MSGR. Expedito Magembe owa Mt. Sion Prayer Centre e Bukalango yafiiridde mu ddwaliro e Nsambya gy’amaze ebbanga ng’ali mu mbeera mbi nnyo, oluvannyuma lw’ebbanga ng’atawanyizibwa ebirwadde ebikambwe ebitanategeerekeka, ebirudde nga bimubala embiriizi. Magembe, yaziikiddwa ku Mmande ku Seminaaliyo e Kisubi.
Magembe yasooka kuddusibwa mu ddwaliro lya Aga Khan e Nairobi ku nkomerero y’omwaka oguwedde ng’ali mu mbeera mbi, oluvannyuma lw’ebigambibwa nti yali aliisiddwa ebintu ebitali birungi, era ku ntandikwa y’omwaka guno, waliwo amawulire agaasaasaanira emitimbagano nga gategeeza nga Msgr. Magembe bwe yali afudde, ekintu faaza Joseph Mukiibi omwogezi w’eklezia kye yawakanya, wabula n’asaba abakristu okumusabira asobole okutereera.
Embeera yayongera okutabuka Msgr. Magembe bwe yava mu ddwaliro e Nairobi era, eklezia n’emutwala mu ddwaliro e Nsambya gy’amaze ebbanga nga yeekebejjebwa.
Ku lunaku lw’aba faaza olukuzibwa buli Lwakuna olutukuvu e Lubaga, Ssaabasumba Ssemwogerere yasaba baffaaza n’abakristu okusabira ennyo faaza Magembe, eyali mu mbeera embi.
MAGEMBE YAGWA EKIGWO
Ensonda okuva e Bukalango zaategeezezza ONO BWINO nti, obulwadde obwaviiriddeko faaza Magembe okufa nga bwe bwavudde ku kigwo kye yagwa gye buvuddeko bwe yali ava w’asula ng’agenda okusoma mmisa, n’akosebwa nnyo era wano obulwadde we bwatandikira. Sso ng’ate waliwo n’abayongedde okukakasa nga Jjajja Magembe ng’abamu bwe babadde bamuyita bwayinza okuba ng’aliko ebintu ebikyamu ebiteeberezebwa okubeera obutwa bye yalya, kuba abadde aludde ng’alumizibwa mu lubuto.
Yadde ng’ebyo byonna byogerwa, ffe tulinze kufuna lipoota yabasawo okuva mu dwaliro e Nsambya ekakasa ekirwadde ekituufu ekyamusse.
ENTALO FFAAZA MAGEMBE Z’ALWANYE
Magembe yatandika okusabira abantu abatawanyizibwa sitaani n’ebizibu ebirala ng’ali mu kigo kye Kiziba mu 1993, kyokka mu 1999 n’afuna ekirowoozo ky’okutandikawo ekifo awasabirwa abantu abaliko ebisiraani ne bafuna emikisa ate n’okusumululwa ku njegere za sitaani ekya Mt.Zion Prayer Center e Bukalango.
Ono okuva lwe yatandikawo ekifo, azze afuna okusomooza okwenjawulo omwali n’akutabuka n’eyali Ssabasumba w’essaza lye Kampala omugenzi Cyprian Kizito Lwanga n’abakulu abalala mw’eklezia. Olutalo luno lwasooka kuva ku ssaabasumba Lwanga okwagala okuggala ekibiina ky’abasista ba Maama Urika, Magembe kye yali yatandika mu biseera by’obukulembeze bwa Kalidinali Wamala, ng’ayagala akigatte ku ky’abasisita be Nalukolongo, ekintu Magembe kye yagaana okukola, wabula n’asigala nga mukkakkamu ate ekyayongera okutabula Lwanga.
Lwanga yayongera olutalo mu maaso n’atuuka n’okugaana Magembe obutaddamu kutegeka kusaba kwonna mu akeedi z’e Kampala nga yeekwasa ng’abwayingira mu nnyingiza z’ebigo bye Kampala olw’abakristu okudduka mu masinzizo ne beeyiwa mu kusaba kwa akeedi, sso nga yali ayagala kukendeeza ku nnyingiza ya Magembe. Ono era yayongeza ku nnaku z’okusabira abantu, akeedi za Lwanga n’azeesonyiwa.

Okwongera okulumya n’okunafuya ekifo ky’e Bukalango, Lwanga yawandikira Magembe ebbaluwa ng’ayimiriza John Baptist Kyeyune Mukaajanga eyali omuyambi we mu buli kintu, ng’amuyimiriza obutaddamu kusabira bantu ekintu ekyatabula ennyo Magembe, era ne baggula olutalo ku faaza Jacinto Kibuuka eyali asindikiddwa Ssaabasumba, n’ekigendererwa eky’okumulemesa, ekintu era ekyakolebwa.
