MP Kivumbi alaze obukodyo bw’akozesa okugonza mukazi we Looya

OKUWASA omukyala eyasoma amateeka abasajja abasinga bakutya nyo nga bakakasa nti obeera weesemberezza ekkubo erikutwala mu kkomera nga kibeera kizibu okubasinga singa wabaawo obutakkaanya mu bufumbo ne mugenda mu kkooti z’amateeka kubanga kibeera kizibu okubasingirayo, eno y’ensonga lwaki beeyagalira bano abasoma eby’emisono n’okwewunda.

Sengooba Alirabaki
3 Min Read
Omubaka Muwanga Kivumbi ne mukyala we Dr. Nampewo

OKUWASA omukyala eyasoma amateeka abasajja abasinga bakutya nyo nga bakakasa nti obeera weesemberezza ekkubo erikutwala mu kkomera nga kibeera kizibu okubasinga singa wabaawo obutakkaanya mu bufumbo ne mugenda mu kkooti z’amateeka kubanga kibeera kizibu okubasingirayo, eno y’ensonga lwaki beeyagalira bano abasoma eby’emisono n’okwewunda.

Wabula bano, Muhammad Muwanga Kivumbi omubaka wa Butambala mu palamenti abasekeredde n’abakakasa nti omukyala asomye amateeka awasibwa kasita omusajja ateekawo embeera eyawula obulamu bw’okutaputa amateeka mu ofiisi ne kkooti n’okukola emirimu gy’awaka ng’omukyala omuli n’okuboobeza ettooke.

Kivumbi yabadde ku pulogulamu Gasimbagane ne bannamawulire ku leediyo Simba n’akakasa banne okwabadde Peter Kibazo, Charles Rwomushana, John Kakande, Harunah Kanaabi ne Siraje Lubwama nti wadde omukyala afumba ewuwe Dr. Zahara Nampewo munnamateeka omutendeke nga y’amyuka akulira ebbanguliro ly’amateeka e Makerere, akolera ku biragiro bye ng’omusajja.

Kivumbi ategeezezza nti bwaddayo ewaka, tasobola kusaba mukozi wa waka oba abaana eky’okulya, okunywa oba amazzi ag’okunaaba olwokuba atya omukyala eyasoma amateeka, ye kenyini gw’agasaba ate naye kino akimanyi bulungi nga kyasookerako okukola nga tanadda mu byakusoma bye.

Ku makya omukyala alina okumutegekera engoye zaabeera agenda okwambala olunaku olwo nga kino abantu bonna ewaka bakimanyi n’awaga nti ye musajja Muganda eyeesobola alina okuwa ebiragiro ewaka.

Kivumbi okwogera bino yabadde awolereza mukwano gwe omubaka omukyala ow’e Butambala Hajjat Aisha Kabanda abalonzi gwe beemulugunyako nti talabika mu kitundu ate nga Kivumbi amusinga n’okwogera mu palamenti ye alabika buli bwe bamwetaagira.

Kivumbi abuulide abalonzi nti balina okukimanya nti ababaka baabwe abakyala bafumbo abalina obuvunanyizibwa bw’okulabirira abaami baabwe nga Dr. Nampewo bwakola, abaana n’okukola emirimu gyawaka nga bwe batalabikako balina okubasonyiwa ne batakitwala bubi.

Omugenzi Paul Kato Lubwama nga tanafa yafuna obutakkaanya ne Kivumbi eyamunenya enyo olw’okuteekawo embeera ewolereza eyali ssaabaduumizi wa poliisi Gen Edward Kale Kayihura eyali alabiseeko mu kakiiko ka palamenti ak’ensonga z’omunda mu ggwanga, Kivumbi bweyanenya ku Lubwama okuswaza ab’oludda oluvuganya mu palamenti n’amutabukira nga bwamulangira nga bwali omwana ewaka ng’omukyala gweyawasa Dr Nampewo y’afuga n’okuwa ebiragiro nga Kivumbi addamu kimu nti ‘Yes Mummy, kankole nga bw’ogambye’, Kato n’agamba nti kati oyo abeera musajjamu ki?!.

Share This Article