OMWOGEZI wa sipiika wa Palamenti Anne Anita Among, nga ye Joseph Sabiiti, akakasizza nti olutalo lw’abavubuka ababiri Gen Muhoozi Kainerugaba ne Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) abalwanira entebe y’Obwapulezidenti, mu butongole lwatandikidde mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North akaawanguddwa looya Erias Luyimbazi Nalukoola wiiki ewedde.
Ono anyonyodde nti Bobi Wine pulezidenti wa NUP ne Gen Muhoozi aduumira UPDF buli omu atandise okulabira ddala omukisa ogutwala entebe ennene mu ggwanga oluvanyuma lwa pulezidenti Museveni okuyingira emyaka gy’obukadde 80 nga buli omu agenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga munne tamuyisaawo kwekulabula Bannayuganda okwegendereza enyo okuyita mu kiseera kino eky’okusoomozebwa okusobola okulaba ku gavumenti empya ng’ekiseera ekituufu kituuse.
Sabiiti anyonyodde nti Muhoozi okusindika bakomando bakabikabi omuli n’aba JATT mu kalulu k’e Kawempe North, yabadde agezaako okukakasa Bobi Wine nti abavubuka ba foot soldiers baagenda awaga nti be bagenda okumuyambako okutwala obuyinza ng’ababuulira nti ovulo emmyufu zebambala nga kuliko enyota zigenda kukyuka mpolampola zifaananire ddala ebyambalo by’amgye ebyamadowadowa.
EKIRAGIRO KY’AMAGYE KIGENDA KUYITA KU BA FOOT SOLDIERS BA NUP
Ono awagiddwa Mubiru Njuki omutunuulizi w’ebyobufuzi n’ebyafaayo ategeezezza nti effujjo ab’ebyokwerinda lye baakoze e Kawempe NUP yeegenda okusinga okufiirwa n’akakasa nti mu bbanga ttono nnyo, ekiragiro kigenda kuyita ng’olukiiko lwa securite olw’oku ntikko olwa Security Council nga luwera ba foot soldier obutaddayo kwambala ngoye ze bambala n’okutambulira mu bibinja mwebatambulira nga beekwasa nti bakuuma mukulembeze waabwe.
Ono anyonyodde nti kino bwekitakolebwa, NRM agenda nayo kutandikawo ekibinja ky’agavubuka bakituume ba NRM foot soldiers olwo babasindikenga balwanagane n’aba NUP ng’ekigendererwa kyakusosonkereza NUP, olwo ebeere emmanduso y’okuwera ebibinja by’agavubuka agatambulira ku bannabyabufuzi mu kalulu ka 2026 n’obululu obulala obunaddako.
Njuki anyonyodde nti ekizibu Muhoozi kyeyafunye kwekukozesa eryanyi mu kalulu k’e Kawempe ng’agezaako okulaga Bobi Wine nti yaamusinga n’ategeeza nti ebiseera bingi Museveni abadde akozesa effujjo ku bamuvuganya naye nga kizibu okukitegeera nti yaali emabega w’effujjo eryo ng’abasinga beekwasa babyakwerinda abasindikiddwa naye Muhoozi ye yeggyirayo ddala obwenyi ne yeeraga nti yaakoze effujjo ng’atuma n’okuwa ebiragiro abakuumaddembe baabeera asindise ekintu ekyomutawaana enyo.
Col Chris Magyezi akola ng’omwogezi wa UPDF ow’ekiseera, alabudde nti UPDF tegenda kutunula nga waliwo ebibanja by’abavubuka abeeyisa nga ab’ebyokwerinda ne bakola effujjo ku bantu ba bulijjo omuli okubalemesa okutambula obulungi ku nguudo olwokuba bo bayisa ebivvulu n’ategeeza nti baakukolebwako ng’amateeka bwegalagira.
Ensonda mu securite zitubuulidde nti Muhoozi yakozesezza eryanyi e Kawempe oluvannyuma lw’ebitongole ebikessi okubawa amawulire nti NUP yabadde erina pulaani y’okukozesa akalulu ako okuteeka ekibuga Kampala n’emirirwano ku bunkenke ekintu kyebagamba nti baabadde tebasobola kukikkiriza.
TEMUCOOKOOZA BASECULITE -MUHOOZI
Muhoozi ye yalabudde abantu ba bulijjo naddala bannamawulire okwegendereza enyo naddala obutagezaako kucookooza babyakwerinda nga balina emmundu n’alayira nti bo balwanyi baakusigala nga balumba omulabe yenna agezaako okubang’anga.
Muhoozi okwogera bino, nga yaakavaawo bubi nnyo ne minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi eyavumiridde ekya bakkomando ba JATT abaatwalidwa e Kawempe okwambala obukookolo ne bakola effujjo ku bantu ba bulijjo n’ategeeza nti ab’ebyokwerinda balina okulaga obwenyi bwabwe abantu babategeere nga y’ensonga lwaki bateeka n’amannya gaabwe ku ngoye zebambala. Wabula ono Muhoozi yamusomoozezza okumulaga wekyawandikibwa n’amubuulira nti mu nsi yonna ab’ebyokwerinda bwe babeera mu bikwekweto eby’amaanyi ate nga byankizo ku lw’obulungi bw’eggwanga bakweka obwenyi bwabwe.
Omubaka Abdallah Kiwanuka ‘Mulimamayuuni’ owa Mukono North ategeezezza nti effujjo lyonna eryakoleddwa e Kawempe Museveni yali alimanyiko era ye yalikkiriza ng’alumiriza nti emmundu n’amagye tegasobola kutwalibwa mu kitundu nga Museveni tamanyi.