Magembe yayongera okutabuka n’abamu ku bafaaza omwali ne faaza Kibuuka, nga bamulumiriza okuganza abamu ku bawala abajjanga okubasabira n’abamu ku basisita, era mu mwaka gwa 2016, kooti ya Buganda Road yayita faaza Magembe okweyanjula n’okuwa obujulizi ku misango egyali givunaanibwa Kibuuka omw’ali ogw’okukaka omuwala Winnie Nantongo eyali agambibwa okubeera nga faaza Kibuuka yamukaka omukwano bwe yali amusiiga omuzigo gw’omukisa mu bisambi.
ABADDE TEYEERABAWO N’ABA KALIZIMAKITI
Magembe era tabadde na mirembe n’abamu ku bafaaza naddala aba kalizimatiki abali mu ssaza ekkulu erye Kampala, ababadde baludde nga beegwanyiza okubeera mu kifo kino olw’omudidi gwa ssente ogukun’ganyizibwayo. Entalo zino zigambibwa okubeera nga ze zaaviirako n’okufa kwa John Baptist Kyeyune Mukaajanga eyaziikibwa e Bukalango ate n’okugobwa kwa faaza Jacito Kibuuka mw’eklezia n’atandikawo ekifo ekkye ekya Mamre International Prayer Center e Namugongo.
ENGERI GY’AZZE ASIMATTUKA OKUFA
Enfunda eziwera waliwo abantu abatategeerekeka abazze beegeza okutta faaza Magemba n’atuuka n’okutambulira mu mmotoka z’abalwadde baabadde asabira ng’atya okukubwa amasassi ate n’abamu okwagala okumuwa obutwa mu by’okulya nga bayita mu bakozi abaali bamufumbira, kyokka Katonda ng’amutaasa, ekintu ekisinze n’okuviirako abantu okulowooza nti akatwa ke kaamusse.
LWE BAAMUTEGA AKATWA!
Ensonda okuva e Bukalango zaategeezezza ONO BWINO nti, lumu waliwo abaateekera faaza akatwa mu kyenyanja, wabula bwe yali agenda okukirya, faaza John Baptist Bashobola okuva e Mbalala n’amukubira essimu ng’amulabula ng’ekyennyanja ekyo bwe kyalimu obutwa obukambwe era obutta amangu, era ekyenyanja bwe bakiwa kkappa, yafiirawo.
Omuwala omufumbi eyakozesebwa okutega obutwa, bwe yategeera nga bamuguddemu ate nga ne ddiiru eyiise, yadduka n’obuziinabwe n’abuleka e Bukalango. Yadde nga kati Magembe afudde, abantu bakyebuuza ani ddala yali ayagala okutta musajja wa Katonda, era ng’amuttira ki?
ABADDE AZUZUMBA N’ABOKUTIKO
Abamu ku bantu ababadde bagoberera ensonga ezenjawulo e Bukalango bategeeza ng’omukulu bw’abadde n’obutakkanya n’abekika ky’obutiko, ababadde bamulumiriza entakera okukozesa olukujukujju n’ababbako ettaka ly’ekika, anti ekitundu ku sinzizzo kyazimbibwa ku ttaka ly’obutaka bwa b’obutiko, era nga waliwo n’abazzukulu abazze baddukira mu kkooti nga baloopa ensonga.
Wadde nga faaza Magembe abadde musajja w’amaanyi mu kusabira abantu ba Katonda, waliwo n’abantu ab’omutima omubi ababaddenga bamutega ebintu by’ekirogo omuli eddagala lye babeera bazingidde mu mbugo, ne balimusuulira mu maaso g’omulyango mw’ayita ng’agenda okusaba, ekintu era ekyaviiriddeko abamu okuwanuuza nti lyandiba eddogo eryamusse.
Kyokka ate ye akulira enzikiriza y’obuwangwa n’ennono Jjumba Lubowa Aligaweesa ategeezezza nti emizimu, emisambwa n’amayembe amakambwe by’abadde agoba mu bantu n’okwokya akakasa nti bye byamutuddemu ne bimutta olw’okubigobaganya.
EBITASOBOLA KWERABIRWA KU MAGEMBE
Faaza Magembe abadde musajja muyimbi era nga muwandiisi wa nnyimba z’eddiini mw’eklezia naddala mu ssaza ekkulu erye Kampala, eziyambye okubudabudda abantu abali mu buzibu, okukungubaga, okwebuulirira, okusanyuka n’okutendereza Katonda. Ezimu ku nnyimba mulimu, Tetulabanga, Nseyeeya, obugole bw’akaliga, Ennimiro, okwagala kukira byonna, Namugereka atuwa ebirungi n’ennyimba endala nnyingi ezisoba mu 700.
