Pulaani Y’okutta Besigye Nkambwe: Ebyama Ku Musajja Wa Dr. Kiyingi Eyamuleetera Babbulooka B’emmundu Okutta M7, Okuwa Abanene Mu Gov’t Obutwa N’okwokya Bbaalakisi…

DR. KIZZA BESIGYE yakulembeddemu banne Hajji Obed Lutale Kamulegeya n’omujaasi Captain Denis Oola okwegayirira omulamuzi wa kkootu ento e Nakawa Christine Nantege obutabasindika mu kkooti enkulu okutandika okuwerennemba n’emisango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe nga balooya baabwe abakulemberwamu Munnakenya omukazi atabwekebera Marth Karua tebaliiwo.

Sengooba Alirabaki
10 Min Read
Dr. Kizza Besigye

DR. KIZZA BESIGYE yakulembeddemu banne Hajji Obed Lutale Kamulegeya n’omujaasi Captain Denis Oola okwegayirira omulamuzi wa kkootu ento e Nakawa Christine Nantege obutabasindika mu kkooti enkulu okutandika okuwerennemba n’emisango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe nga balooya baabwe abakulemberwamu Munnakenya omukazi atabwekebera Marth Karua tebaliiwo.

Besigye yasabye omulamuzi abongereyo obudde balooya baabwe babeerewo nga babasindika mu kkooti n’anyonyola nti kino kigenda kubawa okukkiriza nti obwenkanya mu misango egibavunaanibwa ng’ekibonerezo kibeera kyakuttibwa nti bafunye obwenkanya.
Omulamuzi eyalabise nga bimusobedde yagaanye okuwuliriza Besigye mu bwangu n’alagira omuwaabi wa gavumenti Richard Birivumbuka okugenda mu maaso n’okukola ennongosereza mu misango egivunaanibwa Besigye ne banne nga bwanyonyola nti Besigye yennyini y’avunanyizibwa ku mbeera ya balooya be obutabeera mu kkooti kubanga ye yabadde abalagidde okufuluma.

LWAKI BESIGYE YALAGIDDE BALOOYA BE OKUFULUMA

Besigye okulagira balooya be okufuluma, kyaddiridde omulamuzi okugoba okusaba kwabwe okumuyimbula ku kakalu ka kkooti nga ssemateeka bwalagira kubanga yabadde awezezza ennaku 180 mu kkomera nga tanasindikibwa mu kkooti enkulu okutandika okuwoza ng’alumiriza nti obuyinza obwo tabulina wadde ssemateeka amukkiriza okukikola naye tasobola kukiteekesa mu nkola olw’ebiragiro ssaabalamuzi Owiny Dollo byeyawa abalamuzi ba kkooti eza wansi obutayimbula basibe bali ku misango gya naggomola nga kkooti enkulu zokka ze zikkirizibwa okubayimbula ku kakalu ka kkooti.

Kino Besigye yakiwakanyizza n’alagira balooya be mu bwangu okugenda mu kkooti enkulu bawakanye ensala ya Nantege, nga bweyakkiriza okumusomera emisango emipya n’atabuka n’alagira abantu bafulume kkooti gye yayise eya ‘Kangaroo’. Besigye okukola kino, yataddewo obunkenke munda mu kkooti bakomando abasirikale b’amakomera ne bamwetoloola nga balowooza nti agenda kutoloka.

LWAKI BYANYIMA AKAABYE NGA BALEESE RWOMUSHANA NE MUKAKU OKULUMIRIZA BESIGYE

Dr. Winnie Byanyima nga yenna alabika bimusobedde, era ng’ali mu kweraliikirira okwamaanyi, yasinzidde Geneva mu Switzerland n’aweereza pulezidenti Museveni akatambi ka vidiyo ng’amwegayirira okubeerera omwamiwe ow’ekisa amuyimbule ku kakalu ka kkooti awoze emisango gye yamuggulako ng’ava wabweru w’ekkomera gyagamba nti obulamu bwayo bumunyize nyo.

Ono yanyonyodde nti tasaba Museveni kusonyiwa Besigye kubanga akimanyi nti emisango gye yamuggulako mifumbirire, wabula kyayagala kumuwa bwenkanya nga bamuwozesa kubanga eno y’ensonga lwaki baamwegattako mu lutalo lw’ekiyeekera olwaleeta gavumenti ye mu buyinza mu 1986 nga baagala eggwanga eritambulira ku mateeka.

Ensonda zitubuulidde nti Byanyima embeera yamususseeko bweyalabye abantu abamaze ekiseera nga bawalana omwamiwe n’okumwogerera ebigambo ebisongovu nga Charles Rwomushana eyaliko mbega mu kitongole ky’eggwanga ekikettera munda ki ISO nga y’omu ku baleeteddwa okumulumiriza ku misango egyamuggulwako.

ENSIBUKO Y’OBUTAKKAANYA BWA KB NE RWOMUSHANA

Ensonda zitubuulidde nti obutakkaanya bwa Besigye ne Rwomushana bwa ku kyalo e Rukungiri gye bazaalwa.Eyali omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa alumiriza nti Rwomushana alina ennungu ku Dr Besigye olwettutumu lyeyafuna mu byobufuzi ate ye n’akonna wadde ng’ebyobufuzi yabitandika akyali mulenzi muto.

