OWEEKITIIBWA Israeli Kazibwe Kitooke nga ye mwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda, akakasizza ONO BWINO nga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi n’Obwakabaka bwebuli obwetegefu enyo okwang’anga abamu ku Balangira n’Abambejja abaabalangiriddeko olutalo nga bakozesa kkooti z’amateeka enzungu.
Minisita Kitooke okwogera bino, yabadde ayanukula ONO BWINO ku lukwe abamu ku Balangira n’Abambejja abava mu nyumba ya Ssekabaka Sir Edward Walugembe Mutesa II lwe baatandise nga baagala okutwala Kabaka Mutebi mu kkooti enkulu ekola ku nsonga z’amaka [Family Division] okusobola okumufunako ekiragiro egimuggyako ekifundikwa kya kitaabwe.
Omu ku balangira bano atukakasizza nga bwe baasisikanye balooya okuva mu emu ku kampuni za bannamateeka ey’amaanyi mu Kampala okubawabula ku ngeri gyebasobola okuggula ku Kabaka omusango nga bakkanyizza nti kye baagala okukola mu mateeka kikkirizibwa nga kati bakung’aanya bujulizi obunaawagira omusango gwabwe nga battunka ne Kabaka mu kkooti.
ENSONGA LWAKI ABALANGIRA BATWALA KABAKA MU KKOOTI
Bano balumiriza nti Kabaka alekeredde obuvunanyizibwa obwamukwasibwa ng’omusika wa kitaabwe Mutesa nga tebasobola kumusisinkana ng’omusika wa kitaabwe okubaako ensonga enkulu ezibaluma zebamubulira n’okubawabula ku ngeri gyebasobola okuzivvuunukamu, nti buli bwe bagezaako okusaba okumusisinkana babategeeza nga bwatalina budde bwabwe.
Bano bategeezezza nti Kabaka alemereddwa okwawula obuvunanyizibwa bwe nga Kabaka wa Buganda n’okubeera omusika w’ennyumba ya Ssekabaka Mutesa nga kati baagala kkooti erangirire nti Kabaka asigaze Obwakabaka bwe, olwo nabo bafune omusika omulala gwebawa ekifundikwa kya Mutesa. Bano bagamba nti ekikolwa kino ssi be bagenda okusooka okukikola kubanga jjajjaabwe Ssekabaka Daudi Chwa bweyakisa omukono [okufa], ekifundikwa kye yakikwasa mutabani we Omulangira Mawanda ate obusika bw’Obwakabaka n’abukwasa Ssekabaka Mutesa II.
Bano banyonyodde nti eno y’ensonga lwaki obugagga bwa Ssekabaka Chwa bwasobola okukuumibwa Omulangira Mawanda obulungi nga ne Mutesa eyalya Obwakabaka omugabo gwe ng’omwana wa Chwa yagufuna nga enjawulo y’amaanyi yo eyawula obugagga bwa Chwa ku bugagga bw’Obwakabaka.
Abalangira batubuulidde nti kino Kabaka Mutebi kyalemeddwa okwawula, balumiriza nti Mutebi olwalya Obwakabaka, obugagga bwa Jjajjaawe Chwa bwonna yabuteeka mu bugagga bw’Obwakabaka nga kati abazzukulu ba Chwa babonaabona nga kumpi batuuse n’okulya ku kasasiro ekintu kyebatagenda kukkiriza nga beetegefu okwegatta ku baana ba Muteesa.
MBU KABAKA NE BAGANDA BE BEEFUNZIZZA EBY’OBUGAGGA B YA MUTESA EBITOOTOOGANA NG’OBUKOLWA
Abalangira bongeddeko nti eby’obugagga byonna Mutesa byeyaleka Kabaka Mutebi, Omulangira David Kintu Wasajja, Lubuga Agness Nnaabaloga, Omumbejja Sarah Kagere be bokka ababiganyulwamu ate nga kitaabwe yaleka abaana abasoba mu 20.
Bano balumiriza nti eby’obugagga Mutesa byeyaleeka kuliko mailo z’ettaka e Gomba, e Ddegeya mu Bulemeezi, ettaka mu bitundu bya Kampala nga kuno kwekuli n’ettaka eritudde ku kasozi k’abagagga e Mutungo lye bakaayanira ne famire y’omugenzi Muhammad Kasasa Buwule eyaakafa jjo jjuuzi eribalirirwamu obuwumbi ssente.
Ku ntandikwa y’omwezi guno, abalamuzi ba kkooti ensukkulumu baalagira aba famire ya Kasasa okuyingira enteeseganya n’aba famire ya Ssekabaka Mutesa okulaba engeri gyebasobola okumalawo obutakkaanya bwabwe wabweru w’amateeka nga Abalangira balumiriza nti bo mu nteeseganya zino ng’abaana ba Mutesa tebategeezeddwa nga tebagenda kuganyulwa na binazivaamu mwe bayinza n’okugabanira omusimbi ogutagaanika.
KABAKA ALINAMU EBYANA N’ABAANA?
Abalangira bano balumiriza Kabaka okwawulayawulamu abaana ba Mutesa ng’abamu baakakasa nti kitaabwe y’abazaala baziikibwa mu masiro e Kasubi ewaziikibwa bajjajjabwe, ate abo baateekakasa alagira ne baziikibwa mu masiro g’e Bugembegembe mu disitulikiti y’e Wakiso.
