AMASAZA KU MINZAANI: Buddu Ekomyewo Kukola Byafaayo, Enjawulo Esattiza Kkooki wa Kyaggwe, Bugaya Mawokota Emutamye Lwa Mivuyo…

NGA wasigadde omwezi gumu n'ekitundu empaka ezisinga obuganzi ez'Amasaza ga Buganda ziddemu, batabani ba Pokino aba Buddu be basuubirwa okuggulawo wabula ebbugumu lyeyongera buli lunaku olw'Amasaza okukansa abazanyi n'abatendesi abagenda okubawangulira ekikopo.

Juma Ali
4 Min Read

NGA wasigadde omwezi gumu n’ekitundu empaka ezisinga obuganzi ez’Amasaza ga Buganda ziddemu, batabani ba Pokino aba Buddu be basuubirwa okuggulawo wabula ebbugumu lyeyongera buli lunaku olw’Amasaza okukansa abazanyi n’abatendesi abagenda okubawangulira ekikopo.

Buddu abaawangula ekikopo omwaka oguwedde baagala kukola ebyafaayo ng’Essaza erisoose okweddiza ekikopo kino era abakugu baffe batadde Amasaza gano ku minzaani n’ani alina emikisa okuwangula.

BUDDU

Bano be baawangula ekikopo kino omwaka oguwedde nga baagala kukyeddiza era olukiiko lwabwe olukadde balukomezzaawo okuli; Steven Zziwa nga maneja wa ttiimu, Moore Mujuzi ng’owakakiiko ak’ebyekikugu era bano bamanyi ssaayansi ow’okuwangula Amasaza. Ekintu ekiyinza okubakosa ye mutendesi Simon Ddungu amanyiddwa ennyo nga Ddunga eyabawangulira ekikopo omwaka oguwedde okugenda ng’abalekedde Eric Kisuze omutendesi wa University ye Nkozi wabula abazanyi baabwe okuli kapiteeni Pius Ssebulime ne Michael Walaga baabasigazza.

GOMBA

Bano be bakyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi 5 nga be baafunye abadde omutendesi wa Buddu, Simon Ddungu.
Gomba yakomezzaawo Jjaja Jafar eyakolanga n’omugenzi Haji Ziyad era amanyi engeri y’okuwangulamu Amasaza wabula ekiyinza okubakosa lw’olukiiko okujjulamu abantu abatali ba mupiira.

BUGERERE

Bano tebawangulangako kikopo kino nga baleese omutendesi Skills Lukyamuzi eyaliko e Buddu nga bakubwa ku fayinolo Gomba 3:1 e Kitende era bakomezzaawo Ssekitto nga maneja wa ttiimu ate minista Amos Lugoloobi ye patron wa ttiimu wabula ekintu ekiyinza okukosa ttiimu ye technical team yaabwe okuba ennafu.

KYAGGWE

Bano nabo tebawangulangako mpaka zino okugyako okutuuka ku fayinolo omwaka oguwedde nga bakubwa Buddu 1:0 e Namboole nga baleese omutendesi Simon Peter Mugerwa eyaakawangula ekikopo kino emirundi 2 okuli Bulemeezi ne Busiro nga sizoni ewedde abadde Ssingo. Bano ebbugumu ly’okuwangula ku kikopo kino lisobola okuddamu okweyongera wabula okuvaamu kw’abasambi okuli kapiteni waabwe Godfrey Gaganga eyagenda mu Express wamu n’enkola y’omutendesi okwagala okukuba enjawulo ku basambi kiyinza okubakosa.

MAWOKOTA

Bano baakawangula ekikopo kino emirundi 3 wabula okuva mu lwe baasemba okukiwangula mu 2013 nga bakuba Buweekula 1:0 e Nakivubo ggoolo ya Farouk Miya, tebaddangamu kutuuka ku fayinolo.
Bano ebizibu ebyaliwo omwaka oguwedde biyinza okuddamu okubaawo ekya Kayima Sarah Nanono okweyingiza mu nsonga za ttiimu ekyaleetedde n’omugagga, era omwogezi wa BLB Denis Bugaya okuva ku ttiimu ate ng’abadde ateekamu nnyo ssente mpitirivu era okutuusa olwaleero babadde tebanaba kulonda mutendesi.

BULEMEEZI

Bano baakawangula ekikopo kino emirundi 3 era obuzibu bwabwe luli ku lukiiko olupya lwe baalonze nga lunafu okusobola okuwangula ekikopo ky’omwaka guno.

SSINGO

Bano baakawangula ekikopo kino emirundi 2 nga gyonna yali omutendesi Shafic Bisaso era bafunye omutendesi Amuza Lutalo abadde ennyo mu masamero era bano ekiyinza okubakosa ye mutendesi okwagala ennyo okusambisa abaana abato.

BUWEEKULA

Bano nabo tebakiwangulangako okuggyako okutuuka ku fayinolo emirundi 2 mu 2013 nga bakubwa Mawokota ne 2021 nga bakubwa Buddu 2:0 e Kitende era bakomezzaawo Haji Rajab Ssebulime nga maneja wa ttiimu n’omutendesi Felix Ssekabuza eyabadewo omwaka oguwedde.
Ekizibu kya bano ye mutendesi okuba omulungi mu kuzuula ebitone wabula si mutendesi asobola okutendeka.

Share This Article