• Alayidde okufa n’abaagala okusangula Rwanda ku maapu y’ensi yonna, agobye emivumba gy’Abazungu
OMULUNDI gwe ogusoose okuva gavumenti ya Uganda ne Rwanda bakkaanya okumalawo obutakkaanya bwe baafuna ne bubaleetera n’okuggalawo ensawo eziyingira amawanga gaabwe, pulezidenti wa Rwanda Paul Kagame ayogedde ku mbeera y’Abanyarwanda abawangaalira mu Uganda eyavaako obutakkaanya mu 2019.
Kagame yaggala ensalo eziyingira Rwanda okuva mu Uganda n’alabula ne bannansi be okwegendereza nga bazze mu Uganda ng’alumiriza gavumenti ya Museveni okubatulugunya n’atuuka n’okubasibira mu makomera ng’abalumiriza okubeera n’ekigendererwa ky’okutabangula emirembe mu Uganda.
Obunkenke obwaliwo bwaleetera Museveni okugoba n’okulagira okukwata n’okusiba eyali ssaabaduumizi wa poliisi Gen. Edward Kale Kayihura nga bakimuteekako nti yalina ekigendererwa ky’okuyambwako Rwanda okuwamba gavumenti ya Museveni.
Museveni yasindika ebikonge eby’amaanyi mu gavumenti ye okugenda e Rwanda okwogerezeganya ne Kagame okumalawo obutukkaanya okutuusa Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF bweyayingirawo n’ataasa embeera bambega mu bitongole bya securite nga birumiriza nti kaabulakata amawanga gombi okulwanagana mu lutalo lw’emmundu.
Wadde Uganda ne Rwanda bakkaanya ensalo ne ziggulwa, wabula Abanyarwanda mu Uganda nga bakulemberwamu Frank Gashumba balumiriza nti bakyatulugunyizibwa n’okusosolebwa ng’abatali Bannayuganda nga kino kibalemesezza okufuna obuweereza bwa gavumenti ng’okubawa endangamuntu, pasipooti n’ebirala.
Embeera eyo ye yaleetera Gashumba ne banne okutandika okukozesa erinnya ly’Abavandimwe okutegeeza Abanyarwanda abawangaalira mu Uganda, bano baasisinkana ne pulezidenti Museveni ne bamubuulira obuzibu bwebayitamu n’abasuubiza okukozesa obuyinza okuyisa ebiragiro bakomye okusosolebwa.
Ono yawagirwa Betty Nambooze omubaka wa Mukono Municipality eyaleeta obujulizi nga MP omukazi Aisha Kabanda owa disitulikiti y’e Butambala bwe baagezaako okumumma pasipooti okugenda e Bulaaya okujjanjabwa olwokuba afaanana Abanyarwanda nga yalina okukozesa amaanyi g’ekifo kye okugifuna n’asaba ensonga y’Abanyarwanda esalirwe amagezi ag’enkomeredde wabula bano bonna Kagame ayawukana nabo.
Kagame wiiki ewedde yabuulidde ababaka b’amawanga n’ebitongole by’ensi yonna mu Rwanda ng’Abanyarwanda abawangaalira e Uganda gavumenti ya wano bw’ebayisa obulungi era n’ajeebaza.
Wabula Nambooze alumiriza nti mu ndagaano Kagame gyeyakola ne Uganda okuggulawo ensalo, ensonga y’okwetegereza Abanyarwanda abawangaalira mu Uganda yali nkulu nyo nga Kagame alumiriza nti abamu beenyigira mu bikolwa by’okuyeekera gavumenti ye.
ALABUDDE ABAAGALA OKUSANGULA RWANDA KU MMAAPU Y’ENSI YONNA
Kagame akakasizza nga bwewaliwo akabinja k’abantu abagezaako okulwana okuzza obutali butebenkevu mu Rwanda ng’ekigendererwa kyakugisangula ku mmaapu y’ensi yonna n’alayira nga kino bwatagenda kukikkiriza ng’akyali mulamu.
