Chairman Nyanzi Ssente Aziggya Wa? Aba NUP Batabuse Ku Nju Empya Gy’aguze Obukadde 500 e Kawempe…

FRED SSENTAMU amanyiddwa ennyo nga Chairman Nyanzi, aguze ekizimbe mu Kawempe South gyagenda okwesimba ku kifo ky'omubaka nekitabula abanene mu kibiina.

Timothy Nyanzi
7 Min Read
Emu ku nnyumba za nyanzi eringa Olubiri

FRED SSENTAMU amanyiddwa ennyo nga Chairman Nyanzi, aguze ekizimbe mu Kawempe South gyagenda okwesimba ku kifo ky’omubaka nekitabula abanene mu kibiina.

Ensonda zaffe ezeesigika zitukakasizza nti ennyumba Nyanzi gyaguze esangibwa Bwaise (11) mu Mukalazzi zzooni mu Kawempe South, nga kigambibwa nti ebalirirwamu obukadde 500. Abamanyi enyumba eno, batutegeezezza nti erina ebisenge ebisulwamu 4, eddiiro omuli dayiningi ey’amasaali, ebinaabiro bibiri ne kalonda omulala.

NYANZI BABADDE BAMUYEEYA OBUTABEERA MUTUUZE

Nyanzi okugula ennyumba eno, abamumanyi bagamba kivudde ku babadde bamuyeeya nti tasaanidde kwesimba ku kifo ky’omubaka wa Kawempe South ekirimu Bashir Kazibwe owa NUP ekibiina gwekyagoba. Abalonzi abasinga babadde bagamba nti tasaanidde kubeera mubaka waabwe nga bakimussaako nti si mutuuuze mu kitundu ekyo, wabula abadde abaddamu nti emirimu gye agikolera mu Kawempe South ofiisi ye eri ku kitebe kya NUP.

Mu kiseera kino, ennyumba eno bagiyooyota etuukagane n’ekitiibwa ky’omubaka wa palamenti era baaba wa Pulezidenti wa NUP, Bobi Wine, abazimbi bali mu kusiiga langi ku bisenge munda ne wabweru , ggeeti enkadde ebadde ku kikomera baagigyeko ne bassaako empya n’okuzimba akayumba waggulu ku ggeeti.

Kigambibwa nti okuyooyoota bwekunaaba kuwedde, Nyanzi n’abawaguzi be bagenda kusinziira mu maka gano batongoze kkampeyini z’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe South mu kalulu ka 2026.

BASONZE KU WAAVUDDE SSENTE

Kigambibwa nti ensimbi Nyanzi yazikung’anya weyali akyali ssentebe wa Kkunga mu NUP okuva mu banna byabufuzi abaamutuukirira nga bagaala abayirewo omubiri bafune kkaadi ya NUP ku bifo gye baagala okwesimba. Ate abalala bagamba nti ezimu ku nsimbi abawagizi b’ekibiina abali ebweru w’eggwanga be baazimusondedde.

Nyanzi buli mukolo kwabadde ayitibwa munnabyabufuzi ng’omugenyi omukulu, basooka kumusasula ssente za mafuta, ssente endala Nyanzi aziggye mu bizinensi ze omuli amamotoka g’omusenyu n’amayumba g’abapangisa.

BOBI YAVUDDEWO BUBI NE NYANZI KU NKYUKAKYUKA ZA KKUNGA

Ensonda zongedde okutubbirako nti Bobi teyali musanyufu n’abamu ku bassentebe ba Kkunga Nyanzi beyakuba akatebe n’ateekawo ababe abalina ssente kyokka nga tebasobola wadde okukuba omubala gw’ekibiina ate nga beyagyayewo babadde bakoze omulimu gw’amaanyi okukungira ekibiina obuwagizi mu bitundu. Kyokka Nyanzi yeekwasizza nti abaagobeddwa babadde banafu n’aleeta ab’amaanyi.

ENNYUMBA EYOMBEZZA ABA NUP

Ebya Nyanzi eby’okugula ennyumba bitabudde abamu ku bannabyabufuzi mu kibiina kya NUP ne bamulangira omululu n’okwonoona ssente z’ekibiina okwegaggawaza yekka, bagamba nti ssente Nyanzi zaayononera mu by’obufuzi zandibadde zikozesebwa okulabirira abaana b’abawagizi ba NUP abaakwatibwa ku nsonga z’ebyobufuzi abavundira mu makomera aba NUP naddala abali mu Kawempe nga kwogatta n’abo abaafiira mu situlayo nga Yasin Kawuma, Dan Kyeyune, Rita Nabukenya n’abalala.

Bano bagamba bakooye okweraga kwa Nyanzi kwaliko ate nga e Kawempe South baamugaana dda kubanga omwaka oguwedde Nyanzi yasaasanya ensimbi nnyingi ng’akola emikolo egiwerako omwali okugattibwa embaga ne mukyala we n’okukola omukolo gw’okuyingira amakage aga kalina agatunula ng’omuntu agasangibwa e Kyebando mu Kawempe Nort.

