Emmaali y’omugagga w’Akaboozi FM Bagitwala: Ebyama Ku Pulaani Ya Bamafiya Okubba Ebyobugagga Bwe Nga Bwe Baakola Ku Wavamunno, BMK, MTK ne Mulwana…

MAAMA wa nnaggagga Mohan Musisi Kiwanuka olwatabuka n’omwami we Rajab Nsereko, yasalawo okusuulawo obufumbo n’ajja mu kibuga Kampala okutandika obulamu obupya ng’abaana be abalenzi ababiri beyali azadde mu bufumbo buno yatambula nabo ku mugugu.

Sengooba Alirabaki
13 Min Read
Tycoons Gordon Wavamunno, late Jame Mulwana, the late BMK and Mohan Kiwanuka

MAAMA wa nnaggagga Mohan Musisi Kiwanuka olwatabuka n’omwami we Rajab Nsereko, yasalawo okusuulawo obufumbo n’ajja mu kibuga Kampala okutandika obulamu obupya ng’abaana be abalenzi ababiri beyali azadde mu bufumbo buno yatambula nabo ku mugugu.

KIWANUKA BAMUGAANA OKUMUWANDIISA E BUDDO OLW’OKUBEERA OMUSIRAAMU

Olwatuuka e Kampala, yafuna omusajja omugagga eyamuwasa n’akkiriza n’okulabirira abaana be ababiri abajjanannyina nga wano omugagga Mohan Kiwanuka bweyafunira omukisa okugenda okusoma n’abaana b’abagagga e Buddo. Baasooka kumugaana kumuwandiisa olw’okubeera Omusiraamu ng’erinnya lye ye Muhammad era okusobola okubuuka akakwakkulizo kano, yakyusa erinnya ne bamutuuma Mohan afaanane Abakulisitaayo bannanyini ssomero.

Ono e Buddo yasoma bulungi gavumenti n’emutwala e Makerere okusoma amateeka era n’emuweerera ng’eno ye yali ensibuko y’okukola obugagga bwonna bwalina kati obutootogana ng’obukolwa ng’ayogerwako ng’omusajja asinga ettaka mu kifo ekisinga okubeera eky’ebbeeyi mu Uganda e Kololo, ebifo eby’ebbeeyi ebirala gyalina ettaka kuliko Nakasero, Naguru n’awalala.

ENGERI GYE YAFUNAMU OBUGAGGA

Pulezidenti Museveni olwawamba gavumenti mu 1986, yatandika ku nteekateeka y’okuddiza Abayindi eby’obugagga byabwe pulezidenti Amin byeyali abawambyeko ng’akyali mu buyinza.

Mu kiseera ekyo, Kiwanuka yali munnamateeka w’amaanyi mu banka ya Uganda Development Bank -UDB era ng’atuula ne ku kakiiko akaatekebwawo pulezidenti okwekenneenya Abayindi abalina okuddizibwa obugagga bwabwe aka Departed Asians’ Custodian Board nga kaali kakulirwa Matia Kasaija kati minisita w’ebyensimbi, abalala abaakaliko kwekwali Dr. Sam Mayanja kati minisita omubeezi ow’ebyettaka.

Ofiisi Kiwanuka zeyalimu zaamuwa omukisa okukwataganna n’Abayindi abaali bannanyini byabugagga ebyo n’alya looni mu banka gyeyali akolera n’afuna ssente n’abibagulako.

Ettaka ly’Abayindi lingi yalisaba ne balimuwa kubanga bannanyini lyo baali babuze era okubeera munnamateeka yali amanyi bulungi engeri gyasobola okukyusaamu ebyapa ebyo okuva mu nkola za liizi okubifunako obwanannyini obwenkomeredde ng’ebisinga kati by’alina si bya liizi.

OMUYINDI AYAMWEZINGAKO NTI YAMUBBA

Ono waliwo Omuyindi eyamwezingako ng’amulumiriza nga bweyatwala ettaka lye e Kololo mu lukujjukujju ate nga ye yasooka okufuna ebiwandiiko ebiryogerako ate Omuyindi bweyakomawo naye minisita n’amuwa ebbaluwa emukkiriza okweddiza ettaka lye, bano baleppuka okutuusa Kiwanuka bweyawangula Omuyindi mu kkooti ensukkulumu.

Ono olw’okubeera nti ye yali awabula banka ku bantu abalina okuwolebwanga ssente, yatunulanga mu kusaba kw’abagala okukola buzinensi ezifuna enyo wabula nga baleseewo emiwaatwa mu kutegeka emiwandiiko byabwe nga banka eraba bw’ebawa ssente zaayo zigenda kufiirayo n’ezibamma, olwo Kiwanuka yakozesa ng’amagezi ge nga looya omugezi okuziba emiwaatwa egyo n’asaba ssente ne bazimuwa n’atandika bizinensi era waliwo omusajja eyamwesibako nti yakozesa ofiisi ye okubba pulaani ye ey’okukola kampuni ekola ebitabo eya Oscar Industries.

