M7 Atambula Amagamaga! Lwaki High Command ne Security Council Balagidde Bakkomando Abakambwe Okusalako Ebizimbe Ebiwanvu Mu Bibuga Ebinene, Muzeeyi Agaanyi Okuddamu Okutambulira Mu Nyonyi Z’amagye…

KAFULU mu nsonga z’ebyokwerinda Charles Rwomushana, ategeezezza ONO BWINO nti ebiragiro pulezidenti Museveni byeyawadde abaduumira ebitongole by’eggwanga ebya securite, yakikoze okutaasa eggwanga obutagenda mu katyabaga k’okuyiwa omusaayi oluvanyuma lw’aboludda oluvuganya nga bakulemberwamu Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) okutandika okutiisatiisa nga bwe bagenda okukola kyonna ekisoboka mu busobozi bwabwe okukyusa obukulembeze mu ggwanga.

Sengooba Alirabaki
14 Min Read

KAFULU mu nsonga z’ebyokwerinda Charles Rwomushana, ategeezezza ONO BWINO nti ebiragiro pulezidenti Museveni byeyawadde abaduumira ebitongole by’eggwanga ebya securite, yakikoze okutaasa eggwanga obutagenda mu katyabaga k’okuyiwa omusaayi oluvanyuma lw’aboludda oluvuganya nga bakulemberwamu Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) okutandika okutiisatiisa nga bwe bagenda okukola kyonna ekisoboka mu busobozi bwabwe okukyusa obukulembeze mu ggwanga.

Bobi wiiki ewedde yabadde ku pulogulamu ‘Ebigambo Tebitta’ ku NTV n’alangirira nga bo mu NUP bwe bali amagye nga y’ensonga lwaki abawagizi be okuli abakadde n’abavubuka bambala ebyambalo by’abalwanyi ekintu kyeyakakasizza nti tekimenya mateeka ga ggwanga n’asoomooza abakulu mu gavumenti nti bwe babeera bakakasa nti engoye abantu be naye ze bambala zimenya amateeka, basookere ku ye okukwata bamutwale mu kkooti bamugguleko emisango.

Ebigambo bino Bobi Wine yabyogedde ku Lwakusatu ku lunaku lwerumu nga pulezidenti Museveni akubiriza olukiiko lwa ‘Security Council’ olw’ebyokwerinda olusemberayo ddala mu State House Entebbe, abalutuulako baakubaganya ebirowoozo ku ngeri securite y’eggwanga bweyimiridde naddala mu kiseera kino ng’eggwanga lyetegekera akalulu ka 2026.

ABAABADDE MU LUKIIKO MU STATE HOUSE

Olukiiko luno lwabaddemu omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku bikwekweto Gen Muhoozi Kainerugaba, omuduumizi wa poliisi IGP Abas Byakagaba, abaduumizi b’ebitongole by’eggwanga ebikessi okuli DIS, ISO, ESO, minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda Otafire, minisita wa securite Maj Gen Jim Muhwezi, minisita w’ebyokwerinda Jacob Oboth Oboth, ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka, minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija n’abalala.

SECULITE Y’EGGWANGA ERI MU KATTU

Ensonda ez’omunda mu State House zitubuulidde nti oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowooza ebbanga eddene, olukiiko lwakkanyizza nti securite y’eggwanga eri ku bunkenke bw’amaanyi ng’ensonga zirina okutwalibwa mu lukiiko lw’amagye olw’okuntikko olwa UPDF High Command olwatudde ku Lwokuna.

Olukiiko lwa High Command lwakubiriziddwa Museveni nga lwetabiddwamu Gen Muhoozi, Lt Gen Sam Okiding omumyuka w’omuduumizi wa UPDF, Lt Gen Kayanja Muhanga aduumira amagye g’okuttaka, Maj Gen Charles Okidi aduumira amagye gw’omu bbanga, Lt Gen Charles Otema aduumira eggye ly’eggwanga ezzibizi, Maj Gen David Mugisha aduumira egye lya Special Forces Command (SFC), Maj Gen Jackson Bakasumba akulira emirimu mu UPDF, bano beegatiddwako abaduumira ebitongole by’eggwanga ebikessi, abadumira ebibinja bya UPDF okuva mu bitundu by’eggwanga ebirala era olukiiko lwabadde mu State House Entebbe.

BALAGIDDE OKUTEEKA BAKOMANDO KU BIZIMBE EBIWANVU MU BUGANDA NE BUSOGA

Ensonda zongeddeko nti oluvanyuma lw’olukiiko okukubaganya ebirowoozo ku lipooti eyasomeddwa Gen Muhoozi ng’enyonyola ng’ensalo za Uganda namawanga amalala bwezinywedde, wabula obuzibu mu kiseera kino businga mu bitundu bya Buganda naddala Kampala, Wakiso, Mukono, Mpigi, Masaka n’emirirwano nga mw’otwalidde Busoga.