Wabula omusomesa w’ebyobufuzi ku yunivasite y’Abasiraamu eya IUIU, Abdul Kyamundu ategeezezza ONO BWINO nti Bobi Wine talina buyinza bwalwanira na Muhoozi ng’alumiriza nti Bobi ne banne mu NUP banonya bugagga ng’abantu ate Muhoozi anoonya buyinza. Kyamundu alumiriza nti Bobi bamukozesa kuteekawo embeera nti avuganya.
ABANENE MU GAVUMENTI ABASOMOLERA BOBI WINE EBYAMA BASATTIRA
Ahmed Kateregga Musaazi omubaka wa pulezidenti Museveni e Butambala akakasizza ONO BWINO nti kyeyalabye e Kawempe yategedde nti ddala mu gavumenti yaabwe mulimu abantu abakolagana ne Bobi Wine kubanga buli kakodyo obwedda ke bateesaako okuwanguza omuntu waabwe ng’aba NUP bakabuuka.
Ono alumirizza n’akulira akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama okubeera ne kyekubiira nga byonna byeyakoze e Kawempe yabadde ayagala kusanyusa Bobi Wine amutendereze nga bayingira akalulu ka 2026.
Ensonda mu NRM zitubuulidde nti obusungu ku mulamuzi Byabakama bwebamulinako kwekugaana okukkiriziganya ku ssaawa ze baabadde balina okutambulizaamu akalulu ng’aba NUP balumiriza nti essaawa aba NRM ze baabadde baagala okutambulizaako obululu baabadde baagala kububba.
Kateregga awagiddwa Njuki eyeewunyizza omuntu eyabuulidde Bobi ebifo mwebalumiriza nti mwe baabadde babbira obululu bwa Faridah Nambi ate baagenze okutuukayo ng’enneeyisa y’abantu be baasanzeeyo ng’eraga nti waabaddewo eky’obumenyi bw’amateeka ekikolebwa mu kifo ekyo ekitegeeza nti Bobi Wine alina bambega ewa Museveni okusinga Museveni baalina ewa Bobi.
Robert Mayanja omu ku bayambi ba Dr Kizza Besigye alumiriza ssaabawandiisi waNUP David Lewis Rubongoya okubeera emabega wa byonna ebyakoleddwa e Kawempe omuli n’effujjo ly’abebyokwerinda kubanga kyayambye nyo omuntu waabwe looya Nalukoola okuwangula akalulu.
Gyebuvuddeko omumyuka w’omwogezi waNUP Alex Waiswa Mufumbiro yakakasa nti ekimu kubintu bye basinga okuteekamu ssente z’ekibiina kwekukola obwambega mu nkambi ya Museveni, ng’ebisinga ebikolebwayo babimanya.
OLUTALO LW’ENTEBE LULI MUNDA MU NRM
Kyamundu atubuulidde nti kyeyalabye e Kawempe kyamukakasizza nti olutalo lw’abaagala entebe ya Museveni luli munda mu gavumenti ye ng’effujjo eryakoleddwa lyabadde ligezaako kulemesa Nambi muwala w’omumyuka wa ssentebe wa NRM mu ggwanga lyonna, Moses Kigongo okuwangula olw’obutakkaanya obw’amaanyi obuliwo wakati w’abakadde mu NRM n’abavubuka abakkiririza mu Muhoozi.
Abasinga ku banene abatuula ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko olwa Central Executive Committee (CEC) bakkiriza nti Museveni alina okusigala nga ye pulezidenti kyokka abavubuka abakkiririza mu Muhoozi bo bagamba nti ekiseera kituuse omuntu waabwe okukwata mu kintu.
Kyamundu awagiddwa Kateregga atubuulidde nti okutwala bakomando mu kalulu k’e Kawempe ne bakubaakuba abantu kyabadde kigenderere okunyiza abalonzi baleme kulonda Nambi ekyatuukiridde.
Ono agasseeko nti abamu ku banene mu NRM baawadde Bobi Wine ebyama by’obukodyo bwe baabadde bategese okumuwanguza kubanga baabadde tebaagala kulaga ssaabaminisita Robinnah Nabanja eyakulembeddemu okuyiggira Nambi obululu nti wa kitalo nyo awanguza NRM mu kitundu NUP kyesingamu amaanyi.
Kateregga atubuulidde nti abalala baabadde balwanyisa Rosemery Sseninde akulira okukungira NRM obuwagizi nga y’ensonga lwaki abanene ku kitebe ky’ekibiina e Kyadondo mu kalulu tebaalabiseeko ng’abatono abaalabiseeko baatuuse mu kalulu ku lunaku olusembayo pulezidenti Museveni lweyabaddewo okumulaga nti nabo baabaddeyo ate nga balimba.
OBUWUMBI BWA SSENTE BABULIDDE
Kateregga atubuulidde nti pulezidenti Museveni yasumulula obuwumbi bwa ssente obukunukkiriza mu 2 okuyambako Nambi okuyigga akalulu wabula zonna bamafiya baaziridde nga teyazirabyeko.
Ono anyonyodde nti Nambi yatuuse n’okunonya ssente ezikubisa ebipande nga tazirabako ne mu bifo ebimu teyatuseeyo olwokuba yabadde talina ssente ng’alumiriza nti ab’oku kitebe kya NRM baaziridde.
Ensonda mu NRM zitubuulidfe nti Museveni yalagidde okunonyereza ku baabulankanyizza ssente ezaabadde zirina okuyamba Nambi kutandike nga bonna abanaazuulibwa baakukolebwako ng’amateeka bwegalagira.


