WALIWO abakazi mu gavumenti abatendereza Museveni nga pulezidenti asinga okubaagaliza, era nga kumpi bajula kumufukaamirira buli lwe bamulaba.
Museveni, omu ku bakazi be yasooka okuwa ogufo ogusava ye Dr. Specioza Wandera Kazibwe, bweyamufuula omukazi eyasooka okubeera Vice Pulezidenti mu Uganda.
MATEMBE ATABUSE:
Miria Matembe eyaliko minisita w’obuntu bulamu mu gavumenti ya Museveni, ategeezezza nti Museveni gy’akomye okwesiga ennyo abakazi, ate gye bakomye okumuyiwayo. Awadde eky’okulabirako ky’ekisanja kino kubanga yabalonda bangi n’abateeka mu bifo eby’obuvunanyizibwa ng’ekyomumyuka wa pulezidenti, sipiika wa palamenti, ssaAbaminisita, omumyuka wa ssabaminisita wabula obuli bw’enguzi n’obufere bweyongera buli olukya.
Ono Bwino olwaleero akuleetedde abakazi abali ku lusegere lwa pulezidenti Museveni nga wonna we bamwetaagira webamufunira wabula nga kati embeera yakyukamu.
WINNIE BYANYIMA EWA M7 TEYAKONKONANGA:
Ibrahim Ssemujju Nganda omubaka wa Kira Municipality alumiriza nti Byanyima weyabeerera omubaka wa palamenti, banne baali bamutya nyo nga buli bwe waabeerangawo ensonga enkulu eyeetaagisa ekigambo kya pulezidenti ng’akwata bukwasi ssimu n’amukubira ne boogera.
Wabula omugenzi Joseph Tamale Mirundi eyaliko omwogezi wa Museveni nga tanafa yalumiriza nti Byanyima yakolanga bufere ne yeekubira amasimu n’alimbalimba banne nti abadde ayogera ne Museveni olwo ne bamutya.
Maj John Kazoora omu ku balwanyi abaaleeta gavumenti ya Museveni mu buyinza, yawandiika mu kitabo kye ‘Betrayed by my Leader’ nti okusooka okulaba ku Byanyima yamusanga na Museveni nga bali mu kafo akamu nga beetala nga nnamutale omunyageko ente ne yeewunya nyo omukazi okubeera ku lusegere lwa mukama waabwe nga mu kiseera ekyo baali bakyalwana okuleeta gavumenti mu buyinza.
Ekyennaku Byanyima ku nkomerero ya 2024, yategeeza nga bw’anoonya Museveni amwatulire nti omwamiwe Dr Kizza Besigye gwasibye mu kkomera tamulinaako mpalana yonna ng’alina okuyiga okubeera n’omutima okuwangaala n’abantu be baawukanya endowooza.
AIDAH NANTABA:
Ensi yawuniikirira Nantaba omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kayunga bweyakwata essimu wakati mu lukung’aana lw’ebyobufuzi n’akubira Museveni ng’abantu bonna bawulira amaloboozi gaabwe nga bw’ayogera mu ddoboozi lya sitiiriyo n’amutegeeza ng’abantu be bwe baagala okwogerako naye.
Nantaba baamuwa obwaminisita omubeezi ow’ebyettaka nga bakkomando abamukuuma banjawulo nyo ku bakuuma baminisita abalala.
Ono n’okutuusa kati akuumwa bakomando ba SFC abambala yunifomu ezifaananira ddala ezambalibwa abakuuma maama w’eggwanga Janet Kataha Museveni.
Nantaba okubeera ku lusegere ne Museveni yatandika okuwa ebiragiro nga minisita w’ebyettaka bannamateeka bye bagamba nti bimenya mateeka ne bamuggulako emisango kkooti n’ekwata ssente z’omusaala gwe, waliwo ekiseera bweyali asasulwa nnusu 1000 buli mwezi.
Nantaba yalagyanira Museveni okumutaasa ku bantu beyayita bamafiya abaali baagala okumutta olwokubalemesa okutulugunya ab’ebibanja, oluvanyuma Museveni yamugoba ku bwaminisita ng’ensonda zitubuulidde nti omukulu takyamuwuliza.
DONOZIO CISSY NAMUJJU:
Ssemujju ategeezezza nti ekimu ku bintu ebyamwewunyisa kwekulaba omubaka Namujju nga bamututte mu kkomera ku misango gy’obuli bw’enguzi.
Ono ategeezezza nti Namujju baafunangamu obutakkaanya butono ne banne ku palamenti n’akubira Museveni essimu okubataawulula ekintu ekitali kyabulijjo.
Namujju bweyategeera nti bagenda kumusiba, yaddukira ewa Museveni ng’ali ne mukwano gwe sipiika wa palamenti Annet Anita Among okwegayirira Museveni amusaasire ekitasoboka Museveni n’amutegeeza nti mubbi era agenda kumusiba kyeyatuukiriza.