Muhoozi yategeezezza nti obunkenke obuli mu bitundu ebyo bw’amaanyi nyo okusinga obwo obuli e Karamoja. Yagambye omulimu ogwamanyi gulina okukolebwa enyo naddala mu kiseera kino ng’eggwanga lyetegekera akalulu ka 2026 ng’alumiriza nti waliwo bannabyabufuzi abeetegese okukakozesa okutabangula eggwanga.

Ensonda zitubuulidde nti Gen Muhoozi olwayogedde ensonga eyo, Museveni n’akanula amaaso era yagyesibyeko bweyabadde akubaganya ebirowoozo nga yalagidde nti bwekibeera kyetaagisa amaanyi amagye ge gabadde gateeka wabweru w’eggwanga nga bakuuma emirembe mu mawanga ga Somalia, Congo ne South Sudan bagakendezeeko bagateeke mu bitundu ebyo ebirimu obunkenke nga yabajulizza nga kino bwekyakola obulungi mu kiseera ky’akalulu ka 2021.

Ensonda zongerako nti High Command yakkanyizaz okutwala emyaliro gy’ebizimbe ebisinga obuwanvu mu bitundu obuli obunkenke nga eno waakuteekebwayo bassinayipa nga bano be babadde balwanyisa abatujju e Somalia, Congo, South Sudan, emmundu zaabwe ezikuba ewala zaakulondoola embeera era yenna anaagezaako okutabangula emirembe yalagiddwa akubibwe.

Ensonda zitubuulidde nti kyasaliddwawo UPDF okweddiza ebyokwerinda n’okukulemberamu ebikwekweto mu bitundu ebyayogeddwako, wabula poliisi egenda kubayambako buyambi.

LWAKI M7 NE BAGENERO BE BASATTIRA

Rwomushana ategeezezza nti Museveni munda mu ye ne bagenero mu UPDF bakimanyi nti bannayuganda naddala abavubuka balina obusungu bungi eri gavumenti ye gyebalumiriza nti bazadde baabwe bwe baamala okubayambako okuwangula olutalo lw’ekiyeekera olwabatuusa mu buyinza ate ne babeefuulira.
Bano mu kiseera kino bagobwa ku ttaka ne bajja mu bibuga mwebali nga tebalina bye bakola emirimu bagiwa baluganda bako na mikwano mu gavumenti ya Museveni, eno y’ensonga lwaki Museveni buli bw’abeera awandiika ebiwandiiko aboogerako ng’abazzukulu be nga kino ekikola okutondawo enkolagana n’abavubuka abanyiivu okubakkakkanya obutatabangula ggwanga.

BA FOOTSOLDIERS BA BOBI ABALABUDDE

Ono alabudde ba foot soldiers ba Bobi Wine beyalagira okuduumira eggaali ze mu kampeyini za 2026 nti Museveni ne Muhoozi bamalirivu okubakolako kubanga bakimanyi nti Bobi Wine baayagala okukozesa okutabangula eggwanga.

Ensonda zitegeezeza nti Museveni yalagidde bonna abateeberezebwa okwenyigira mu bikolwa byonna ebitiisatiisa gavumenti ye bayiggibwe basimbwe mu kkooti z’amateeka.

Minisita Norbert Mao ow’ensonga za ssemateeka n’essiga eddamuzi ategeezezza nti Museveni munyiivu eri ba foot soldiers nti baamuwadde lipooti nti baliiko omuwagiziwe mu bitundu by’e Kira gwe baayiira asidi nga n’abalala bangi naddala mu bitundu bya Gheto batambulira mu kutya nga tebasobola nakwambala ngoye za NRM oba okumuwagira n’ekibiina kye mu lwatu.

Ensonda zitegeezezza nti Museveni alina lipooti z’ekikessi nti abamu ku basibe abaali abawagizi ba NUP abaali bavunanibwa mu kkooti y’amagye balina pulaani y’okuduumira okwekalakaasa bateekewo embeera ng’eyali mu Libya mu kiseera ng’abantu balwanyisa gavumenti y’omugenzi Col Muammer Gadaffi olwo akakiiko k’ebyokwerinda ek’ekitongole ky’amawanga amagatte ki UN kiyise ekiragiro amagye gaakyo okwegatta mu lutalo okutaasa bannansi.

Ensonda zitubuulidde nti pulaani weeri bano ne Dr Kizza Besigye okuddizibwa mu kkooti y’amagye nga Museveni ayagala kubakozesa ng’ekyokulabirako eri bannaabwe abalala munda mu gavumenti abaagala okukozesa obuvuyo okumuggyako nga kkooti y’amagye ebbawa ekibonerezo ky’okuttibwa ku kalabba.

