OKULYA MU Z’AFRIKA: Magogo, Mukazi We Ne Sudhir Bateeze Ssente Za CHAN….

MU mwezi gw'omunaana omwaka guno, Uganda egenda kuyingira mu byafaayo ng'ezimu ku nsi ku ezinaaba zitegese empaka eza CHAN ezibadde zirina okutandika omwezi ogw'okubiri wabula ne zongerebwayo mu gw'omunaana era zaakutegekebwa mu nsi ssatu okuli Uganda, Kenya ne Tanzania.

Juma Ali
3 Min Read

MU mwezi gw’omunaana omwaka guno, Uganda egenda kuyingira mu byafaayo ng’ezimu ku nsi ku ezinaaba zitegese empaka eza CHAN ezibadde zirina okutandika omwezi ogw’okubiri wabula ne zongerebwayo mu gw’omunaana era zaakutegekebwa mu nsi ssatu okuli Uganda, Kenya ne Tanzania.

Okujja kw’empaka zino kuleetedde abagagaa b’ebisaawe ebimu okutandika okwesunga okulya ku ddoola z’empaka zino ate abalala bagezezzaako okukola buli kimu okulaba nga nabo balya ku ssente zino.
ZIGENDA KUSAMBIBWA WA
Wano e Uganda, empaka zigenda kusambibwa mu kisaawe ky’e Nambole wabula ebisawe okuli KISU e Bukoto, Mutesa 2 e Wankulukuku, Kabaka Kyabaggu, Kadiba.

SUDHIR RUPAREIRA
Ono nga ye nnyini ssomero lya KISU International school erisangibwa e Bukoto nga k’ekimu ku bisaawe ebisuubirwa okutendekebwamu amawanga agagenda okwetaba mu mpaka zino. KISU ebadde esinga okukozesebwa masomero mu mpaka z’okuwuga.

OBWAKABAKA BWA BUGANDA
Obwa Kabaka bwa Buganda bwe bananyin b’ekisaawe ky’e Wankulukuku era Nnaalinya Kagere y’akivunaanyizibwako .
Wankulukuku, essaawa eno eri mu kuddaabirizibwa okulaba nga kituuka n’omutindo gw’okutendekebwamu amawanga agagenda okwetaba mu mpaka za CHAN.
MAGOGO
Wadde ekisaawe kya Kadiba e Mmengo y’emu ku pulojekit za FIFA eri FUFA wabula agava munda galaga nti pulezidenti w’omuzannyo gw’omupiira Moses Magogo y’ali mu ddiiru eno naye yeeyoolere ku nsibi za CHAN.
Kadiba kimaze ebbanga nga kikyalemedde ku musingi wabula okujja kw’empaka za CHAN kuyambyeko ekisaawe kino kubanga bagenda mu maaso okukimaliriza.

KABAKA KYABAGGU
Kino kisaawe kisangibwa mu tawuni ya Wakiso era nga kisambibwamu ttiimu ya Wakiso Giants nga ‘association’ ya Wakiso y’evunanyizibwa ku kisaawe kino.

LWAKI HAM NE MUKAZI WA MAGOGO ZIBAYISE MU NGALO
Okusinziira ku eyaliko kapiteni wa Uganda Cranes ne Express, George Ssimwogerere, yategeeza omusasi waffe nti ekisaawe kya Ham e Nakivubo tekisobola kutendekebwamu mawanga agagenda okwetaba mu mpaka za Chan olw’ekiwempe Ekizungu nga batya okufuna obuvune era kino kigenda kumusubwa okulya ku ddoola za Chan.

Mu ngeri y’emu ekisaawe kya mukyala wa Magogo, sipiika wa Palamenti Anita Among, ekya Bukedea tekigenda kufuna mukisa okutendekebwamu Amawanga olw’olugendo okuba oluwanvu ng’abazanyi bayinza okutuuka e Nambole nga bakoowu.

EZA T.E.C.H ZITANDISE
Empaka eza T.E.C.H FOR THE WORLD Annual Chess Championship omulundi ogw’okubiri zitandise leero okutuuka nga 31 ku Sports Outreach Ministry resources Center, kiwawu ku luguudo lw’e Mityana.
Omuwanguzi waakuweebwa ‘bursary ‘ ya mwaka gumu wamu n’ebirabo okuli ebikopo n’emidaali era emitendera okuli ‘primary’ ne ‘secondary’ balenzi n’abawala gye gy’okuzanyibwa mu lawundi 8.

TAGGED:
Share This Article