SARAH BABIRYE KITYO TAKYAWULIZA MUZEEYI:
Ono bweyabeerera omubaka omukyala akiikirira abavubuka mu Buganda, yalina omukwano mungi ne Museveni era baatuuka n’okutambulirako mu nyonyi y’emu nga bagenda banyumya.
Abali ku lusegere lwa Kityo balumiriza nti eyo ye yali ensibuko y’okubonaabona kw’omuntu waabwe era baatuuka n’okumusiba mu kkomera ku misango gy’obufere n’obuli bw’enguzi gy’akyawerennemba nagyo mu kkooti z’amateeka wadde ng’akyalwana okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Lwengo.
HARRIET NTAMBAZI:
Museveni yalwana nnyo okulaba nga palamenti ekakasa Ntambazi ku bwaminisita omubeezi ow’eby’obusuubuzi.
Ntambazi baali bamulumiriza nti talina buyigirize bwetaagibwa kubeera minisita wabula Museveni yakimanyirawo nti baduuyi be baali bamulwana olwokubeera ennyo ku lusegere lwe.
Ono ekyali kimuwalanya kutambulirako ku nyonyi ne pulezidenti okugenda e South Africa nga bagenda banyumya.
Museveni yamuyiirawo omubiri okutuusa embeera bweyazitowa ne bamugoba ku bwaminisita era n’okutuusa kati ono ne bw’akubira Muzeeyi amasimu anyiga bbize.
ABAKAZI M7 BAAKYALEMEDDEKO BAAMUWA KI?
AMELIA KYAMBADDE:
Ono ye muwandiisi wa pulezidenti Museveni ow’ekyama akyasinze okumukolera ebbanga eddene.
Ensonda zirumiriza nti okuva mu State House okugenda okwesimba e Mawokota zaali ntalo za mu State House ng’abamuwalana baatuuka n’okumusimbako omuntu.
Dr. Hillary Kiyaga ‘Mazongoto’ bwe yamuwangula mu 2021, Museveni yamuwa ekifo ky’obuwabuzi bwe ekimusasula omusala omusava nga minisita.
LT GEN PROSCOVIA NALWEYISO:
Ono Museveni yamuwandiikako ng’omu ku bantu baawangadde nabo okuva mu nsiko ng’ensonda mu State House zitegeezezza nti amwesiga nyo nga mu biseera by’akalulu gw’atera okuteresa ebisawo bya ssente.
Mu kiseera kino yamulonda ng’omuwabuzi we ku by’okwerinda.
RUTH NANKABIRWA SSENTAMU:
Museveni okumulonda ku bwaminisita bwa difensi yali muwala muto ate ng’obuvunanyizibwa bw’amukwasizza bw’amaanyi nyo.
Okuva olwo, tamugobangako mu kabinenti ye era yalwana nyo okulaba ng’ekkomo ku myaka gyap ulezidenti givaawo, yalina omukono gw’amaanyi nyo okugobya Rebecca Alitwala Kadaga ku bwasipiika bwa palamenti.
Museveni ensonda zitubuulidde nti amwesiga nyo nga y’omu ku batereka ebisawo bya ssente ezikola kampeyini ze, okumanya omusajja omukulu ow’ekikoofiira amwesiga, Nankabirwa, Nakimwero bwe yamuwangula mu kalulu ka 2021, era yamukomyawo ku bwaminisita.
LUCY NAKYOBE:
Y’akyasinze okumala ekiseera ekiwanvu ng’akulira eby’ensimbi n’emirimu mu State House nga Museveni ye pulezidenti.
Abakozi mu State House bamuwakulako entalo nga baagala Museveni amugobe naye nga bo baagoba.
Kati yamutwala mu kifo ky’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’abakozi era omuwandiisi wa kabinenti nga Museveni amwesiga nyo kyeyava yamukwasa omulimu gw’okukuuma ebyama bya kabinenti.
COL. EDITH NAKALEMA:
Entalo mu State House zaamulemesaayo Museveni n’amutonderawo akakiiko ka State House Anti-Corruption Unit okulwanyisa obuli bw’enguzi mu State House.
Eno naye entalo bwe zaasukka yamusindika okwongera okusoma mu ttendekero ly’amagye e Jinja, gye yava n’amukomyawo okukulira akakiiko akalwanyisa abafera bamusigansimbi.
Ensonda zitubuulidde nti Museveni amwesiga nyo ng’amumanyiiko ebyama bingi engeri we yayingirira State House ng’akyali muwala muto.
DIANA ATWINE:
Ono ye musawo wa pulezidenti Museveni ow’ekyama ng’obulamu bwe obusinga abumaze mu State House.
Yakulirako akakiiko mu State House akalwanyisa obubi bw’eddagala mu malwaliro ga gavumenti, eno Museveni gyeyamuggya n’amulonda ku kifo ky’omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu.
Atwine yafuna obutakkaanya n’omugenzi pulofesa Anthony Mbonye mukwano gwa Museveni era eyali omwami wa Nakyobe, bangi baalowooza nti Museveni yali agenda kumugoba wabula n’agobamu Mbonye.


