OMUTUME John Mulinde, ono nga ye musumba omukulu ow’ekkanisa ya World Trumpet Mission Ministries e Seguku ku luguudo lw’e Entebe atuuyana oluvanyuma lw’abakadde mu kkanisa ye n’abagoberezi okulemerako nga bwatasaanye kuwasa omu ku bawala b’omu kkanisa bwe bamaze ekiseera nga bakukuta.
Ensonda mu kkanisa ya Mulinde zitubuulidde nti ku ntandikwa y’omwaka guno, yatuukirira abakadde b’ekkanisa ne mikwano gye n’abategeeza nga bw’akooye okubeera obwomu nga yafunye omuwala ow’okuwasa.
Wabula olwayogera amannya ge bonna ne basaanuuka nga bwe balumiriza nti tebasobola kukkiriza mukulembeze waabwe kuwasa kawala bo kebayita akayaaye akakyanga abasajja ng’akakyusa engoye nga kanoonya obugagga. Muli nga beebuuza nti ddala omusajja omukulu akulira ekkanisa kiki ky’anoonya ku kawala akayaaye?
MULINDE ALYA OBUWUKA ERI ENDIGA ZE
Embeera eyateereddwawo ensonda zitubuulidde nti yasiikudde emmeeme ya Mulinde kubanga omuwala amwagala era ekiseera kyonna abadde amukakasa nga bwagenda okumuwasa nga batambudde bombi amawanga mangi okuli America, Yisirayiri, Egypt ne Kenya yonna gyalina amakanisa ng’ababuulira enjiri, era ng’amwanjulayo ng’omuntu we.
Ensonda zitegeezezza nti okutya abakadde kwebalina nti omuwala ayinza okutta omuntu waabwe asobole okufuna obugagga kubanga buli waabeera akulembeza bugagga na ssente eby’enjiri ya Katonda tabyogerako kiri awo, tebaagala embeera eyatuuka ku mugagga pulofesa Badru Kateregga Ddungu omukazi omuto Omunyarwanda gweyawasa bweyamufundiza mu nnyumba kata amuttiremu.
Kateregga mu kiseera kino akyajjanjabwa ebisago ku mutwe ebyamutuusibwako Nalongowe nga yatwala n’abaana ku DNA ebyavaamu nebikakasa nti n’abamu ku baana si y’abazaala, yaggulawo n’omusango ku poliisi ng’alumiriza mukyalawe okumubbako obugagga bwe nadduka nabwo ewaabwe e Rwanda.
Ensonda zongeddeko nti wadde abakulu mu kkanisa n’emikwano gigezezzaako okumatiza Mulinde okwesonyiwa omuwala wabula ye kirabika akyalemeddeko akawala kaamusensera obwongo, kino kibaleetedde okulowooza ensonga okuzongerayo mu banene abakulira ekkanisa z’Abalokole nga Omutume Joseph Sserwadda n’abakulu mu gavumenti bataase omuntu waabwe.
OMUWALA ATADDEWO EMBEERA KU KKANISA, AFUUSE EKIZIBU ERI ENDIGA
Bano batubuulidde nti omuwala atandise okuteekawo embeera ng’abo beyategedde nti bamulemesa okugattibwa mu bufumbo obutukuvu ne musajja wa Katonda Mulinde, abalemesa okumutuukako okubaako ensonga z’ekkanisa enkulu ze boogerako nga kuno agasseeko n’okubawendulira abantu ababavumira ku mitimbagano n’okubaweereza obubaka obubalagira okwesonyiwa omukwano gwabwe. Endiga ezimu zitubuulidde nti omuwala okuva lweyagwa mu mukwano n’Omutume takyagambwako nga yeetwalira waggulu buli mukozi amuyisaamu amaaso ajula kumuwandulira malusu.
MULINDE KY’AGAMBA
ONO BWINO yagezezzaako okunonya Mulinde wabula ng’amasimu ge agamanyiddwa nga tegayitamu, ensonda ku kkanisa zaatubuulide nti yagendako mu America.
MULINDE ATOBYE N’ABAKAZI
Mulinde ebintu by’abakazi bimutawanyizza nyo. Yaggula omusango ku muvubuka Jeff Mugisha ku poliisi e Katwe ng’amulumiriza okumuwereza obubaka obumutiisatiisa okumutta nga yategeeza bambega bapoliisi ng’omusajja ono bweyali akukuta ne maama w’abaana be Sheila Jasmine.
Mugisha ku poliisi yakkiriza nti ali mu mukwano ne Sheila nti baasooka kubeera bakasitoma kubanga Mugisha yalina saluuni ekola ku bakyala e Kisasi mu Kampala wabula ne yeegaana eby’okutiisatiisa Mulinde.
Sheila naye yagenda ku poliisi okutaasa omulenzi we n’akola sitetimenti ng’alumiriza nga bwe baayawukana mu bufumbo obutukuvu ne Mulende ewuwe yavaayo dda nga Mugisha yamupangisizza enyumba mu bitundu by’e Mengo mu Kampala gyeyali asula.
Poliisi yayita Mulinde okujja okwongera okukola sitetimenti wabula nga talabikako, abayambibe baategeeza bambega nti omukulu yali mu America akyaleetera abasibe okuyimbulwa ku kakalu ka poliisi ne fayiro oluvanyuma yaggalwawo.
Omutume nga tannawasa Sheila, yasooka kuwasa Prosy Mulinde ne bagattibwa mu bufumbo obutukuvu ku lutikko e Namirembe wabula oluvanyuma baayawukana olw’obwenzi n’ensonga z’ekisenge endala.
Omu ku mikwano gya Mulinde atubuulidde nti abakulu mu kkanisa balina omukono mu kwonoona obufumbo bw’omuntu we ng’alumiriza nti omu ku bakulu b’ekkanisa ye yatwala Sheila ewa pasita David Kiganda mu Kisenyi gyeyayonoonekera n’okusuulawo obufumbo bwe.