Mu myaka 1990 nga gitandika, Kiwanuka yafuna ekyekango abatemu bwe baazingiriza mukuluwe eyali omugagga enyo ng’amusingira wala e Lugogo mu Kampala ne bamukuba amasasi agaamuttirawo. Okutya kuno kwamuleetera okusuulawo omulimu gwa banka n’atandika okuddukanya bizinensi ze.

PULAANI BAMAFIYA GYEBALUSE OKUTWALA OBUGAGGA BWE NGA BWE BAKOLA ABAGAGGA ABALALA

Abamu ku bafamire ya Kiwanuka balina okutya nti okulwanagana okugenda mu maaso wakati w’abaana ba mukyala mukulu Beatrice Kiwanuka ne mukyala muto era eyaliko minisita w’ebyensimbi Maria Naabasirye Kiwanuka, kuyinza okuyamba bamafiya okutwala obugagga bwabwe naddala mu kiseera kino nga famire ettunka n’ebbanja lya banka.

Ensonda mu famire zitubuulidde nti basuubira nti enkyukakyuka mu bulamu bw’omuntu waabwe nga yenna kati alinga ‘eyavaako’, kwava ku ddiiru y’obuwumbi bwa ssente abanene mu gavumenti gye baamuleetera nti egenda kwongera okumukolera ssente, okuva bweyayiika obulamu bwe tebwaddamu kutereera.

Batutegeezezza nti Kiwanuka okubeera omugagga mu Kampala kyamuyamba okukwatagana n’abanene bangi mu gavumenti nga mwemuli ne pulezidenti Museveni ng’eno y’ensonga lwaki Museveni yalonda mukyalawe Maria ku bwaminisita ng’alowooza nti ayinza okukozesa ofiisi eyo okusitula buzinensi zaabwe engeri gyebali abawagizi be ne NRM era nga bawaayo ekiwera mu kiseera ky’akalulu.

DDIIRU EYAVAAKO OMUGAGGA OKUTABUKA OBWONGO

Ddiiru gye baaguza Kiwanuka yali yakuzimba kkolero erirongoosa n’okusima amayinja ag’ebbeeyi agasangibwa mu bitundu by’e Karamoja omuli n’ebirungo bingi ebyetaagibwa ennyo ku katale k’ensi yonna.

Diiru yagigula wabula ng’ekizibu kyeyalina nga talinaawo ssente bulungi. Kyeyakola kwali kugenda mu banka kwewola wabula bwatuuka wakati mu kuzimba ekkolero ne wabaawo omunene eyeegomba ddiiru eno n’amulwanyisa nga gye byaggwera nga bagiyiye, okuva olwo akyalwana okusasula ebbanja eryo eriri mu buwumbi.

Ensonda zitegeezezza nti Kiwanuka n’okutuusa kati yejjusa olw’okukolagana n’abanene abo abaamutomeza ku ddiiru y’e Karamoja ate nga mu kusooka yagaana okukolagana nabo wadde nga baamuleeteranga ziddiiru omwali n’ezokusinga ettaka e Kololo ne mu bifo ebirala nti alye looni abikulaakulanye ng’eno y’ensonga lwaki ebisinga okuli n’ebisangibwa ku Kampala Road nga kweyateeka Radio One n’Akaboozi ku bbiri FM bikyali mu nzimba y’edda ey’Abayindi.

Ono yali akyalwana okusasula ebbanja lya banka ate ekitongole ekisolooza ky’omusolo ekya URA nakyo nekitandika olutalo ku makampuni ge nti tegasasula musolo era gye byaggwera ng’ezimu okuli ne Oscar ekola ebitabo ng’eggaddwa.

Kiwanuka yali akoze kampuni ng’agikwasizza mutabaniwe Jordon Ssebuliba Kiwanuka okugiddukanya ng’omulimu gwayo omukulu kukola ku nsonga z’abakozi n’okusasula omusolo gwa amakampuni gaabwe gonna wabula ensonda mu famire zirumiriza nti omwana omulimu yali agukoze bulungi naye abafere mu URA ne bakolagana n’abalabe baabwe ne beekwasa nti tebasasula musolo.

EBIRAGIRO BYA KKOOTI KU MMAALI Y’OMUGAGGA

Abalamuzi ba kkooti ejulirwamu nga bakulemberwamu Omulamuzi Cheborion Barishaki baalagira omutabani Ssebuliba okukubiriza olukiiko lwa famire balonde omuntu agenda okuddukanya obugagga bwa kitaabwe oluvanyuma lw’okukakasa nti omugagga omutwe tegukyategeera bulungi takyalina busobozi buddukanya bugagga bwe.

