- •Akolimidde Byekwaso n’alaga pulaani y’okuyingira ebyobufuzi
SARAH BABIRYE Kityo atatya ‘danger’ oluvannyuma lw’okuwangula engule y’okwogera n’okulwanyisa enguzi eya Blue Print, asekeredde abo abaamusibisa mu kkomera e Luzira.
Babirye eyatandika obubi omwaka guno ng’asibwa e Luzira wabula ku nkomerero y’omwaka abadde muwanguzi era agamba nti agenda kukozesa engule eno okusobola okwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti mu Bukoto East era emboozi ye yagenze bweti ne ONO BWINO…
ONO BWINO: Engule eno etegeeza ki eri obulamu bwo?
BABIRYE: Etegeza kinene kubanga omwaka guno nagutandikira mu kkomera wabula ku nkomerero mbadde muwanguzi.
ONO BWINO: Bubaka ki bwowa abalabe bo abaakutwala mu kkomera?
BABIRYE: Obudde bukyali baveeyo beetonde.
ONO BWINO: Ani kati pulezidenti w’omuzanyo gw’okubaka?
BABIRYE: Nze nkyali Pulezidenti era ekisanja kyange kiggwa omwaka gujja mu mwezi gw’okutaano.
ONO BWINO: Okomawo omwaka ogujja mu kisanja eky’okubiri?
BABIRYE: Sisobola kudda nga mukulembeze wabula ng’enda kusigala ng’omuwagizi.
ONO BWINO: Ate mukyala Ucanda Jocelyn eyaakalondebwa akola ng’ani?
BABIRYE: Oyo pulezidenti w’ekibina kya Netball Uganda ekiyiiye wabula nze ndi pulezidenti w’ekibina kya Uganda Netball Federesoni.
ONO BWINO: Njawulo ki eriwo wakati wa Netball Uganda ne Uganda Netball Federesoni?
BABIRYE: Uganda Netball Federesoni, abakulembeze balondebwa badelegates ate aba Netball Uganda babakaakatika ku bantu –‘Appointing’.
ONO BWINO: Kituufu abantu bo baakulyamu olukwe okuleeta Ucanda?
BABIRYE: Si bona kubanga abantu okuli James Kibira ne Bashir tebakkaanya nabo.
ONO BWINO: Bw’osanga Ssaabawandiisi w’akakiiko ka NCS-Bernard Ogwel mu kkubo, omugamba ki?
BABIRYE: Okumugamba okudda ewa Katonda kubanga ebibi bingi by’akoze.
ONO BWINO: Kituufu ogenda mu by’obufuzi okwesimbawo?
BABIRYE: Eby’obufuzi mbibaddemu okuva mu 2006 nga kkansala w’abavubuka e Mukono kati nzirayo buzzi.
ONO BWINO: Ogenda okwesimbawo wa?
BABIRYE: Mu Bukoto East e Masaka ku kifo ky’omubaka wa Palamenti.
ONO BWINO: Olowooza ababi abaakutwaza e Luzira, banakwatibwa?
BABIRYE: Kiweemu obudde bwokka naye essaawa yona bagenda Luzira.
ONO BWINO: Kituufu waleka amabanja mangi nga y’ensonga lwaki baggalawo ekibiina kya Uganda Netball Federesoni okuleeta Netball Uganda?
BABIRYE: Si kituufu kubanga ekibiina kibera kya badelegates era walabawo ekiteeso kyona okuva mu badelegates okukyusa erinnya?
ONO BWINO: Wawulira otya ng’eyakulyamu olukwe nga bamuggya mu lwokaano ?
BABIRYE: Nawulira bubi kubanga nali simwagaza kibi naye yeeyambula nnyo okweswaza.


