Giwunye! Bwino ku b’Ofiisa M7 Baaleese Okubega Buli Munnayuganda: Engeri Gye Baamutaasa Nga Kayihura, Bobi Baagala Okuyiwa Ekintu Mu 2017 ne 2021

PULEZIDENTI Yoweri Museveni yakakasizza Maj Arthur Mugyenyi ku buduumizi bw’ekitongole kya Internal Security Organisation (ISO) nga kino ky’ekikettera munda mu ggwanga nga waakumyukibwa Tonny Kinyera Apecu.

Hadijja Namagembe
10 Min Read
Maj Arthur Mugyenyi Omuduumizi bw’ekitongole kya Internal Security Organisation (ISO). Mu katono ye Kayihura ne Bobi Wine

PULEZIDENTI Yoweri Museveni yakakasizza Maj Arthur Mugyenyi ku buduumizi bw’ekitongole kya Internal Security Organisation (ISO) nga kino ky’ekikettera munda mu ggwanga nga waakumyukibwa Tonny Kinyera Apecu.

Maj.Mugyenyi enzaalwa y’e Ntungamo mu Ankole, yazze mu kifo ekyalimu omugenzi Col. Charles Oluka eyafa ku ntandikwa y’omwaka guno ate Apecu yatutte ofiisi eyabaddemu Col. Emma Katabazi pulezidenti gweyasindise mu minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga nga bw’alindirira okuweebwa ebaluwa ezimusindika mu ggwanga gyagenda okukola obwambasada oba obumyuka.

Col Katabazi si y’asoose okugobwa ku bukulu mu ISO n’asindikibwa ku bwambasadda, Museveni yagoba Brig Gen Ronnie Balya n’amulonda ku bwambasada bwa Uganda e South Sudan omulimu gwakoze obulungi wadde nga waaliwo olutalo nga tayagala kuva mu ofiisi.

EBYAMA KU BOOFIISA ABAPYA

Ensonda mu securite zitubuulidde nti okuva pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bweyalagira abakulu bonna mu kibiina kye okutandika okuzimba EGGAALI nga bano bagenda kubeera bavubuka be bagenda okutandika okuwandiisa n’okutendeka nti babakozese mu kalulu ka 2026 omuli n’okukakuuma.

Bobi Wine yategeeza nti abavubuka bano baakubayambako okulemesa pulezidenti Museveni ng’akozesa omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama akulira akakiiko k’ebyokulonda okubanyagako obuwanguzi bwabwe mu kalulu ka 2026 keyayogeddeko ng’akagenda okubeera aka ‘protest vote’ (okulondera mu kwekalakaasa) nga omulimu gwabwe omukulu gwakunonyeza bannabyabufuzi abagenda okusimbibwawo ekibiina obuwagizi, okubakuuma mu kiseera ky’okunonya obululu n’okukuuma obululu bwabwe obutabbibwa nga bwe baakoze mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North omuntu waabwe looya atasaaga Eris Nalukoola Luyimbazi n’awangula wadde nga Museveni nti yali ataddewo embeera emulemesa okulangirirwa ku buwanguzi.

Ensonda zitegeezezza nti bannabyabufuzi bangi naddala mu Buganda ne Busoga batandise okuteekesa ekiragiro kya Bobi Wine mu nkola ng’abavubuka bawandiisiddwa. Wabula okusobola okulemesa enteekateeka za Bobi ne banne ku ludda oluvuganya Museveni yaleese Mugyenyi ne Apecu ng’akakasa nti obusobozi obwang’anga Omubanda wa Kabaka ne banne babulina.

MISONI ENZIBU BAMBEGA BA M7 ABAPYA ZE BABADDEKO:

Ensonda zitubuulidde nti bano Museveni abagezesezza ku misoni enzibu enyo ne baziwangula nga n’ebiseera ebimu bamuleetedde lipooti ezitaasizza gavumenti ye obutavuunikibwa abamuvuganya n’abo baakola nabo nga balowooza nti ekintu bayinza okiwambira munda mu gavumenti.

Apecu mwana nzaalwa y’omu West Nile nga kitaawe Alex Apecu y’omu ku mikwano gya Museveni egy’omunda enyo. Obukessi mu ISO yabutandika mu 2003 nga yasooka kubeera omumyuka wa DISO mu disitulikiti ya Oyam.

Olw’omulimu omuyonjo gweyakola okubega bannabyabufuzi abaali bakolagana ne Ssabayekera Joseph Kony, Museveni n’abakulu mu ISO mu 2007 baamuleeta ku kitebe kya ISO e Nakasero mu Kampala okwekennenyanga obutuufu bw’amawulire g’ekikessi agabeera gasindikiddwa nga tegannatwalibwa wa pulezidenti okuwa ekiragiro ekisembayo ku kirina okukolebwa.