ABAKUUMI BA BOBI BAVUNDIRA MU MAKOMERA

Bino we bibeereddewo ng’abakuumi ba Bobi Wine okuli ne mukama waabwe Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) bali mu kkomera ku misango gy’okubbisa eryanyi wabula nga bino byonna Bobi Wine abiyita byabufuzi ng’alumiriza eyali akulira oludda oluvuganya mu palamenti era omumyukawe atwala Buganda Mathius Mpuuga Nsamba, omubaka wa Kimanya-Kabonera Abed Bwanika, omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Masaka Juliet Kakande n’abamu ku bannamawulire e Masaka okubeera mu lukwe lw’okusibisa abantu be.

M7 AKYAGAANYE OKUDDAMU OKUTAMBULIRA MU NYONYI Z’AMAGYE

Ensonda zaffe zitubbiddeko nti okumanya obunkenke bw’amaanyi nyo, okuva Dr Besigye bweyakwatibwa ne mukwano gwe Hajji Obed Lutale Kamulegeya ku misango gy’okulya mu nsi olukwe, Museveni akyagaanye okuddamu okutambulira mu nyonyi z’amagye.

Museveni ebiseera ebisinga wadde abeera akooye nga wiiki ewedde bweyabadde agenda e Rwakitura okwetaba mu kalulu ka NRM, yasoose kukola mirimu mingi mu State House naye era yagendedde wansi teyalinnye nyonyi nga bw’atera okukola.
Museveni bweyali agenda e South Sudan yatambulira mu nyonyi ya Bombardier ey’eggwanga ng’ensonda zitubuulidde nti omukulu yeekengera nyo abavuga enyonyi za UPDF okuva bwe baakwata Besigye ng’obujulizi bwavaayo nga bulumiriza nti Besigye yali akakasa Abazungu abaali bagenda okumuwa ebyokulwanyisa okutta Museveni nti alina banne baakolagana nabo naddala mu ggye ly’omubbanga abeetegefu okumuyambako okuggusa misoni yonna ey’okutta Museveni n’omulambo gwe gubulewo.

NUP EKYAWAGA

Muhammad Muwanga Kivumbi omubaka wa Butambala mu palamenti era omumyuka wa Bobi Wine atwala Buganda aweze n’ategeeza nti ebyasaliddwawo High Command ne Security Council bikakasiza ddala nti Museveni bamufunzizza nga kati mu butongole alangiridde olutalo ku bantu ba bulijjo nga kino kye babadde baagala akole.

Ono ategeezezza nti ebyasaliddwawo High Command ne Security Council tebigenda kutaataganya pulaani yaabwe ey’akalulu k’okwekalakasa mu 2026 n’awera nti buli kyebakola kiri mu mateeka.

Wabula Maj Gen Mugisha Muntu eyaduumirako UPDF ategeezezza nti ebyasalidwawo High Command ne Security Council bitiisa nga biringa ebiraga nti UPDF yafuuka ttabi lya NRM ng’erina okugiyambako okuwangula obululu ate nga ekyabatwala mu nsiko okulwana kwekutondawo eggye erigenda okubeera ku ludda lw’abantu okubataasa ku gavumenti embi.

Gen Mugisha ayongeddeko nti ekizibu ekiri mu Uganda nti Museveni UPDF yagifuula ng’eggye ly’omuntu nga y’ensonga lwaki mutabaniwe omuduumizi waalyo buli kyayogera abeera ajuliza kitaawe ate nga bo mu kuzimba UPDF baayagala omuduumizi waayo abeere ng’asobola okutuukirira pulezidenti n’amuwabula bwabeera alabye nti ebikolebwa gavumenti ye bijja eggwanga ku mulamwa.

EGGWANGA LIRI MU KASEERA KAZIBU

Muntu akakasizza nti Uganda eri mu kaseera kazibu nga buli munnansi alina okwesabira kubanga Museveni akwatiddwa wakati w’olwazi n’ejjinja eggumu okusalawo kwonna akutambuliza ku famile ye okusobola okusigala mu buyinza nga ebya bannayuganda takyabiriiko.

GEN ELWELU EYEEPIMA MU GEN MUHOOZI BAMUFUNZIZZA

Ensonda mu State House zitukakasizza nti olukiiko lwa High Command lwakkirizza okusaba kwa Lt Gen Peter Elwelu eyaliko omumyuka w’omuduumizi wa UPDF okuwummula amagye wadde nga tanaweza myaka 65 bagenero abali ku ddaala lye kwebalina okusabira okuwummula.

