalulimu, abalala abaalulimu ye sipiika wa palamenti Annet Anita Among n’omumyukawe Thomas Tayebwa eyasooka okwegaana nti eby’ababaka okulya ssente tabimanyiko.
Ensonda mu State House zitubuulidde nti Museveni yategeezezza nti talina budde bw’ababaka abaagala okumusisinkana, yabawadde amagezi okwogera ne ssaabawandiisi wa NRM Richard Todwong ensonga addemu okugyanjula mu CEC ya NRM abakiise bagikubaganyeko ebirowoozo wabula nga kino kigenda kubeera kizibu okukolebwa.
SECURITE EWABUDDE M7 KU BAKADDE MU CEC
Ensonda zongerako nti bambega mu bitongole by’eggwanga ebikessi bawandiise lipooti nga bawabula Museveni okukwata obulungi ensonga z’abakadde ba NRM abatuula ku lukiiko lwa CEC okusobola okunyweza ekibiina n’okukisobozesa okukola obulungi mu kalulu ka 2026.
Bambega babuulidde Museveni nti abakadde singa tebataasibwa, abavubuka bagenda kubawangula mu bifo bya CEC, olwo nabo beesasulize ku Museveni mukadde munnaabwe olw’obutabataasa nga bawagiramu Bobi Wine n’abanaabeera basimbiddwawo NUP.
Bano bawabudde nti bwekibeera kisoboka, abatuula ku CEC babaleke okutuusa mu 2031 ng’ebifo ebirala byebibeera bijjuzibwa nga abo ababyagala, pulezidenti abasisinkana abasuubize ebifo by’obwaminisita mu kisanja ekiddako, wabula Todwong atubuulidde nti ku mulundi guno tebagenda kukkiriza pulezidenti kusisinkana bantu beesimbyewo mu kalulu nti abaperereze okukavaamu n’atukakasa nti abatuula ku CEC balina okuvuganyizibwa.
KIGONGO ASATTIRA
Okuvuganya okw’amaanyi kuli ku kifo ky’omumyuka wa ssentebbe wa NRM ekirimu Hajji Moses Kigongo, eyali minisita Edward Francis Babu amwesimbyeko, omumyuka wa ssaabaminisita asooka era minisita w’ensonga z’omukago gwa East Africa, Rebecca Alitwala Kadaga ono sipiika wa palamenti Annet Anita Among yaayagala okumusiguukulula. Ate Ssalongo Godfrey Kiwanda Suubi ekiikirira ekitundu kya Buganda, minisita Haruna Kasolo yaabwesimbyeko, minisita Byaryomunsi akiikirira Western Uganda ku CEC, omugagga Micheal Mawanda omubaka wa Igara West yaamwesimbyeko.
Ensonda zitegeezezza nti abatuula ku CEC, Museveni agenda kubalagira nti bwe babeera baagala ebifo by’obubaka bwa palamenti babiveeko basigalize bwa CEC nga kuno waakubagattirako obwaminisita mu kisanja ekijja.