OLUTALO MU KUMUZIIKA
Waliwo amawulire agategezezza ng’eklezia bwe yabadde esazewo faaza Magemnbe azikibwe mu limbo y’aba faaza e Kisubi, kyokka abataka n’abagoberezi be ne bakalambira nga bagala aziikibwe e Bukalango nga bwazze abategeeza nti ayagala azikibwe okumpi n’ekifo weyaziika mutabani we Mukajanga.

OLUTALO MU KUZIIKA MAGEMBE
Waabalukawo olutalo w’akati w’abatuuze b’e Bukalango ku luguudo lwe Hoima n’abakulu mw’eklezia nga baagala Faaza Magembe aziikibwe e Bukalango, kyokka eklezia olutalo n’eruwangula era n’aziikibwa e Kisubi ku Mmande.
Bino byaliwo amangu ddala ng’omulambo gwa faaza Magembe gutuusiddwa e Bukalango mu kiro ky’Olwomukaaga, eklezia yafulumizza pulogulamu y’okuziika ng’eraga nga bwe yabadde agenda okuziikibwa e Kisubi mu limbo empya, kati essaza lye Kampala gye liziika bafaaza ababeera bafudde. Bano ababadde batandise okusima entaana mu kifo bulijjo w’abagamba okuziikibwa ne baayimiriziddwa
Abamu ku basista, abatunda eby’okulya n’abatuuze be Bukalango bataddewo embeera y’okwagala okukaayanira omulambo obutatwalibwa kuziikibwa Kisubi nga bagamba nti baagala ekifo kibeera kyabulambuzi ng’ekya Ngobya e Masaka ate abalala nga bagamba nti batuukiriza kiraamo kya Msgr.Jajja nga bwe babadde bamuyita.
Baategeezezza nti Magembe yalaama kuziikibwa kumpi ne we yaziika mutabani we John Baptist Kyeyune Mukaajanga eyafa mu 2016, wabula eklezia n’ebasindikira ekibinja ky’aba faaza ekyabakkakkanyizza nga bayita mu missa ezaabadde zisomebwa. Omwogezi w’esazza ekkulu erye Kampala Faaza Joseph Mukiibi yategeezezza nti, kituufu abantu be Bukalango baabadde baagala nnyo faaza Magembe, naye ng’eklezia era ng’aba faaza, tulina engeri gye tukolamu ensonga zaffe. Essaza ly’akoze limbo e Kisubi, nga Kati buli faaza gyaziikwa, enkola abantu baffe gye babadde bamanyidde ey’okuziika faaza mu kifo w’abadde n’eyimirizibwa.
AFUDDE AKOLIMIRA AB’EKLEZIA
Ekiro mu lumbe, waliwo abaategeezezza nga faaza Magembe bwafudde akukulumira abakulu mw’eklezia obutamuyamba ku TV ye eya Bukalango TV kwe babadde bayita okuyisa ebirango. Ono yeyongera okuyisibwa obubi ne puleesa ne zirinnya bwe yawulira nti yali eggyiddwa ku mpewo olw’okubulwa sente ezisasula abakozi n’okusasula omusolo gwa gavumenti. Ono mukusooka, omugenzi Ssaabasumba Lwanga yamusimbira ekkuuli ng’amugaana okutandika TV, kuba n’eklezia yalina enteekateeka okutandikawo TV ey’awamu kati eyitibwa Uganda Catholic TV, eri e Nsambya.
Sisita abadde ajjanjaba Faaza e Nsambya yategeezezza ONO BWINO nti, mu nnaku za Jjajja ezaasembye, yasabye okwogera ne pulezidenti Museveni ng’ayagala amujjukize atuukirize ebisubizo byazze amusuubiza nga tanafa. Ono era yagambye nti, jjajja bwe yafa, bategeeza pulezidenti n’asindikayo ekitongole ky’amagye ekizimbi okutandika okuzimba ekklezia gye yasuubizza era n’okuzimba ennyumba z’aba sista be, era mu lumbe twabasanze bazimba. Museveni era yasasudde eby’okulya n’ebyokunywa ebyagabuddwa eri abakungubazi, ennaku zonna ze bamaze e Bukalango.
Omulambo gwa faaza Magembe gwasooka tuteekebwa ku eklezia entono abasinga okugenda e Bukalango gye bayita ‘ekisenge ky’awaggulu’ mw’abadde asiiba olumu n’okusula nga yeegayirira, ekisenge kino kibadde kiyingiramu ye ne basisita be bokka, era omulambo gye gwasuzibwayo ku Lwomukaaga, olwo enkeera Sunday ne gutwalibwa mu kisaawe w’abadde asabira abantu. Abantu bagamba mu kisenge kino mulimu amaanyi ag’enjawulo, era omuntu naddala omunene abeerako emizimu emikambwe, amajiini n’ebyokoola, eno gy’atwalibwa, n’atereera.