Lt Gen Elwelu ajjukirwa nyo okuduumira ekikwekweto ekyayokya olubiri lw’Omusinga w’e Rwenzururu nebattiramu abantu abasoba mu 100 n’abalala ne bagendera ku bisago nga n’okutuusa kati akyawaga nga bwatejjusa olwekyo kyeyakola nga alumiriza nti beyatta baali batujju abaali baagala okulya mu nsi olukwe.

Elwelu waateereddeyo ebbaluwa esaba okuwummula nga Museveni yamuteeka dda ku katebe era ab’omunda batubuulidde nti kino kyava ku lugambo lweyali atwalira omukulu ng’alumiriza mutabaniwe Gen Muhoozi nga bwalina pulaani y’okuwamba gavumenti ye nga olwobusungu obungi enfaananaye Gen Muhoozi yagigeraageranya ku zzike.

Obutakkaanya bwa Gen Muhoozi ne Lt Gen Elwelu bwatandika mu 2022, Museveni ng’agenze e Rwanda ku bugenyi obutongole nga omumyuka wa pulezidenti Maj Jessica Alupo agenze mu leeba okuzaala omwana, Gen Wilson Mbadi eyali aduumira UPDF mu kiseera ekyo nga naye ali mu ggwanga lya Kenya n’ayisa ekiragiro ekikambwe ki STANDBY CLASS ONE ekitakkiriza mujaasi yenna wadde ebyokulwanyisa okutambula amangu ddala nga kimaze okuyisibwa.

Lt Gen Elwelu yalumiriza nti Museveni ye yamuwa ekiragiro ekyo ekintu Gen Muhoozi kyeyagaana n’alagira abajaasi abali wansi we nga mu kiseera ekyo ye yali omuduumizi w’amagye g’okuttaka obutateekesa kiragiro kya Elwelu mu nkola nga kino yakitwala nga okumuyisaamu amaaso.

Okumanya obunkenke bwali bw’amaanyi ddala, Museveni bweyakomawo mu ggwanga yamala wiiki nga yeekukumye mu maka ga mukyalawe era minisita w’ebyenjigiriza n’emizanyo Janet Kataha Museveni mu disitulikiti y’e Ntungamo– eno gyeyasinziira okuyita abaduumira egye ly’eggwanga abawaggulu okumubuulira ekigenda maaso.

Ensonda zirumiriza nti eno kaabula kata eng’uumi etokote wakati wa Gen Muhoozi ne Lt Gen Elwelu eyali alumiriza nti ebikolwa bya Muhoozi biswaza UPDF, waayita ekiseera kitono Museveni n’amugoba ku bumyuka b’omuduumizi wa UPDF n’amulonda nga omuwabuzi we ku nsonga z’e Karamoja ne Teso ate Muhoozi n’amufuula omuduumizi wa UPDF.

ELWELU AKATEBE KABADDE KASUSSE OKUMWOKYA

Ensonda zitubuulidde nti Lt Gen Elwelu akatebe abadde akakooye ng’ayagala kuyingira byabufuzi era abadde akitegedde nti UPDF egenda kumusuula mu kulonda okuddako wabula diiru eno kirabika nayo Gen Muhoozi agiyiyeemu amazzi aganyogoga.

Akola ng’omwogezi wa UPDF Col Chris Magezi ategeezezza nti Gen Elwelu ne banne okuli Maj Gen George Igumba, Maj Gen Francis Okello baakuwummula mu October wa 2025 nga kino kitegeeza nti Elwelu anaagenda okuwumula ng’akakiiko k’ebyokulonda kamaze okuwandiisa abaagala okuvuganya ku bifo by’obubaka bwa palamenti kubanga baakuwandisibwa mu September wa 2026.

Elwelu ensonda zitegeezezza nti abadde yatandise dda kampeyini nga alamuza ekimu ku bifo by’obubaka bwa palamenti ewaabwe e Teso wabula abamuli ku lusegere bakyawaga nti omuntu waabwe alina okuwummuzibwa mu July wa 2025 n’abajaasi abalala abasoba mu 1300.

Museveni okukkiriza Gen Elwelu okuwumuzibwa kyewunyisizza abantu abamanyi ebigenda maaso mu magye kubanga yagaana okukkiriza Gen Edward Katumba Wamala okuwumula ate ng’asinga Elwelu obukulu nga kino kitegeeza nti Katumba tasobola kwenyigira mu byabufuzi nga bwakikola abeera amenye amateeka g’amagye.

Gen Elwelu agenze okuwummula nga amawanga okuli America, Bungereza, agomukago gwa Bulaaya gaamuteekako dda nnatti enkambwe obutaddayo kulinya mu mawanga gaabwe olwokwenyigira mu bikolobero ebityoboola eddembe ly’obuntu bweyaduumira ekikwekweto ky’okutta abantu e Kasese.

Share This Article