Abalamuzi baalagira mukyala muto Maria abadde n’obuyinza obuddukanya emmaali y’omugagga n’abaana be okuwaayo byonna ebikwata ku mmaali gye babadde baddukanya nga byonna balina okubitwala mu kkooti obutasukka nnaku 30 kino bwebatakikola yo kkooti yakulonda omuntu gwebalowooza nti yaalina obusobozi okutaasa obugagga bw’omusajja akoze enyo okukulaakulanya Uganda.

ENGERI ABAGAGGA GYEBAPANGA OKWAVUWAZA ABAGAGGA ABALALA

Omugagga Sir Gordon Wavamunno Kasibante kati ebiseera bye ebisinga abimalira Nakwero mu disitulikiti y’e Wakiso gyeyateeka ffaamu gaggadde nga takyabeera mu maka ge ag’ebbeeyi e Munyonyo mu Kampala.

Ono ebiseera bye ebisinga abimala mu kuwummula, okuzannya n’abazzukulu wamu n’okutunuulira ebisolo n’ebinyonyi nga kino abafamire bakikola okumwerabiza okulowooza enyo kubanga abasawo be e Bulaaya baamulabula ku ky’okulowooza enyo nti kiyinza okumutta amangu.

WAVAMUNNO MUNYIIVU

Omugagga alina ennaku olw’engeri bamafiya gye baatwalamu obugagga bwe nga pulezidenti Museveni bweyali yaakawamba obuyinza yalagira emotoka z’amagye zonna bazikanikirenga mu ggalagi y’omugagga Wavamunno wabula oluvanyuma ddiiru yagimuggyako Museveni n’alagira nti buli mujaasi akanikire emmotoka ye gy’ayagala nga wano omugagga Ddoddo eyamenya ekkanisa y’omu Ndeeba Dodoviko abasinga gwe bayita ‘Dodo’ mweyatandikira obugagga ng’emmotoka z’amagye ezisinga bazikanikira mu ggalagi ye.

Ddiiru eyasinga okwabya Mzee Wavamunno okusinziira ku nsonda ezeesigika ye y’okuleeta mu Uganda benzi ez’amaanyi ezaalina okutambuza abagenyi ku mikolo gy’amawanga agaaliko amatwale ga Bugereza egya ‘CHOGM’ nga ne mukwano gw’omugagga omugenzi Kwini wa Bugereza Elizabeth ye yalina okumufunira emmotoka mwatambulira.

Museveni olwakakasa Mzee Wavamunno nga bwamuwadde ddiiru n’agenda mu banka naalya looni wabula ng’amaze okusasula buli kimu, ku ssaawa esembayo pulofesa Gilbert Bukenya eyali akulira akakiiko akaali kateekateeka emikolo mu 2007 ng’akyali omukyuka wa pulezidenti yasazaamu ddiiru ya Wavamunno n’ategeeza nti Museveni alagidde gavumenti nti emotoka bazipangise ku kampuni emu ey’Abazungu e Bulaaya.

Mzee Wavamunno yalwana okutaasa ddiiru eno n’atuuka n’okutwala gavumenti mu kkooti wabula byonna ne bigaana.

TV YA WBS BAGIGGYAKO

Yali akyali awo ate URA n’esalako TV ye eya WBS TV nti tesasula musolo nebagikwasa omukugu n’anoonya ssente n’asasula omusolo gwa gavumenti olwamala n’eggalwawo.

Ettaka n’ebizimbe Wavamunno kweyali atadde WBS ku kasozi e Naguru byatwalibwa omugagga Dr Kin Kariisa nanyini NBS TV nga kati mweyateeka TV ye, baasooka nakulumiriza nti ettaka eryo lyali lya TV ya UBC ng’ekyali UTV nga n’omugagga Kiwanuka alinako poloti ku mulirwano awo.

Bizinensi y’okuleeta emotoka za benzi mu Uganda tekyakolera Mzee Wavamunno kubanga gavumenti ye yali esinga okumugulako emotoka ezo naye kati egula Toyota n’ebika ebirala ate n’abanene abazaagala basobola okuzeenonera e German gye baali bamuwadde olukusa nga yaalina okuzituusa mu Uganda yekka.

