NAMUTEBI: Wuuno Omukazi Kafulu Mu Kukuba Ebikonde: Alaze Engeri Gye Yayingira Amagye, Anoonya Musajja…

Namutebi nga mukubi wa bikonde mu kiraabu y’amagye eya UPDF, yawayizzaamu n’omusasi wa ONO BWINO Juma Ali engeri gyeyayingiramu amagye n'okutuuka ne n’aduumira UPDF, Gen Muhoozi Kainerugaba okumuwa amayinja aga Corporal oluvanyuma lw'okuwangulira amagye ga Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za All African Military Games ezaali mu kibuga Abuja ekya Nigeria.

Juma Ali
3 Min Read
Omukubi w'ebikonde omukyala Namutebi

NGA bwe bagamba nti okubonabona si kufa, bwatyo ne mwanamuwala Erina Namutebi eyakulira mu mbeera embi n’okweyiiya e Buikwe ng’alina ekirooto ky’okukwata emmundu, kati aliisa buti.

Namutebi nga mukubi wa bikonde mu kiraabu y’amagye eya UPDF, yawayizzaamu n’omusasi wa ONO BWINO Juma Ali engeri gyeyayingiramu amagye n’okutuuka ne n’aduumira UPDF, Gen Muhoozi Kainerugaba okumuwa amayinja aga Corporal oluvanyuma lw’okuwangulira amagye ga Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za All African Military Games ezaali mu kibuga Abuja ekya Nigeria.

Abalala abaasiimiddwa kuliko Innocent Amoku (corporal), Geofrey Ochan (corporal),Joyce Gonza (corporal), James Japyem (L/corporal),Jamidali Adam Nsereko (L/corporal) .Buli eyawangula omudaali gwa zaabu yaweereddwa eddaala lya corporal ate eyawangula ffeeza yaweereddwa L/corporal.
Namutebi nga yawangula omudaali gwa ffeeza (silver) mu African Boxing Championship e Cameron, ffeeza (silver) mu Nelson Mandela Championship ezaali e South Africa, zzaabu (Gold) mu All African Military Games e Nigeria n’omusipi gwa UBF Boxing Champions League…emboozi ye n’omusasi waffe yagenze bweti;

ONO BWINO: Mu bulamu bwo ekirooto kyo kyali ki?
NAMUTEBI: Kyali kyakukwata mmundu.

ONO BWINO: Oyingira otya amagye ate nga tewasoma ?
NAMUTEBI: Omu ku mikwano gyange egyali mu magye yang’amba okutandika okukuba ebikonde mu kiraabu ya UPDF.

ONO BWINO: Nga tonaba kuweebwa nnyota za Corporal, obadde na jjinja ki mu magye?
NAMUTEBI: Mbadde ku lya Private Officer.

ONO BWINO: Gwegusoose Muhoozi okukusiima?
NAMUTEBI: Nedda, guno mulundi gwakubiri era ogwasooka nali mpangulidde Bombers omudaali gwa ffeeza (silver).

ONO BWINO: Okwasaganya otya emirimu gy’obufumbo, amagye wamu n’ebikonde?
NAMUTEBI: Siri mufumbo era nnoonya omusajja anantegeera.

ONO BWINO: Obukadde 32 bwewawangula e Yaounde mu Cameroon ku Bombers wazikolamu ki?
NAMUTEBI: Nali ng’enda kugulirako maama poloti wabula yagaana ng’ayagala nsooke nneezimbe era ne ngulako poloti.

BEESUNGA SSENTE MU ZA SQUASH
Enteekateeka ziwedde ez’empaka ezisinga amaanyi mu Uganda eza Uganda Open Squash nga zigenda kutandika okuva nga 16 -22 omwezi guno ku wooteri ya Rock Classic e Tororo.
Empaka zino zigenda kwetabwamu Amawanga okuva mu nsi yonna ng’omuzanyi okuva mu East Africa waakusasula 50,000 ate okuva wabweru wa East Africa waakusasula ddoola 30 (eza Uganda 111,000) ate abawanguzi baakugabana ddoola 6,300 (eza Uganda 23,310,000).
Uganda etunuulidde abazanyi okuli Paul Kadoma, Jonathan, Elizabeth Musiimenta okubawangulira kavu.

TAGGED:
Share This Article