Obufumbo Bwa Polof. Kateregga ne Nalongo Kati Bwa Musaayi: Kkooti Ebataddeko Ebiragiro Ebikakali Nga Batwala Abalongo Ku DNA N’okugabana Obugagga…

OMULAMUZI wa kkooti ento e Makindye Charles Opio alagidde Oweekitiibwa pulofesa Al-Hajji Badru Kateregga, nnanyini Kampala University okugenda e Wandegeya ku labalatole ya gavumenti okuggyibwako sampo z’endagabutonde-DNA ziteekebwe mu byuma bya ssaayansi okuzuulira ddala amazima oba ye taata w’abalongo n’omwana omulenzi mukyala muto Naalongo Jolly Shubaiha Kateregga baalumiriza nti babe.

Editor Ono Bwino
3 Min Read
Pulofesa Al-Hajji Badru Kateregga, nnanyini Kampala University ne Naalongo we Jolly Shubaiha

OMULAMUZI wa kkooti ento e Makindye Charles Opio alagidde Oweekitiibwa pulofesa Al-Hajji Badru Kateregga, nnanyini Kampala University okugenda e Wandegeya ku labalatole ya gavumenti okuggyibwako sampo z’endagabutonde-DNA ziteekebwe mu byuma bya ssaayansi okuzuulira ddala amazima oba ye taata w’abalongo n’omwana omulenzi mukyala muto Naalongo Jolly Shubaiha Kateregga baalumiriza nti babe.

Pulofesa ye yateeka okusaba kuno mu kkooti oluvanyuma lw’okutandika okwekengera abaana ba Naalongo ng’alumiriza nti aliko abasajja okuli kkomando mu ggye kya Special Forces Command (SFC) erikuuma Museveni n’omukozi ow’amaanyi mu bbanka ya DFCU baabadde akukuta nabo wadde nga bafumbo mu mateeka.

Embeera n’enneeyisa ya Nalongo n’atuuka n’okusibira pulofesa ewaka nga tamukkiriza kufuluma ng’amulumiriza n’okugezaako okumutta, ye yamuwaliriza okusaba kkooti emuwe ekiragiro okukebera abaana ng’akakasa nti omukazi eyakuzibwa tasobola kuyisa taata w’abaana be mu ngeri gyeyali amuyisaamu.

Pulofesa yasaba omulamuzi amubeerere waakisa bafune eddwaliro eriri ku ddaala lyensi yonna ly’eribeera likebera DNA z’abaana be ng’atya nti omukazi ayinza okukozesa abanene abamuwaga mu gavumenti okumutulugunya okusobola okukyusa ebivudde mu DNA n’ekigendererwa ky’okutwala obugagga bwe.

NNAALONGO BYE YASIMBAKO NNAKAKONGO

Nalongo mu bumalirivu obw’amaanyi yawagira okusaba kwa pulofesa n’akakasa nti mwetegefu abaana okubatwala mu ddwaliro lyonna ly’ayagala nga yali asembye batwalibwe ku kitebe kyaminisitule y’ensonga z’ebweru mu America abaana gye babeera bakebererwa kubanga Bamerica engeri bwekiri nti gye baabazaalira.

Naalongo kuno yagattako okusaba kkooti okuyisa ekiragiro ekiwaliriza pulofesa okuwa abaana be obuyambi okutuusa okubakebera DNA nga kuwedde ng’alumiriza nti kino kimukakatako engeri bwekiri nti abaana bombi tebannaweza myaka 18.

Kkooti yalagira pulofesa okuwaayo obukadde bwa ssente za Uganda 3 buli mwezi okulabirira abaana be okutuusa ng’okukeberebwa DNA kuwedde.

Pulofesa yaggula emisango ku Naalongo ku kitebe kya poliisi e Kibuli ng’okunonyereza kukyagenda mu maaso okuzuulira ddala oba obujulizi obukakasa nti yali ayagala kumutta okusobola okumutwala mu kkooti bamuvunaane mu butongole.

Wabula Nalongo alumiriza nti buno bwonna pulofesa akola bukodyo okusobola okumugoba mu bugagga obutootogana ng’obukolwa naye bwalinako omugabo ng’omuntu ate nga ataddeko amaanyi ge mangi okubuzimba n’okumugoba mu maka gaabwe agatemya ng’omuntu e Buziga mu Kampala.

‘POLOF YAFUNAYO KA SIDE DISH’

Ono alumiriza nti pulofesa yafunayo akawala akato ka Side Dish akamuzzaamu omusaayi nga kati kaakukuta nako nga Nalongo amulaba ng’omukadde alina okuva mu maka gaabwe agatunula ng’omuntu ateekemu akawala keyafunye.

Nalongo agattako nti pulofesa alina omuze, buli lwafuna omuwala omuto ng’omukyala gwabadde naye amugoba ng’olukujjukujju olwo lwatandise okukola.

Pulofesa yakkiriza nti ye musajja mutabaazi ng’abaana azadde abawera abasoba mu 20 nga mu kiseera kino bonna abali wabweru w’eggwanga baakomawo okuddukanya emmaali ya kitaabwe era omukazi gweyayita sserwajja okwota alina okugivaamu.

Share This Article