DDIIRU YA ‘NUMBER PLATE’ BAGIGGYA KU WAVAMUNNO

Minisita w’ensonga z’omunda Gen Kahinda Otafire abadde agezaako okutaasa Wavamunno asigaze ddiiru y’okukola nnamba puleeti z’emotoka nga yawandiikira Museveni ataase Munnayuganda waakiri ddiiru bagigabane n’Omurassia gwebagiwadde naye Otafire alumiriza nti ebbaluwa ye Museveni teyagiddamu nga tamanyi nakumanya oba yamutuukako olwengeri bamafiya gye baali balwana okutwala ddiiru eyo. Ate nga mukusooka Wavamunno kampuni ye eya GM Tampeco ye yakolanga Number Plate z’emmotoka nga bamafia tebannamuyingirira.

EBY’OMUGAGGA BMK

Okutya okuli mu famire ya Kiwanuka, nti bamafiya bwe baali baagala okutwala obugagga bw’omugenzi Ibrahim Buwanga Kibirige (BMK), baasooka kukutulamu famile ye ne bafuna mutabaniwe Haruna Muwanga n’akola obufere ku byapa bya kitaawe okuli n’enyumba ye e Naguru n’abisinga mu banka nga kati batandise okubitundu ku nyondo olwa famire okulemererwa okusasula ebbanja nga n’omulenzi eyeewola yaddukira mu mawanga g’Abazungu.

Muwanga nti okusinga obugagga bwa kitaawe kati omusika Muwanga Kalulu bwalwana okutaasa, abanene mu gavumenti baali bamuwadde ddiiru y’okuzimbira gavumenti amalwaliro nga ya buwumbi olwalya looni ate gavumenti n’egaana okumuwa ssente nga banka erina kutwala misingo gyeyagisingira.

Omu ku bafamire ya BMK atubuulidde nti omugagga yali tayagala kutandika Hotel African e Karamoja, wabula abanene mu gavumenti nebamuperereza nga bamukakasizza nti Karamoja kati yeeri ddiiru n’alya looni wabula ddiiru ze bamusuubiza okuwa hotel ye nezibula nga yamutuulamu nyo n’okukendeeza ku ssente ze.

Ensonda zitubuulidde nti bamafiya Hotel ya African mu Kampala bakyagibala engeri gyebagitwalamu nga bayita mu kugigula ku bagenda okugiwamba okwesasula olw’amabanja amangi famire geetubiddemu.

MTK BAAMUZZA KU ZEERO

Omugenzi Francis Kitaka yafa alina ennaku ku mutima olwengeri bamafiya gye baakubamu kampuni ye eya MTK gyeyali akuumidde emyaka egisoba mu 60 nga batunda ddagala lya bisolo n’ebirime mu Uganda yonna nga ne pulezidenti Museveni amwesiga nyo nga gwagulako eddagala erikola ku ffaamu ye.

Bamafiya baagezaako okumatiza Mzee Kitaka okukola naye mu kampuni ye nti bamuwe ddiiru za gavumenti n’agaana olwo nebayita mu baana be abaali basomye n’abaana baabwe nga kino kyabanguyira kubanga Mzee yali akaddiye nga kampuni agikwasizza baana.

Abaana nga babawa ddiiru z’okulya looni mu banka, okukola emikago n’amakampuni ag’amaanyi mu nsi yonna agatunda eddagala ly’ebisolo n’ebirime naye baabatwala mu bafere bannaabwe ne babaguza eddagala effu, Museveni lyeyagula n’alikozesa ku ffaamu ze e Kisozi, Rwakitura, Ntungamo ente nezifa n’ajjula obusungu era kaabula kata asibe Mzee Kitaka naye yamusonyiwa kubanga yali amumanyidde ebbanga ddene ng’omusajja omwesimbu mu by’akola.

Abaana bo tebaasimattuka yabasiba mu kkomera oluvanyuma lwa bambega abakulemberwamu Col Edith Nakalema okukakasa nti baaleeta mu bufere eddagala effu eryatta ente za pulezidenti wadde emisango oluvanyuma baagibaggyako.

Kampuni ya kitaabwe eyalina amatabi okwetoloola eggwanga lyonna yaggalwa n’ekitebbe kyabwe ku Nasser Road nekitundwa banka ng’omugagga Moses Kalungi (Bill Gates) ye yakigula nga kyasooka kubeera ng’ekifulukwa ky’emmese ng’omugagga Kitaka yaakafa.
Abaana kati bakola bupakasi ku buko mu kampuni ya mukoddomi waabwe omugagga Emmanuel Katongole eya Quality Chemicals gavumenti mwerina emigabo.

MULWANA YALWANA NABO PPAKA KUFA

Bamafiya beewuuba ku mugenzi James Mulwana nga baagala bagatte ssente mu kampuni ze naddala ezikola amata n’ebirala n’agaana okutuusa bweyafa mu ngeri eyeewunyisa.
Ono okugenda mu ddwaliro e Nakasero gyeyafiira yagenda yeevuga mu motoka ye nga tali bubi wabula ebyaddirira nga bamubika nti afudde.

Share This Article