• Lipooti etiisa ku by’okulwanyisa UPDF by’efiriddwa, zzaabu abbiddwa e Congo
PULEZIDENTI wa Rwanda, Paul Kagame akazito Abazungu kebamutaddeko nga bamulumiriza okuwagira abayeekera ba M23 abaagala okuwamba gavumenti ya pulezidenti Felix Tshisekedi owa Congo kamususseeko n’aleeta obujulizi obukambwe obusattiza abanene mu ggye lya UPDF ne gavumenti ya pulezidenti Yoweri Museveni.
Ku ntandikwa y’omwaka guno, Anthony Blinken minisita wa America ow’ensonga z’ebweru yakakasizza nga bweyakubidde Kagame essimu n’amusaba okukomya okuwagira abayeekera abaagala okusuula gavumenti ya Tsheshikedi akulembera Democratic Republic of Congo (DRC), ng’abawa ebyokulwanyisa n’anyonyola nti kino bwekitaakolebwa okulwanagana okugenda mu maaso mu Congo kugenda kusaasaanira amawanga amalala ekintu ekigenda okuvaako okuyiwa omusaayi n’okweyongera kw’ababundabundu.
Blinken okwogerezeganya ne Kagame nga gavumenti ya Congo yaakapangisa munnamateeka Robert Amsterdam omu ku balooya ba pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) okukulemberamu ttiimu ya bannamateeka okuggula emisango ku banene mu kampuni ya Apple ekola amasimu ne kompyuta.
Naggagga Omumerica Bill Gates ye nanyini kampuni ya Apple ng’emisango Amsterdam yagimugguddeko ne banne mu kkooti mu mawanga okuli Bufalansa ne Belgium okuvanyuma lwa kkooti za America okubalemesa okuggulawo emisango gyabwe mu kkooti zaabwe.
CONGO BY’ERUMIRIZA NNAGGAGGA OMUMERIKA
Gavumenti ya Congo erumiriza omugagga Bill Gates okugula eby’obugagga by’omutaka ebikozesebwa mu kukola amasimu ne kompyuta okuva ku bubinja bw’abayeekera ekintu ekimenya amateeka g’ensi yonna.
Omugagga Bill Gates mu kwewozaako yategeezezza nga bweyalagira edda abakozi babwe okwegendereza ebirungo ebikozesebwa mu makampuni ge ng’ebyo ebiva mu Congo ne Rwanda nga tebalina kubigula.
Ebimu ku bintu Congo byeyasabye kkooti mu musango gwayo kwekusiba mu kkomera abo bonna abeenyigiddemu n’okuliwa obuwanana bwa ssente olw’obugagga bwabwe obubbiddwa, olukongoolo basinze kulusonga mu Rwanda wabula bino byonna Kagame abiwakanya.
KAGAME: M23 TETUGIMANYI
Kagame yategeezezza bannamawulire wiiki ewedde nga Rwanda bwetalina kakwate ku bayeekera ba M23 abaagala okusuula gavumenti ya Tshisekedi n’alumiriza nti Uganda y’erina okwanukula ensonga ezisinga eziteekebwa ku Rwanda.
UGANDA YE YATANDIKAWO ABAYEEKERA BA M23?
Ono yanyonyodde nti abalwanyi abaatandikawo M23 mu 2013 bantu abava mu Uganda ng’abamu baali bawangalira mu nkambi z’ababundabunda. Kagame atadde ebitongole by’ensi yonna naddala ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations ne gavumenti z’amawanga g’Abazungu ezimulumiriza okuwagira abayeekera ba M23 okuleeta obujulizi obumusiba mu kifo ky’okusaasanya obulimba.
Kagame anyonyodde nti ensiko bweyatabukira abayeekera abawerera ddala 560, baatya okudda e Uganda kwekusalawo okuddukira e Rwanda era gavumenti ye kyeyakola kwali kubaggyako mmundu n’ebatwala mu bifo omukung’anyizibwa ababundabunda, eno gyeyatwala abakulu mu gavumenti ya Congo okwogerezeganya nabo okulaba engeri y’okumalawo obutakkanya bwabwe.
Kagame ategeezezza nti okukkiriza abakulu mugavumenti ya Congo yali ayagala okwogerezeganya yali ayagala bakkanye baddeyo mu Congo gye bayita ewabwe nga bwe baalemagana yabaleka mu Rwanda era mwebali tebadangako mu nsiko.
Ono era yeewozezzaako ku bakimuteekako nti awagira M23 olwokuba abagirimu boogera Olunyarwanda n’ategeeza nti edda nedda nga mu Congo waliwo abantu aboogera Olunyarwanda nga kino abakulu mu gavumenti ya Tshisekedi balina okukkiriza era babatwale nga bannansi baabwe.
EBYOBUGAGGA BYA CONGO BABIBBA BABIMALAWO
Kagame anenyezza nyo eggye lya United Nations eryatwalibwa okukuuma emirembe mu Congo nti okuggyako okubba ebyobugagga tewali ky’amaanyi kyebakoze okuzza emirembe mu Congo ng’ebitundu mwe bateeka enkambi zaabwe abayeekera ba FDLR abaagala okusuula gavumenti ye nabo mwebakuba enkambi zaabwe mwe bwebasinziira okusekeeterera gavumenti ye ekintu kyagambye nti tagenda kukikkiriza nti Rwanda yaakugenda mu maaso n’okukuuma ensalo zaayo kwosa bannansi.
