Olukwe Lwa Famire Ya M7 Okufuga Uganda Pakapaka: Omuko Aleese Obujulizi Ku Nkiiko Ezituuzibwa Ekiro…

OMUGENZI Dr. Frank Nabwiso ye yasooka okubuulira palamenti nga bwe waliwo olukwe lwa famire ya Muzeeyi pulezidenti Yoweri Museveni n’ekibiina kye ekya NRM okufuna Uganda emyaka 50 n’okweyongerayo ng’alumiriza nti enkiiko ez’okuteekesa kino mu nkola zaali zituuzibwa e Rwakitura ku ffaamu ya pulezidenti ekintu pulezidenti n’abanene mu gavumenti kye baawakanya ne bateeka Nabwiso ku nninga okuleeta obujulizi.

Sengooba Alirabaki
6 Min Read
OMUGENZI Dr. Frank Nabwiso ye yasooka okubuulira palamenti nga bwe waliwo olukwe lwa famire ya Muzeeyi pulezidenti Yoweri Museveni n’ekibiina kye ekya NRM okufuna Uganda emyaka 50 n’okweyongerayo ng’alumiriza nti enkiiko ez’okuteekesa kino mu nkola zaali zituuzibwa e Rwakitura ku ffaamu ya pulezidenti ekintu pulezidenti n’abanene mu gavumenti kye baawakanya ne bateeka Nabwiso ku nninga okuleeta obujulizi.
Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi owa Butambala yalabula Bannayuganda nti bwe bateegendereze Uganda egenda kufuuka obukulembeze obw’ensikirano nga Museveni bw’avaako, mutabaniwe Gen Muhoozi Kainerugaba amuddire mu bigere olwo mutabani wa Muhoozi akwatemu n’annyonyola nti ne mu mawanga agatambulira ku nkola z’obukulembeze bw’ensikirano embeera yatandika bwetyo ng’omukulembeze omulonde yeeremeza mu buyinza nga bannansi babiyita bya lusaago olwo n’atandika okubulaamira n’abaana be.

OTAFIIRE ATABUSE KU MUHOOZI OKUFUGA

Munnansiiko Gen Kahinda Otafire omu ku baaleeta gavumenti ya pulezidenti Museveni mu buyinza, ategeezezza nti talina buzibu bwonna Muhoozi okusikira kitaawe ng’ayise mu kalulu kw’obwenkanya nga Bannayuganda be basazeewo okubakulembera wabula ye ne banne tebagenda kukkiriza Muhoozi kukulembera Bannayuganda olwokuba mutabani wa Museveni n’annyonyola nti kino bwekinaakolebwa bagenda kuba bavudde ku mulamwa ogwabatwala mu nsiko okulwana.
Ono agasseeko nti Muhoozi bw’atwala obuyinza olwokuba mutabani wa Museveni, n’ababaka ba palamenti bagenda kutandika okulaamira abaana baabwe ebifo byabwe ebya palamenti ekintu ky’asabye bannayuganda okukirwanyisa ng’olukwesikwesi luno terunnalanda lukome ku famire ya Museveni.

KYOKKA N’EBITONGOLE BYA GAV’T BAABYEZZA!

Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda owa Kira Municipality ategeezezza nti kino kigenda kubeera kizibu okulwanyisa kubanga kati famire ya Museveni yeefuga eggwanga wabula si bitongole bya gavumenti ng’eno y’ensonga lwaki omumyuka wa pulezidenti Jessica Alupo, ssaabaminisita Robina Nabbanja bwe baabalonda mu bifo bya gavumenti baalina okugenda Gulu, Gen Salim Saleh muto wa Museveni gye yasimba amakanda okumwebaza.

KITUUFU MUHOOZI YEEYISA NG’EKITAGASA?