Ono ategeezezza nti Rwanda okutuuka weeri banyiniyo baawayo omuwendo ogusinga obuzito bw’okuyiwa omusaayi okukomya ekittabantu emyaka 30 emabega nga tebasobola kukkiriza muntu yenna agezaako okubazza mumbeera eyo.
Kagame alayidde nga bwatagenda kukkiriza biragiro okuva mu bakulembeze b’amawanga g’Abazungu ku ngeri gyalina okwatamu ensonga za Rwanda nga beeyita abakugu n’abawa amagezi amaanyi bagamalire mu kuzannya emizanyo gyabwe nga ggoofu n’okunywa omwenge.
Kagame ategeezezza nti abaagala okusangula Rwanda ku mmaapu basinziira Congo ng’eno gye bateeka enkambi zaabwe gyebasigira obukyayi mu bantu b’e Rwanda ate nga bawagirwa gavumenti ya Felix Tshisekedi n’Abazungu abakolera ddiiru e Congo.
ABAZUNGU BEEKUBEMU TTOOCI
Ono asabye Abazungu okwekubamu ttooci ng’alumiriza nti emyaka 30 ng’ekitongole ky’amawanga amagatte ekya United Nations nga kitutte abajaasi baakyo e Congo n’ekigendererwa ky’okukomya okulwanagana ekibalemye okutuukiriza nga kati bakutulirayo ddiiru za byabufuzi n’okukola obugagga.
ATABUKIDDE TSHISEKEDI OWA CONGO
Kagame atabukidde Felix Tshisekedi owa Congo gw’ayogeddeko ng’avaako emivuyo gyonna mu East ne Central Africa olwokulemererwa okukulembera obulungi eggwanga lye.
Ono alumiriza nti Tshisekedi obululu bwombi obw’ebisanja ebibiri bye yaakafugira Congo teyabuwangula wabula Abazungu n’abanene abalala mu nsi abaagala abakolere ddiiru mu Congo be baamubbira akalulu okulaba ng’asigala nga pulezidenti.
Kagame akakasizza Tshisekedi nti Rwanda nneetegefu okwang’anga embeera yonna okutaasa abantu baayo n’ategeeza nti bo bayise mu kunyigirizibwa okutagambika nga waliwo bwe baayingira omukago gwa AGOA okutunda ebyamaguzi bya Rwanda mu America wabula bwe baayogerako ku nteekateeka y’okuteekawo amakolero agakola engoye okutaasa Abanyarwanda okwambala emivumba okuva mu mawanga g’Abazungu ne bagisangula mu mukago nga bagirumiriza okubeera n’olugezigezi wabula yasigala egenda maaso.
Kagame abuulidde Abazungu nti ku lw’abantu be, talina muntu gwagenda kuttira ku liiso olwokuba baagala okubaweereza engoye z’emivumba ate nga basobola bulungi okuzimba obusobozi okubeera nga beekolera engoye empya ng’ezibalema okwambala nga baziweerezaako mu mawanga amalala kubanga obusobozi obwo babulina nga y’ensonga lwaki basindika amagye mu mawanga okuli Central African Republic ne Mozambique okukuumayo emirembe.
TSHISEKEDI AMUDDIZZA OMULIRO
Tshisekedi naye yasinzidde mu nsisinkano n’abakulira ebitebe by’amawanga n’ebitongole by’ensi yonna e Kinshasha n’addiza Kagame omuliro nga bwamukakasa nti Congo ggwanga erikkiririza mu nkola ya demokulasiya nga terisobola kufugibwa pulezidenti atawangudde kalulu.
Ono yasekeredde Kagame gweyayogeddeko ng’eyeeterawo bannabyabufuzi abamwesimbako olwokuba atya okuvuganyizibwa n’okuwangulwa ng’alumiriza nti nakyemalira Abanyarwanda gwe baakoowa edda.
Yalayide nti Kagame ne bwanaakola atya tagenda kukkiriza kuteesa na bayeekera ba M23 baalumiriza nti Rwanda ebawangira okusuula gavumenti ye.