Kagame si y’asoose okulumiriza Uganda okubaako akakwate n’abayeekera ba M23, UN yafulumya lipooti erumiriza Uganda wabula Brig Gen Felix Kulayigye omwogezi wa UPDF n’abigoba ng’alumiriza nti byonna ebyawandiikibwa Abazungu bulimba nti e Congo bakolagana n’amagye ga gavumenti ya Tshisekedi okulwanyisa obubinja bw’abatujju nga ka Allied Democratic Forces (ADF).
Gen Muhoozi Kainerugaba omudUumizi wa UPDF yateeka obubaka ku mikutu gya yintanenti ng’atiisatiisa nga UPDF bwegenda okuyambako M23 okufuna obwenkanya.
ENYONYI YA UGANDA EY’OBUWUMBI 30 EGUDDE E CONGO
Mu lipooti yaabwe ey’omwaka enyonyola embeera nga bweri mu Congo, UN ekakasizza nga mu August wa 2024, emu ku nyonyi ya Uganda enwanyi ekika kya HERMES 900 Starliner bweyakubwa n’egwa mu bibira by’e Congo ewazibu omuntu okutuuka.
Ensonda mu securite zitubuulidde nti enyonyi eno y’emu ku gavumenti ya Museveni zeyagula wakati wa 2020-23 okuva mu Isreal ng’ekigendererwa ekikulu kyali kyakugikozesa okulwanyisa abatujju ba ADF mu bibira by’e Congo.
Okunonyereza ONO BWINO kwakoze kuzudde nti enyonyi eyogerwako okukubwa yagulwa obuwumbi bwa Uganda 30 ng’ensonda mu securite zikakasizza nga Gen Muhoozi bweyalagira edda okunonyereza kukyaleetera enyonyi eno okugwa okukolebwa nga waliwo abalumiriza nti abaatumwa okugula enyonyi enywanyi ssente ezaabaweebwa baakubako enjawulo ne bagula enyonyi ganyegenya.
Lipooti ya UN enyonyola nti enyonyi eno yagwa mu bitundu by’e Bwisabuni nga kino ekitundu okusinziira ku ndagaano Uganda gyeyakola ne Congo aba UPDF tebalina kutuukayo nga balwanyisa abatujju ba ADF, kino kireeseewo okubuusabuusa oba amagye ga Congo si ge gaakuba enyonyi eno.
Lipooti etegeezezza nti kigenda kubabeerera kizibu okuzuula ekyaleetera enyonyi eno okugwa kubanga baagenda okugituukako ng’ebintu ebyenkizo okugeza akuuma akatereka amaloboozi -Black Box agaasembyeyo ng’enyonyi egwa n’ebyuma ebyomugaso ng’obubiina bw’abayeekera obulwanira mu kitundu ekyo nga bubitutte.
Ensonda mu securite zongeddeko nti okugwa kw’enyonyi eyo kwekwaleetera Gen Muhoozi obusungu n’alangirira nga bwagenda okukola ku balwanyi Abazungu abapangisibwa gavumenti ya Tshisekedi okumulwanirako olutalo lwa M23 ng’alumiriza nti bayinza okuba nga be baakuba enyonyi ya Uganda.
ENNYONYI ENDALA EZA UGANDA EZIZZE ZIGWA E CONGO: Eno si y’enyonyi ya Uganda esoose okugwa mu ngeri etategeerekeka. Mu 2023 enyonyi ya Uganda enkessi ekikka kya Diamond Spy yagwa ku nsalo ya Uganda ne Congo, mu 2022 era waliwo enyonyi eyagwa mu Congo n’etta abalwanyi abasoba mu 22 nga okunonyereza kukyaleeteera okugwa kw’enyonyi zino kukyagenda mu maaso.
UPDF BAKKOMANDO BA ADF EBATTA NGA MUNYERA MU CONGO
Lipooti ya UN yakakasizza nga UPDF bweyatta bakomando abamu ku baali baduumira ADF, ku bano kwaliko Braida banne gwe baali bakazaako erya Mzee Pasta ng’ono banne be baamwekubira amasasi bwe baali badduka ebikompola enyonyi za UPDF enywanyi ze byali bisuula ku nfo zaabwe.
Banne baategeera bamaze okumukuba amasasi nti tebasse aduuyi wabula omu kubo ng’omu ku bakyala be ye yakakasa United Nations nti yafa.
Amigo, naye yali muduumizi wa ADF yattibwa ebikompola bya UPDF ebyamugwira bweyali yeekwese mu nkambi yabwe e Madinah ng’okufa kwe kwakakasibwa mukyala we.
Sheikh Issa Seka Papasi naye yattibwa ebikompola bya UPDF bweyali agezaako okudduka mu nkambi yabwe e Seka Dadi. Lipooti ya UN etegeezezza nti ebikwekweto bya Operation Shujaa UPDF byeyalagirira ku ADF byasanyawo enfo zaabwe ezisinga mu Congo ng’abasinga basasaanidde mu bantu ba bulijjo wadde nga waliwo amawulire agalumiriza nti baddamu okuwandiisa abalwanyi abapya.