Ono agasseeko nti ensonga lwaki Muhoozi atandise okweyisa nga bwe yeeyisa n’okukozesa obukambwe ku Bannayuganda naddala abavubuka abawagizi ba NUP ne pulezidenti waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), kwe kubeera ng’alabira ddala kitaawe Museveni ne Gen Saleh bakaddiye nga tebakyasobola kubaako kyebamukolako ne bwakola ekintu ekimenya amateeka g’eggwanga.
Ono alumiriza nti mu kiseera kino Muhoozi y’afuga amagye n’ebitongole bya securite ate bakoddomi be okuli Odrek Rwabwogo omuwabuzi wa pulezidenti ku by’amaguzi Uganda by’etunda wabweru waayo n’okugatta omutindo y’afuga ebyenfuna nga yaasalawo ebitongole n’abantu ssekinnoomu abalina okuweebwa ssente.
Edwin Karugire ne munne bwe baatandika kampuni ya bannamateeka eya K&K Advocates era ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka be bafuga ekitongole ekiramuzi nga be basalawo ani alya obulamuzi, n’ebifo ebisava bye bawa abakozi e Makerere ku yunivaasite bireetedde abakozi baayo n’abasomesa okukolera mu kusattira.

BANNAKENYA BAALOZA KMU BUKAMBWE BWA MUHOOZI

Okumanya Muhoozi asattiza buli omu, ne bannakenya baaloza ku bukambwe bwe, bwe yateeka obubaka ku kibanja kye ekya X, edda ekyayitibwanga Twitter n’abalabula nga bw’asobola okulumba ekibuga kya Kenya ekikulu Nairobi n’akiwamba ye n’amagye mu wiiki 2 zokka. Kino kyanyiiza nyo Bannakenya ne bamwogerera bingi ku mukutu ogwo nti nga bw’ayagala okuyingirira obwetengereze bw’eggwanga lyabwe, ekyaleetera taata we Museveni okuwandiika ebbaluwa ng’abeetondera.
Olupapula lwa The Standard nalwo, lwaddiza Muhoozi omuliro bwe lwateeka ekifaananyi kya Muhoozi ng’ayambadde ekyambalo ky’amagye ku mugguukiriro ne bassaako ebigambo nti “Four-star brat”, ebiyinza okuvvuunulwa mu Luganda nti Munnamagye ow’ennyota 4 naye nga mwana anyiiza, eyeeyisa ng’ekitagasa, nnantagambwako era afuuse ekirala!

RWABWOGO ALEESE BWINO KU NKIIKO EZITUUZIBWA EKIRO OKUFUGA UGANDA

Rwobwogo embeera yamutabuseeko bweyabadde ku Leediyo emu nga Ssemujju amufunzizza ku bya famire yaabwe okutwala Uganda ng’ekyobugagga kyabwe. Rwabogo yategeezezza nti okuwasa muwala wa Museveni Paasita Patience Rwobwogo Museveni tekimufuula wanjawulo nyo ku Bannayuganda abalala n’ategeeza nti akozesa mutwe gwe okulowooleza Uganda okuva mu mbeera embi gy’erimu nga kino takikola lwakuba alina akakwate ku famire ya Museveni.
Ono akakasizza nti okuva bweyawasa muwala wa Museveni, tatuulangako mu lukiiko lwonna oluteesa ku ngeri gyebalina okufuga Uganda pakapaka nga ddiiru zonna zaakola omuli ey’okuyambako omugagga Nelson Tugume okufuna obuwumbi n’obuwumbi bwa ssente za gavumenti okutandikawo ekyuma ky’emmwanyi e Ntungamo n’endaala azikola ku lwa Bannayuganda.

OMUKO AWABUDDE MUHOOZI

Ono baamutadde ku nninga annyonyole eggwanga lwaki takubira mukoddomiwe Muhoozi essimu n’amusaba akomye okuwamba n’okutulugunya abawagizi ba Bobi Wine n’anyonyola nti kino tasobola kukikola kubanga eggwanga terisobola kukulemberwa ku ssimu era Bannayuganda bonna balina okusitukiramu bateeke Muhoozi ku nninga akomye by’akola nga kino okukikola balina kuyita mu bitongole bya gavumenti.
Ensonda munda mu gavumenti zirumiriza nti waliwo olutalo lw’okulwanira obusika bw’entebe y’Obwapulezidenti wakati wa Muhoozi ne Rwabwogo nga buli omu alowooza nti y’agwanidde okusikira Museveni ng’awummudde.
Muhoozi gyebuvuddeko yateeka obubaka ku mukutu gwe ogwa X ng’alumiriza Rwobwogo nga bwali omuli w’enguzi kayingo nga yeewunya lwaki Museveni tamugambako ekintu ekyanyiiza abawagizi be ne bamulagira abeetondere n’omuntu waabwe ekintu kyeyagaana wabula obubaka n’abusangulayo ku mitimbagano.
Share This Article