Ebipali By’abayimbi Abanene: Laba Ebisiraani Chamilli, Spice, Sheebah, Bebe Bye Bakuba Ba ‘Upcoming’ Okubazza Mu Kyalo…

GYEBUVUDDEKO, abanyumirwa omuziki baabadde mu kaweefube wakusala musango wakati w'omuyimbi omupya Uncle Chumi ne Omuyimbi Spice Diana. Entabwe y'ensindikagano wakati w’abayimbi ababiri eva ku luyimba lwa Uncle Chumi oluyitibwa 'gw'okutte gw’obba' lweyaddamu n'omuyimbi Spice Diana.

Zahara Nangendo
6 Min Read

GYEBUVUDDEKO, abanyumirwa omuziki baabadde mu kaweefube wakusala musango wakati w’omuyimbi omupya Uncle Chumi ne Omuyimbi Spice Diana. Entabwe y’ensindikagano wakati w’abayimbi ababiri eva ku luyimba lwa Uncle Chumi oluyitibwa ‘gw’okutte gw’obba’ lweyaddamu n’omuyimbi Spice Diana.

SPICE YALI AGUDDE NGA YEETAAGA AMASANNYALAZE

Uncle Chumi agamba nti yakakibwa okuddamu oluyimba lwe ne Spice Diana olwokubanga Spice yali agudde era nga yeetaaga masanyalaze ganaamuzza ngulu. Mu kunyonyola kwe, agamba ne mu situdiyo teyalinnya yo kubanga Spice ne maneja we baagenda okumutegeeza ku byoluyimba nga bamaze okuluddamu era ye baamuyita bagenda okukwata vidiyo.

Oluyimba olwaddibwamu lwateekebwa ku mukutu gwa YouTube ogwa Spice Diana era Chumi agamba talyanga yadde ku kikumi kyava mu luyimba olwo. Nga oggyeko ssente za YouTube, Chumi era yeekwasa nti ab’ebivvulu tebaddamu kumusasula kuyimba anti baagala gw’okutte gwobba lweyayimba ne Spice Diana so si lweyayimba yekka.

Spice Diana olwawulidde amafuukuule agazze gamwogerwako olw’oluyimba, n’asalawo naluggya ku mukutu gwe ogwa YouTube era bombi abayimbi ne balabika nga baviiriddemu awo. Chumi ayagala obukadde asatu okwenaazaako ennaku Spice Diana gyamutusizzaako.

SPICE YAKUBYE CHUMI EBIPALI?

Olwokuba oluyimba lwabadde lw’amaanyi, era nga nyini lwo alusuubiramu bingi, Spice Diana yasibiddwako ogwobutayagaliza, ettima n’okukuba abayimbi abato ebipali anti Chumi si yasoose era bangi baasaabidde Chumi nga bagamba nti kigenda kumubeerera kizibu nnyo okuletayo oluyimba olw’amaanyi ng’olwo, kasita yasalawo okuluddamu n’omuyimbi omunene.

Abawagizi bagamba nti Chumi si ye muyimbi asoose okukubwa ekipali ku luyimba lwe olusooka. Emyezi nga mukaaga egiyise, Omuyimbi y’omu yaddamu akayimba ka Liah Ote aka Ntikuula era mbu Liah weyayita ng’afuna ettutumu eryo lyeyafuna mu kaseera ako, tewali yalaba weyayita nga agenda. Liah Ote akyafulumizza ddala enyimba naye bwotamwenonyeza nnyo oyinza obutamufuna.

BEBE LWE YAZOLEYA SPICE

Abawawigizi b’okumukutu gwa TikTok bagamba nti singa Spice Diana akolera abayimbi abalala omuyimbi Bebe Cool kyeyamukolera nga atandika okuyimba, singa tewali amwekwasa.
Kinajjukirwa nti Bebe Cool yagamba nti Spice Diana yeewuuba ewuwe okumala ebbanga eddene ennyo nga ayagala bayimbe bonna kyokka ye yamuzira, naamugamba asooke yeezimbe.

