OMUBAKA wa Makindye West Allan Ssewanyana [NUP] anyiize n’aleeta akabinja k’abavubuka kaatuumye ‘Ttiimu banyiivu bafaafaagane ne ba foot Soldiers ba Bobi Wine mu kalulu ka 2026.
Ensonda zaffe mu Makindye West zitubuulidde nti oluvannyuma lw’omubaka Ssewanyana okukitegeera nti bakama be ku kitebe kya NUP e Makerere -Kavule nga bakulembeddwa, Robert Kyagulanyi Ssentamu ( Bobi Wine) tebakyamulabawo era baamufunira dda omusika agenda okumufulumya palamenti mu kulonda okujja mu 2026, agambibwa okuba nti ye mmeeya wa Makindye Division Ali Kasirye Nganda, Ssewanyana naye yazzeeyo n’apanga bw’agenda okwang’anga NUP ekibiina mwali.
Kigambibwa nti mu January w’omwaka guno, Kyagulanyi yayimiriza Mulyanyama ku by’okwegwanyiza ekifo ky’obwa loodi meeya bwa Kampala n’amulagira atandike okukuyega ab’e Makindye West bamulonde, kubanga NUP ku bwa loodi meeya egenda kuleeta MP wa Nakawa East Ronald Nsubuga Balimwezo. Ssewanyana naye ayungudde abakambwe ataase ekifo kye aweze ekisanja eky’okusatu ng’akiikirira abantu b’e Makindye West.
EBITIISA KU KABINJA K’ABANYIIVU SEWANYANA KALEESE OKUFAAFAAGANA NE BA FOOT SOLDIERS BA NUP
Ensonda mu Makindye zitukakasizza nti Ssewanyana yagenze mu miruka gyonna egikola Makindye West n’akungaanya abavubuka abalina obusungu mu by’obufuzi nga bakulirwa Robert Ssaabwe n’abakunganyiriza mu makage agasangibwa e Makindye (1) n’abawa ebiragiro nti be bagenda okumunonyeza akalulu mu 2026 asobole okutaasa ekifo kye. Kigambibwa nti Ssewanyana abavubuka bano yabatadde ku musaala gwa UGX 150,000/- buli mwezi, kino yakikoze okubongera amaanyi okuttunka ne ba foot Soldiers abakulirwa Peter Waswa akulira enkola ya Kunga mu Makindye Division abagenda okubeera ku kandidenti NUP gwenaaba ewadde kkaadi okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Makindye West.
LWAKI BEETUUMYE ABANYIIVU?
Kigambibwa nti akabinja kano okutuumibwa abanyiivu obusungu baabufuna olw’okuba Bobi yasazeeewo okusuula Ssewanyana, akabinja kano kagenda kuteekawo eggaali n’okulwana okw’amaanyi ne ba Foot Soldiers ba NUP abagenda okutambulira ku kandidenti NUP gwenawa kkaadi ku bigambibwa nti ba foot Soldiers bateeseteese okulemesa Ssewanyana okumatiza abalonzi nga bamukonjera nti yalya ewa Museveni.
Kyokka abalala batubuulidde nti ttiimu banyivu Ssewanyana yaagitandikawo dda mu 2011, aba DP we baamumma kkaadi y’obwa loodi kkansala wa Makindye Ssewanyana, yakunga abavubuka abaali bamuwagira omwali abasajja n’abakazi n’abategekera empaka z’omupiira omwali egy’abalenzi n’abawala, Ssewanyana n’akozesa empaka zino abavubuka ne bamukuyegera akalulu ne yeesimbawo nga taliina kibiina era n’awangula obwa loodi kkansala. Kigambibwa nti ttiimu eno gy’azzeemu okuzimba n’agyongeramu ebirungo okutuukana n’embeera eriwo ey’eggaali ya NUP eddemu emusaggulire akalulu olw’okuba yakitegedde nti kkaadi ya NUP mu kalulu ka 2026 tagenda kugifuna egenda ku kandidenti mulala.
LWAKI NUP EGOBA SSEWANYANA
Abamanyi eby’omunda batubuulidde nti Bobi Wine ne gyebuli eno akyali munyiivu eri Ssewanyana n’omugenzi Muhammad Ssegirinya eyali omubaka wa Kawempe North engeri gye baava mu kkomera e Kitalya ku misango egyabakwatisa egyekuusa ku bijbiya by’e Masaka. Kigambibwa nti waaliwo enteeseganya ezaali wakati wa Ssewanyana, Ssegirinya, eyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti-LoP Owek. Mathias Mpuuga n’abanene mu gavumenti ya Pulezidenti Museveni ekyaviirako Ssewanyana okuva mu kkomera ekitasanyusa Bobi Wine ng’alowooza nti okuyimbulwa kwabwe kwalimu ddiiru okubegera n’okuwa NRM ebyama ebiri mu NUP.