Besigye okuwakanya John Patrick Amama Mbabazi okuvuganya ku kkaadi y’aboluda oluvuganya bonna mu kalulu ka 2016 kyanyiiza nyo Rwomushana eyali mu ttiimu ya Mbabazi era okuva olwo alumiriza nti Besigye akolagana ne Museveni.

MUKAAKU NAYE BAMULEESE OKULUMIRIZA BESIGYE

Ku Rwomushana, ssabawaabi w’emisango gya gavumenti omulamuzi Jane Frances Abodo yagasseeko Samuel Lubega Mukaku nti y’omu ku baamanya n’okwetaba mu nkiiko z’okutemula Museveni, okuwa abanene mu gavumenti obutwa n’okuwamba gavumenti eyalondebwa abantu mu mateeka.

Vicent Mayanja owa DP Block yalumiriza Mukaku okugenda ewa Museveni ku ntandikwa ya 2025 n’alyayo ssente ezaakyusa obulamu bwe n’agulamu emmotoka empa enkoni, okugula ettaka ewaabwe e Mawokota n’okuzimbira maamawe enyumba nga omulimu gwa ssente zino kwali kulwanyisa pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Rwomushana ne Mukaku bali mu kattu kamaanyi nyo kubanga bwe bagezaako okuyamba gavumenti okusingisa Besigye emisango, gavumenti esobola okusaba kkooti ebasibe emyezi mukaaga mu kkomera.

Gen Muhoozi Kainerugaba aduumira UPDF yalangirira dda nti Dr. Besigye balina okumusingisa emisango nga ekibonerezo kigenda kubeera kyakuttibwa, baakumutwala ku muti omunene mu Acholi bamusibe empingu n’emiguwa bamukubireko amasasi aganaamuttirawo abeere ekyokulabirako eri abalala abagezaako okwagala okuwamba n’okutta kitaawe.

EBYAMA KU MUSAJJA WA DR KIYINGI GWEBALUMIRIZA OKUPANGIRA BESIGYE DDIIRU Y’OKUWAMBA M7

Okusinziira ku bujulizi bwa gavumenti obwateereddwa ku kiwandiiko ky’emiko 19, ddiiru yonna eyokuwamba n’okutta Museveni yaleetebwa omusajja Joel Wakayima awangaalira e Netherlands ng’ensonda zitubuulidde nti ono y’omu ku baali basajja b’omugenzi Dr Aggrey Kiyingi omusawo w’emitima asinga mu nsi yonna eyagezaako okulwanyisa gavumenti ya Museveni ng’akozesa emmundu.

Okusinziira ku biwandiiko byakkooti, Wakayima yakubira Salaam Musumba mukwano gwa Besigye essimu n’amutegeeza nga bwalina pulaani y’okwanguya okuwamba Museveni nga bakozesa emmundu ng’olwobunene bwa ddiiru yamuyunga ku Dr Besigye nti yaabeera akulemberamu byonna.

Besigye ddiiru yagigula era okugenda okusisikana Wakayima nti yatambula n’abantu nga Mukaaku, Rwomushana, Musumba, Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago, omubaka wa Kira Ibrahim Ssemujju Nganda ng’eno gye bakkanyiza okukozesa ddiiru y’eryanyi okuggyako Museveni.

Wano nti yabanjulira Omuzungu Andrew Wilson ddiira w’ebyokulwanyisa eyabasuubiza okubawa byonna bye beetaaga mu pulaani eno nga mwalimu okubaguza obunyonyi obwevuga bwokka -Drone nga buno bwe bwali bugenda okulumba enyonyi ya Museveni ng’atambula bugikube esaanewo bamuttiremu.

Bu Drone buno era bwe bwalina okukuba enkambi z’amagye nga ey’e Mbarara, Makenke, Bugembe, Bihango, Kanyoma, Gaddafi, Luzira ku kitebe ky’eggye ly’omu bbanga, Kimaka, Singo Karugutu, Nakasongola, Makindye, Bwebajja ku ttendekero lya poliisi, Kaweweta nga bino byonna Dr Besigye yafuna mmaapu yaabyo n’agikwasa Omuzungu okwanguyirwa ekikwekweto kyeyali agenda okuduumira.

OMUZUNGU ASUUBIZA BESIGYE MBU OKUTENDEKA ABALWANYI OKUTTA M7

Omuzungu yasuubiza nga bwagenda okuyambako Dr. Besigye okutendeka abalwanyi abagenda okumuyambako mu lutalo luno ng’enkambi y’okutendekebwa yateekebwa Zambia, nti baasooka kutwala abamu ku bavubuka ba FDC e Kisumu mu Kenya okutendekebwa mu by’ekijaasi n’obutujju.

Ekyewunyisa nti ssente ezatambuza abavubuka bano doola 5000 nti Omuzungu ye yazibawa, bano baawambibwa mu Kenya ne baggulwako emisango mu kkooti ya balintalo wabula abalamuzi ne bagigoba olw’obujulizi okubula.