Abamu ku baaziikibwa e Bugembegembe kuliko Omulangira Fredrick Mawanda Mutebi ng’ono wadde obujulizi bwaliwo nti kitaabwe yamuzaala mu Specioza Namagembe naye tebaabawuliriza.
Abalala kuliko Omulangira David Ssuuna Kayima ng’ono yafiira mu Denmark era omulambo olwagukomyawo e Uganda, Kabaka yagaana okumuziika e Kasubi ne bamutwala ku bukojja bwe e Masaka ne bamuziika eyo.
Nga wayise ennaku Omumbejja Daina Tebeggala omu ku baana abato Ssekabaka Mutesa beyasembayo okuzaala yateekawo embeera ng’alumiriza nti takyebaka kiro nga buli lwateeka omutwe wansi nga kitaabwe amujjira mu birooto ng’amulagira okulagira Mutebi okuziikula omwanawe ku bukojja gye baamuziika bamuziike mu masiro e Kasubi naye waalagamidde.
Omumbejja Kagere mbu yateekawo embeera, wadde omulambo baaguziikulayo naye gwamala ekiseera mu ggwanika ly’eddwaliro e Mengo nga balinze endangabutonde (DNA), kyokka ekyewunyisa era DNA bweyakakasa nti Ssuuna mwana wa Mutesa era Kabaka yalagira n’atwalibwa Bugembegembe eyo gye baamuziika.
BAABANO ABAANA BA MUTESA BEYAZAALA MU NTUMBWE ZE
Okusinziira ku katabo akaawandiikibwa nekasomebwa mu Lutikko e Namirembe mukusaba k’okujjukira emyaka 100 bukya Ssekabaka Mutesa azaalibwa, kalaga abaana be nga kuliko; Omulangira Kiweewa Luswata, Omulangira Robert Masamba Kimera, Omulangira David Ssuuna Ssezibwa, KABAKA MUTEBI, Omulangira Fredrick Walugembe Ssuuna, Omulangira Henry Kalemera, Omulangira George Micheal Ndawula, Omulangira Joseph Ndawula, Omulangira Walugembe Bamweyana, Omulangira Katabaazi, Omulangira Patrick Nakibinge, Omulangira Daudi Ggolooba, Omulangira Herbert Kateregga, Omulangira Fredrick Mawanda Mutebi, Omulangira David Kintu Wasajja.
Abambejja kuliko; Omumbejja Dorothy Nassolo, Omumbejja Dinah Mugga, Omumbejja Sarah Kagere Nandawula, Omumbejja Agness Nnaabaloga, Omumbejja Alice Mpologoma Zaalwango, Omumbejja Stellah Ndagire, Omumbejja Jane Mpologoma, Omumbejja Catherine Nakwabwe, Omumbejja Diana Temuggale.
Wabula ng’abaagala okuloopa Kabaka balumiriza nti omuwendo gwabwe gusingako kw’ogwo nti kitaabwe yali musajja mutabaazi nnyo nga waliwo abaana abalala be bataateeka ku lukalala olwo.
Abalangira bategeezezza nti bagezezzaako okuddukira mu bakulu mu Kkanisa e Namirembe ne mu Ekereziya e Lubaga okuyambibwa okubatuuza ne Kabaka nebalemererwa nga buli omu abategeeza nga bwe batasobola kuyingira mu nsonga ezo bazeemalire nga kati kyebasigazza kugenda mu kkooti nti batya okuziyingizaamu pulezidenti Museveni nga batya nti Abaganda bajja kulowooza nti y’abatuma okulwanyisa Kabaka waabwe olwo batondewo obunkenke bwebatandiyagadde bubeere mu Buganda.
ABO BWAVU BWE BUBATAWAANYA; MENGO EWABUDDE
Minisita Kitooke atubuulidde nti ekizibu kyebafunye ng’abakulembeze Kabaka beyasiima bamulamulireko Obuganda, be balangira n’abambejja abatunda omugabo gwabwe gwebabalekera ssente nebazikozesa bubi nga kati zaabaggwako ate nga n’obugagga bwe batunda okufuna ssente tebakyabulina ekibaleetera okutandika okwesigama ku bugagga bw’Obwakabaka.
Ono anyonyodde nti obugagga bwe balumiriza Kabaka Mutebi okubatwalako tebubeerangako bubwe ng’omuntu n’ategeeza nti bwa ofiisi y’Obwakabaka nga yabusangawo era bwalikisa omukono Kabaka aliddako y’agenda okubuddukanya ku lw’Obwakabaka bwa Buganda n’Abaganda bonna okutwaliza awamu.
Oweekitiibwa Kitooke yeewunyizza nyo Abalangira okugamba nti ensonga zaabwe tezikolwako ate ng’enfunda nyingi Omulangira Wasajja abasisinkana nga Kabaka tasobola kuyamba bantu baatalinaako luganda ate ne yeerabira ab’oluganda lwe n’abasaba okukkakkana ensonga zaabwe bazituulemu bo nga abaana ba Ssekabaka Mutesa nti eby’okutwala Kabaka mu kkooti tebigenda kubayamba kubanga Kabaka agenda kubawangulirayo baswale.
Kitooke ategeezezza nti abalangira abawera okuwawaabira Kabaka si be bagenda okusooka okumutwala mu kkooti, bazzukulu ba Ssekabaka Chwa baamutwalayo n’abawangulirayo olw’obujulizi obungi ate nga buzito bweyalaga omulamuzi nga buli kintu kyakola agoberera mateeka ng’awabulwa bannamateeka abakugu.


