NGA wasigadde ennaku mbale empaka z’abasambi b’omupiira abagusambira awaka eza Chan okuggyibwako akawuuwo mu Mawanga asatu okuli Uganda, Kenya ne Tanzania, omugagaa Hamis Kiggundu amanyiddwa nnyo nga HAM, akoze buli kimu okulaba ng’ekisaawe kye ekya Hamz Stadium e Nakivubo nga kiba ku bimu ku bisaawe ebisambibwamu oba okutendekebwamu amawanga agagenda okwetaba mu mpaka za CHAN.
Ne wankubadde ekisaawe kino tekiri ku lukalala lw’ebisaawe ebigenda okukozesebwa amawanga agagenda okwetaba mu mpaka za Chan ezitandika omwezi ogujja.
Ekisaawe ky’e Nambole kye kigenda okukozesebwa okuzanyibwamu wano e Uganda ate ebisawe okuli Wankulukuku, Kabaka Kyabaggu ne KISU bigenda okukozesebwa amawanga okutendekebwamu.
PULANI B Y’OMUGAGGA
Oluvanyuma lw’okusubwa omukisa gwa CHAN, kati omugagaa amaanyi agamalidde okulaba ng’alya ku ssente za AFCON eza 2027 ezigenda okutegekebwa amawanga okuli Uganda, Kenya ne Tanzania.
Obululu bwa Chan bugenda kukwatibwa wiiki eno mu Kenya.
BIKI EBIYINZA EMIMULEMESEZZA
Okusinziira ku bakugu baffe abaakoze okunoonyereza, baazudde ebimu ebiyinza okuba ebyalemeseza ekisawe kya Ham okutegeka eza Chan
KIWEMPE: Olw’okuba ekisaawe kirina ekiwempe kizungu ate ng’abazanyi bakitya nnyo, baagala muddo musimbe, kiyinza okuba kyaviiriddeko obuzibu.
EBY’OKWERINDA: Engeri ekisaawe bwekyetooloddwa amaduuka, kiyinza okuba ekizibu okunyweza obukuumi ku bazanyi n’abawagizi.
JJAAMU: Ekisaawe kiri wantu awali ‘busy’ nga kiyinza okuviirako ttiimu okutuuka ekikeerezi ne zitakwata budde.
SSIIMU AYOGEDDE
Eyaliko kapiteeni wa Uganda Cranes ne Express, George Ssimwogerere yategeezezza omusasi waffe nti obutamanya tebukugisaako musango era ekisaawe kya Ham tekisobola kuzanyibwamu emipiira gy’Afrika olw’ensonga za kiwempe kubanga kyava ku mulembe era kijja kusigala nga kikyaza emipiira gya Liigi okuli Express ne URA.
EZA TORORO SQUASH ZENGEDDE
Empaka eza Uganda Open Squash Tournament 2025 zigenda kubeera ku Rock Classic Hotel e Tororo okuva nga 16 -22 February, 2025 ng’abawanguzi baakugabana ddoola 6,300(eza Uganda 23,310,000) era abazanyi okuva mu East Africa buli omu waakusasula 50,000 ate okuva mu wabweru bwa East Africa, buli omu waakusasula ddola 30(eza Uganda 111,000) .