OLWA FIK NE CHAMILLI

Omuyimbi Jose Chameleon yaddamu oluyimba lwa Fik Gaza olwa banana era nerutambula mu ggwanga lyonna. Omuyimbi okuva e Jamaica ayitibwa Konshens bweyajja, yatuukira mu kadde nga oluyimba lukyakuba era naye n’aluddamu ne Fik Gaza wamu ne Jose Chameleon.

Okuva 2023, oluyimba luno welwafulumizibwa, Omuyimbi Fik Gaza lwamutuulamu era talina sente zikolera bawagizi be luyimba lulala lw’amanyi nga olwo.

OBA CHAMILLI WA BISIRAANI?

Nga oggyeko Fik Gaza, kigambibwa nti omuyimbi yenna omuto Jose Chameleon gwayimba naye amubuutikira era nga oggyeko enyimba ezo ze baba bayimbye naye, omuyimbi oyo tatera kudda ngulu okujjako ng’azzeemu kuyimba na Chameleon. Abayimbi bano kuliko Melody gweyayimba naye Nkoleki, ne Papa Cidy gweyayimba naye enyimba nga Daniella, Nkwata, mukwano munange n’endala.

Ye Sheebah bweyaddamu oluyimba lwa mwana mulenzi Aaronx olwa Njalwala, yamuggulira kkubo lyakukolagana na bayimbi banene kubanga oluvanyuma lw’okuddamu oluyimba olwo, ate yazzaako oluyimba masanyalaze nga luno yaluyimba ne Winnie Nwagi era okuva ku olwo taddiriranga.

LWAKI ABAYIMBI ABANENE BALIPPIRA ENYIMBA Z’ABAYIMBI ABATO?

Newankubadde ng’abawagizi ogwebipali bagutadde ku bayimbi abeekolera edda ettutumu, kirungi nnyo okumanya nti ebiseera ebisinga si be banoonya abayimbi bano abatandika. Abayimbi abato batandika bawagizi babayimbi betuyita abanene era bwebabeera tebanasamba kajji n’obabuuza muyimbi ki gwewandiyagadde okukola naye, b’ogera mannya ga bayimbi banene era ku ntandikwa ya byonna, babeera basanyufu nnyo okuyimba nabo.

Abalala babeera mu vayibu ng’enjogera yennaku zino bweri okugeza Spice Diana okuddamu oluyimba lwa Uncle Chumi, kigambibwa nti baali mu bbaala, Spice Diana n’afuna vayibu era nayimba wo ebibye abantu nebabyagala kwekuddamu oluyimba .

Ate olwa Liah Ote, abawagizi benyini be baagamba nanyini luyimba aluddemu ne Spice Diana kuba bo baalaba nga ajja kulunyumisa nnyo.

SHEEBAH YE YANOONYA OWA NJALWALA

Yo ensonga ya Sheebah yali yanjawulo kuzimenyeddwa waggulu. Sheebah bweyawulira oluyimba lwa Njalwala, yalwagala nnyo era ye yeenonyeza nanyini lwo naamusaba baluddemu era bwekityo bwekyakilebwa.

ABAWABUZI BOOGEDDE

Spice Diana y’omu ku bayimbi mu yindasitule abalaze nti bangu nnyo bwekituuka ku kukwasizaako abalala. Abawagizi be bamugambye akikomye kuba talina kalungi kaafunye mukulaga nti si muntu muzibu nga abalala.

Ye Calvin Kalule amanyiddwa nga Calvin the Entertainer, omukozi ku UBC, ne Magic one, awabudde Spice Diana naamugamba ateeke ekkomo ku ngeri gye yeesembereza buli omu era ateekewo n’ensalo.

James Propa ye awabudde Uncle Chumi naamugamba ave mu kukaabira amata agayiise akozese obudde buno okuzimba erinnya lye ng’omuyimbi.

“Zino entalo za copyright, biwanvu, Diana ne bw’onaamutwala mu kkooti, agenda kutuukayo alage nti ye Namukwaya Hajarah era talina yadde ekikumi. Omusango ogwo gusobola okumala emyaka ena nga ogwa Black Markets ne Bruno K. Nze ndowooza waalibadde oteeka nnyo mu nyimba zo amaanyi kubanga omukisa gw’ofunye gusobola okukyusa obulamu bwo n’obwabantu bo.” Propa bweyayongeddeko.

Share This Article