Besigye nti era yasaba Omuzungu okumuwa obutwa ekika kya Ricin okubukozesa okutta abanene mu gavumenti wabula obujulizi tebulaga banene balina kuttibwa nga kuno yagattako okusaba Omuzungu okumuyambako okukuba ssente z’ebicupuli baziyiwe mu ggwanga bakyankalanye ebyenfuna by’eggwanga abantu beeyongere okukyawa gavumenti.

ENKALU KU SSIMU YA BESIGYE

Ensonda zitubuulidde nti obujulizi obusinga oludda oluwaabi bwerwesibyeko buli ku ssimu za Dr Besigye gye baagala okuggulawo bagifune wabula omulamuzi Nantege yabalagidde baddeyo mu kkooti nga 12 June okuwulira okusaba kwa gavumenti okubawa olukusa olwo wadde nga okusaba kuno Besigye yakuwakanya mu kkooti enkulu era olunaku lwekulina okuwulirwako terunateekebwawo.

Ensonda zitegeezezza nti Wakayima gwebalumiriza okupanga olukwe luno lwonna musajja muzibu nyo nga y’omu ku baali abayambi ba Dr Kiyingi nga mikwano gye mingi egyali gimusuubiza okumuwa akasente okuggyako Museveni n’emmundu agimanyi.

Bambega balumiriza nti mu 2017, omusajja ono yatandikawo ekibiina ky’obuyeekera ki Super Coalition Against Despots (SCAD) era ono y’omu ku bakulembeddemu kaweefube w’okumatiza Abazungu okuggula emisango gy’okutyoboola eddembe ly’obuntu ku Museveni n’abanene mu gavumenti ye.

Ono bamulumiriza nti ayogerezeganya n’abantu bangi ku luda oluvuganya ne munda mu gavumenti wabula nga mukambwe nyo ng’abaguza pulaani yakukozesa lyanyi okuggyako Museveni era abasuubiza nti ssente zonna ezeetaagisa azirina okubayamba.

DDIIRU EYIIKA

Ebiwandiiko bya kkooti birumiriza nti Omuzungu olwakitegeera nti Besigye kituufu mumalirivu okutta Museveni, yatya nyo n’asalawo okutuukirira abanene mu UPDF abaali balwanyisa abatujju ba Al-Shabab e Somalia kubanga yali awuliziganya nabo nga ddiira w’ebyokulwanyisa.

Bano olwababuulira ensonga ne baziroopa e Kampala Omuzungu ne bamukwasa bambega ab’amaanyi mu kitongole kyamagye ekikessi ekya CMI kati DIS okulondoola pulaani yonna era baamukwasa obuuma obukwata ebifaananyi n’amaloboozi okumuyambako okubakung’anyiriza obujulizi omulimu gweyakola obulungi.

M7 AWULIRA OBUTAMBI

Ensonda zongeddeko nti Museveni ye yasooka okuwulira mu butambi buno n’alyoka alagira Besigye bamukwatire mu kikolwa e Nairobi mu Kenya mu November wa 2024 nga bakkomando abaamuwamba ne Hajji Lutale baabasanga mu kasenge nga bateesa ne Besigye nga n’emmundu mweziri.

Wabula byonna Besigye yabyegaana n’ategeeza ng’Omuzungu bweyamutega akakodyo n’amusaba basisinkane boogere ku ngeri gyasobola okumuyambamu ne ssente okutandika ekibiina ky’ebyobufuzi ekipya.

Ebiwandiiko bya kkooti birumiriza nti Besigye yalina pulaani okufuna ssente okuva mu batujju Abakadi okulwanyisa Museveni nga bwatwala obuyinza abayambeko okutambuza enjaga yaabwe nga bayita mu Uganda.

EKIBALO KYA BALOOYA OKUTAASA BESIGYE

Balooya ba Besigye kati akazito bakatadde ku ssaabalamuzi Owiny Dollo alagire omulamuzi Emmanuel Baguma alina okuwuliriza okusaba kw’abantu baabwe okweyimirirwa kwabwe kwanguweko nga bamulumiriza nti yeebuzabuza.

Omulamuzi James Ereemye Mawanda ayogerera essiga eddamuzi, yategeezezza ONO BWINO nti essaawa yonna Baguma agenda kuwulira okusaba kwa Besigye ne banne nti ekibadde kikyamulemesezza kwekutereeza ofiisi ye empya engeri bwekiri nti yaakakyusibwa okuva mu kkooti enkulu ewuliriza emisango gy’engasi ne bamuleeta okuwuliriza egy’obumenyi bwa’mateeka ne nnaggomola.

Balooya era bagenda kusaba kkooti etaputa ssemateeka esooke eyimirize okuwuliriza emisango gya Besigye okutuusa ng’omusango gwabwe gwe baatwalayo nga bawakanya engeri gyeyakwatibwamu ne gye yavunanibwamu nga gimaze okuwulirwa kkooti etaputa ssemateeka n’eyamawanga ga East Africa.

Share This Article