Mu kalulu ka 2016, Apecu ye yali akulira akakiiko akagatta ebitongole by’eggwanga byonna ebikessi, omulimu gwe omukulu gwali nga gwakwetegereza n’okusunsula amawulire g’ekikessi agaweerezeddwa okuva mu bitongole byonna ebikessi nga teganatuuka wa pulezidenti era ekifo kino yakibeeramu ne mu kalulu ka 2021.

ABADDE AWA M7 LIPOOTI NGA YAAKAZUUKUKA:

Ensonda zongeddeko nti Museveni yagenze okumulonda okumyuka Mugyenyi nga yaabadde ng’amuwa lipooti za buli kumakya nga Museveni yaakazuukuka n’asooka azisomamu n’olweggulo ng’amunnyonyola eggwanga bweryasuze ne bwerisiibye nga wadde si yaabadde akulira ISO, omukulu abadde amwesigamako nyo naddala ku nsonga z’ebyobufuzi ng’amukubira amasimu g’okumukumu okumuwabula n’okubaako by’amwebuuzaako nga tanaba kusalawo ku nsonga ez’enjawulo.

Apecu y’omu ku bambega abasinga obukugu mu nsi yonna ng’obukessi yabusomera mu mawanga agasinga okubatendeka okuli America, Yisirayiri, Russia kyokka mu kiseera kino asoma diguli yakusaatu e Makerere.

MUGYENYI NAYE MUKESSI ATASANGIKASANGIKA

Arthur Mugyenyi azaalibwa e Ntungamo, obukessi yabutandikira mu kitongole ky’amagye ekikessi ki Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) oluvanyuma ekyafuulibwa Défense Intelligence and Security (DIS), emirimu yasooka kugikolera mu disitulikiti okuli Kabale, Kibaale, Kisolo era olw’omulimu omuyonjo gweyakola Museveni yalagira ne bamuleeta ku kitebe kya CMI e Mbuya mu Kampala.
Ono oluvannyuma baamutwala mu ISO ng’obuvunanyizibwa obwasooka, kumukwasa kuduumira bukessi ku palamenti ng’ofiisi eno yayamba nyo pulezidenti okutegeera obulippo ababaka be mu NRM bwe baali bapanga nga n’aboluda oluvuganya okumulemesa, obufere n’obuli bwenguzi obwali bukolebwa mu palamenti.

YAYIIRAWO MUZEEYI OMUBIRI MU TOKIGWATAKO

Mu kiseera ky’okukwata ku ssemateeka okuggyamu akawaayiro 102(b) mu 2017 akaali kalemesa pulezidenti okuddamu okwesimbawo ku bwapulezidenti ng’awezezza emyaka 75, Mugyenyi yamuyamba nyo okutegeera pulaani z’aboludda oluvuganya n’eyali sipiika Rebecca Alitwala Kadaga ze baali baluse okumulemesa okuyisaawo ekiteeso kino bamale bakubeekube ba MP emiggo bangi omuli ne Betty Nambooze ne Francis Zaake ne bagendera ku bisago eby’amaanyi.

Ensonda zitubuulidde nti Kadaga kati omumyuka wa ssaabaminisita asooka era minisita w’ensonga za East Africa yatuuyanira mu maaso ga Museveni mu State House Entebbe ng’amusomera lipooti emulumiriza okugezaako okulemesa okukwata ku ssemateeka nga eno lipooti yawagirwa nyo Ruth Nankabirwa Ssentamu mu kiseera ekyo eyali Nnampala wa NRM mu palamenti nga mu kiseera kino ye minisita w’ebyamasanyalaze n’obugagga bw’omutaka nga Museveni yalagira Kadaga mu bwangu okuyisa etteeka eryo.

Kyokka okuyisa etteeka eryo eryamanyibwa ennyo nga ‘Togikwatako’, nga bakomando b’egye lya Special Forces Command (SFC) nga basazeeko palamenti nga n’ababaka abali bagezaako okuteekawo embeera nga Bobi Wine eyali omubaka wa Kyadondo East, Muhammad Nsereko, Francis Butebi Zaake, Winnie Kizza, Odongo Otto, Ibrahim Ssemujju Nganda, Betty Nambooze nga baakubibwa bubi nyo n’okubasibira mu makomera ag’enjawulo.

BAMUTAASA KU KAYIHURA NG’ANYENYA EKINTU:

Ensonda zitubuulidde nti boofiisa bano baataasa nyo Museveni mu kiseera Gen Edward Kale Kayihura bweyabeerera ku buduumizi bwa poliisi nga be bamubuulira nga bwewaliwo olukwe lw’okumweyambisa okusuula gavumenti ye nga ekkobaane lyalimu n’eggwanga ly’omulirwano.

