PULEESA EWA MUTABULIIKI WA KCCA:  Asulirira kugobwa, abasambi be takyabategeera

NG’AKAKIIKO akatwala Liigi ya Uganda eya Uganda Premier League kategeka okutegeka emipiira eyali giggyiddwawo olw'empaka za CHAN, abatendesi abawerako bali ku bunkenke bw’okubeegezaamu okubagoba olwa ttiimu zaabwe okuvuya era puleesa eno ereetedde omutendesi wa KCCA FC, Mutabuliiki Abdallah Mubiru okusula ng’akukunadde.

Juma Ali
3 Min Read
Omutendesi wa KCCA FC Mutabuliiki Abdallah Mubiru

• Byekwaso, Bengo ne Mawejje bali ku kikaliriro

NG’AKAKIIKO akatwala Liigi ya Uganda eya Uganda Premier League kategeka okutegeka emipiira eyali giggyiddwawo olw’empaka za CHAN, abatendesi abawerako bali ku bunkenke bw’okubeegezaamu okubagoba olwa ttiimu zaabwe okuvuya era puleesa eno ereetedde omutendesi wa KCCA FC, Mutabuliiki Abdallah Mubiru okusula ng’akukunadde.

MUTABBULIIKI ALI KU PULEESA
Puleesa okuva mu bakamaabe ereetedde Mutabbuliiki obuzibu nga kati atandise n’okwerabira abazannyi be babeera bawadde kkaati essatu. Mubiru yasambisa omuzibizi Gavin Kizito Mugweri ku mupiira gwe baakyalira Mbarara City era baaguwangula 2:0 wabula olw’okuba bazanyisa omuzanyi tateekeddwa kuzannya, okukkakkana nga Mbarara City bangiwadde obubonero busatu ne ggoolo ssatu ekintu ekireetedde Mutabbuliiki Mubiru omulimu gwe okuba mu lusuubo kubanga mu mipiira 5 gy’asambyeyo okuzannya mu Liigi, awanguddeko 1, akubiddwamu 2 ne ddulo 2.

ABALALA ABASULIRIRA OKUGOBWA

*MORLEY BYEKWASO (VILLA): Ono mugagga wa Villa y’akyumusibye ku kiraabu kubanga abawagizi baagala agende olw’okuvuya ng’ekitundu ekisoose kyagenze okukomekkerezebwa nga bali mu kifo kya 8 n’obubonero 20 okuva mu mipiira 15 . Mu mipiira 5 gyasembyeyo okusamba mu Liigi, awanguuddeko 1, akubiddwamu 1 ne ddulo 3.

*STEVEN BENGO NE TONY MAWEJJE (WAKISO GIANTS): Abawagizi ba kiraabu eno baali babasuubiramu bingi, wabula baagoyezza amayuni kubanga ekitundu ekisooka, baabadde mu kifo kya 14 n’obubonero 12 mu mipiira 15 nga mu mipiira 5, tebalinaamu wiini yonna wabula ddulo 3 n’okukubwa 2.

*ABBEY BOGERE KIKOMEKO ( BUL): Kampuni eya BIDCO yateekamu ssente nyingi sizoni okugula abazanyi n’ekigendererwa eky’okukola obulungi wabula ebintu bikyagaanye ku sayidi y’omutendesi kubanga yamalidde mu kifo kya 9 n’obubonero 20 mu mipiira 15 nga mu mipiira 5 gyasembyeyo okusamba, alinamu wiini 1, akubiddwamu 1 ne ddulo 3.

OMUGAGGA WA CHELSEA NE REAL MADRID AWADDE ESSUUBI ABAZANNYI BA SC VILLA
Pulezidenti wa kampuni ya Linglong ekola emipiira gy’emmotoka Wang Feng akyaliddeko kampuni ya Mandela Group of Companies ekulirwa Omar Mandela. Wang eyasoose okukwasa omuwanguzi Kyeyune emmotoka ye mu kazannyo k’okuwangula emmotoka z’amasanyalaze ng’osooka okugula emipiira gya Linglong ebiri, oluvanyuma n’asisinkana abawagizi, abazanyi n’abakugu ba kiraabu ya SC Villa abaamukwasizza ekikopo kye baawangula sizoni ewedde mu butongole era n’abasuubizi okutwala abazanyi abalina ebitone mu kiraabu za Bulaaya. Linglong yeeteekamu kiraabu ya Chelsea ne Real Madrid ssente.

Share This Article