OLUTALO KU KKAADI LUKWAJJA

Nyanzi attunka ne kkansala wa Makerere ku division y’e Kawempe Muhammad Nsubuga ne Roy Ssembogga eyaliko omukulembeze w’abayizi e Makerere, kyokka ne NRM nayo ereese Madinah Nsereko naye asaba nnyo NUP ewe Nyanzi kkaadi kubanga agamba amwesobolera.

ABA NUP ABALI EBWERU BATABUKIDDE KU BY’OKUBASIBAKO NYANZI

Banna NUP abali mu mawanga omuli America, Bungerenza n’ensi endala kigambibwa nti baasindikidde Bobi Wine obubaka nga bamusaba abaggyeko Nyanzi gweyawadde ekifo ky’okukulira ensonga z’abawagazi ba NUP abali ebweru.

Bano beemulugunya nti Nyanzi si ye mutuufu kubakulembera kubanga simwerufu ate wa buvuyo nnyo. Bano bawadde Bobi obukwakkulizo obukambwe waaba akyayagala ssente zaabwe eziva ebweru, bamulagidde abaggyeko mukulu we amugobe mu ntebe gyeyamuwadde kubanga si mukulembeze mutuufu ekifo kyebamudde kinene okumusinga addeyo akulembere ab’ebyalo bano batiisatiisizza obutaddamu kuwagira mirimu gya kibiina.

Kigambibwa emmotoka ekika kya V8 Toyota Landcruiser etayitamu masasi eyaleeta ensasagge mu kalulu ka 2021, abawagizi ba NUP abali wabweru be baagisonda kyokka bino n’ebirala batisizatisizza obutaddamu kubikola singa Nyanzi anasingala mu kifo Bobi ne banne mwebamulondedde.

BAKUBYE EBITULI MU KAKIKKO KA NUP AK’EBYOKULONDA

Abamu ku bazizzaayo empapula mu kakiiko k’ebyokulonda mu NUP akakulirwa Harriet Chemutai, baleese bwino nti bagudde mu lukwe lw’okubalemesa okufuna kkaadi ku bifo bye baludde nga beegwanyiza babiwe abo ababadde bavuganya ku bifo ebinene kyokka nebibalema olwa ne badda wansi babeeko ebifo bye bawamba.

Omu ku bazizzaayo empapula mu atubuulidde nti abakulu mu kakiiko bakolaganye n’abanene abasalawo ensonga basuule abamu ku babadde beegwanyizza ebifo bya wansi bateekewo ba kandidenti abalina ku ssente abalemereddwa okuvuganya ku bifo ebinene, abamu basubirwa okusuulibwa balumiriza Umar Magala eyasooka okulaga nti yeegwanyiza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North mu kulonda okwali okuddamu okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North ekyali omugenzi Muhammad Ssegirinya.

Kyokka Magala n’awangulwa munna mateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola, wabula Magala ate abadde yakyusizza n’ayingira olutalo lw’okuvuganya ku kifo ky’obwa meeya wa Kawempe division ekirimu Emmanuel Sserunjoji Oweddembe, kyokka agaliwo galaga nti Magala n’olwokaano luno nalwo yaluvuddemu kubigambibwa nti waliwo enteeseganya wakati w’enkambi ye n’eya Sserunjoji ezaabaddewo , Magala ne bamugyamu ne ssente ze yayononedde mu kukuba ebipande, abamanyi eby’omunda batubulidde nti ssente zino Magala yazireese n’aziyiwa mu bakulu ku kitebe bamukkirize bamuwe kkaadi avuganye ku bwa loodi kkansala w’e Kawempe ku City Hall.

Agava mu kakiiko k’ebyokulonda aka NUP galaga ddiiru ya Magala yakkiriziddwa era abamu ku banene mu kibiina bakkirizza Magala avuganye ku bwa loodi kkansala kimuyambeko okufuna obumanyirivu mu by’obuguzi.

AB’AKAKIIKO BAAKUNG’AANYIZZA BUKADDE OKUYISAAWO ABALI KU BWANGU

Kigambibwa nti abakulira akakiko k’ebyokulonda mu NUP baakung’anyizza bukadde mu nteekateeka y’okusunsula ba kandidenti, akakiiko kaataddewo tenti ba kandidenti mwebabadde balindirira nga wootuuka oweebwa ennamba paka enamba eyo webagituukako n’osunsulibwa.

Kyokka mu ngeri yeemu waabaddewo ba Foot Soldiers abaateereddwa abakakikko k’ebyokulonda mu tenti yeemu ababadde bayita mu ba kandidenti nga babagamba okusasula ssente babayiseewo mangu basunsulibwe baddeyo mu bitundu byabwe.

Kigambibwa nti abavuganya ku bifo by’ababaka ne ba ssentebe ba disitulikiti ba foot Soldiers baabadde babaggyako wakati wa 50,000 ne 100,000, ba kkansala 10,000 ne 20,000 era abamanyi eby’omunda batubuulidde nti ab’akakiiko bakung’anyizza o
bukadde .

NUP EBIWAKANYIZZA

Akulira eby’okulonda mu Buganda mu NUP, John Mary Ssebufu awakanyizza ebiboogerwako nti baakungaanyaza bukadde ku bakandideeti, Sssebufu ategeezezza nti abaggye ssente ku ba kandidenti baakikoze ku lwabwe wabula basunsudde nga basinzira ku ani yasoose okutuuka mu kifo.

Share This Article