Gen Kayihura yalina akabinja k’abavubuka keyali atuumye aka ba Crime Preventors nga bano baali basukka mu 10,000 ng’abawandiise okwetoloola ebitundu by’eggwanga eby’egyawulo ng’omulimu gwabwe omukulu gwali gwakumulwanirira n’okumutaasa mu mbeera embi ebeera emutuuseeko, kyokka bwe baagoba Kaihura, abavubuka bano baatwalibwa mu ggye ly’eggwanga ezzibizi.

Muhammad Muwanga Kivumbi omubaka wa Butambala yategeezezza nti bano buli mwezi okusinziira ku biwandiiko bya gavumenti baasasulwanga emitwalo kkumi nga ensonda zikakasa nti Gen Kayihura yali ayagala kubakozesa kuyiwa kintu kya Museveni wadde ng’oluvanyuma yetonda nebamusonyiwa n’emisango egyali gimugguddwako mu kkooti y’amagye negimuggyibwako.

BODA BODA 2010: Kayihura yalina akabinja ka Boda Boda 2010 nga kaduumirwa musajjawe Abdallah Kitatta ng’omulimu omukulu gwali gwakumutuusa mu Entebbe mu ntebe nga bano baali batandise n’okukubisa ebipande nga balaga ng’omuntu waabwe bwagenda okuvuganya ku bwapulezidenti mu 2021. Oluvannyuma baagoba Kale ku buduumizi bwa poliisi abakulu mu boda boda 2010 ne bakwatibwa ne baggulwako emisango mu kkooti y’amagye n’abalala ne badduka okuliira ku nsiko wadde nga kati gyabaggyibwako.

EKINTU KYA BOBI WINE BAKIYIWA

Ensonda zitubuulidde nti mu kalulu ka 2021, boofiisa bano kati abakulira ISO, be baabuulira Museveni nga Bobi Wine bwayingizzaawo obuwumbi n’obuwumbi bwa ssente okuva wabweru w’eggwanga okumuyambako mu kampeyinni za 2021 nga ssente zino ziyitira mu emu ku kampuni z’amasimu ey’amaanyi ennyo mu ggwanga.

Ssente zino olwatuukanga mu kampuni eno, nga ziweerezebwa ku masimu g’abasajja ba Bobi Wine abaazitambuza nga okumutuukako mu mpeke ng’enkola eno gye baali bagenda okukozesa okuzitambuza okutuuka ku bantu be beyali atadde ku buli kyalo naddala mu Buganda ne Busoga ng’omulimu omukulu gwakukunga bantu beeyiwe ku nguudo bawakanye ebyali bigenda okulangirirwa akakiiko k’ebyokulonda.

Museveni yategeeza nti eggwanga ly’omulirwano lyali liweerezza bakomando n’abakessi baabwe okukola kyonna ekisoboka okulaba nga batondawo akavuyo okulwanagana kubalukewo wakati w’abasirikale n’abantu ba bulijjo olwo okufa kubalukewo balemese akakiiko k’ebyokulonda okulangirira Museveni ku buwanguzi.

Museveni okufuna ku butuuliro, ng’amaze kulayira wabula kino okutuukirira yalina okukwata n’okusiba abavubuka abakambwe be baamugamba nti be baali bagenda okuduumira ebikwekweto by’okumulemesa okulangirirwa n’okulayizibwa ku bwapulezidenti kye baatuuma ‘Tajja Kulayira’ ng’abamu ku bo n’okutuusa kati bakyali mu makomera.

Lipooti za boofiisa bano ze zaabuusa Museveni nti akawunti z’ebitongole by’obwannakyewa mu ggwanga nazo zaali zikozesebwa okutambuza ssente za kampeyini za Bobi Wine ng’eno y’ensonga lwaki ebisinga byaggalwawo nga n’abaali babikulira nga Nicholas Opio eyali akulira Chapter Four yakwatibwa n’aggulwako emisango mu kkooti era okumusonyiwa mukuluwe kati minisita w’ensonga z’ekitongole ekiramuzi ne ssemateeka Norbert Mao yasooka kwegayirira ewa Museveni.

Ensonda zitubuulidde nti embeera eyo Museveni atya nti eyinza okuddamu naddala mu kiseera kino nga obutabanguko bungi mu mawanga ageetolodde Uganda okuli South Sudan, Congo, ate nga n’akalulu ka 2026 kakubye kkoodi ng’alina okubeera n’abakeesi abakugu abasobola okumubuusa mu buli mbeera.

TAGGED:
Share This Article