LWE BAAKUBA SSEWANYANA KU NUP
Kyokka Ssewanyana ne gyebuli eno kigambibwa nti akyagaanye okunyonyola bakama be ekituufu ekyali mu nteeseganya ne gavumenti. Embeera ya Ssewanyana omusajja wa Bwino yalya oba teyalya, ye yaviirako Ssewanyana okukubwa abamu ku ba Foot Soldiers ku kitebe kya NUP e Makarere Kavule nga bamulanga okuba mbega. Ssewanyana yalemerwa okukozesa ekifo kye okutumbula emirimu gy’ekibiina omuli okutumbula enkola ya Kunga mu Makindye West wabula ate nadda mu kugirwanyisa, ekyakuviirako okutabuka ne Fred Nyanzi akulira Kunga mu NUP.
Abalala bagamba nti Ssewanyana asambisa amagulu abiri, akukuta n’aba PFF ekya Dr. Col Kiiza Besigye ne loodi meeya Ssaalongo Erias Lukwago ekiraga nti kwayinza okuvuganyizza ekisanja eky’okusatu.
MULYANYAMA BOBI GW’AYAGALA ATANDISE OKUTAGALIRA MU KINTU
Ensonda zongedde okututegeeza nti wadde Bobi yali asonze ku Mulyanyama ng’amumatizza nti kkaadi ya Makindye West agivuganyako yekka, wabula agaliwo galaga nti Mulyanyama yafunye okutya nti ku ssaawa esembayo kkaadi eyinza okumuyita mu ngalo n’egenda ewa sipiika wa KCCA Zaharah Luyirika olw’okuba nti akyusizza nnyo eby’obufuzi mu Makindye West omuli okukuyegera ekibiina obuwagizi n’okuvujjirira emirimu gy’ekibiina ate nga n’Oluzungu olulimi olukozesebwa mu palamenti y’alusinga okulumanya mu bonna abeegwanyizza ekifo kino, ate nga Mulyanyama Oluzungu lumutawaanya era abamu ku babalira Bobi batandise okumukuyega addemu yeetegereze Luyirika kubanga kirabika Hajjati ono yaasanidde ku kifo ky’omubaka wa Makindye West nga singa Mulyanyama anaagenda mu palamenti ayinza obutateesa ku fulo ajja kubeera mubaka ategeera ab’amawulire mu nkuubo za palamenti nga gy’ateeseza ng’omubaka omu ava e Lubaga. Balumirizza Luyirika nti buli mukolo gwabaako omuli embaga, ennyimbe n’emikolo emirala asooka kusasula bakalabaalaba b’emikolo egyo ne bamukubira enduulu ne bagonza abantu abandibamugaanye okwogera ku mukolo n’okumuwakanya olwo bonna abali ku mukolo ne bamusuubiza nti maama tujja kukuyiira obululu.
MULYANNYAMA AMEZE AKATENGO?
Bino webyatuuse mu nkambi ya Mulyanyama ne bimukanga nnyo era egimu ku mikwano gye gitubuulidde nti Mulyanyama atandise okutagala ayagala kudda ku kifo ky’obwa mmeeya bwa Makindye wadde ng’ekifo kino kibadde kivuganyizibwako Bosco Lusagala eyaliko omumyuka wa Mulyanyama mu kisanja ekyasooka, Sipiika wa division eno Charles Luba Lwanga n’abalala.
MUSIRI YEESWANTA
Mu balala abaagala obwa MP Makindye West kuliko David Musiri akulira okukuyegera ekibiina kya NUP obuwagizi mu matendekero, era eyaliko muninkini w’omukazi eyali asinga okuwemula mu Uganda, Dr. Stella Nyanzi agamba nti situlago y’ekifo kino agimazeemu emyaka egisoba mu 8 nga ne NUP tennabaawo era singa ayingira palamenti ajja kukubagana n’ababaka abaleeta ebiteeso ebitayamba muntu wa wansi. Farouk Ntege ava mu famire ya Hajji Nasser Ntege Ssebaggala eyaliko meeya wa KCC naye ayagala kkaadi ya NUP , Doreen Keita Kagabi yaliko RCC wa Makindye Division ayagala kuvuganyizza ku kkaadi ya NRM.
SSEWANYANA NE MULYANYAMA BEEWOZEZZAAKO
ONO BWINO waatuukiridde MP Sssewanyana anyonyole ku bigendererwa by’akabinja ka tiimu abanyivu kaleese essimu ze ezimanyiddwa tazikutte, wabula gyebuvuddeko nga Mulyanyama yaakalangirira nti azze kuvuganya ku bwa MP Makindye West Ssewanyana yagamba nti tatidde muntu kuvuganya ku kifo kyalimu wabula akalulu we kanaatuuka bajja kwawula abalenzi ku basajja, Ate Mulyanyana ategezezza nti akyali ku mulamwa okufuuka omubaka wa Makindye West addako.


