MSGR. Expedito Magembe owa Mt. Sion prayer Centre e Bukalango yaddusiddwa mu ddwaliro e Nsambya ng’ali mu mbeera mbi nnyo, oluvannyuma lw’okulumbibwa ekirwadde ekinategeerekeka bwe yali yeetegekera okusaba kw’okumalako omwaka 2025, era ssaabasumba w’Eklezia Paul Ssemwogerere n’ayingiza abakkiriza omwaka nga y’akukwmbera okusaba ekintu ekibadde kitatera kubeera Bukalango.
Ono oluvannyuma baamwongeddeyo e Kenya ng’embeera ye tennatereera.
Mu kusinza kuno, Magembe teyasobola kukwetabamu mu bujjuvu, wabula ng’emmisa enaatera okuggwa, baamuleeta bamukwatiridde era teyasobola kwogerako eri bakristu okuggyako okubakubira jjambo yokka, ekyayongera okweraliikiriza abagoberezi be.
Ku nkomerero ya wiiki ewedde, waliwo amawulire agaasaasaanye nga gategeeza nga Msgr. Magembe bwe yabadde afiiridde mu ddwaliro e Nsambya, ekintu ekyabadde kikanze ennyo abantu ababadde bagenze mu kusinza okubeerayo buli Lwamukaaga olusemba mu mwezi, okutuusa faaza James Ssebayigga omu ku babeera e Bukalango bwe yatangaazizza kunsonga eno.
Ensonda okuva e Bukalango zaategeezezza ONO BWINO nti, obulwadde bwa faaza Magembe bwava ku kigwo kye yagwa bwe yali ava w’asula ng’agenda okusoma mmisa, n’akosebwa nnyo era obulwadde obumubala embiriizi we bwatandikira. Wabula ate waliwo n’abakkiriza abamu abateebereza okuba ng’omukulu alabika aliko ebintu ebikyamu bye yalya kuba abaddenga aludde ng’alumizibwa mu lubuto.
Ono okuva lwe yatandikawo ekifo kino ekisabira abantu emikisa n’okubasumulula ku njegere za staani, azze afuna obutakkanya n’abantu ab’enjawulo omuli n’abekika ky’obutiko abamulumiriza okukozesa olukujjukujju n’ababbako ettaka ly’ekika, anti essinzizo lyazimbibwa kumpi n’obutaka bwa b’obutiko, era nga waliwo n’abazzukuku abaddukira mu kkooti ne baloopa ensonga.
BAMAZE EBBANGA NGA BAMWEGEZAAMU
Enfunda eziwera waliwo abantu ab’omutima omubi abatategeerekeka abazze beegeza okutta faaza ono nga bamuwa obutwa mu by’okulya abamu nga bayita mu bakozi abamufumbira, kyokka Katonda n’amutaasa nga n’ogusembyeyo akatwa baali bakamuteeredde mu kyenyanja era bwe baakiwa kkapa, yafiirawo ng’emaze okukirya.
Yadde Magembe musajja w’amaanyi mu kusabira abantu abalala, kyokka era waliwo n’abantu ab’omutima omubi ababadenga bamutega ebintu by’ekirogo omuli eddagala lye babeera batadde mu mbugo ne babimusuulira mu maaso g’omulyango, ekintu ekibadde ate kitiisa ababadenga bagendayo okusaba.
BAFFAAZA BAMUWALANA
Omukulu ono era tabadde na mirembe n’abamu ku baffaaza naddala mu ssaza ekkulu erye Kampala, abeegwanyiza okubeera mu kifo kino ng’era entalo, zino zaaviirako n’okufa John Baptist Kyeyune (Mukaajamga) eyaziikibwa e Bukalango ate n’okugobwa kwa faaza Jacito Kibuuka mu Eklezia n’atandikawo ekikye ekya Mamre International Prayer Center e Namugongo.
Waliwo n’abagamba nti ekirwadde ekimuluma omukulu kyandiba nga kiva ku mizimu, emisambwa n’amayembe amakambwe by’abaddenga agoba mu bantu abagenda e Bukalango okubasabira, nga kati waliwo ejjembe erimutuddemu eyagala okumulemesa emmere.


